translation
dict
{ "translation": { "en": "Truck drivers from neighbouring countries contribute the highest number of coronavirus cases in Uganda.", "lg": "Abavuzi ba birooole okuva mu nsi ezitwetoolodde bongezza omuwendo gw'abalwadde bw'akawuka kolona mu Uganda." } }
{ "translation": { "en": "Drink water whenever you feel thirsty.", "lg": "\"Buli lw'owulira ennyonta, nywa amazzi.\"" } }
{ "translation": { "en": "I do not have a birth certificate.", "lg": "Sirina satifikeeti ya buzaale bwange." } }
{ "translation": { "en": "That woman has left her baby crying.", "lg": "Oyo omukazi alese omwana we ng'akaaba." } }
{ "translation": { "en": "\"To make a barkcloth, the inner bark of a fig tree is beaten until it is soft.\"", "lg": "\"Okusobola okukola embuga, ekikuta eky'omunda eky'omuti gw'omutiini kikubibwa okutuusa lwe kigonda.\"" } }
{ "translation": { "en": "The chief district officer requested a detailed report on the case.", "lg": "Akulira abakozi ku disitulikiti yasabye alipoota enzijuvu ku musango." } }
{ "translation": { "en": "The University provides education services.", "lg": "Ssetendekero awa obuweereza bw'ebyenjigiriza." } }
{ "translation": { "en": "Strict laws were passed to stop people from cutting down trees.", "lg": "Amateeka amakakali gaayisibwa okusobola okuziyiza abantu okutema emiti." } }
{ "translation": { "en": "He sustained injuries in a car accident.", "lg": "Yafuna ebiwundu mu kabenje k'emmotoka." } }
{ "translation": { "en": "She did not go to school because her mother was sick.", "lg": "Teyagenze ku ssomero kubanga nnyina yabadde mulwadde." } }
{ "translation": { "en": "We love bees for their honey.", "lg": "Enjuki tuzaagalako omubisi gwazo." } }
{ "translation": { "en": "My sisters help my mother cook at home.", "lg": "Bannyinaze/baganda bange bayambako maama okufumba ewaka." } }
{ "translation": { "en": "They lack fuel for ambulances to transport coronavirus patients.", "lg": "Tebalina mafuta ga kuteeka mu mmotoka zitambuza balwadde okutambuza abalwadde b'akawuka ka ssenyiga omukwambwe." } }
{ "translation": { "en": "A few students from primary school are enrolled at a secondary institution.", "lg": "Abayizi batono okuva mu ssomero erya pulayimale abayingizibwa mu masomero ga sekendule." } }
{ "translation": { "en": "Fashion design has always stood out of the general visual arts.", "lg": "Emisono gisukkulumye ku biyiiye eby'emikono ebirala ebirabwako." } }
{ "translation": { "en": "The police officer took a bribe.", "lg": "Omupoliisi yalidde enguzi." } }
{ "translation": { "en": "Many young people drink alcohol.", "lg": "Abantu bangi abanywa omwenge nga bakyali bato." } }
{ "translation": { "en": "Parents have a stake in discussing student sponsorship facilitation.", "lg": "Abazadde balina kye bakola mu kukubaganya ebirowoozo mu kuvujjirira ku sizaala y'omuyizi." } }
{ "translation": { "en": "Schools need to have playgrounds for students to play.", "lg": "Amasomero geetaaga okuba n'ebisaawe abayizi mwe basobola okuzannyira." } }
{ "translation": { "en": "Teachers normally have financial discipline.", "lg": "Abasomesa bulijjo bakwata bulungi ensimbi." } }
{ "translation": { "en": "A former Member of Parliament died of high blood pressure.", "lg": "Eyaliko omubaka wa paalimenti yafudde bulwadde bwa ntunnunsi." } }
{ "translation": { "en": "The cleaner does not like the developer because she always leaves the room dirty.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Nowadays people are taking matters into their own hands", "lg": "Ennaku zino abantu ensonga bazimalira mu mikono gyabwe" } }
{ "translation": { "en": "He has been looking for his wife all day.", "lg": "Abaadde anoonya mukyala we olunaku lwonna." } }
