translation
dict
{ "translation": { "en": "People rarely use coffee.", "lg": "Abantu tebatera kukozesa mmwaanyi." } }
{ "translation": { "en": "Many people are recovering from malaria ever since new drugs were introduced.", "lg": "Abantu bangi bawona omusujja gw'ensiri okuva eddagala eppya lwe lyaleetebwa." } }
{ "translation": { "en": "Different political parties have different ideologies.", "lg": "Ebibiina by'obufuzi eby'enjawulo birina endowooza ezawukana." } }
{ "translation": { "en": "He is your colleague at work.", "lg": "Mukozi munno ku mulimu." } }
{ "translation": { "en": "There are companies licensed to plant trees for timber.", "lg": "Waliwo kkampuni ezirina olukusa okusimba emiti gy'okufunamu embaawo." } }
{ "translation": { "en": "He married her six years ago.", "lg": "Yamuwasa emyaka mukaaga emabega." } }
{ "translation": { "en": "I have never eaten mutton.", "lg": "Siryanga ku nnyama ya ndiga." } }
{ "translation": { "en": "He misused his office.", "lg": "Yakozesa bubi woofiisi ye." } }
{ "translation": { "en": "He lived happily with his family.", "lg": "Yabeera mu ssanyu ne famire ye." } }
{ "translation": { "en": "Also boreholes can get damaged.", "lg": "Nayikondo nazo zisobola okwonooneka." } }
{ "translation": { "en": "Farmers will conduct a profitable agricultural business.", "lg": "Abalimi bajja kuddukanya bizinensi y'ebyobulimi efuna." } }
{ "translation": { "en": "The army disapproved the rumors.", "lg": "Amagye gaagamba nti ebyali byogerwa tebyali bituufu." } }
{ "translation": { "en": "The party founder has opposed the passing of the new law.", "lg": "Omutandisi w'ekibiina awakanyizza okuyisibwa kw'etteeka eppya." } }
{ "translation": { "en": "Every company should make sure that its workers have insurance.", "lg": "Buli kkampuni erina okukakasa nti abakozi baayo bayina yinsuwa." } }
{ "translation": { "en": "How are political campaigns managed?", "lg": "Enkungaana z'okunoonya obululu ziddukanyizibwa zitya?" } }
{ "translation": { "en": "Menstrual hygiene is essential for girls to be able to participate in schools.", "lg": "Obuyonjo mu bakyala nga bali mu nsonga kikulu nnyo eri abawala okusobola okubeera mu masomero." } }
{ "translation": { "en": "The elections took place on the sixteenth of February this year.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Medicine will be manufactured locally which will ease accessibility.", "lg": "Eddagala lya kukolebwa wano mu ggwanga ekinayanguya mu kulifuna." } }
{ "translation": { "en": "She told me everything I needed to know.", "lg": "Yambuulira buli kimu kye nnali nnetaaga okumanya." } }
{ "translation": { "en": "The previous presidential elections were so vibrant.", "lg": "Akalulu k'obukulembeze bw'eggwanga akawedde kaalimu ebbugumu lingi." } }
{ "translation": { "en": "The Ministry of fisheries is against fishermen who catch young fish.", "lg": "Minisitule y'ebyobuvubi ewakanya eky'abavubi abavuba obwennyanja obuto." } }
{ "translation": { "en": "The district came up with a multi-sectoral nutrition action to eradicate malnutrition.", "lg": "Disitulikiti yakoze ennambika mu byendya okulwanyisa endya embi." } }
{ "translation": { "en": "Patients should have a conducive environment to recover.", "lg": "Abalwadde beetaaga embeera ennungi okusobola okuwona." } }
{ "translation": { "en": "The national calendar clearly highlights important days in a year.", "lg": "Kalenda y'eggwanga eraga bulungi nnaku ez'omugaso mu mwaka." } }
