translation
dict
{ "translation": { "en": "How many acres do you have?", "lg": "Olina yiika mmeka?" } }
{ "translation": { "en": "It is wise to pay workers after they have performed their roles.", "lg": "Kya magezi okusasula abakozi nga bamalirizza emirimu gyabwe." } }
{ "translation": { "en": "The brothers were fighting over their inheritance.", "lg": "Ab'oluganda baali balwanira eby'obusika bwabwe." } }
{ "translation": { "en": "New leadership is needed for countries to develop further.", "lg": "Amawanga gaba geetaaga abakulembeze abapya okusobola okweyongera okukulaakulana." } }
{ "translation": { "en": "Her son was arrested for fraud yesterday.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Uganda's population increases every year.", "lg": "Omuwendo gw'abantu mu Uganda gweyongera buli mwaka." } }
{ "translation": { "en": "I made more friends last year.", "lg": "Nnakola emikwano mingi omwaka oguwedde." } }
{ "translation": { "en": "I live with my grandmother.", "lg": "Mbeera ne jjajjange omukazi." } }
{ "translation": { "en": "What are some of the tools found in a first aid box?", "lg": "Ebimu ku bintu ebisangibwa mu kasanduuko akabaamu obujjanjabi obusookerwa bye biruwa?" } }
{ "translation": { "en": "She thought fake test results would help her secure the trust of her partner.", "lg": "Yalowooza nti ebivudde mu kukebera ebiraga nti si mulwadde bijja kumuyamba okuwangula obwesigwa bwa muganzi we." } }
{ "translation": { "en": "They collected firewood from the forest.", "lg": "Baasennya enku mu kibira." } }
{ "translation": { "en": "She displayed the shoes for sale on a shelf.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "We need to eat food so that our bodies can have energy.", "lg": "Twetaaga okulya emmere emibiri gyaffe gisobole okuba n'amaanyi." } }
{ "translation": { "en": "Uncle has gone to harvest his maize.", "lg": "Kkojja/kitange omuto agenze kukungula kasooli we." } }
{ "translation": { "en": "That man was accused of defiling his nieces at the time when their mother was abroad.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The ministry should ensure a ready market for agricultural produce.", "lg": "Minisitule erina okunoonya akatale k'ebikungulibwa." } }
{ "translation": { "en": "His name was not on the list.", "lg": "Erinnya lye teryali ku lukalala." } }
{ "translation": { "en": "\"\"\"He helped her understand the topic.\"\"\"", "lg": "\"\"\"Yamuyambako okutegeera omutwe.\"\"\"" } }
{ "translation": { "en": "Is it normal for businessmen to get loans from the bank?", "lg": "Kya bulijjo abasuubuuzi okwewola mu bbanka?" } }
{ "translation": { "en": "They will not be allowed to operate anymore.", "lg": "Tebajja kukkirizibwa kuddamu kukola." } }
{ "translation": { "en": "The medicine has side effects.", "lg": "Eddagala lirina engeri gye liyisa obubi omuntu." } }
{ "translation": { "en": "He helped me to carry a sack of charcoal to my store.", "lg": "Yannyamba okunsitulirako ensawo y'amanda okugitwala mu ggwanika lyange." } }
{ "translation": { "en": "All of us shall attend the football match.", "lg": "Ffenna tujja kubaayo ku mupiira gw'ebigere." } }
{ "translation": { "en": "Can't you even recognize my voice?", "lg": "Tosobola na kutegeera ddoboozi lyange!" } }
{ "translation": { "en": "The government called for efforts to promote the production of nontraditional agricultural exports.", "lg": "Gavumenti yakubiriza abantu okutumbula okulima ebirime ebitali binnansi bitundibwe ebweru w'eggwanga." } }
{ "translation": { "en": "Health workers will have a training course to improve their knowledge.", "lg": "Abeebyobulamu bajja kutendekebwa okutumbula okumanya kwabwe." } }
{ "translation": { "en": "Nor do they bother with another supposed fact.", "lg": "Era tebafuddeyo na ku birala ebireeteddwa ng'obukakafu." } }
