translation
dict
{ "translation": { "en": "What should the Ministry of Education and Sports do to promote athletics in Uganda?", "lg": "Ekitongole ky'eby'enjigiriza n'emizannyo kirina kukola ki okutumbula eby'emizannyo mu Uganda?" } }
{ "translation": { "en": "It is almost time for lunch.", "lg": "Essaawa z'ekyemisana kumpi zituuse." } }
{ "translation": { "en": "\"Recently, other political groups have fulfilled the strict requirements.\"", "lg": "\"Gye buvuddeko, ebibiina by'obufuzi ebirala nabyo byatuukiriza ebisaanyizo ebiteekeddwa okutuukirizibwa.\"" } }
{ "translation": { "en": "Most of the forests in the country have been destroyed.", "lg": "Ebibira ebisinga obungi mu ggwanga bisaanyiziddwawo." } }
{ "translation": { "en": "The source of River Nile is in Jinja.", "lg": "Ensibuko y'omugga Kiyira eri Jinja." } }
{ "translation": { "en": "The riders will testify against the group.", "lg": "Abavuzi bajja kuwa obujulizi ku kibinja." } }
{ "translation": { "en": "My son was knocked over by a speeding car while he was on his way from school.", "lg": "Mutabani wange yatomerwa emmotoka eyali ewenyuka emisinde bwe yali ava ku ssomero." } }
{ "translation": { "en": "Ten billion shillings were put aside to handle the resettlement.", "lg": "Obukadde kkumi bwe bwassibwawo okukozesebwa mu nteekateeka ey'okusengula abantu." } }
{ "translation": { "en": "Every day she practised by herself.", "lg": "Buli lunaku yeetendekanga yekka." } }
{ "translation": { "en": "Investigations require adequate time.", "lg": "Okunoonyereza kwetaagisa ekiseera ekimala." } }
{ "translation": { "en": "The president appoints young leaders.", "lg": "Pulezidenti alonda abakulembeze abato." } }
{ "translation": { "en": "Success comes with a lot of failures.", "lg": "Obuwanguzi bujja n'okulemererwa kungi." } }
{ "translation": { "en": "His son announced his death over the radio last night.", "lg": "Mutabani we yamubise ku leediyo ekiro kya jjo." } }
{ "translation": { "en": "The elders welcomed his proposal during the meeting.", "lg": "Abakulu bayaniriza ekiteso kye mu lukungaana." } }
{ "translation": { "en": "How many gold refineries are in Uganda?", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Children did not go to school.", "lg": "Abaana tebaagenze ku ssomero." } }
{ "translation": { "en": "The church leaders should encourage people to work.", "lg": "Abakulembeze b'ekkanisa balina okukubiriza abantu okukola." } }
{ "translation": { "en": "I can't hear what you are saying.", "lg": "Siwulira by'ogamba." } }
{ "translation": { "en": "He repeated his actions.", "lg": "Yaddamu ebikolwa bye." } }
{ "translation": { "en": "My daughter weighs fifty kilograms now.", "lg": "Muwala wange kati azitowa kilo amakumi ataano." } }
{ "translation": { "en": "Everyone wants to be in charge.", "lg": "Buli omu ayagala y'aba n'obuyinza." } }
{ "translation": { "en": "\"Don’t be afraid, everything will be fine.\"", "lg": "\"Totya, buli kimu kijja kuba bulungi.\"" } }
{ "translation": { "en": "\"Because of little pay, midwives are not motivated at all to do their work.\"", "lg": "Olw'omusaala omutono abasawo abazaalisa tebaziddwamu maanyi yadde okukola omulimu gwaabwe." } }
{ "translation": { "en": "What makes you different from others?", "lg": "Kiki ekikuleetera okuba ow'enjawulo ku balala?" } }
{ "translation": { "en": "We cannot work with you anymore.", "lg": "Tetukyasobola kukola naawe." } }
{ "translation": { "en": "The religious leader was not injured during the attack.", "lg": "Omukulembeze w'eddiini teyakoseddwa mu bulumbaganyi." } }
{ "translation": { "en": "There is a high spread of the human immune virus in the area.", "lg": "Emisinde gy'akawuka akaleeta obulwadde bwa mukenenya giri waggulu mu kitundu." } }
