translation
dict
{ "translation": { "en": "The population of Uganda is comprised of people who speak Bantu Languages.", "lg": "Bannayuganda balimu abantu aboogera ennimi za Babantu." } }
{ "translation": { "en": "Lake Victoria is the source of River Nile.", "lg": "Omugga Kiyira gusibuka ku nnyanja Nalubaale." } }
{ "translation": { "en": "What are some of the countries that implemented the lockdown to curb the spread of the virus?", "lg": "Ezimu ku nsi ezaassaawo omuggalo okusobola okutangira okusaasaana kw'ekirwadde ze ziruwa?" } }
{ "translation": { "en": "The economy will take some time to recover from the pandemic.", "lg": "Ebyenfuna bijja kutwala ekiseera okubbulukuka okuva mu kirwadde ky'ekikungo." } }
{ "translation": { "en": "The police warned the public against mob justice.", "lg": "Poliisi yalabula abantu ku ky'okutwalira amateeka mu ngalo." } }
{ "translation": { "en": "The three best students in this year's examinations are female.", "lg": "Abayizi abasatu abaasinga mu bigezo by'omwaka guno bawala." } }
{ "translation": { "en": "He started his career immediately after graduation.", "lg": "Yatandikirawo okukola amangu ddala nga yaakamala okusoma." } }
{ "translation": { "en": "\"Yesterday evening, he was sitting at the neighbor's verandah.\"", "lg": "Jjo akawungeezi yabadde atudde ku lubalaza lwa muliraanwa." } }
{ "translation": { "en": "It did not rain the previous year.", "lg": "Enkuba teyatonnya omwaka ogwayita." } }
{ "translation": { "en": "\"Even as work is ongoing, people are still celebrating.\"", "lg": "\"Newankubadde emirimu gigenda mu maaso, abantu bakyajaguza.\"" } }
{ "translation": { "en": "We visited the ancient city located in Turkey last Christmas.", "lg": "Ku Ssekkukulu eyaggwa twalambula ekibuga eky'edda ekisangibwa mu Turkey." } }
{ "translation": { "en": "My eldest daughter got married at thirty-three years.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Why is sanitation important in schools?", "lg": "Lwaki obuyonjo bwa mugaso mu masomero?" } }
{ "translation": { "en": "He left home very early in the morning.", "lg": "Yava awaka ku makya ennyo." } }
{ "translation": { "en": "Your friend has a good smile.", "lg": "Mukwano gwo alina akamwenyumwenyu akalungi." } }
{ "translation": { "en": "Some women are more aggressive than men.", "lg": "Abakyala abamu bakambwe okusinga abasajja." } }
{ "translation": { "en": "The government distributed free mosquito nets to the public.", "lg": "Gavumenti yagabira abantu obutimba bw'ensiri ku bwereere." } }
{ "translation": { "en": "The headteacher advised students not to drink alcohol.", "lg": "Omukulu w'essomero yabuulirira abayizi obutanywa mwenge." } }
{ "translation": { "en": "People love the leader for his generosity towards the poor.", "lg": "Omukulembeze abantu bamwagala olw'obugabi bwe eri abaavu." } }
{ "translation": { "en": "His words left many people annoyed.", "lg": "Ebigambo bye byalese abantu bangi nga banyiivu." } }
{ "translation": { "en": "That jacket is made of thick leather.", "lg": "Ekikooti ekyo baakikola mu ddiba eggumu." } }
{ "translation": { "en": "Falls on River Nile attract tourists in Uganda.", "lg": "Ebiyiriro ku mugga kiyira bisikiriza abalambuzi mu Uganda." } }
{ "translation": { "en": "International organizations are training health workers on how to handle infected patients.", "lg": "Ebitongole by'ensi yonna bitendeka abasawo ku ngeri gye bayinza okukwatamu abalwadde." } }
{ "translation": { "en": "We have to survive together.", "lg": "Tulina okuwona ffembi." } }
{ "translation": { "en": "When a man and woman get married they become one.", "lg": "Omusajja n'omukazi bwe bafumbiriganwa bafuuka omuntu omu." } }