{ "translation": { "en": "Let us avoid illegal ways of doing things.", "lg": "Twewale okukola ebintu mu ngeri etali mu mateeka." } }
{ "translation": { "en": "We have not reached an agreement on the final price of the car.", "lg": "Tetutuukanga ku nzikiriziganya ku muwendo gw'emmotoka ogw'enkomeredde." } }
{ "translation": { "en": "\"Nice to meet you, sir!\"", "lg": "Nsanyuse okukusisinkana ssebo!" } }
{ "translation": { "en": "My wife gave birth to a baby boy.", "lg": "Mukyala wange yazaala omwana omulenzi." } }
{ "translation": { "en": "We need our student identity cards to sit examinations.", "lg": "Twetaaga ayidenti kkaadi z'abayizo baffe okutuula ebigezo." } }
{ "translation": { "en": "Some clothes are made out of wool.", "lg": "Engoye ezimu zikolebwa mu byoya by'endiga." } }
{ "translation": { "en": "We have been debating the water issue since last year.", "lg": "Tubaddenga tukubaganya ebirowoozo ku nsonga y'amazzi okuva omwaka oguwedde." } }
{ "translation": { "en": "The internet has simplified communication these days.", "lg": "Omutimbagano gugonzezza ebyempuliziganya ensangi zino." } }
{ "translation": { "en": "He was reappointed because of his outstanding performance.", "lg": "Yaddamu n'alondebwa olw'obuweereza bwe obusuffu." } }
{ "translation": { "en": "Parental care is essential for child growth.", "lg": "Okulabirirwa kw'abazadde kikulu mu kukula kw'omwana." } }
{ "translation": { "en": "\"By the end of April, last year, Uganda had eighty-three COVID-19 confirmed cases.\"", "lg": "\"Omwaka oguwedde, ku nkomerero y'Ogwokuna, Uganda yalina abalwadde ba COVID-19 abakakasiddwa kinaana mu basatu.\"" } }
{ "translation": { "en": "The army will carry out investigations to complete the file.", "lg": "Amagye gajja kukola okunoonyereza okusobola okumaliriza omusango." } }
{ "translation": { "en": "Leaders are not happy with the way people are opposing their salary proposal.", "lg": "Abakulembeze si basanyufu n'engeri abantu gye wakanyaamu engereka y'omusaala gwabwe." } }
{ "translation": { "en": "The government lacks finances to establish new infrastructures in the area.", "lg": "Gavumenti terina ssente kuteekawo bintu ebigasiza abantu awamu ebipya." } }
{ "translation": { "en": "They did not want to cancel the meeting.", "lg": "Baabadde tebaagala kusazaamu lukiiko." } }
{ "translation": { "en": "The prices of hides are so expensive.", "lg": "Emiwendo gy'amaliba g'ebisolo giri waggulu nnyo." } }
{ "translation": { "en": "Newlywed couples should budget for their money and limit unnecessary spending.", "lg": "Abagole balina okubalirira ssente zaabwe ne bakendeeza okusaasaanya okuteetaagisa." } }
{ "translation": { "en": "The new plant will increase the amount of cement produced every day.", "lg": "Ekkolero eppya lijja kuyamba okwongera ku bungi bwa sseminti afulumizibwa buli lunaku." } }
{ "translation": { "en": "The new official promised to work hard.", "lg": "Omukungu omupya yasuubiza okukola ennyo." } }
{ "translation": { "en": "She had to calm down.", "lg": "Yalina okukkakkana." } }
{ "translation": { "en": "The men are cutting the trees down.", "lg": "Abasajja basala miti." } }
{ "translation": { "en": "I will build a house in the future.", "lg": "Gye bujja njakuzimba ennyumba." } }
{ "translation": { "en": "He has released his first music album.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "She sings for the baby to sleep.", "lg": "Ayimbira omwana yeebake." } }
{ "translation": { "en": "We reported our challenges to the chairman.", "lg": "Twaloopye ebitusoomooza eri ssentebe." } }