{ "translation": { "en": "There is a lot to know about wildlife.", "lg": "Waliwo ebintu bingi eby'okuyiga ku bitonde eby'omu nsiko." } }
{ "translation": { "en": "Most business owners reduced the number of employees during the lockdown.", "lg": "Bannannyini bizinensi abasinga baakendeeza ku muwendo gw'abakozi mu muggalo." } }
{ "translation": { "en": "We called the hospital inorder to talk to grandfather.", "lg": "Twakuba essimu ku ddwaliro okusobola okwogerako ne jjajja omusajja." } }
{ "translation": { "en": "My friend gifted me a bracelet.", "lg": "Mukwano gwange yampa ekirabo kya majolobera." } }
{ "translation": { "en": "He has been in power for so long.", "lg": "Amaze ebbanga ddene mu buyinza." } }
{ "translation": { "en": "We have received the report from the United Nations department.", "lg": "Tufunye alipoota okuva mu kitongole ky'Amawanga Amagatte." } }
{ "translation": { "en": "The task force sensitized people to carry out social distancing.", "lg": "Akakiiko akakubirizi kaasomesa abantu okukuuma amabanga wakati waabwe." } }
{ "translation": { "en": "That elephant was almost killed by a hunter last week.", "lg": "Enjovu eyo kata ettibwe omuyizzi wiiki ewedde." } }
{ "translation": { "en": "She borrowed two history books from the library.", "lg": "Yeewola ebitabo by'ebyafaayo bibiri okuva mu tterekero ly'ebitabo." } }
{ "translation": { "en": "The army directives have to be followed.", "lg": "Ebiragiro by'amagye birina okugobererwa." } }
{ "translation": { "en": "The police used sniffer dogs to track down the thieves.", "lg": "Poliisi yakozesa embwa eziwunyiriza okulondoola ababbi." } }
{ "translation": { "en": "The participants' names were listed in alphabetical order.", "lg": "Amannya g'abeenyigiddemu gaasengekeddwa nga bwe gagenda gaddiringana." } }
{ "translation": { "en": "Some opposition members have joined the ruling party.", "lg": "Bammemba abamu ab'oludda oluvuganya beegasse ku kibiina ekiri mu buyinza." } }
{ "translation": { "en": "The pointed end of the spear pierced the animals skin.", "lg": "Oludda olusongovu olw'effumu lwafumita eddiba ly'ensolo." } }
{ "translation": { "en": "He found the railway to be in poor condition.", "lg": "Yasanga oluguudo lw'eggaali y'omukka luli mu mbeera mbi." } }
{ "translation": { "en": "Police posts were temporarily closed in the country.", "lg": "Ebitebe bya poliisi byaggaddwa okumala akaseera ggwanga." } }
{ "translation": { "en": "Health facilities with poor services have been shunned by sick people.", "lg": "Abalwadde bagaanye amalwaliro agalina obuweereza obubi." } }
{ "translation": { "en": "One of the suspects testified that they were paid five million Ugandan shillings to kill my husband.", "lg": "Omu ku bateeberezebwa yawadde obujulizi nti baaweebwa obukadde butaano obwa siringi za Uganda okutta baze." } }
{ "translation": { "en": "Some employers mistreat their workers.", "lg": "Abakozesa abamu bayisa bubi abakozi baabwe." } }
{ "translation": { "en": "Teachers are among the lowest civil servants in Uganda.", "lg": "Abasomesa be bamu ku bakozi ba gavumenti abasinga okusasulwa ekitono mu Uganda." } }
{ "translation": { "en": "He is the chief organizer of the upcoming music event.", "lg": "Ye mutegesi omukulu ow'ekivvulu ekijja." } }
{ "translation": { "en": "Engineers handle bridge constructions.", "lg": "Ba yinginiya bakwasaganya okuzimba entindo." } }
{ "translation": { "en": "I felt angry when she abused me.", "lg": "Nnawulira obusungu ng'anvumye." } }
{ "translation": { "en": "The weed spread to neighbouring countries.", "lg": "Omuddo gusaasaanidde mu mawanga agaliraanyewo." } }
{ "translation": { "en": "The refugees have been warned to stay in Uganda for their own security.", "lg": "Abanoonyiboobubudamu balabuddwa okusigala mu Uganda olw'ebyokwerinda byabwe." } }