{ "translation": { "en": "He was holding the meeting illegally.", "lg": "Yabadde atuuzizza olukiiko mu ngeri emenya amateeka." } }
{ "translation": { "en": "She laughed out loud as he tickled her.", "lg": "Yaseka nnyo ng'amunyonyogera." } }
{ "translation": { "en": "The headteacher invited reporters for a meeting.", "lg": "Omukulu w'essomero yayise bannamawulire mu lukiiko." } }
{ "translation": { "en": "I would like to fly in an aeroplane.", "lg": "Nnandyagadde okubuukira mu nnyonyi." } }
{ "translation": { "en": "Unemployment is as a result of various factors.", "lg": "Ebbula ly'emirimu lireetebwa ensonga ez'enjawulo." } }
{ "translation": { "en": "We were not allowed to migrate with our cattle.", "lg": "Tetukkirizibwa kusenguka na nte zaffe ." } }
{ "translation": { "en": "His wife comes from a rich family.", "lg": "Mukyala we ava mu maka magagga." } }
{ "translation": { "en": "We arrived at the venue one hour before her birthday party started.", "lg": "Twatuuka mu kifo ng'ebula essaawa emu akabaga k'amazaalibwa ke katandike." } }
{ "translation": { "en": "Media channers should be praised for exposing human rights violators.", "lg": "Emikutu gy'amawulire girina okusiimibwa olw'okwanika abatyoboola eddembe ly'obuntu." } }
{ "translation": { "en": "May I help you?", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "She was born in Uganda to Nigerian parents who were studying at Makerere University.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "She was released from jail last week.", "lg": "Yasumululwa okuva mu kkomera wiiki ewedde." } }
{ "translation": { "en": "The stadium was packed to capacity.", "lg": "Ekisaawe kyajjula ne kibooga." } }
{ "translation": { "en": "The corporation processed and marketed tons of tobacco.", "lg": "Kkampuni yafulumya n'okutunda ttani za taaba." } }
{ "translation": { "en": "Both gender equality and women empowerment are very important.", "lg": "Omwenkanonkano n'okuyitimusa abakazi bikulu nnyo." } }
{ "translation": { "en": "His supporters spent the whole night celebrating his victory in the elections.", "lg": "Abawagizi be baamaze ekiro kiramba nga bajaguza obuwanguzi bwe mu kalulu." } }
{ "translation": { "en": "There are also benefits with a large population.", "lg": "Abantu abangi nabo balina ebirungi ebibavaamu." } }
{ "translation": { "en": "He disappeared and his burnt body was recovered in Kajjansi.", "lg": "Yabula era omulambo gwe ogwayokeddwa ne guzuulibwa e Kajjansi." } }
{ "translation": { "en": "Warning signs are put in places that are dangerous.", "lg": "Obubonero obulabula buteekebwa mu bifo eby'obulabe." } }
{ "translation": { "en": "The national parks have different animals.", "lg": "Amakuumiro g'ebisolo galina ebisolo eby'enjawulo." } }
{ "translation": { "en": "Zebra crossings should regularly be painted after a while to better visibility", "lg": "Ebifo ab'ebigere we basalira birina okusiigibwa buli luvannyuma lw'ekiseera okulabibwa obulungi." } }
{ "translation": { "en": "\"after schools closed, children are now looking for jobs\"", "lg": "\"Oluvannyuma lw'amasomero okuggalwa, abayizi bali mu kunoonya mirimu.\"" } }
{ "translation": { "en": "Journalists were not allowed on the crime scene.", "lg": "Bannamawulire tebakkirizibwa kugenda mu kifo ewazzibwa omusango." } }
{ "translation": { "en": "The university is determined to maintain its position.", "lg": "Yunivasite emaliridde okunywerera ku ky'ekkiriza." } }
{ "translation": { "en": "She could not marry the man because he was not a Christian.", "lg": "Yali tasobola kufumbirwa musajja kubanga teyali Mukiristo." } }