{ "translation": { "en": "Some employers violate the rights of their workers.", "lg": "Abakozesa abamu batyoboola eddembe ly'abakozi baabwe." } }
{ "translation": { "en": "I regret the decision I made that day.", "lg": "Nejjusa okusalawo kwe nakola ku lunaku olwo." } }
{ "translation": { "en": "The authority is analyzing the dynamics in the bridge construction.", "lg": "Ekitongole kiri mu kwetegereza nkyukakyuka mu kuzimba olutindo." } }
{ "translation": { "en": "We were very pleased to host the bishop at our home.", "lg": "Twasanyuka nnyo okukyaza bisoopu mu maka gaffe." } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "My father built a very big bungalow.", "lg": "Taata yazimba ennyumba ennene ennyo." } }
{ "translation": { "en": "\"Recently, people in different parts of the country have obtained access to tap water.\"", "lg": "\"Kati, abantu mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo balina amazzi ga ttaapu.\"" } }
{ "translation": { "en": "He resigned from that political party.", "lg": "Yalekulira okuva mu kibiina ky'ebyobufuzi ekyo." } }
{ "translation": { "en": "The officer says she was knocked by a car.", "lg": "Omukungu agamba nti yakoonebwa emmotoka." } }
{ "translation": { "en": "We should work hand in hand to fight corruption.", "lg": "Tulina kukolera wamu okulwanyisa enguzi." } }
{ "translation": { "en": "The deceased was shot once in the head.", "lg": "Omugenzi yakubibwa essasi limu ku mutwe." } }
{ "translation": { "en": "The rebel group began to encircle Kampala.", "lg": "Ekibinja ky'abayeekera kyatandika okuzingako Kampala." } }
{ "translation": { "en": "The district will attain infrastructural development .", "lg": "Disitulikiti ejja kufuna enkulaakulana erabirwako." } }
{ "translation": { "en": "Many of the prisoners are waiting to appear in court.", "lg": "Bangi ku basibe balindirira okutwalibwa mu kkooti." } }
{ "translation": { "en": "The waitress confirmed that the customer paid before leaving the restaurant.", "lg": "Omuweereza yakakasa nti kasitooma yasasula nga tannaba kuva mu kirabo kya mmere." } }
{ "translation": { "en": "The municipal council lacks enough offices in the division headquarters.", "lg": "Akakiiko ka munisipaali tekalina woofiisi zimala ku kitebe ekikulu." } }
{ "translation": { "en": "The couple went for Human Immune Virus testing.", "lg": "Abaagalana baagenda bakeberebwe akawuka akalya obutaffaali obulwanyisa endwadde." } }
{ "translation": { "en": "My friend died last year.", "lg": "Mukwano gwange yafa omwaka oguwedde." } }
{ "translation": { "en": "The company does not have proper management of its funds.", "lg": "Kkampuni terina nkwata nnuŋŋamu ya nsimbi zaayo." } }
{ "translation": { "en": "I don't trust that man's words.", "lg": "Seesiga bigambo bya musajja oyo." } }
{ "translation": { "en": "\"Fortunately, he has been saving for a long time.\"", "lg": "Ekirungi yamala ebbanga ddene ng'alina ssente z'aterekawo." } }
{ "translation": { "en": "Traditional birth attendants are common in villages.", "lg": "Bamulerwa bangi mu byalo." } }
{ "translation": { "en": "The school fired all the striking teachers.", "lg": "Essomero lyagoba abasomesa bonna abaali beekalakaasa." } }
{ "translation": { "en": "There are two oversight bodies.", "lg": "Waliwo ebitongole bibiri ebiketta ebirala." } }
{ "translation": { "en": "He asked her to marry him when she had just given birth.", "lg": "Yamusaba amufumbirwe nga yaakamala okuzaala." } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "He made a strong door to cover the entrance.", "lg": "Yakola oluggi lw'omu mulyango olugumu." } }
