translation
dict |
---|
{
"translation": {
"en": "Child abuse still exists in our committees.",
"lg": "Okutyoboola eddembe ly'abaana kukyaliwo mu bitundu byaffe."
}
} |
{
"translation": {
"en": "People should know that health is wealth.",
"lg": "Abantu balina okumanya nti obulamu bwe bugagga."
}
} |
{
"translation": {
"en": "I have a big problem.",
"lg": "Nnina ekizibu eky'amaanyi."
}
} |
{
"translation": {
"en": "Many students have dropped out of school due to their parents' negligence.",
"lg": "Abayizi bangi bawanduse mu ssomero olw'okulagajjaliwa bazadde baabwe."
}
} |
{
"translation": {
"en": "The opponent was crowned as the victor.",
"lg": "Avuganya yalangirirwa ng'omuwanguzi."
}
} |
{
"translation": {
"en": "He placed his seat next to hers.",
"lg": "Yamuliraanya akatebe ke."
}
} |
{
"translation": {
"en": "Men are really respected.",
"lg": "Abasajja mu butuufu bassibwamu ekitiibwa."
}
} |
{
"translation": {
"en": "Political parties need to empower their members.",
"lg": "Ebibiina by'obufuzi byetaaga okuwa bannabibiina amaanyi."
}
} |
{
"translation": {
"en": "Agrarian societies have values and norms.",
"lg": "Abalimi balina emiramwa n'obulombolombo."
}
} |
{
"translation": {
"en": "The face mask should cover the mouth and the nose.",
"lg": "Masiki erina okubikka ku mimwa ne ku nnyindo."
}
} |
{
"translation": {
"en": "The president encouraged us to wear masks to avoid infecting other people with the coronavirus.",
"lg": "nan"
}
} |
{
"translation": {
"en": "What is the name of the teacher that you want to see?",
"lg": "Erinnya ly'omusomesa gw'oyagala okulaba y'ani?"
}
} |
{
"translation": {
"en": "The public has a right to participate in elections.",
"lg": "Abantu baddembe okwenyigira mu kulonda."
}
} |
{
"translation": {
"en": "My sister wanted to tell me something in private.",
"lg": "Muganda wange alina kye yali ayagala okumbuulira mu kyama."
}
} |
{
"translation": {
"en": "The man kept the information from the people that need it.",
"lg": "Omusajja yakweka obubaka okuva eri abantu ababwetaaga."
}
} |
{
"translation": {
"en": "The ice has melted.",
"lg": "Bbalaafu asaanuuse."
}
} |
{
"translation": {
"en": "Social media tax was imposed by the government.",
"lg": "Omusolo gw'emikutu emigattabantu gwateekebwawo gavumenti."
}
} |
{
"translation": {
"en": "The protestors caused havoc when they started to break the shop windows.",
"lg": "Abeegugunzi baleetawo akavuyo bwe baatandika okumenya amadirisa g'amaduuka."
}
} |
{
"translation": {
"en": "Twenty-one military agreements were signed in the last five years between Russia and Africa.",
"lg": "Endagaano z'ekinnamagye abiri mu emu zezassibwako omukono mu myaka etaano egiyise wakati wa Russia ne Afirika."
}
} |
{
"translation": {
"en": "She was evicted from her home as it was in the new road's way.",
"lg": "Yasengulwa okuva mu maka ge olw'okuba ekkubo eppya we lyali liyita."
}
} |
{
"translation": {
"en": "She represented her country in the marathon at the 2012 Olympics.",
"lg": "nan"
}
} |
{
"translation": {
"en": "Fishing is one of the major economic activities in Uganda.",
"lg": "Obuvubi gwe gumu ku mirimu emikulu egikolebwa abantu mu Uganda."
}
} |
{
"translation": {
"en": "The fight against the age limit bill continues.",
"lg": "Olutalo lukyagenda mu maaso ku bbago ly'etteeka erikwata ku kussa ekkomo ku myaka."
}
} |
{
"translation": {
"en": "It is disputed whether the group received actual support from the Sudanese leadership.",
"lg": "Kitankanibwa oba ng'ekibiina kyafuna obuwagizi obwa nnamaddala okuva mu bukulembeze bwa Sudan."
}
} |
{
"translation": {
"en": "Some people are not reriable.",
"lg": "Abantu abamu tebeesigamwako."
}
} |
{
"translation": {
"en": "The legislators are still held in prison.",
"lg": "Abateekamateeka bakyakuumirwa mu kkomera."
