translation
dict
{ "translation": { "en": "All footballers from his team were tested for coronavirus.", "lg": "Abasambi b'omupiira bonna aba ttiimu ye baakeberebwa akawuka ka kkolona." } }
{ "translation": { "en": "I have walked a long distance to reach here.", "lg": "Ntambudde olugendo luwanvu okutuuka wano." } }
{ "translation": { "en": "My uncle was shot by the criminals.", "lg": "Abazigu baakuba kojja wange amasasi." } }
{ "translation": { "en": "This is the busiest market in Uganda.", "lg": "Kano ke katale akasinga okubeera n'emirimu Uganda" } }
{ "translation": { "en": "They have held many concerts across Africa.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Which political leader led Uganda to independence?", "lg": "Ani munnabyabufuzi eyakulembera Uganda okugituusa ku meefuga?" } }
{ "translation": { "en": "He confiscated his brother's piece of land.", "lg": "Yanyaga ettaka lya muganda we." } }
{ "translation": { "en": "Many troops attempted to withdraw to Kampala but were blocked and killed.", "lg": "Bannamagye bangi baagezaako okuddukira mu Kampala naye baalemesebwa era ne battibwa." } }
{ "translation": { "en": "Her parents were of mixed race.", "lg": "Bazadde be baali bamusaayimutabule." } }
{ "translation": { "en": "Your son is going to represent the group in the competition.", "lg": "Mutabaniwo agenda kukiikirira ekibinja mu mpaka." } }
{ "translation": { "en": "I found someone willing to dig the pit.", "lg": "Nafunye omuntu eyeetegese okusima ekinnya." } }
{ "translation": { "en": "Many businesses made losses during the pandemic.", "lg": "Bizineesi nnyingi tezaakola magoba mu kiseera ky'ekirwadde." } }
{ "translation": { "en": "Candidates must possess a good masters degree from a recognized university.", "lg": "Abeesimbyewo balina okuba ne diguli ennungi okuva mu ssettendekero ezimanyiddwa." } }
{ "translation": { "en": "The country has injected more money into technology development.", "lg": "Eggwanga lyongedde ssente mu kukulaakulanya ebya tekinologiya." } }
{ "translation": { "en": "The disease affects the lungs and leads to loss of appetite.", "lg": "Ekirwadde kikosa amawuggwe ne kiviirako obutaagala kulya." } }
{ "translation": { "en": "The organization helps the erderly to improve their liverihoods.", "lg": "Ekitongole kiyamba okulongoosa obulamu bw'abakadde." } }
{ "translation": { "en": "The government will vaccinate students against coronavirus.", "lg": "Gavumenti ejja kugema abayizi akawuka ka kkolona." } }
{ "translation": { "en": "What are some of the benefits of bees?", "lg": "Egimu ku misaso gy'enjuki gye giriwa?" } }
{ "translation": { "en": "The dog chased the thief.", "lg": "Embwa yagoba omubbi." } }
{ "translation": { "en": "\"I have run into them in academic forums, across the globe.\"", "lg": "Mbasisinkanyeeko mu misomo egitali gimu mu nsi ezitali zimu." } }
{ "translation": { "en": "My friend is not married.", "lg": "Mukwano gwange si mufumbo." } }
{ "translation": { "en": "The thieves normally come through that hole.", "lg": "Ababbi bafubutukira nnyo mu kituli ekyo." } }
{ "translation": { "en": "The assessment report was not in favor of the boss.", "lg": "Alipoota ekwata ku ntambuza y'emirimu teyabadde nnungi eri omukulu." } }
{ "translation": { "en": "Giving students theoretical knowledge only will not benefit them much.", "lg": "Okuwa abayizi amagezi g'omu kibiina gonna tekujja kubagasa nnyo." } }
{ "translation": { "en": "New road signs have been put along Masaka road.", "lg": "Obupande bw'oku nguudo obupya buteereddwa ku luguudo lw'e Masaka." } }
{ "translation": { "en": "What happens in the market?", "lg": "Biki ebibeera mu katale?" } }
{ "translation": { "en": "I dreamt about a famine which is to strike the area.", "lg": "Naloota ku njala egenda okugwa ku kitundu." } }
{ "translation": { "en": "There are some many land conflicts in Uganda.", "lg": "Waliwo obukuubagano ku ttaka bungi mu Uganda." } }
{ "translation": { "en": "They have called out youths to join the sport.", "lg": "Bakunze abavubuka okwegatta ku muzannyo." } }
{ "translation": { "en": "The criminal should be arrested.", "lg": "Omuzzi w'emisango alina okukwatibwa." } }
{ "translation": { "en": "People of Arua municipality need to elect a person who understands their problems.", "lg": "Abantu mu munisipaali ya Arua beetaaga okulonda omuntu ategeera ebizibu byabwe." } }