{ "translation": { "en": "Some youths have invested their money in poultry farming.", "lg": "Abavubuka abamu batadde ensimbi zaabwe mu kulunda enkoko." } }
{ "translation": { "en": "We sold the kittens.", "lg": "Bu kkapa obuto twabutunda." } }
{ "translation": { "en": "It is perceived that golf is a game for the rich.", "lg": "Kirowoozebwa nti omuzannyo gwa goofu gwa bagagga." } }
{ "translation": { "en": "His performance in class has improved greatly.", "lg": "Ensoma ye mu kibiina yeeyongeddeko obulungi." } }
{ "translation": { "en": "Food is also taxed.", "lg": "Emmere nayo eggyibwako omusolo." } }
{ "translation": { "en": "The officers were arrested for asking for money from patients.", "lg": "Abakulu baakwatibwa lwa kusaba balwadde ssente." } }
{ "translation": { "en": "The prisoners went on a hunger strike.", "lg": "Abasibe baazize emmere." } }
{ "translation": { "en": "She said she didn't steal the money.", "lg": "Yagambye nti teyabba ssente." } }
{ "translation": { "en": "Uganda always has a deficit budget.", "lg": "Buli kiseera Uganda eba mu mabanja." } }
{ "translation": { "en": "My grandmother takes me to the clinic at the right time.", "lg": "Jjajjange omukyala antwala ku kalwaliro mu kiseera ekituufu." } }
{ "translation": { "en": "He trained the children how to write with pens.", "lg": "Yayigiriza abaana okuwandiisa ekkalaamu za bwino." } }
{ "translation": { "en": "His father tried to demotivate him from pursuing football as a career.", "lg": "Kitaawe yagezaako okumumalamu amaanyi ku ky'okusamba omupiira ng'omulimu." } }
{ "translation": { "en": "District officials have not been involved in the implementation of refugee development programs.", "lg": "Abakungu ba disitulikiti tebeetabiziddwa mu kuteeka mu nkola pulogulamu z'okukulaakulanya abanoonyiboobubudamu." } }
{ "translation": { "en": "Specialist clinicians have been advised to train interns.", "lg": "Abakugu mu by'obujjanjabi baweereddwa amagezi okutendeka abayizi abali mu kwegezaamu." } }
{ "translation": { "en": "The feather was floating on water.", "lg": "Ekyoya kyali kiseeyeeyeza ku mazzi." } }
{ "translation": { "en": "The president will address the nation today evening.", "lg": "Pulezidenti agenda kwogerako eri eggwanga akawungeezi ka leero." } }
{ "translation": { "en": "Roads should be constructed with genuine materials.", "lg": "Enguudo zisaanidde okuzimbibwa n'ebizimbisibwa ebituufu." } }
{ "translation": { "en": "The teachers complained of excessive workload.", "lg": "Abasomesa beemulugunyizza ku mirimu egisusse." } }
{ "translation": { "en": "President talked to the people about making changes to the article.", "lg": "Pulezidenti yayogerako n'abantu ku kukola enkyukakyuka mu kawaayiro." } }
{ "translation": { "en": "We shared the bananas with our neighbors.", "lg": "Amatooke twagagabanye ne baliraanwa baffe." } }
{ "translation": { "en": "The young girl who was raped walks with difficulty.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "He is considered to be the best tennis player in the world today.", "lg": "Atwalibwa okuba omuzannyi wa ttena asinga mu nsi mu kaseera kano." } }
{ "translation": { "en": "The reporters traveled to Haiti.", "lg": "Abasasi baagenda mu Haiti." } }
{ "translation": { "en": "Due to the pandemic outbreak social gathering of more than thirty people is prohibited.", "lg": "\"Olw'okubalukawo kw'ekirwadde bbunansi, enkungaana z'abantu abasukka mu makumi asatu tezikkirizibwa.\"" } }