translation
dict
{ "translation": { "en": "Changes in policies were made to improve the business environment in Rwanda.", "lg": "Enkyukakyuka mu nkola zaakolebwa okutumbula embeera y'okukola bizinensi e Rwanda." } }
{ "translation": { "en": "It is the biggest hospital in the whole region with all the health facilities.", "lg": "Ly'eddwaliro erisinga obunene mu kitundu kyonna n'ebyobujjanjabi byonna ." } }
{ "translation": { "en": "Do not move alone at night.", "lg": "Totambula wekka kiro." } }
{ "translation": { "en": "What should be done to secure the future?", "lg": "Ki ekirina okukolebwa okuteekerateekera ebiseera by'omu maaso?" } }
{ "translation": { "en": "There are many sports games besides football.", "lg": "Waliwo emizannyo mingi ng'oggyeko omupiira gw'ebigere." } }
{ "translation": { "en": "His father died when he was two years old.", "lg": "Taata we yafa nga wa myaka ebiri." } }
{ "translation": { "en": "The community advocated for children's rights.", "lg": "Ekitundu kyatadde eddembe ly'abaana mu nkola." } }
{ "translation": { "en": "The bread got spoilt after four days.", "lg": "Omugaati gwayonooneka oluvannyuma lw'ennaku nnya." } }
{ "translation": { "en": "The teacher allowed me to enter the classroom.", "lg": "Omusomesa yanzikiriza okuyingira mu kibiina." } }
{ "translation": { "en": "She lied to us that her parents are whites.", "lg": "Yatulimba nti bazadde be bazungu." } }
{ "translation": { "en": "Police shot bullets in the air to dispelse demonstrators yesterday.", "lg": "Poliisi yakubye amasasi mu bbanga okugumbulula abeekalakaasi eggulo." } }
{ "translation": { "en": "Quarantine is now a mandate for all people coming from abroad.", "lg": "Kalantiini kati ya buwaze eri abantu bonna abava ebweru w'eggwanga." } }
{ "translation": { "en": "The price of food has increased because of the pandemic.", "lg": "Omuwendo gw'emmere gulinnye olw'ekirwadde ky'ekikungo." } }
{ "translation": { "en": "Most of the youths are unemployed.", "lg": "Abavubuka abasinga tebalina mirimu." } }
{ "translation": { "en": "Our father beat us for not cleaning the house.", "lg": "Taata yatukubira obutalongoosa nnyumba." } }
{ "translation": { "en": "Teenage pregnancies complicate the lives of girls.", "lg": "Embuto zikosa abaana abawala abatanneetuuka." } }
{ "translation": { "en": "The officials were fired over corruption allegations.", "lg": "Abakulu baagobebwa olw'ebigambibwa z'okulya enguzi." } }
{ "translation": { "en": "He helped her swim across the river.", "lg": "Yamuyambako okuwuga n'asala omugga." } }
{ "translation": { "en": "There was a photograph of our teacher in the newspaper today.", "lg": "Mu mawulire ga leero mubaddemu ekifaananyi ky'omusomesa waffe." } }
{ "translation": { "en": "We have thirty-four confirmed cases of the disease from our country.", "lg": "Tulina abantu asatu mu bana abazuuliddwamu obulwadde mu ggwanga lyaffe." } }
{ "translation": { "en": "The government encourages youths to be job creators rather than job seekers.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The hospitals in Arua have the capacity to handle covid nineteen patients.", "lg": "Amalwaliro mu Arua galina obusobozi obukwasaganya abalwadde ba covid-19." } }
{ "translation": { "en": "The girl child school drop out rate is high because of teenage pregnancies.", "lg": "Omuwendo gw'abaana abawala abawanduka mu ssomero guli waggulu olw'okufuna embuto nga tebanneetuuka." } }
{ "translation": { "en": "Leaders should activery respond to community concerns.", "lg": "Abakulembeze balina okukola ku biruma abantu." } }
