translation
dict
{ "translation": { "en": "We need to create a conducive environment for feeding mothers at parliament.", "lg": "Twetaaga okuteekawo ekifo ekirungi ekya bamaama abayonsa ku paalamenti" } }
{ "translation": { "en": "Kenyans are wealthier than us yet they do not have good tiles.", "lg": "Bannakenya bagagga okutusinga kyokka ng'ate tayiro zaabwe si nnungi." } }
{ "translation": { "en": "He increased funding to the community leadership.", "lg": "Yayongezza obuyambi eri obakulembezze bw'ekitundu." } }
{ "translation": { "en": "Some people get fatal accidents because of failing to pay their debts in time.", "lg": "Abantu abamu bagwa ku bubenje obubaviirako okufa olw'okuba balemererwa okusasula amabanja gaabwe mu budde." } }
{ "translation": { "en": "Did you see the speed limit road signs?", "lg": "Walaba obubonero bw'oku nguudo obukulagira okusala ku misinde?" } }
{ "translation": { "en": "My friend talked to the investors about his business idea.", "lg": "Mukwano gwange yayogedde n'abasiga nsimbi ku kirowoozo ekikwata ku bizineensi ye." } }
{ "translation": { "en": "The organizers had to cancel the event after threats of arrest by the police.", "lg": "Abategesi baalina okusazaamu omukolo oluvannyuma lw'okutiisibwatiisibwa okusibwa poliisi." } }
{ "translation": { "en": "Winners never give up.", "lg": "Abawanguzi tebawanika." } }
{ "translation": { "en": "There is only one radio station in our town.", "lg": "Akabuga kaffe kalimu omukutu gwa leediyo gumu gwokka." } }
{ "translation": { "en": "Those who were taught practical skills were asked to teach others in their communities.", "lg": "Abo abaasomesebwa obukugu obwoleke baasabibwa nabo okusomesa abalala mu bitundu byabwe." } }
{ "translation": { "en": "He was denied his examination results because he had not yet paid tuition fees.", "lg": "Yammibwa ebyava mu bigezo bye kubanga yali tannaba kusasula bisale bya kusoma." } }
{ "translation": { "en": "The best writer was awarded a prize at school.", "lg": "Omuwandiisi eyasinga yaweebwa ekirabo ku ssomero." } }
{ "translation": { "en": "The games that had been halted by the coronavirus pandemic resumed after four months.", "lg": "Emizannyo egyali gyayimirizibwa olw'obulwadde bwa kkolona obw'ekikungo gyaddamu oluvannyuma lw'emyezi ena." } }
{ "translation": { "en": "The boda boda cyclist was terribly injured in the accident.", "lg": "Omuvuzi wa bood booda yalumiziddwa nnyo mu kabenje." } }
{ "translation": { "en": "This is inclusive of all football technical persons.", "lg": "Kino kizingiramu abantu ab'ekikugu bonna mu mupiira." } }
{ "translation": { "en": "The two leaders have not spoken since last year.", "lg": "Abakulembeze ababiri teboogeraganyizza okuva omwaka oguwedde." } }
{ "translation": { "en": "The Pastor preached about giving to the needy during service.", "lg": "Omusumba yabuulidde ku kuwa abali mu bwetaavu mu kusaba." } }
{ "translation": { "en": "The plans to build an airport and a hospital are ongoing.", "lg": "Enteekateeka z'okuzimba ekisaawe ky'ennyonyi n'eddwaliro zigenda mu maaso." } }
{ "translation": { "en": "There is always a topic of discussion in radio talk shows.", "lg": "Wabeerawo omutwe oguteesebwako mu pulogulaamu za laadiyo ez'okwogera." } }
{ "translation": { "en": "The body was found beside a construction site.", "lg": "Omulambo gw'asangiddwa emabbali w'ekizimbe ekizimbibwa/ ewazimbibwa." } }
{ "translation": { "en": "She fought for the government's intention to raise women's wages.", "lg": "Yalwanirira ekiruubirirwa kya gavumenti eky'okwongeza emisaala gy'abakazi." } }
{ "translation": { "en": "Some diseases spread so quickly.", "lg": "Endwadde ezimu zisaasaana mangu." } }
{ "translation": { "en": "More scholarships should be awarded to needy students to grow our health workforce.", "lg": "Sikaala endala zirina okuweebwa abayizi abali mu bwetaavu okukuza enkola yaffe mu byobulamu." } }