}
} |
{
"translation": {
"en": "The main aim of the Global Fund is to end epidemics in the world.",
"lg": "Ekigendererwa ekikulu ekya Global Fund kwe kufufuggaza nawookeera w'ebirwadde mu nsi yonna."
}
} |
{
"translation": {
"en": "Some people deliberately refused to vote during the presidential elections.",
"lg": "Abantu abamu baagaana okulonda mu bugenderevu mu kalulu k'obwa pulezidenti."
}
} |
{
"translation": {
"en": "He was shocked at the death of his brother.",
"lg": "Yeekanga olw'okufa kwa mugandawe."
}
} |
{
"translation": {
"en": "My brother loves football.",
"lg": "Muganda wange ayagala nnyo omupiira ogw'ebigere."
}
} |
{
"translation": {
"en": "I grew fruits and vegetables in my garden.",
"lg": "Nnalima ebibala n'enva endiirwa mu nnimiro yange."
}
} |
{
"translation": {
"en": "I will go to church tomorrow.",
"lg": "Nja kugenda ku kkanisa enkya."
}
} |
{
"translation": {
"en": "The Minister of Health inspected the hospitals in Northern Uganda.",
"lg": "Minisita w'Ebyobulamu yalambula amalwaliro g'Obukiikakkono bwa Uganda."
}
} |
{
"translation": {
"en": "Do you have your handkerchief with you?",
"lg": "Akatambaala ko oli nako?"
}
} |
{
"translation": {
"en": "There were disappointing results in the transport sector.",
"lg": "Waliwo ebitaatambula bulungi mu by'entambula."
}
} |
{
"translation": {
"en": "Teachers did not teach the students all through the year.",
"lg": "Abasomesa tebaasomesa bayizi okumalako omwaka gwonna."
}
} |
{
"translation": {
"en": "Domestic violence ended after reporting her husband to local authorities.",
"lg": "Omwami we yalekera awo okumutulugunya oluvannyuma lw'okumuloopa mu b'obuyinza."
}
} |
{
"translation": {
"en": "She is the daughter of a famous pianist.",
"lg": "nan"
}
} |
{
"translation": {
"en": "Other waterways in Uganda do not carry commercial traffic.",
"lg": "Amazzi amalala mu Uganda tegatambulizibwako byamaguzi."
}
} |
{
"translation": {
"en": "People cannot access loans from banks.",
"lg": "Abantu tebasobola kwewola mu banka."
}
} |
{
"translation": {
"en": "The minister has announced plans to distribute computers in all public schools in the country.",
"lg": "Minisita alangiridde enteekateeka z'okugaba kompyuta mu masomero ga gavumenti gonna mu ggwanga."
}
} |
{
"translation": {
"en": "He will be the youngest runner in the race.",
"lg": "Y'ajja okubeera omuddusi asinga obuto mu lwokaano."
}
} |
{
"translation": {
"en": "The team discovered that the storm destroyed the whole stadium.",
"lg": "Ttiimu yakizuula nti omuyaga gwayonoona ekisaawe kyonna."
}
} |
{
"translation": {
"en": "She went to bed so happy.",
"lg": "Yagenda mu buliri okwebaka nga musanyufu nnyo."
}
} |
{
"translation": {
"en": "\"Information sharing ,knowledge acquisition and life skills are important life goals.\"",
"lg": "\"Okuwanyisiganya obubaka, okufuna amagezi n'obukugu bya mugaso nnyo mu bulamu bwaffe.\""
}
} |
{
"translation": {
"en": "The city authorities increased the property tax rates.",
"lg": "Abafuga ekibuga baayongeza omusolo gw'ebizimbe."
}
} |
{
"translation": {
"en": "Local leaders have set up courts to handle simple cases at a village level.",
"lg": "Abakulembeze b'ebyalo bataddewo kkooti z'ebyalo okukola ku misango emitonotono."
}
} |
{
"translation": {
"en": "The town centre is not secure enough.",
"lg": "Ekibuga si kitebenkevu ekimala."
}
} |
{
"translation": {
"en": "People are encouraged to plant trees.",
"lg": "Abantu bakubirizibwa okusimba emiti."
}
} |
{
"translation": {
"en": "She is researching the king's names.",
"lg": "Anoonyereza ku mannya ga kabaka."
}
} |
{
"translation": {
"en": "These solar panels can light up the entire hospital.",
"lg": "Embaati z'amasannyalaze g'enjuba zino zisobola okwakisa eddwaliro lyonna."