{ "translation": { "en": "All church founded schools contributed money for this work.", "lg": "Amasomero gonna agaazimbibwa ku musingi gw'ekkanisa gaasonze ssente eri omulimu guno." } }
{ "translation": { "en": "\"When my father comes back home late, he eats the food alone.\"", "lg": "\"Taata wange bw'akomawo ekka nga buyise, alya yekka emmere.\"" } }
{ "translation": { "en": "I prefer to have my luggage near me.", "lg": "Njagala nnyo omugugu gwange okumbeera okumpi." } }
{ "translation": { "en": "The president reappointed the general.", "lg": "Pulezidenti yazzeemu okulonda generaali." } }
{ "translation": { "en": "The leaders are accused of being dishonest.", "lg": "Abakulembeze bavunaanibwa obutabeera beesigwa." } }
{ "translation": { "en": "The people at that landing site depend on fish as a source of income.", "lg": "Abantu b'oku mwalo ogwo beesigama ku byennyanja okusobola okufunamu ssente ezibabeezaawo." } }
{ "translation": { "en": "Deputy ambassador Zhao Baogang said immediately after the figures were released.", "lg": "Omumyuka w'ambasadda Zhao Baogang yayogererawo oluvanyuma lw'omuwendo okufulumizibwa." } }
{ "translation": { "en": "Is there any insect moving on my head?", "lg": "Waliwo ekiwuka kyonna ekitambulira ku mutwe gwange?" } }
{ "translation": { "en": "Heavy winds too destroy things in the environment.", "lg": "Kibuyaga omungi naye ayonoona ebintu mu mbeerabantu." } }
{ "translation": { "en": "The new power dam will be ready next year.", "lg": "Ebbibiro ly'amasannyalaze eppya lijja kuba liwedde omwaka ogujja." } }
{ "translation": { "en": "A fence was built around the main hospital.", "lg": "Ekikomera kizimbiddwa okwetooloola eddwaliro ekkulu." } }
{ "translation": { "en": "How sustainability programs create value?", "lg": "Pulogulamu eziyamba mu buwangaazi zikolawo enjawulo?" } }
{ "translation": { "en": "Do you think many people will turn up at the concert?", "lg": "Olowooza nti abantu bangi abanajja mu kivvulu?" } }
{ "translation": { "en": "The money budgeted is not enough to open up another army shop.", "lg": "Ssente ezaabaliriddwa tezimala kuggulawo dduuka ly'amagye ddala." } }
{ "translation": { "en": "She rarely eats food that she has not cooked.", "lg": "Tatera kulya mmere gy'ateefumbidde." } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The football match ended in a draw.", "lg": "Omupiira gwaggweredde mu maliri." } }
{ "translation": { "en": "The construction of the building is complete.", "lg": "Okuzimba ekizimbe kuwedde." } }
{ "translation": { "en": "The municipal council will be able to increase its revenue collection.", "lg": "Akakiiko ka Munisipaali kajja kusobola okwongera ku musolo ogusooloozebwa." } }
{ "translation": { "en": "The doctor worked on many patients yesterday.", "lg": "Ddokita yakoze ku balwadde bangi eggulo." } }
{ "translation": { "en": "Security personner should avoid extortions.", "lg": "Abakuumaddembe balina okwewala okuggya ssente oba ekintu kyonna ku bantu nga bamaze kubatiisatiisa." } }
{ "translation": { "en": "\"He is a native of Mbarara, western Uganda.\"", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "My photograph was published in the women's magazine last month.", "lg": "Ekifaananyi kyange ky'afulumira mu katabo k'amawulire ak'abakyala omwezi oguwedde." } }
{ "translation": { "en": "There will be different games played on the school sports day.", "lg": "Wajja kubaawo emizannyo egy'enjawulo egijja okuzannyibwa ku lunaku lw'emizannyo ku ssomero." } }
{ "translation": { "en": "I think I know where the venue is located.", "lg": "Ndowooza mmanyi ekifo we kisangibwa." } }
{ "translation": { "en": "The bursar read out the school budget.", "lg": "Bbaasa yasomye embalirira y'essomero." } }
