translation
dict
{ "translation": { "en": "The new Members of Parliament will be sworn in today.", "lg": "Ababaka ba palamenti abapya bajja kulayizibwa leero." } }
{ "translation": { "en": "We have two big trees in the compound.", "lg": "\"\"\"Tulina emiti ebiri eminene mu luggya lwaffe.\"\"\"" } }
{ "translation": { "en": "The committee required a commitment form.", "lg": "Akakiiko ketaaze ekiwandiiko ekikakasa okwewaayo." } }
{ "translation": { "en": "The resident district commissioner emphasized that the youths are the leaders of tomorrow.", "lg": "Omubaka w'omukulembeze w'eggwanga yakkaatiriza nti abavubuka be bakulembeze b'enkya ." } }
{ "translation": { "en": "The trip around the country will take three days.", "lg": "Olugendo okwetooloola eggwanga lyonna lujja kutwala ennaku ssatu." } }
{ "translation": { "en": "He gently stretched his injured arm.", "lg": "Yagolola mpolampola omukono gwe ogwalumizibwa." } }
{ "translation": { "en": "The landslides followed a period of unusually heavy rain in the region.", "lg": "Okubumbulukuka kw'ettaka kwaddirira nnamutikwa w'enkuba eyali talabwangako mu kitundu." } }
{ "translation": { "en": "He irrigates his crops during the dry season.", "lg": "Afukirira ebimera bye mu kiseera ky'omusana." } }
{ "translation": { "en": "Can a new administrator succeed where Bemanya has failed?", "lg": "Omukulembeze omuggya asobola okuwangula nga Bemanya alemereddwa?" } }
{ "translation": { "en": "I encourage my students to ask questions when they do not understand something in class.", "lg": "Nkubiriza abayizi bange okubuuza ebibuuzo ku bye baba batategedde mu kibiina." } }
{ "translation": { "en": "Our mathematics teacher inspired us to do better.", "lg": "Omusomesa waffe ow'okubala yatuzzaamu amaanyi okukola obulungiko." } }
{ "translation": { "en": "The court ordered the police officers to withdraw back to their barracks.", "lg": "Kkooti yalagira abapoliisi okuddayo mu bbalakisi yaabwe." } }
{ "translation": { "en": "My fashion store was named among the fastest-growing businesses in this area.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "God forgives our sins whenever we repent.", "lg": "Katonda asonyiwa ebyonoono byaffe buli lwe twenenya." } }
{ "translation": { "en": "They deployed security personnel in preparation for the party.", "lg": "Baayiye abakuuma ddembe mu kutegeka akabaga." } }
{ "translation": { "en": "Drug abuse among the youth is rampant", "lg": "Okukozesa ebiragalalagala kweyongedde mu bavubuka." } }
{ "translation": { "en": "\"The health conference theme was \"\"Reaching the Last Mile forum\"\".\"", "lg": "\"Omulamwa ku kusoma ku byobulamu gwali nti \"\"Okutuuka ku mayiro esembayo\"\"\"" } }
{ "translation": { "en": "Her mother was a television presenter and writer of cookbooks.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "I received her letter the other day.", "lg": "Ebbaluwa ye nnagifuna luli." } }
{ "translation": { "en": "She spent eighty days wandering on the streets of Kampala.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Married people usually work hard to develop financially.", "lg": "Abantu abafumbo batera okukola ennyo okukulaakulana mu byenfuna." } }
{ "translation": { "en": "Money should have been spent rightly for the project to succeed.", "lg": "Ssente zandisaasaanyiziddwa mu butuufu pulojekiti okuwangula." } }
{ "translation": { "en": "Someone woke me up when I was sleeping.", "lg": "Waliwo eyanzuukusizza nga nneebase." } }
{ "translation": { "en": "Maize prices are so low.", "lg": "Ebbeeyi ya kasooli eri wansi nnyo." } }