{ "translation": { "en": "He traveled to the city by bus.", "lg": "Yagendera mu bbaasi mu kibuga." } }
{ "translation": { "en": "The leaders have lost trust in one another.", "lg": "Abakulembeze tebakyesigangana." } }
{ "translation": { "en": "I need millions of money.", "lg": "Neetaga obukadde bwa ssente." } }
{ "translation": { "en": "My sister and I harvested the flowers and peas.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The bishop will wed forty-two couples in different areas.", "lg": "Omwepisikoopi ajja kugatta emigogo ana mu ebiri mu bitundu eby'enjawulo." } }
{ "translation": { "en": "The organization will only support twerve caregivers.", "lg": "Ekitongole kijja kuyambako abayambi kkumi na babiri bokka." } }
{ "translation": { "en": "Are rapid coronavirus tests effective?", "lg": "Okukebera kw'akawuka ka kolona okw'okumukumu kukola?" } }
{ "translation": { "en": "All committee members should wear face masks to prevent the spread of the virus.", "lg": "Bammemba b'akakiiko bonna balina okwamba obukookolo okutangira okusaasaana kw'akawuka." } }
{ "translation": { "en": "Large-scale farming requires a lot of money and manpower.", "lg": "Okulima mu bungi kwetaagisa ssente nnyingi saako n'abakozi." } }
{ "translation": { "en": "He killed his girlfriend and dumped her body in a bush.", "lg": "Yatta muganzi we era n'omulambo gwe n'agusuula mu nsiko." } }
{ "translation": { "en": "Students will receive their report cards next term.", "lg": "Abayizi bajja kufuna alipoota zaabwe olusoma olujja." } }
{ "translation": { "en": "The chairperson was badly injured and taken to Egypt for treatment.", "lg": "Ssentebe yalumizibwa bubi nnyo era n'atwalibwa e Misiri afune obujjanjabi." } }
{ "translation": { "en": "Fish farming in Uganda has so far been pond and subsistence-based.", "lg": "Ebyennyanja mu Uganda bibadde bikyalundirwa mu bidiba ate nga n'ebirundibwa biba bya kuliibwa waka." } }
{ "translation": { "en": "The street gets muddy when it rains.", "lg": "Enguudo zibeeramu ebisooto ng'enkuba etonnye." } }
{ "translation": { "en": "The thieves broke into their office last night despite having four security guards.", "lg": "Ababbi baamenya ne bayingira mu woofiisi yaabwe ekiro kya jjo newankubadde nga balina abakuumi bana." } }
{ "translation": { "en": "How can we fight against cancer?", "lg": "Tuyinza kulwanyisa tutya kkookolo?" } }
{ "translation": { "en": "The president directed people to use sanitizers to protect themselves from the coronavirus.", "lg": "Pulezidenti yalagira abantu okukozesa eddagala eritta obuwuka okwetangira eri akawuka ka kkolona." } }
{ "translation": { "en": "Each East African country has a representative in the East African Legislative Assembly.", "lg": "Buli ggwanga mu buvanjuba bwa Afirika lirina omukiise mu lukiiko lw'amawanga agali mu mukago gw'amawanga g'omu buvanjuba bwa Afirika." } }
{ "translation": { "en": "Some clothes are made from barkcloth.", "lg": "Engoye ezimu zikolebwa kuva mu lubugo." } }
{ "translation": { "en": "The past is of less significance today.", "lg": "Ebyayita tebirina nnyo mugaso leero." } }
{ "translation": { "en": "Most people in rural areas save their money using small wooden boxes.", "lg": "Abantu abasinga mu byalo batereka ensimbi zaabwe mu bubookisi obukoleddwa mu mbaawo." } }
{ "translation": { "en": "Aquaculture has picked up once again reaching fifteen thousand tonnes of fish currently produced.", "lg": "Obulunzi bw'eyennyanja buzzeemu okutojjera nga kati obungi bw'ebyennyanja ebivaamu butuuse mu ttani omutwalo gumu n'ekitundu." } }
{ "translation": { "en": "When will the court ruling be made?", "lg": "Ensala ya kkooti kunaakolebwa ddi?" } }
{ "translation": { "en": "Our parents cannot wait for us to graduate.", "lg": "Bazadde baffe beesunze okutikkirwa kwaffe." } }