{ "translation": { "en": "Uganda is the top refugee-hosting country in Africa.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Are you selling that cow?", "lg": "Ente eyo ogitunda?" } }
{ "translation": { "en": "He did not hear what you said.", "lg": "Teyawulira kye wayogera." } }
{ "translation": { "en": "She has been writing letters to her mother since she went abroad.", "lg": "Abadde awandiikira nnyina ebbaluwa okuva lwe yagenda ebweru." } }
{ "translation": { "en": "How are you going to protect her?", "lg": "Ogenda kumukuuma otya?" } }
{ "translation": { "en": "A large number of pupils worsens the learning environment.", "lg": "Omuwendo gw'abayizi omunene gwongera okwonoona embeera y'ebyokusoma." } }
{ "translation": { "en": "Graphite in batteries degrades the environment when batteries are improperly disposed", "lg": "Oluyinjayinja oluva mu manda g'amasimu lukosa nnyo embeera y'ensi buli manda ago lwe gamala gasuulibwasuulibwa." } }
{ "translation": { "en": "She completed medical fellowships in developed countries such as Uganda.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Eighty nine percent of the adults received their national identity cards in Moyo district.", "lg": "Bitundu kinaana mu mwenda ku kikumi eb'abantu abakulu baafuna endagamuntu zaabwe mu disitulikiti y'e Moyo." } }
{ "translation": { "en": "He took his vehicle from repair.", "lg": "Yatutte emmotoka ye okuddaabirizibwa." } }
{ "translation": { "en": "Most reporters are vulnerable recruits who can be taken into terrorist activities.", "lg": "Bangi ku abo abaava mu buyeekera kyangu okusendebwasendebwa okuyingira mu butujju." } }
{ "translation": { "en": "The farmers are likely to lose out.", "lg": "Abalimi bayinza okufiirizibwa." } }
{ "translation": { "en": "Every student carried a ream of paper to school at the beginning of this term.", "lg": "Buli muyizi yatutte omuzingo gw'empapula ku ssomero ku ntandikwa y'olusoma luno." } }
{ "translation": { "en": "He was the first male in the nursing school in Uganda", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Dedicate your life to serving God.", "lg": "Waayo obulamu bwo mu kuweereza Mukama." } }
{ "translation": { "en": "Parents should bless and not curse their children.", "lg": "Abazadde balina okuwa abaana baabwe emikisa mu kifo ky'okubakolimira." } }
{ "translation": { "en": "My friend was appointed commander of the Ugandan Army three years after independence.", "lg": "Mukwano gwange yalondebwa ng'omuduumizi w'eggye lya Uganda nga wayissewo emyaka esatu oluvannyuma lw'okufuna obwetwaze." } }
{ "translation": { "en": "He volunteered to give his colleagues some money.", "lg": "Yeewaayo okuwa banne ssente ezimu." } }
{ "translation": { "en": "She visited the country to see the famous elephants.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Fishermen complained about low earnings.", "lg": "Abavubi beemulugunyizza ku nnyingiza entono." } }
{ "translation": { "en": "Research shows that children learn very fast when taught in their mother language.", "lg": "Okunoonyereza kulaga nti abaana bakwata mangu nga basomeseddwa mu lulimi lwabwe oluzaaliranwa." } }
{ "translation": { "en": "Her son will graduate from the university next year.", "lg": "Mutabani we ajja kutikkirwa okuva mu yunivaasite omwaka ogujja." } }
{ "translation": { "en": "The radio plays Ugandan music only.", "lg": "Leediyo ekuba nnyimba za Bannanyuganda zokka." } }
{ "translation": { "en": "She came to the party with her mother.", "lg": "Yazze ku kabaga ne nnyina." } }
{ "translation": { "en": "My friend loves fruits.", "lg": "Mukwano gwange ayagala ebibala." } }