{ "translation": { "en": "Most of the current presidential candidates are contesting for the first time.", "lg": "Abeesimbyewo ku bwa pulezidenti abasinga bavuganya omulundi gwaabwe ogusooka." } }
{ "translation": { "en": "In Uganda six drivers tested positive for coronavirus .", "lg": "Mu Uganda abavuzi b'emmotoka mukaaga baazuuliddwamu akawuka ka kolona." } }
{ "translation": { "en": "I think the government needs to weigh the options very critically.", "lg": "Ndowooza nti gavumenti yeetaaga okwekenneenya amakubo n'obwegendereza okutuuka ebuziba" } }
{ "translation": { "en": "I have been warning you!", "lg": "Mbaddenga nkulabula!" } }
{ "translation": { "en": "China has a large population of people.", "lg": "China erimu abantu bangi nnyo." } }
{ "translation": { "en": "Youth are advised to work hard in their businesses.", "lg": "Abavubuka baweebwa amagezi okukola ennyo mu zi bizinensi zaabwe." } }
{ "translation": { "en": "Politicians are Selfish.", "lg": "Bannabyabufuzi bakodo." } }
{ "translation": { "en": "Money is the major medium of exchange in the whole world.", "lg": "Ssente ze zisinga okukozesebwa mu bugulanyi mu nsi yonna." } }
{ "translation": { "en": "May you lend five hundred thousand Uganda shillings.", "lg": "Nsaba kumpolayo mitwalo ataano egya siringi za Uganda." } }
{ "translation": { "en": "The mathematics formula confused him.", "lg": "Engeri y'okugonjoolamu ennamba y'okubala yamubuzaabuza." } }
{ "translation": { "en": "He accepted to repeat senior six after failing his final exams.", "lg": "Yakkiriza okuddamu siniya ey'omukaaga oluvannyuma lw'okugwa ebigezo bye eby'akamalirizo." } }
{ "translation": { "en": "The murderers are still unknown.", "lg": "Abatemu tebannamanyika." } }
{ "translation": { "en": "President met with his cabinet on December eighth.", "lg": "Pulezidenti yasisinkana olukiiko lwa bamanisita nga munaana mu Ntenvu." } }
{ "translation": { "en": "I wish I knew everything about music production.", "lg": "Singa nnali mmanyi byonna ebikwata ku kufulumya ennyimba." } }
{ "translation": { "en": "Uganda exports its goods and products in neighbouring countries.", "lg": "Uganda etunda ebyamaguzi mu nsi ezigiriraanye." } }
{ "translation": { "en": "He was born on new year's day.", "lg": "Yazaalibwa ku lunaku olusooka ku mwaka." } }
{ "translation": { "en": "The police fired several bullets into the air to disperse the crowd.", "lg": "Poliisi yakuba amasasi mangi mu bbanga okusobola okusaasaanya ekibinja." } }
{ "translation": { "en": "He was arrested for selling stolen fish.", "lg": "Yakwatiddwa lwa kutunda ebyennyanja ebibbe." } }
{ "translation": { "en": "Politicians spend a lot of money during the campaigning period.", "lg": "Bannabyabufuzi basaasaanya ensimbi nnyingi nnyo mu kiseera ky'okunoonya akalulu." } }
{ "translation": { "en": "The performance in this year's examination is the best the school has recorded.", "lg": "Obubonero bw'ebigezo by'omwaka guno bwe bukyasinzeeyo obulungi essomero lye bwali bufunye." } }
{ "translation": { "en": "That school has decided to stop participating in national tennis competitions.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Increased household income leads to improved standards of living.", "lg": "Enyingiza y'awaka bwe yeyongera ky'ongera ku mutindo gw'obulamu ewaka." } }
{ "translation": { "en": "All civil servants received an annual increase in salary.", "lg": "Abakozi ba gavumenti bonna baayongezebwa omusaala ogwa buli mwaka." } }