{ "translation": { "en": "The employees were tired of the manual check-in system", "lg": "Abakozi baali bakooye enkola y'okwewandiisa mu bitabo nga batuuse ku mulimu." } }
{ "translation": { "en": "I know what they mean.", "lg": "Mmanyi kye bategeeza." } }
{ "translation": { "en": "Some land is reserved for road construction.", "lg": "Ettaka erimu lirekebwa okuzimbibwako oluguudo." } }
{ "translation": { "en": "My sister saved money to buy herself a new dress.", "lg": "Muganda wange/mwannyinaze yatereka ssente asobole okwegulirayo ekiteeteeyi ekipya." } }
{ "translation": { "en": "The signing asserted that Onduparaka is not afraid of KCCA.", "lg": "Okumuwandiisa kwakakasa nti Onduparaka tetidde ttiimu ya Kampala Capital City Authority." } }
{ "translation": { "en": "Many residents were left homeless.", "lg": "Abatuuze bangi baasigala tebalina wa kusula." } }
{ "translation": { "en": "The campaign season was characterized by riots and fear.", "lg": "Ekiseera kya kkampeyini kyalimu obusamaaliriro n'okutya." } }
{ "translation": { "en": "I haven't heard from your brother since January last year.", "lg": "Okuva mu mwezi gw'olubereberye omwaka oguwadde siddangamu kuwulira bifa ku muganda wo." } }
{ "translation": { "en": "Students have been told to stay home until coronavirus cases reduce.", "lg": "Abayizi bagambiddwa basigale ewaka okutuusa ng'omuwendo gw'abantu abalina akawuka ka kkolona gukendedde." } }
{ "translation": { "en": "He encouraged people to work together in the age-limit campaign.", "lg": "Yakubiriza abantu okukolera awamu mu kkampeyini y'ekkomo ku myaka." } }
{ "translation": { "en": "I do not make money deals with unfaithful people.", "lg": "Sitema mpenda za ssente na bantu abatali beesigwa." } }
{ "translation": { "en": "We were stuck in jam for hours because of the accident.", "lg": "Twamala essaawa eziwera mu kalippagano k'ebidduka olw'akabenje akaagwawo." } }
{ "translation": { "en": "His brother is also in prison.", "lg": "Mugandawe naye ali mu kkomera." } }
{ "translation": { "en": "Some officials use government vehicles for leisure purposes.", "lg": "Abakungu ba gavumenti abamu bakozesa mmotoka za gavumenti mu byabwe." } }
{ "translation": { "en": "Sarah Ngororana described working on the milestone issue as an honor.", "lg": "Sarah Ngororano yalaze ng'okukola ku muzingo ogusembayo bwe kiri ekyekitiibwa." } }
{ "translation": { "en": "\"He has worked in, and with, African countries all through his professional career.\"", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "He did not like her dress code.", "lg": "Teyayagala nnyambala ye." } }
{ "translation": { "en": "I buy popcorn for my children every day.", "lg": "Abaana bange mbagulira emberenge embaluse buli lunaku." } }
{ "translation": { "en": "There are many women dealing with engineering nowadays.", "lg": "Waliyo abakyala bangi abakolagana mu bwa yinginiya nnaku zino." } }
{ "translation": { "en": "People were advised to have collective efforts towards managing farms.", "lg": "Abantu baakubirizibwa okukolera awamu okusobola okuddukanya zi ffaamu." } }
{ "translation": { "en": "I have a lot on my mind.", "lg": "Nnina bingi bye ndowoozaako." } }
{ "translation": { "en": "Our opponents received a point when I kicked the ball into our goalpost.", "lg": "Abatuvuganya baafuna akabonero bwe nateeba omupiira mu ggoolo yaffe." } }
{ "translation": { "en": "Her mother is proud of her.", "lg": "Nnyina amwenyumiririzaamu." } }
{ "translation": { "en": "Three people drowned in River Nile during the festive season.", "lg": "Abantu basatu babbira mu mugga Nayiro mu biseera by'nnaku enkulu." } }
{ "translation": { "en": "People will be displaced from the area.", "lg": "Abantu bajja kusengulwa okuva mu kitundu." } }