{ "translation": { "en": "What is the minimum level of education one needs to contest for any political position?", "lg": "Obuyigirize bwa ddaala ki omuntu bwe yeetaaga okutandikirako okwesimba ku kifo kyonna?" } }
{ "translation": { "en": "The judge did not appear for today's court session.", "lg": "Omulamuzi teyalabise mu kkooti." } }
{ "translation": { "en": "They are fighting for their late father's property.", "lg": "Balwanira bintu bya kitaabwe omugenzi." } }
{ "translation": { "en": "The police was told to be on the lookout for human trafficking.", "lg": "Poliisi baagigamba okuba obulindaala olw'abantu abakukusa abantu." } }
{ "translation": { "en": "Many studies have concluded that smoking is dangerous.", "lg": "Okunoonyereza kungi kulaze nti kya mutawaana okufuweeta sigala." } }
{ "translation": { "en": "The district will increase its efforts to control the virus.", "lg": "Disitulikiti ejja kwongera amaanyi mu kufufugaza akawuka." } }
{ "translation": { "en": "How much does a papaw cost?", "lg": "Eppaapaali lya ssente mmeka?" } }
{ "translation": { "en": "The vehicle will be for generating proceeds for Allied Defence Forces activities.", "lg": "Ekidduka kijja kuyamba okukolera eggye lya Allied Defence Forces ssente." } }
{ "translation": { "en": "Some people in Uganda haven't yet been vaccinated.", "lg": "Abantu abamu mu Uganda tebannagemebwa." } }
{ "translation": { "en": "Uganda trades with her neighboring countries.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "\"Last month, two people died after eating poisoned food.\"", "lg": "Omwezi oguwedde abantu babiri baafa oluvannyuma lw'okulya emmere erimu obutwa." } }
{ "translation": { "en": "She said Paris is a beautiful city.", "lg": "Yagamba ekibuga Paris kirabika bulungi nnyo." } }
{ "translation": { "en": "His classmates teased him because he was the tallest in his class.", "lg": "Bayizi banne baamuzanyiikiriza kubanga ye yali asinga obuwanvu mu kibiina kye." } }
{ "translation": { "en": "Crocodiles eat human flesh.", "lg": "Ggoonya zirya abantu." } }
{ "translation": { "en": "The church leader preached about the good in back to God.", "lg": "Omululembeze w'ekkanisa yabuuliridde ku bulungi obuli mu kudda eri Katonda." } }
{ "translation": { "en": "Why did you fight at school?", "lg": "Lwaki walwanira ku ssomero?" } }
{ "translation": { "en": "Some people do not have the technological knowledge needed for online learning.", "lg": "Abantu abamu tebalina magezi ga tekinologiya ageetaagibwa mu kusomera ku mutimbagano." } }
{ "translation": { "en": "The government intends to charge a two percent tax on bank withdrawals.", "lg": "Gavumenti eyagala kuggya musolo gwa bitundu bibiri ku kikumi ku ssente eziggyibwa mu bbanka." } }
{ "translation": { "en": "Our teacher told us to always clean our private parts properly.", "lg": "Omusomesa waffe yatugamba okuyonjanga ebitundu byaffe eby'ekyama obulungi." } }
{ "translation": { "en": "\"Ladies and gentlemen, we have a visitor.\"", "lg": "Bassebo ne bannyabi tulina omugenyi." } }
{ "translation": { "en": "Each tribe has its own special dishes.", "lg": "Buli ggwanga lirina emmere yaalyo ey'enjawulo." } }
{ "translation": { "en": "Added to these were a range of other initiatives.", "lg": "Ebikolebwa ebirala bingi ebyagattiddwa ku bino." } }
{ "translation": { "en": "There was a line of people waiting patiently for the bus to arrive.", "lg": "Waaliwo olunyiriri lw'abantu abaali balinze bbaasi okutuuka n'obugumiikiriza." } }
{ "translation": { "en": "Learners seat on desks during the learning process in school.", "lg": "Abayizi batuula ku ntebe nga basoma ku ssomero." } }