}
} |
{
"translation": {
"en": "Garbage stinks when rotten.",
"lg": "Kasasiro awunya ng'avunze."
}
} |
{
"translation": {
"en": "She began her report with the examination's story.",
"lg": "Yatandika alipoota ye n'olugero lw'ebigezo."
}
} |
{
"translation": {
"en": "The religious leaders met to look into the issue.",
"lg": "Abakulembeze b'enzikiriza baasisinkana okutunula mu nsonga."
}
} |
{
"translation": {
"en": "Children should always wash their hands in order to prevent Hepatitis E infection",
"lg": "Abaana bateekeddwa okunaaba mu ngalo bulijjo basobole okwewala ekirwadde kya Hepatitis E."
}
} |
{
"translation": {
"en": "Why would the diocese be split?",
"lg": "Lwaki obulabirizi bwawulwamu?"
}
} |
{
"translation": {
"en": "The bank celebrates twenty-five years of existence.",
"lg": "nan"
}
} |
{
"translation": {
"en": "The surveillance system is being strengthened.",
"lg": "Omuyungiro gw'obukessi gunywezeddwa."
}
} |
{
"translation": {
"en": "Most political players are leaders.",
"lg": "Abeenyigidde mu by'obufuzi abasinga bakulembeze."
}
} |
{
"translation": {
"en": "Why should commemoration activities be done?",
"lg": "Lwaki emirimu gy'okujjukiranga girina okukolebwa?"
}
} |
{
"translation": {
"en": "I do not know how to swim.",
"lg": "Simanyi kuwuga."
}
} |
{
"translation": {
"en": "A civilian is scheduled to appear in the military court.",
"lg": "Omuntu wa bulijjo ajja kulabikako mu kkooti y'amagye."
}
} |
{
"translation": {
"en": "What are we celebrating?",
"lg": "Tujaguza ki?"
}
} |
{
"translation": {
"en": "Where did you start?",
"lg": "Watandikira wa?"
}
} |
{
"translation": {
"en": "Have you talked to the players?",
"lg": "Oyogeddeko n'abazannyi?"
}
} |
{
"translation": {
"en": "Individual contributions from members keep the club running.",
"lg": "Okuwaayo kwa bammemba kikuuma ekibiina nga kigenda mu maaso."
}
} |
{
"translation": {
"en": "He was shot and killed last month.",
"lg": "Yakubwa essasi n'attibwa omwezi oguwedde."
}
} |
{
"translation": {
"en": "One year of service made him popular and a political idle attracting large gatherings.",
"lg": "Omwaka ogumu mu buweereza gwamufuula omuganzi n'ekyokulabirako mu byobufuzi era nga yasikirizanga abantu bangi okumukuŋŋaanirako."
}
} |
{
"translation": {
"en": "All members of a savings group can acquire a loan from it.",
"lg": "Bammemba b'ekibiina ekitereka ssente bonna basobola okukyewolamu."
}
} |
{
"translation": {
"en": "Our football team has qualified for the national championship.",
"lg": "Ttiimu yaffe ey'omupiira gw'ebigere eyiseemu ku mpaka z'eggwanga."
}
} |
{
"translation": {
"en": "Some hospitals in the country lack intensive care unit services.",
"lg": "Amalwaliro agamu mu ggwanga tegalina busobozi bwa kukola ku balwadde abayi ennyo."
}
} |
{
"translation": {
"en": "You go and open the door to your brother's room.",
"lg": "Genda oggulewo olujji lw'ekisenge kya muganda wo."
}
} |
{
"translation": {
"en": "She came with her baby to the party.",
"lg": "Yajja n'omwana we omuwere ku kabaga."
}
} |
{
"translation": {
"en": "Her uncle has been in prison for one year without a trial.",
"lg": "Kkojja we abaddenga mu kkomera okumala omwaka gumu nga tawozeseddwa."
}
} |
{
"translation": {
"en": "The government has ensured the expansion of the dairy sector.",
"lg": "Gavumenti egaziyizza ekitongole ky'ebintu ebikolebwa mu mata."
}
} |
{
"translation": {
"en": "There is a poor transport network which limits accessibility to some places.",
"lg": "Waliwo entambula mbi eremesa okutuuka mu bifo ebimu."
}
} |
{
"translation": {
"en": "People in Uganda are now forging national identity cards.",
"lg": "Abantu mu Uganda kati bajingirira endagamuntu."