{ "translation": { "en": "He stepped down as the Electoral Commission chairman after the elections.", "lg": "Yalekulira nga ssentebe w'Akakiiko k'Ebyokulonda oluvannyuma lw'akalulu." } }
{ "translation": { "en": "What do foxes feed on?", "lg": "Ebibe birya ki?" } }
{ "translation": { "en": "His loan request was rejected by the bank.", "lg": "Bbanka yagaana okumuwola ssente." } }
{ "translation": { "en": "Other partners should get involved.", "lg": "Abanwanyi abalala balina okwetabamu." } }
{ "translation": { "en": "The leaders are yearning for the government to help in the construction of the bridge.", "lg": "Abakulembeze bayaayaanira gavumenti okuyamba mu kuzimba kw'olutindo." } }
{ "translation": { "en": "The number of coronavirus disease infections and deaths increases every now and then.", "lg": "Omuwendo gw'abalina akawuka ka kolona n'abafa gweyongera buli lukya." } }
{ "translation": { "en": "The door is closed.", "lg": "Oluggi luggale." } }
{ "translation": { "en": "Human trafficking has increased.", "lg": "Okukukusa abantu kweyongedde." } }
{ "translation": { "en": "The judge asked for my opinion about the land.", "lg": "Omulamuzi yasabye ondowooza yange ku ttaka." } }
{ "translation": { "en": "The journalist told us about the events when the political leaders attacked each other.", "lg": "Munnamawulire yatubuulirako ku byaliwo ng'abakulembeze b'ebyobufuzi balumbaganye." } }
{ "translation": { "en": "I met my current husband on my eighteenth birthday.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Some people die because they don't receive blood in time.", "lg": "Abantu abamu bafa olw'obutateekebwamu mangu musaayi." } }
{ "translation": { "en": "We will get the details from the company secretary.", "lg": "Tujja kufuna obubaka obusingawo okuva ewa ssaabawandiisi wa kkampuni." } }
{ "translation": { "en": "He was recognized as an outstanding performer.", "lg": "Yasiimibwa olw'okukola obulungi ennyo." } }
{ "translation": { "en": "What are perennial crops?", "lg": "Ebimera ebiwangaazi bye biri wa?" } }
{ "translation": { "en": "The focus is on the students.", "lg": "Eriiso liteereddwa ku bayizi." } }
{ "translation": { "en": "The court postponed his trial because the witness was killed.", "lg": "Kkooti yayongezaayo okuwulira omusango gwe kubanga omujulizi yattibwa." } }
{ "translation": { "en": "My office used to be in that corner.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "She is not a close friend of mine.", "lg": "Si mukwano gwange wa munda." } }
{ "translation": { "en": "Teachers complain about inadequate salaries.", "lg": "Abasomesa beemulugunya olw'omusaala omutono." } }
{ "translation": { "en": "The Ministry of Health has put in place guidelines for safe mass gatherings.", "lg": "Minisitule y'ebyobulamu etaddewo ennambika ku nkungaana z'abantu ennungi." } }
{ "translation": { "en": "developed countries have responded to the current crisis of the pandemic.", "lg": "Ensi ezaakulaakulana zivuddeyo okudduukirira embeera y'ekirwadde bbunansi ekiriwo." } }
{ "translation": { "en": "How many hens does he rear?", "lg": "Alunda enkoko enkazi mmeka?" } }
{ "translation": { "en": "What happens when you enter the doctor's room?", "lg": "Kiki ekituukawo bw'oyingira mu kasenge k'omusawo?" } }
{ "translation": { "en": "Some people do not know how to write official letters.", "lg": "Abantu abamu tebamanyi ngeri ya kuwandiikamu ebbaluwa entongole." } }
{ "translation": { "en": "There are three cows in the kraal.", "lg": "Mu kiraalo mulimu ente ssatu." } }
{ "translation": { "en": "He has got a new wife.", "lg": "Afunye omukyala omulala." } }
{ "translation": { "en": "Mothers should always be patient with their children.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Some European and Asian countries set tough conditions for donations to African countries.", "lg": "Ensi ezimu ez'e Bulaaya ne Asiya ziteekawo obukwakkulizo bwa maanyi obukwata ku kuwa ensi za Afirika obuyambi." } }