{ "translation": { "en": "People who are always sad grow old quickly.", "lg": "Abantu abatera okubeera nga banakuwavu bakaddiwa mangu." } }
{ "translation": { "en": "She narrated her childhood story.", "lg": "Yanyumya emboozi y'obuto bwe." } }
{ "translation": { "en": "There is an ongoing football competition.", "lg": "Waliwo empaka z'omupiira gw'ebigere ezizannyibwa." } }
{ "translation": { "en": "How did the current government of Uganda come into power?", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Our protests about these malpractices have not been successful.", "lg": "Twagezaako okulwanyisa ebikolwa ebyo ebitali bituufu naye ne tulemererwa." } }
{ "translation": { "en": "We shall have basketball competitions on Saturday.", "lg": "Tujja kuba n'empaka z'ensero Olwassande." } }
{ "translation": { "en": "She was washing her clothes.", "lg": "Yali ayoza ngoye ze." } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "She appreciated her parents for supporting him financially at the time he didn't have a job.", "lg": "Yasiima bazadde be olw'okumuyamba mu byenfuna mu kiseera we yabeerera nga talina mulimu." } }
{ "translation": { "en": "\"The twins confuse me, I can hardly differentiate them.\"", "lg": "Abalongo bambuzaabuza era kinzibuwalira okubaawula." } }
{ "translation": { "en": "We cannot all be the same.", "lg": "Ffenna tetusobola kufaanagana." } }
{ "translation": { "en": "The two brothers sit at the same desk in class.", "lg": "Abooluganda ababiri abalenzi batuula ku ntebe y'emu mu kibiina." } }
{ "translation": { "en": "Our worry is based on the misuse of office by the leader.", "lg": "Obweraliikirivu bwaffe businziira ku mukulembeze okukozesa obubi woofiisi." } }
{ "translation": { "en": "Water bodies attract tourists to the country.", "lg": "Ebifo by'amazzi bisikiriza abalambuzi okujja mu ggwanga." } }
{ "translation": { "en": "The increase in productivity has allowed Rwanda to become a food secure country.", "lg": "Amakungula okweyongera kisobozesezza Rwanda okufuuka eggwanga eririna emmere emala." } }
{ "translation": { "en": "The spokesman said some of their colleagues were involved in an accident.", "lg": "Omwogezi yagamba nti bannaabwe abamu baafuna akabenje." } }
{ "translation": { "en": "\"Nineteen years later, Winnie appears to have been prophetic on both counts.\"", "lg": "\"Emyaka kkumi na mwenda oluvannyuma, Winnie alabise okuba nga yateebereza ku bintu byombi.\"" } }
{ "translation": { "en": "\"The rebels continued their advance, intending to take Gulu.\"", "lg": "Abayeekera beeyongera mu maaso nga baluubirira okweddiza Gulu." } }
{ "translation": { "en": "We shall make sure that you feel comfortable in your room.", "lg": "Tujja kukakasa nti owulira emirembe mu kisenge kyo." } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "He defeated his opponents in the elections.", "lg": "Yamezze abamuvuganya mu kulonda." } }
{ "translation": { "en": "I worked for ten years without resting.", "lg": "Nakolera emyaka kkumi nga siwummula." } }
{ "translation": { "en": "There are increasing cases of violence throughout Uganda.", "lg": "Waliwo okweyongera kw'emisango gy'obutabanguko mu Uganda mwonna." } }
{ "translation": { "en": "Sudan needs international assistance.", "lg": "Sudan yeetaaga obuyambi okuva mu mawanga ag'ebweru." } }
{ "translation": { "en": "Lungs help us in breathings.", "lg": "Amawuggwe gatuyamba mu kussa." } }
{ "translation": { "en": "Beans are a body-building food.", "lg": "Ebijanjaalo mmere ezimba omubiri." } }