}
} |
{
"translation": {
"en": "I have to plan for what my family will eat.",
"lg": "Nnina okuteekateeka famire yange ky'enaalya."
}
} |
{
"translation": {
"en": "The solution for the violence lies elsewhere other than the political party structures.",
"lg": "\"Okusobola okumalawo ebikolwa eby'obukambwe, tulina kutunula walala so si mu bibiina bya bufuzi.\""
}
} |
{
"translation": {
"en": "I want to wake up early in the morning and read.",
"lg": "Njagala kuzuukuka ku maliiri nsome."
}
} |
{
"translation": {
"en": "The hospital lacks equipment used in treating the patients.",
"lg": "Eddwaliro libulamu ebikozesebwa mu kujjanjaba abalwadde."
}
} |
{
"translation": {
"en": "Efficient workers increase the level of production.",
"lg": "Abakozi abalungi bongeza eddala kwe bakolera."
}
} |
{
"translation": {
"en": "May his soul rest in eternal peace.",
"lg": "Omwoyo gwe guwummule mirembe."
}
} |
{
"translation": {
"en": "The man wanted to talk about how his brother died.",
"lg": "Omusajja yali ayagala kwogera ku ngeri muganda we gye yafaamu."
}
} |
{
"translation": {
"en": "The system of media campaigns helps only the incumbents because they are popular.",
"lg": "Enkola y'okunoonyeza akalulu ku emikutu gy'amawulire eyamba bali mu buyinza bokka kubanga bamanyiddwa."
}
} |
{
"translation": {
"en": "The agreement was announced at a press briefing held at the headquarters.",
"lg": "Endagaano yalangiriddwa eri bannamawulire ku kitebe ekikulu."
}
} |
{
"translation": {
"en": "Eggs can be found in nests and kitchens.",
"lg": "Amagi gasobola okusangibwa mu bisu ne mu mafumbiro."
}
} |
{
"translation": {
"en": "The ushers will ensure that the guests are properly spaced.",
"lg": "Abaaniriza abagenyi bajja kukakasa nti abagenyi beewa amabanga."
}
} |
{
"translation": {
"en": "How big is your banana plantation?",
"lg": "Olusuku lwo lwenkana wa obunene?"
}
} |
{
"translation": {
"en": "Changing your name without an oath can lead to inconsistencies in your documents.",
"lg": "Okukyusa erinnya lyo nga toyise mu mitendera mituufu kiyinza okuviirako ebiwandiiko byo obutakwatagana."
}
} |
{
"translation": {
"en": "For how long have you been friends?",
"lg": "Mumaze bbanga lyenkana wa nga muli ba mukwano?"
}
} |
{
"translation": {
"en": "People should stop child marriages and sexual harassments.",
"lg": "Abantu bateekeddwa okukomya okufumbiza abaana n'okukomya okukabasanyizibwa."
}
} |
{
"translation": {
"en": "The growth of the internet is the technological basis for democratizing mass media.",
"lg": "Enkulaakulana ya yintaneeti gwe musingi gwa tekinologiya ogw'okuwa amawulire eddembe."
}
} |
{
"translation": {
"en": "nan",
"lg": "nan"
}
} |
{
"translation": {
"en": "The cultural minister is ready to support the visitors throughout their music tower.",
"lg": "Minisita w'obuwangwa mweteefuteefu okuyambako abagenyi mu lugendo lwabwe olw'okuyimba."
}
} |
{
"translation": {
"en": "The team suspended its coach.",
"lg": "Ttiimu eyimirizza omutendesi waayo."
}
} |
{
"translation": {
"en": "The government aims at handling emergency cases in the district.",
"lg": "Gavumenti eruubirira kukwasaganya mu bwangu bantu abali mu mbeera embi mu disitulikiti."
}
} |
{
"translation": {
"en": "Her mother was happy to see her after spending three years in a foreign country.",
"lg": "Nnyina yali musanyufu okumulaba oluvannyuma lw'okumala emyaka esatu mu ggwanga eggwiira."
}
} |
{
"translation": {
"en": "\"Reports say she is headed to Rome, Italy as her next posting\"",
"lg": "Amawulire galaga nti baamusindise kukolera Rome mu Italy."
}
} |
{
"translation": {
"en": "Help others if you can afford to do so.",
"lg": "Yamba abalala bw'oba olina obusobozi okukikola."
}
} |
Subsets and Splits