{ "translation": { "en": "Focus on public policy issues is a rule enforced by the Request For Proposal.", "lg": "Ekiwandiiko ekiyitibwa Request For Proposal kigendereddwa okukakasa nti essira lissibwa ku nsonga eziruma bantu." } }
{ "translation": { "en": "His brother is deaf.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The soldiers should not be accepted without question.", "lg": "Abasirikale tebasaanidde kukkirizibwa awatali kubuuzibwa bibuuzo." } }
{ "translation": { "en": "The ministry was forced to offer citizenship to mixed-race people.", "lg": "Minisitule yawalirizibwa okuwa abantu b'omusaayi omutabule obutuuze." } }
{ "translation": { "en": "People take drugs in order to feel emotionally high.", "lg": "Abantu bakozesa ebiragalalagala basobole okuba nga tebalina kutya kwonna." } }
{ "translation": { "en": "A team has been formed to inquire about forced slavery.", "lg": "Akakiiko kateekeddwawo okunoonyereza ku nsonga y'obuddu obukake." } }
{ "translation": { "en": "How did you survive the accident?", "lg": "Wawona otya akabenje?" } }
{ "translation": { "en": "She wanted to know about the Rhino.", "lg": "Yali ayagala kumanya ebikwata ku nkula." } }
{ "translation": { "en": "Some presiding officers were not paid after the general elections.", "lg": "Abalondesa abamu tebaasasulawa oluvannyuma lw'okulonda kwa bonna." } }
{ "translation": { "en": "She was charged with the offense of cyber harassment.", "lg": "Yavunaanibwa omusango gw'okukijjanya abantu ku mutimbagano." } }
{ "translation": { "en": "People rarely go for cancer screening which affects their lives.", "lg": "Abantu tebatera kugenda kwekebeza kookolo ekikosa obulamu bwabwe." } }
{ "translation": { "en": "Is their need to publicize death?", "lg": "Waliwo obwetaavu bw'okusaasaanya amawulire g'okufa?" } }
{ "translation": { "en": "What is the importance of debates in education?", "lg": "Okukubaganya ebirowoozo kwa mugaso ki mu kusoma?" } }
{ "translation": { "en": "The boy escaped from school without anyone noticing.", "lg": "Omulenzi yatoloka ku ssomero nga tewali n'omu ategedde." } }
{ "translation": { "en": "We poured water to calm down the flames of fire.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "My neighbor sells mobile phones.", "lg": "Muliraanwa wange atunda masimu." } }
{ "translation": { "en": "The people of the community should receive essentials as promised by the government.", "lg": "Abantu b'ekitundu balina okufuna ebyetaagisa nga gavumenti bwe yabasuubiza." } }
{ "translation": { "en": "We had a successful online meeting.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "She insisted on carrying out an abortion.", "lg": "Yalemera ku ky'okuggyamu olubuto." } }
{ "translation": { "en": "I will support you.", "lg": "Nja kukuwagira." } }
{ "translation": { "en": "They plan for their families while still alive.", "lg": "Bateekerateekera amaka gaabwe nga bakyali balamu." } }
{ "translation": { "en": "My mother dresses in traditional wear when going to church every Sunday.", "lg": "Maama ayambala mu nnyambala ey'obuwangwa ng'agenda ku kkanisa buli Ssande." } }
{ "translation": { "en": "I went to Makerere University for my bachelor's degree.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The conflict in the Kivu region of the Democratic Republic of Congo persisted.", "lg": "Obukuubagano mu kitundu ky'e Kivu ekya eky'Eggwanga lya Democratic Republic eya Kongo bwalemerawo." } }
{ "translation": { "en": "\"Usually, it is the male that takes over the throne in most kingdoms.\"", "lg": "Mu bwakabaka obusinga obungi abasajja be batera okusikira nnamulondo." } }