{ "translation": { "en": "This gives it a natural look.", "lg": "Kino kikirabisa bulungi." } }
{ "translation": { "en": "Fatal accidents are common on busy roads.", "lg": "Obubenje ddekabusa bungi nnyo ku nguuddo ezikozesebwa ennyo." } }
{ "translation": { "en": "She bought her parents a car as a present.", "lg": "Yagulidde bazadde be emmotoka ng'ekirabo." } }
{ "translation": { "en": "She wants to be popular in her village.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The government has purchased the items needed to fight against the locusts.", "lg": "Gavumenti eguze ebintu ebyetaagisa mu kulwanyisa enzige." } }
{ "translation": { "en": "We could not afford a venue for our reception.", "lg": "Twali tetusobola kusasulira kifo kya kusemberezaamu bagenyi baffe." } }
{ "translation": { "en": "A trained person is more productive at work than the unskilled.", "lg": "Omuntu omutendeke akola bulungi ku mulimu okusinga oyo atalina bumanyirivu." } }
{ "translation": { "en": "Malaria takes lives and affects pregnant women.", "lg": "Omusujja gw'ensiri gutta abantu era gukosa abakyala b'embuto." } }
{ "translation": { "en": "The new President introduced his cabinet.", "lg": "Pulezidenti omupya yayanjudde olukiiko lwe." } }
{ "translation": { "en": "Street children lack parental guidance.", "lg": "Abaana b'oku nguudo tebalina kubudaabudibwa kw'abazadde." } }
{ "translation": { "en": "How much was your piece of land?", "lg": "Ettaka lyo lyali lya ssente mmeka?" } }
{ "translation": { "en": "The suspect is detained at the police station.", "lg": "Ateeberezebwa okuzza emisango akuumirwa ku poliisi." } }
{ "translation": { "en": "What is the difference between coronavirus and influenza?", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The teacher explained the topic very well.", "lg": "Omusomesa yannyonnyola bulungi ensonga." } }
{ "translation": { "en": "The public has to be sensitised on the purposes of the city establishment.", "lg": "Abantu balina okusomesebwa ku migaso gy'okutondawo ekibuga." } }
{ "translation": { "en": "Patients are advised to go for regular checkups.", "lg": "Abalwadde bakubirizibwa okugendanga okukeberebwa." } }
{ "translation": { "en": "He constructed a wonderful flat.", "lg": "Yazimbye kkalina ennungi ." } }
{ "translation": { "en": "Our village has few tarmac roads.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "What role is played by the Anti-Corruption Unit in Uganda?", "lg": "Ekitongole ekirwanyisa obuli bw'enguzi mu Uganda kirina mulimu ki?" } }
{ "translation": { "en": "The manager said it was a day for celebration.", "lg": "Maneja yagamba nti lwali lunaku lwa kujaguza." } }
{ "translation": { "en": "All his children do not go to school because he does not have money.", "lg": "Abaana be bonna tebasoma kubanga talina ssente." } }
{ "translation": { "en": "My mother has never stopped crying.", "lg": "Mmange talekeranga kukaaba." } }
{ "translation": { "en": "The kingdom lost all its power and fame.", "lg": "Obwakabaka bwafiirwa amaanyi n'ettutumu lyabwo byonna." } }
{ "translation": { "en": "Bombs have been planted twice at our parliamentary representative's home.", "lg": "Bbomu zitegeddwa emirundu ebiri mu maka g'omukiise waffe owa paalimenti." } }
{ "translation": { "en": "My grandmother was buried in barkcloth.", "lg": "Jjajja wange baamuziika mu mbugo." } }
{ "translation": { "en": "Education programs were introduced to reduce illiteracy levels.", "lg": "Puloogulaamu z'ebyenjigiriza zaatandikibwawo okukendeeza ku butamanya kusoma na kuwandiika." } }