{ "translation": { "en": "I wonder how I lost my pen.", "lg": "Nneebuuza engeri gye nnabuzizzaamu ekkalaamu yange eya bwino." } }
{ "translation": { "en": "Kojan and his colleagues at Alima visited hospitals in France and the United Kingdom.", "lg": "Kojan ne banywanyi be nga bali mu Alima baakyalira amalwaliro mu Bufalansa ne mu Bungereza." } }
{ "translation": { "en": "Patients can now be cared for closer to their communities.", "lg": "Abalwadde kati basobola okulabirirwa okumpi n'ebitundu byabwe." } }
{ "translation": { "en": "The president has over 100 presidential advisors", "lg": "Omukulembeze w'eggwanga alina abamuwa amagezi abasukka mu kikumi." } }
{ "translation": { "en": "What was he chewing?", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "She hired a housemaid to help her look after her kids.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The court ordered this man to pay my debt.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "They should be organised into groups.", "lg": "Balina okutegekebwa mu bibinja." } }
{ "translation": { "en": "She narrowly escaped death when his drunk husband beat him up.", "lg": "Yawonedde watono okufa bbaawe omutamiivu bwe yamukubye." } }
{ "translation": { "en": "The cases of malaria in Uganda have increased.", "lg": "Omusujja gw'ensiri gweyongedde mu Uganda." } }
{ "translation": { "en": "He said the games will resume when cases of coronavirus reduce.", "lg": "Yagamba nti emizannyo gijja kuddamu nga abalwadde b'akawuka ka kkolona bakendedde." } }
{ "translation": { "en": "I try as much as possible to avoid arguments.", "lg": "Ngezaako nnyo nga bwe kisoboka okwewala ennyombo." } }
{ "translation": { "en": "The locals have complained about the locusts which are destroying their plantations.", "lg": "Abatuuze beemulugunyizza olw'enzige ezoonoona ensuku zaabwe." } }
{ "translation": { "en": "She handed in her resignation letter two months ago.", "lg": "Yawaayo ebbaluwa ye ey'okulekulira omulimu emyezi ebiri egiyise." } }
{ "translation": { "en": "Smoke from the local lamps affects human health.", "lg": "Omukka okuva mu munakutadooba gukosa obulamu bw'abantu." } }
{ "translation": { "en": "There is no debate on the president's directive.", "lg": "Tekyetaagisa kukubaganya birowoozo ku bulagirizi pulezidenti bwe yawa." } }
{ "translation": { "en": "The football team will be visiting its competitors.", "lg": "Tiimu y'omupiira ejja kukyalira b'egenda okuvuganya n'abo." } }
{ "translation": { "en": "A Minister is expected to help his constituents find jobs", "lg": "Minisita asuubirwa okuba ng'asobola okuyamba abantu be okufuna emirimu." } }
{ "translation": { "en": "The skills acquired will enable people to get money.", "lg": "Obumanyirivu obufuniddwa bujja kuyamba abantu okufuna ensimbi." } }
{ "translation": { "en": "Courts were temporarily closed.", "lg": "Kkooti zaaggalwawo okumala akaseera katono." } }
{ "translation": { "en": "Uganda receives enough rainfall annually favorable for farming activities.", "lg": "Uganda efuna enkuba emala buli mwaka ennungi eri ebyobulimi." } }
{ "translation": { "en": "She was arrested by the police last night.", "lg": "Yakwatiddwa poliisi ekiro kya jjo." } }
{ "translation": { "en": "New hydropower dams will be opened in the country very soon.", "lg": "Emiddumu emipya egy'amasannyalaze agava mu mazzi gigya kugulwaawo essaawa yonna." } }
{ "translation": { "en": "Some people from foreign countries have never seen barkcloth in their lives.", "lg": "Abantu abamu abava mu mawanga amalala tebalabangako mbugo mu bulamu bwabwe." } }
{ "translation": { "en": "East African Breweries Limited recently acquired a company in Tanzania.", "lg": "\"Ggye buvuddeko awo, ekitongole kya East African Breweries Limited kyagula kampuni emu mu Tanzania.\"" } }