{ "translation": { "en": "I washed my clothes in the morning.", "lg": "Nayozezza engoye zange ku makya." } }
{ "translation": { "en": "She looked at him with keen interest.", "lg": "Yamutunuulira ng'ayoleka okwagala okw'amaanyi kw'amulinako." } }
{ "translation": { "en": "\"In the end, what matters is to complete the project successfully.\"", "lg": "Ku nkomerero ekikulu kwe kumaliriza omulimu obulungi." } }
{ "translation": { "en": "He left prison with scars all over his body.", "lg": "Yava mu kkomera ng'ajjudde enkovu ku mubiri ggwe gwonna." } }
{ "translation": { "en": "There is misappropriation of funds among leaders today.", "lg": "Waliwo enneeyambisa y'ensimbi etali ntuufu mu bakulembeze ba leero." } }
{ "translation": { "en": "What did you learn from that story?", "lg": "Kiki kye wayize mu lugero olwo?" } }
{ "translation": { "en": "The people in the villages keep coming to the city in search of jobs.", "lg": "Abantu b'omu byalo beeyongera okujja mu bibuga okunoonya emirimu." } }
{ "translation": { "en": "The Ugandan Table Tennis player will move to Germany for a training camp.", "lg": "Omuzannyi wa Uganda owa Table Tennis ajja kugenda okutendekebwa mu Germany." } }
{ "translation": { "en": "She went for afternoon prayers.", "lg": "Yagenze mu kusaba kw'olweggulo." } }
{ "translation": { "en": "The elections will divide the people.", "lg": "Obululu bujja kwawula abantu." } }
{ "translation": { "en": "My son has been performing poorly in class.", "lg": "Mutabani wange abaddenga akola bubi mu kibiina." } }
{ "translation": { "en": "Uganda has a few specialized doctors.", "lg": "Uganda erimu abasawo abakugu batono." } }
{ "translation": { "en": "I like eating mangoes!", "lg": "Njagala okulya emiyembe!" } }
{ "translation": { "en": "She didn't put sugar in the tea.", "lg": "Teyatadde ssukaali mu caayi." } }
{ "translation": { "en": "He wore a mask so no one would recognize him.", "lg": "Yayambala akakookolo waleme kubeerawo amutegeera." } }
{ "translation": { "en": "\"Just weeks after their father died, a new baby was born.\"", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "She believes that the rumors will spread countrywide.", "lg": "Akkiriza nti eŋŋambo zijja kusaasaanira eggwanga lyonna." } }
{ "translation": { "en": "Service delivery should be improved for better results.", "lg": "Obuweereza eri abantu buteekeddwa okulongoosebwa okufuna ebivaamu ebirungi." } }
{ "translation": { "en": "She died before she made one year.", "lg": "Yafa nga tannaweza mwaka gumu." } }
{ "translation": { "en": "Truck drivers are supposed to be tested at the border points of entry.", "lg": "Abavuzi b'ebimotoka balina okukeberebwa ku nsalo awayingirirwa." } }
{ "translation": { "en": "We use our fingers for holding things.", "lg": "Tukozesa engalo zaffe okukwata ebintu." } }
{ "translation": { "en": "Some people in this village fight each other over small issues which can be resolved easily.", "lg": "Abantu abamu ku kyalo kino balwanagana olw'obusonga obutono obusobola okugonjoolwa amangu." } }
{ "translation": { "en": "\"In other areas, the National Resistance Movement functionaries are too powerful to lose.\"", "lg": "\"Mu bitundu ebirala, abakungu ba NRM ababirimu ba maanyi nnyo era si kyangu kubawangula.\"" } }
{ "translation": { "en": "The national budget shows government expenditures.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Domestic flights will be available.", "lg": "Ennyonnyi ezibuukira wano mu ggwanga zo zijja kubaawo." } }
{ "translation": { "en": "Animals also experience pain just like humans do.", "lg": "Ebisolo nabyo birumizibwa nga bw'olaba abantu." } }