{ "translation": { "en": "He has not completed his math assignment.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "He irrigated his cabbage garden since it had not rained for a long time.", "lg": "Yafukirira ennimiro ye ey'emboga engeri enkuba gye yali emaze ebbanga eddene nga tetonnya." } }
{ "translation": { "en": "My parents want me to first get married traditionally before giving birth.", "lg": "Bazadde bange baagala nsooke nfumbizibwe mu ngeri y'obuwangwa nga ssinnazaala mwana." } }
{ "translation": { "en": "\"In Uganda, each district has a woman member of parliament.\"", "lg": "\"Mu Uganda, buli disitulikiti erina omubaka omukyala agikiikirira mu paalamenti.\"" } }
{ "translation": { "en": "Most good just pass through Uganda to its other neighbours", "lg": "Ebyamaguzi ebisinga biyita buyisi mu Uganda ne bigenda mu baliranwa baayo abalala." } }
{ "translation": { "en": "He failed to complete all his duties at work.", "lg": "Yalemeddwa okumaliriza emirimu gye ku mulimu." } }
{ "translation": { "en": "I have bought a new phone.", "lg": "Nguze essimu empya." } }
{ "translation": { "en": "The goat has eaten the piece of soap that was here.", "lg": "Embuzi eridde ekitole kya ssabbuuni ekibadde wano." } }
{ "translation": { "en": "The groups have made timery repayments.", "lg": "Ebibiina bisasulidde mu budde." } }
{ "translation": { "en": "You are the pride of this family.", "lg": "Ggwe asinga okwagalibwa mu maka gano." } }
{ "translation": { "en": "The town council closed a number of markets because of poor toilet facilities.", "lg": "Akakiiko k'ekibuga kaggala obutale obuwelako olwa kaabuyonjo embi." } }
{ "translation": { "en": "He was sent to Senegal as a prisoner.", "lg": "Yasindikibwa e Senego ng'omusibe." } }
{ "translation": { "en": "The deceased was described as a uniting factor in the church.", "lg": "Omugenzi yayogerwako nga entabiro y'obumu mu kkanisa." } }
{ "translation": { "en": "The wife and the driver were also injured in the shooting.", "lg": "Mukyala we ne dereeva nabo baatuusibwako ebisago." } }
{ "translation": { "en": "I am curious about the kind of work she does.", "lg": "Mpulira nga njagala okumanya kika kye'omulimu gw'akola." } }
{ "translation": { "en": "Families that were attacked were given the maximum security.", "lg": "Amaka agaalumbwa gaaweebwa obukuumi obumala." } }
{ "translation": { "en": "He told them to pay their rent on time.", "lg": "Yabagamba basasulire ssente zaabwe ez'obupangisa mu budde." } }
{ "translation": { "en": "We believe the meeting will allow us to come up with a clear understanding of the regulations.", "lg": "Tusuubira nti olukungaana olwo lujja kutusobozesa okutegeera obulungi amateeka." } }
{ "translation": { "en": "The church gave money to some of its members who lost their jobs to the pandemic.", "lg": "Ekkanisa yawa abamu ku ba mmemba baayo abaafiirwa emirimu mu kiseera ky'ekirwadde ky'ekikungo." } }
{ "translation": { "en": "People often seek for justice in courts of law.", "lg": "Abantu batera okunoonya obwenkanya mu mbuga z'amateeka." } }
{ "translation": { "en": "How can the government improve the liverihood of veterans?", "lg": "Gavumenti eyinza kutumbukla etya embera z'obulamu bw'abaazirwanako?" } }
{ "translation": { "en": "Talents can be a good way to get the youth out of poverty.", "lg": "Ebitone liyinza okuba ekkubo eddungi okuggya abavubuka mu bwavu." } }
{ "translation": { "en": "Uganda's Ministry of Foreign Affairs delivered a diplomatic protest in November.", "lg": "Ekitongole kya Uganda ekikola ku nsonga z'amawanga amalala kyafulumya obutali bumativu bwakyo mu butongole mu gwekkumi n'ogumu" } }
{ "translation": { "en": "The thieves use better techniques than the police.", "lg": "Ababbi bakozesa obukodyo obw'amaanyi okusinga poliisi." } }