{ "translation": { "en": "My only complaint about the house is the wooden floor.", "lg": "Ekintu kyokka kye saagala ku nnyumba yange kwe kuba nti wansi baateekawo mbaawo." } }
{ "translation": { "en": "The government recruited more health workers in rural areas.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "She did not tell her boss the truth.", "lg": "Mukamaawe teyamugamba mazima." } }
{ "translation": { "en": "Men have been affected by coronavirus more than women.", "lg": "Abasajja bakoseddwa akawuka ka ssennyiga kolona okusinga abakyala." } }
{ "translation": { "en": "Tourists always come to visit Uganda.", "lg": "Bulijjo abalambuzi bajja okulambula Uganda." } }
{ "translation": { "en": "Tobacco is very dangerous to our health.", "lg": "Taaba wa bulabe nnyo eri obulamu bwaffe." } }
{ "translation": { "en": "Their family is united.", "lg": "Amaka gaabwe gali bumu." } }
{ "translation": { "en": "The best performing student was rewarded by the committee.", "lg": "Omuyizi eyasinga okukola obulungi yaweebwa ekirabo okuva eri akakiiko." } }
{ "translation": { "en": "She counted the votes.", "lg": "Yabala obululu." } }
{ "translation": { "en": "Archdeacons are church ministers.", "lg": "Bassaabadinkoni baminisita ba kkanisa." } }
{ "translation": { "en": "People are ready to fight and will not be intimidated.", "lg": "Abantu beetegefu okulwana era tebajja kutiisibwatiisibwa." } }
{ "translation": { "en": "Our workers did not follow the law in buying the new machine.", "lg": "Abakozi baffe tebaagoberera mateeka nga bagula ekyuma ekipya." } }
{ "translation": { "en": "You shouldn't speak at the same time as your elders.", "lg": "Tolina kwogerera kumu ne bakulu bo." } }
{ "translation": { "en": "People celebrate birthdays differently.", "lg": "Abantu bajaguza amazaalibwa mu ngeri ya njawulo." } }
{ "translation": { "en": "The government intends to vaccinate twenty-two million Ugandans.", "lg": "Gavumenti erina ekiruubirirwa eky'okugema Bannayuganda obukadde abiri mu bubiri." } }
{ "translation": { "en": "Other country teams participated in the tournament.", "lg": "Ttiimi z'ensi endala zeetabye mu mpaka." } }
{ "translation": { "en": "The senior officers took the lead in receiving their bodies.", "lg": "Ba ofiisa abakulu be baakulemberamu okufuna emirambo gyabwe." } }
{ "translation": { "en": "I take my children to ice cream every weekend.", "lg": "Abaana bange mbatwaala okulya ayisi kkuliimu buli wiikendi." } }
{ "translation": { "en": "Understaffed schools will receive more equipment.", "lg": "Amassomero agalina abakozi abatono gajja kufuna ebikozesebwa ebirala." } }
{ "translation": { "en": "I found a squirrel in our cassava garden.", "lg": "Nasanze kaamuje mu nnimiro yaffe eya muwogo." } }
{ "translation": { "en": "He came fifth in the half marathon.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "A team of men helped to push my car out of a pothole.", "lg": "Ekibinja ky'abasajja kyayambyeko okusindika emmotoka yange okuva mu kinnya." } }
{ "translation": { "en": "This book belongs to my friend.", "lg": "Kino ekitabo kya mukwano gwange." } }
{ "translation": { "en": "Cats catch rats and eat them.", "lg": "\"\"\"Kkapa zikwata emmese ne zizirya.\"" } }
{ "translation": { "en": "He left the meeting in total anger.", "lg": "Yava mu lukungaana nga musunguwavu nnyo." } }
{ "translation": { "en": "Steps are being taken to improve sanitation.", "lg": "Emitendera gikolebwa okutumbula ebyobulamu." } }
{ "translation": { "en": "The vendors complained about the lack of clean water in the market.", "lg": "Abatunzi beemugulunyizza ku bbula ly'amazzi amayonjo mu katale." } }