{ "translation": { "en": "The suspects failed to raise the bail fees.", "lg": "Abateeberezebwa baalemererwa okufuna ssente z'okweyimirirwa." } }
{ "translation": { "en": "Majority voters vote for the one they think can best address their plight.", "lg": "Abalonzi abasinga balonda oyo gwe balowooza nti ayinza okutereeza obulungi embeera yaabwe." } }
{ "translation": { "en": "Some families do not have food to eat during this lockdown.", "lg": "Amaka agamu tegalina bya kulya mu kiseera kino eky'omuggalo." } }
{ "translation": { "en": "She has proved that she is the best teacher in the school.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "His leg had to be amputated.", "lg": "Okugulu kwe kwalina okutemebwako." } }
{ "translation": { "en": "There are a number of shopping centers in Kampala city.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Every year the government gives a huge sum of money to political parties.", "lg": "Buli mwaka gavumenti ewa ebibiina by'ebyobufuzi ssente nnyingi nnyo." } }
{ "translation": { "en": "I walk twenty miles a day.", "lg": "Ntambula mmayiro amakumi abiri olunaku." } }
{ "translation": { "en": "Many parents do not plan for the future of their children.", "lg": "Abazadde bangi tebateekateekera biseera by'abaana baabwe eby'omumaaso." } }
{ "translation": { "en": "He is celebrating ten years of priesthood.", "lg": "Ajjaguza emyaka kkumi gy'amaze nga musosodooti." } }
{ "translation": { "en": "Local governments are responsible to enforce regulations.", "lg": "Gavumenti z'ebitundu zirina obuvunaanyizibwa okukwasisa ebiragiro." } }
{ "translation": { "en": "\"In our village, unknown gunmen shot two people dead.\"", "lg": "\"Ku kyalo ktyaffe, abasajja b'emmundu babiri abatamanyiddwa baakubye abantu babiri amasasi ne gabattirawo.\"" } }
{ "translation": { "en": "One of the most important things in an organization is proper record keeping.", "lg": "Ebimu ku bintu ebisinga omugaso mu kitongole kwe kukuuma obulungi ebiwandiiko." } }
{ "translation": { "en": "Parents have neglected the performance of their children.", "lg": "Abazadde tebafuddeeyo ku nsoma y'abaana baabwe." } }
{ "translation": { "en": "The police arrested a group of four men who have been terrorizing the locals for almost a year.", "lg": "Poliisi yakwata ekibinja kya basajja basatu abaali batiisatiisa bannansi okumala kumpi omwaka mulamba." } }
{ "translation": { "en": "\"Everyone is good at something, you just have to discover where your potential lies.\"", "lg": "\"Buli muntu abaako ekintu ky'akola obulungi, olina okuzzuula ky'osobola okukola obulungi.\"" } }
{ "translation": { "en": "The baby has started to walk.", "lg": "Omwana atandise okutambula." } }
{ "translation": { "en": "Do you have access to the internet?", "lg": "Olina yintanenti?" } }
{ "translation": { "en": "She has pimples on her face.", "lg": "Alina embalabe mu maaso." } }
{ "translation": { "en": "Parents should be concerned about the health of their daughters.", "lg": "Abazadde balina okufaayo ku bulamu bwa bawala baabwe." } }
{ "translation": { "en": "This lake is one of the deepest lakes in the world.", "lg": "Ennyanja eno y'emu ku nnyanja ezisingayo obuwanvu mu nsi." } }
{ "translation": { "en": "Who is responsible for sensitizing the public?", "lg": "Ani avunaanyizibwa ku ky'okusomesa abantu?" } }
{ "translation": { "en": "Many people copy the behaviours of musicians.", "lg": "Abantu bangi bakoppa enneeyisa y'abayimbi." } }
{ "translation": { "en": "\"Besigye is aware of the euphoria, excitement, and hope with which Ugandans received.\"", "lg": "\"Besigye amanyi essanyu, okukyamuukirira n'essuubi bannayuganda lye baafunye.\"" } }