{ "translation": { "en": "He was signed by the Vipers football club to play football.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "He does not know how to knot a tie.", "lg": "Tamanyi kusiba ttaayi." } }
{ "translation": { "en": "Theft is rampant in Kampala city and peri-urban areas.", "lg": "Obubbi bungi nnyo mu Kampala n'ebibuga ebitonotono." } }
{ "translation": { "en": "Buildings tend to depreciate over time.", "lg": "Ebizimbe bikaddiwa oluvannyuma lw'ebbanga." } }
{ "translation": { "en": "My sister is a qualified lawyer.", "lg": "Mwannyinaze/muganda wange munnamateeka eyakuguka." } }
{ "translation": { "en": "The troublesome group will face jail time.", "lg": "Ekibinja ekivaako obutabanguko kijja kumala ebbanga mu kkomera." } }
{ "translation": { "en": "Water helps to cool the body and maintain a normal temperature.", "lg": "Amazzi gayamba okukkakkanya omubiri n'okukuuma ebbugumu ery'ekigero." } }
{ "translation": { "en": "The patient needs to eat some fruits.", "lg": "Omulwadde yeetaaga okulya ku bibala." } }
{ "translation": { "en": "It is risky to walk in the bush all by yourself.", "lg": "Kya bulabe okutambulira mu nsiko ng'oli wekka." } }
{ "translation": { "en": "Farmers are misusing funds given to them by the government to help them improve on their farming ways.", "lg": "\"Abalimi n'abalunzi beeyambisa bubi ssente ezibaweebwa gavumenti mu kubayamba okutumbula ebyobulimi n'obulunzi bwabwe,\"" } }
{ "translation": { "en": "He said he was picked by fighters and taken to the mountains for training.", "lg": "Yagamba nti abalwanyi baamunona ne bamutwala mu nsozi okutendekebwa." } }
{ "translation": { "en": "We managed to solve our family disputes.", "lg": "Twasobola okugonjoola ennyombo ezaali mu maka gaffe." } }
{ "translation": { "en": "Let us wait and see what will happen.", "lg": "Ka tulinde tulabe ekinaabaawo." } }
{ "translation": { "en": "There are many Catholic Churches today.", "lg": "Ennaku zino Ekleziya nnyingi." } }
{ "translation": { "en": "The referee canceled their goal.", "lg": "Ddifiiri yasazaamu ggoolo yaabwe." } }
{ "translation": { "en": "The organization continuously conducts unusual operations despite their nature being prohibited by the law.", "lg": "Ekitongole kigenda mu maaso n'okukola emirimu egitali gya bulijjo newankubadde nga engeri gye kikolamu tekkirizibwa mu mateeka." } }
{ "translation": { "en": "Money should be spent for the right purpose with accountability.", "lg": "Ssente zirina okusaasaanyizibwa ku kintu ekituufu era n'ensaasaanya eragibwe." } }
{ "translation": { "en": "Everyone will have peace in the country if the new rule is accepted.", "lg": "Buli omu ajja kuba n'emirembe mu ggwanga singa etteeka eppya likkirizibwa." } }
{ "translation": { "en": "People will engage in business activities as a result of infrastructural development .", "lg": "Abantu bajja kwenyigira mu mirimu gya bizinensi nga kiva mu kutumbula enkulaakulana." } }
{ "translation": { "en": "She made two million Uganda shillings from her soya bean harvest.", "lg": "Yakola obukadde bubiri obwa siringi za Uganda mu makungula ge aga soya." } }
{ "translation": { "en": "The agenda for today's meeting includes a speech from the founder of the company.", "lg": "Enteekateeka y'olukiiko lwa leero erimu okwogera kw'omutandisi wa kkampuni." } }
{ "translation": { "en": "The aid to the rebels was cut off.", "lg": "Abayeekera baasalibwako obuyambi." } }
{ "translation": { "en": "Everyone at the workplace was required to wear a mask.", "lg": "Buli muntu ku mulimu kyali kimwetaagisa okwambala akakookolo." } }
{ "translation": { "en": "She has been struggling to provide for her children since her husband died.", "lg": "Abaddenga alafuubana okulabirira abaana be okuva bba lwe yafa." } }