{ "translation": { "en": "I bought this dress with my own money.", "lg": "Ekiteeteeyi kino nakigula ku ssente zange." } }
{ "translation": { "en": "New schools have been built in my village.", "lg": "Amasomero amapya gazimbiddwa mu kyalo kyange." } }
{ "translation": { "en": "They should encourage people to accept the new law.", "lg": "Bakubirize abantu okukkiriza etteeka eppya." } }
{ "translation": { "en": "Pregnant women should sleep under mosquito nets and get treatment when they're sick.", "lg": "Abakazi abali embuto balina okwebaka mu katimba k'ensiri era balina okufuna obujjanjabi nga balwadde." } }
{ "translation": { "en": "What challenges did you face during the conference?", "lg": "Kusoomozebwa ki kwe wasanze mu lukungaana?" } }
{ "translation": { "en": "Lions are kept safery in national parks.", "lg": "Empologoma zikuumibwa bulungi mu kkuumiro ly'ebisolo." } }
{ "translation": { "en": "There are over five funeral service companies in the country.", "lg": "Waliwo kkampuni z'ebyokuziika ezisoba mu ttaano mu ggwanga." } }
{ "translation": { "en": "She says her in-laws did not take care of her.", "lg": "Agamba nti ab'enganda za bba tebaamulabirira." } }
{ "translation": { "en": "The catholic church will provide gloves to the priests amidst the Ebola outbreak.", "lg": "Ekkanisa y'ekikatoliki ejja kuwa abasumba giraavuzi kaseera k'okubalukawo kwa Ebola." } }
{ "translation": { "en": "Our journalist represented us at the site.", "lg": "Munnamawulire waffe yatukiikirira mu kifo." } }
{ "translation": { "en": "The education sector received more funding.", "lg": "Ebyenjigiriza byafuna ssente endala." } }
{ "translation": { "en": "The government targets to vaccinate twenty million Ugandans against coronavirus.", "lg": "Gavumenti aruubirira okugema Bannayuganda obukadde amakumi abiri eri akawuka ka kkolona." } }
{ "translation": { "en": "They went to the river to fetch water.", "lg": "Baagenze ku mugga kusena mazzi." } }
{ "translation": { "en": "Road contractors are given contracts to construct roads.", "lg": "Abakwasibwa endagaano z'okuzimba amakubo baweebwa endagaano okuzimba amakubo ." } }
{ "translation": { "en": "What is the role of Members of parliament?", "lg": "Ababaka ba palamenti balina mulimu ki?" } }
{ "translation": { "en": "\"It had little money, poor organization, and harassment.\"", "lg": "\"Kyalina ssente ntono, nga tekitegekeddwa bulungi, era nga kiyigganyizibwa.\"" } }
{ "translation": { "en": "The district health department should purchase tool boxes for transporting blood samples.", "lg": "Ekitongole ky'ebyobulamu ekya disitulikiti kiyina okugula akasanduuko omuli ebintu omutambuzibwa sampolo z'omusaayi." } }
{ "translation": { "en": "They were sent out of the meeting because of their disciplinary actions.", "lg": "Baagobebwa mu lukiiko lwa bikolwa byabwe eby'obusiiwuufu bw'empisa." } }
{ "translation": { "en": "The military training will begin next week at Gaddafi barracks Jinja.", "lg": "Okutendeka abajaasi kujja kutandika wiiki ejja ku Gaddafi barracks e Jinja." } }
{ "translation": { "en": "The case has been filed.", "lg": "Omusango bagutadde ku fayiro." } }
{ "translation": { "en": "Do you remember the woman that we met last time?", "lg": "Ojjukira omukazi gwe twasisinkana luli?" } }
{ "translation": { "en": "The government should gazette settlement areas.", "lg": "Gavumenti erina okutongoza ebifo ebisengebwamu." } }
{ "translation": { "en": "You look more beautiful when you smile.", "lg": "Olabika bulungi ng'omwenyezza." } }
{ "translation": { "en": "Most truck drivers from the neighboring countries tested positive for coronavirus.", "lg": "Abavuzi ba biroole abasinga obungi okuva mu mawanga ag'oku muliraano baazuulwamu obulwadde bwa corona." } }