{ "translation": { "en": "Youth volunteers look through the crowd to spot the elderly.", "lg": "Abavubuka abakola nga bannakyewa batunula mu bantu okunoonyaamu abakaddiye." } }
{ "translation": { "en": "The class teacher instructs the students to register every morning.", "lg": "Omusomesa akulira ekibiina alagira abayizi okwewandiisa buli ku makya." } }
{ "translation": { "en": "We wear masks to protect ourselves against the coronavirus.", "lg": "Twambala obukookolo okusobola okwetangira okukwatibwa akawuka ka kkolona." } }
{ "translation": { "en": "The main uprisings were located in the northern region.", "lg": "Obwegugungo obukulu bwali mu kitundu eky'obukiikakkono." } }
{ "translation": { "en": "He put a pot of water on the fire.", "lg": "Yateeka ensuwa y'amazzi ku muliro." } }
{ "translation": { "en": "With a period of five months all land certificates will be issued.", "lg": "Mu bbanga lya myezi etaano satifiketi z'ettaka zijja kugabibwa." } }
{ "translation": { "en": "It was a very delightful ceremony.", "lg": "Gwali mukolo gwa kwejaga." } }
{ "translation": { "en": "\"Usually, people borrow money and payback with interest.\"", "lg": "Ebiseera ebisinga abantu beewola ssente ne bazisasula n'amagoba." } }
{ "translation": { "en": "He can only swim in a swimming pool.", "lg": "Asobola kuwugira mu kiddiba mwokka." } }
{ "translation": { "en": "Your mother has a generous heart.", "lg": "Maama wo alina omutima omugabi." } }
{ "translation": { "en": "He couldn't defend himself against the kidnappers.", "lg": "Teyasobola kwerwanako eri abawamba abantu." } }
{ "translation": { "en": "My elder brother is a priest.", "lg": "Muganda wange omukulu mubuulizi." } }
{ "translation": { "en": "Her sweet words comforted my heart.", "lg": "Ebigambo bye ebiwoomu byakkakkanya omutima gwange." } }
{ "translation": { "en": "The death of his parents distracted him from his studies.", "lg": "Okufa kwa bazadde be kwamutaataaganya okuva ku misomo gye." } }
{ "translation": { "en": "She started going out on dates with her boyfriend last month.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "There is an improvement of access to antenatal care services for pregnant women.", "lg": "Waliwo okulongoosa mu kufuna obuweereza bwendabirira y'abakyala abali embuto." } }
{ "translation": { "en": "I asked him to follow me to the river.", "lg": "Namusabye angoberere ku mugga." } }
{ "translation": { "en": "Uganda has seven years of primary education.", "lg": "Uganda erina emyaka musanvu egy'okusomeramu pulayimale." } }
{ "translation": { "en": "It is interesting that we now have to pay tax to use the phone.", "lg": "Kisanyusa nti kati tulina okusasula omusolo okukozesa essimu." } }
{ "translation": { "en": "Musicians have held concerts and also performed at events like weddings.", "lg": "Abayimbi babaddenga bakola ebivvulu n'okuyimbira ku mikolo nga embaga." } }
{ "translation": { "en": "There is a need for electoral reforms to stop vote rigging and ensure free and fair elections.", "lg": "Waliwo obwetaavu bw'okukola enkyukakyuka mu nzirukanya y'eby'obufuzi okukakasa nti okulonda kuba kwa mazima na bwenkanya." } }
{ "translation": { "en": "Who is responsible for the implementation of public policy?", "lg": "Ani avunaanyizibwa okussa amateeka agafuga abantu?" } }
{ "translation": { "en": "Leaders are advised to stay away from corruption.", "lg": "Abakulembeze baweebwa amagezi okwewala obuli bw'enguzi." } }
{ "translation": { "en": "We should treat both men and women equally.", "lg": "Tulina okuyisa abaami n'abakyala kyenkanyi ." } }
{ "translation": { "en": "Candidates have received guidelines for their final examinations.", "lg": "Abayizi abali mu bibiina eby'akamalirizo bafunye okulambikibwa mu bigezo byabwe eby'akamalirizo." } }