{ "translation": { "en": "People's standards of living will be made better by proper planning of infrastructure.", "lg": "Embeera abantu mwe babeera ejja kweyongera okuba ennungi nga wateekeddwawo enteeekateeka y'ebizimbibwa ennungi." } }
{ "translation": { "en": "He fought against those who were trying to cut down trees in his area.", "lg": "Yalwanyisa abaali bagezaako okutema emiti mu kitundu kye." } }
{ "translation": { "en": "The football match was very competitive.", "lg": "Omupiira gwali gwa kuvuganya nnyo." } }
{ "translation": { "en": "The commission solved the disagreement between the residents and the minister.", "lg": "Akakiiko kaamulungula obutakkaanya obwali wakati w'abatuuze ne minisita." } }
{ "translation": { "en": "How do we use fire extinguishers?", "lg": "Tukozesa tutya obuuma obuzikiriza omuliro?" } }
{ "translation": { "en": "Leaders wrote requisitions for development money from the government.", "lg": "Abakulembeze yawandiise nga asaba ssente z'enkulaakulana okuva mu gavumenti." } }
{ "translation": { "en": "He had to get medical clearance so as to participate in the match.", "lg": "Abasawo baalina okumuwa olukusa okuzannya omupiira." } }
{ "translation": { "en": "She is the wife of one of the presidential candidates.", "lg": "Ye mukyala w'omu ku abo abeesimbyewo okuvuganya mu kifo ky'obwa pulezidenti." } }
{ "translation": { "en": "You should consider visiting the town.", "lg": "Olina okulowooza ku kulambula ekibuga." } }
{ "translation": { "en": "He was a good poet.", "lg": "Yali mutontomi mulungi." } }
{ "translation": { "en": "The thief denied all the accusations.", "lg": "Omubbi yeegaana emisango gyonna egyali gimuvunaanibwa." } }
{ "translation": { "en": "coronavirus pandemic reminds us of our common humanity.", "lg": "Obulwadde bw'akawuka ka kolona katujjukiza obw'obuntu obwawamu." } }
{ "translation": { "en": "He has lost most of his supporters.", "lg": "Afiiriddwa abawagizi be abasinga obungi." } }
{ "translation": { "en": "You will achieve your dream someday.", "lg": "Lumu olituuka ku kirooto kyo." } }
{ "translation": { "en": "All drivers in Uganda must have a driving license.", "lg": "Ba ddereeva bonna mu Uganda bateekwa okubeera ne layisinsi ebakkiriza okuvuga." } }
{ "translation": { "en": "Her mother sent her to buy paraffin from the petrol station.", "lg": "Nnyina yamutumye okugula amafuta g'ettaala ku ssundiro ly'amafuta." } }
{ "translation": { "en": "The news reporter has more details about the ongoing incidents.", "lg": "Omusasi w'amawulire alina ebisingawo ku ebyo ebigenda mu maaso." } }
{ "translation": { "en": "Judgment is the ability to make decisions.", "lg": "Okulamula bwe busobozi okukola okusalawo." } }
{ "translation": { "en": "How many people are expected to attend the party?", "lg": "Bantu bameka abasuubirwa okuba ku kabaga?" } }
{ "translation": { "en": "\"On the other hand, Museveni has resisted calls for greater women's family land rights.\"", "lg": "\"Ku ludda olulala, Museveni awakanyizza okusaba kw'abantu okwongera abakyala obuyinza ku ttaka lya famire.\"" } }
{ "translation": { "en": "The police have increased measures to capture the robbers who are terrorizing our village.", "lg": "Poliisi eyongezza enkola z'okukwata ababbi abatawaanya ekyalo kyaffe." } }
{ "translation": { "en": "He was the first to present his ideas before others.", "lg": "Ye yasooka abalala bonna okuwa endowooza ye." } }
{ "translation": { "en": "Decide what your studying goals are for each semester and each week.", "lg": "Ssalawo ebirubirirwa byo mu kusoma mu buli lusoma nabuli sabbiiti." } }
{ "translation": { "en": "Let us work together as a team.", "lg": "Tukolere wamu ng'ekibinja." } }