{ "translation": { "en": "Every district in Uganda has a hospital.", "lg": "Buli disitulikiti mu Uganda erina eddwaliro." } }
{ "translation": { "en": "Tenants need protection from the landlord's oppression.", "lg": "Abapangisa beetaaga okutaasibwa ku kunyigirizibwa kwa bannanyini mayumba." } }
{ "translation": { "en": "Three regions are affected with the cattle infections.", "lg": "Ebitundu bisatu bikoseddwa obulwadde bw'ebisolo." } }
{ "translation": { "en": "There will be an improvement in health service provision.", "lg": "Wajja kubeerawo okutumbula mu mpeereza y'ebyobujjanjabi." } }
{ "translation": { "en": "My school has the best teachers in the country.", "lg": "Essomero lyange lirina abasomesa abasinga mu ggwanga." } }
{ "translation": { "en": "That company has lost a great man.", "lg": "Kampuni eyo efiiriddwa omusajja ow'omugaso ennyo." } }
{ "translation": { "en": "The judges were impressed by his pitch.", "lg": "Abalamuzi baasanyukira ekisaawe kye." } }
{ "translation": { "en": "Ambulances carry patients to the hospital.", "lg": "Emmotoka ezitambuza abalwadde zitwala abalwadde mu ddwaliro." } }
{ "translation": { "en": "\"Without mosquito nets, there are high chances of getting malaria.\"", "lg": "Awatali butimba bwa nsiri emikisa gy'okufuna omusujja gw'ensiri giri waggulu." } }
{ "translation": { "en": "The team leader arrived yesterday.", "lg": "Omukulembeze wa ttiimu yatuuse eggulo." } }
{ "translation": { "en": "Everyone desires to have a good life.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Political parties were limited in their activities.", "lg": "Ebibiina by'ebyobufuzi byakugirwa mu mirimu gyabyo." } }
{ "translation": { "en": "They wanted to meet the president last week.", "lg": "Baali baagala kusisinkana pulezidenti wiiki ewedde." } }
{ "translation": { "en": "I didn't expect to see him here.", "lg": "Sisuubira kumulaba wano." } }
{ "translation": { "en": "It is a quality that got him where he is now.", "lg": "Omutindo gwe gw'amutuusa w'ali kati." } }
{ "translation": { "en": "The awards are categorized into three to cover the diversity in the sector.", "lg": "Awaadi ezo zigwa mu biti bisatu okusobola okukwata ku nsonda ezitali zimu." } }
{ "translation": { "en": "He will explain the new land laws.", "lg": "Ajja kunnyonnyola amateeka g'ettaka amapya." } }
{ "translation": { "en": "I found some children shooting mangoes in a tree using stones.", "lg": "Nasanze abaana abamu bakuba emiyembe n'amayinja." } }
{ "translation": { "en": "The patient died soon afterward.", "lg": "Omulwadde yafudde amangu ddala oluvannyuma." } }
{ "translation": { "en": "He was killed in a guest house.", "lg": "Yattirwa mu nnyumba y'ekisulo ky'abagenyi." } }
{ "translation": { "en": "The law enforcement officers arrested street vendors today in the morning.", "lg": "Abo abakwasissa amateeka bakutte abatundira ebintu ku nguudo leero ku makya." } }
{ "translation": { "en": "\"\"\"There were too many people, I didn't notice my old time friend.\"", "lg": "\"\"\"Waaliwo abantu bangi nnyo, saategeera mukwano gwange bwe twazirunda.\"" } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Uganda's health system is composed of health services delivered to the public sector.", "lg": "Ebyobulamu bya Uganda bizingiramu ebyobulamu gavumenti by'ewa abantu ba bulijjo." } }
{ "translation": { "en": "The government should increase security on its borders.", "lg": "Gavumenti erina okwongeza obukuumi ku nsalo zaayo." } }
{ "translation": { "en": "The Muslims were asking for justice and equality.", "lg": "Abasiraamu baali basaba bwenkanya na mwenkanonkano." } }
{ "translation": { "en": "He still resides at his parents' house.", "lg": "Akyabeera mu maka g'abakadde be." } }
{ "translation": { "en": "Conmen stole money from my mobile money account.", "lg": "Abafere babba ssente ezaali ku akawunta yange ey'essimu." } }
{ "translation": { "en": "There are few donkeys in Uganda.", "lg": "Mu Uganda mulimu endogoyi ntono." } }
{ "translation": { "en": "His wife and my sister are age mates.", "lg": "Mukyalawe yenkanya emyaka ne muganda wange/mwannyinaze." } }
{ "translation": { "en": "There are no funds allocated to the renovation of old buildings.", "lg": "Tewali ssente zaateekeddwa ku kuddaabiriza bizimbe bikadde." } }
{ "translation": { "en": "Girls have challenges that see them out of school.", "lg": "Abawala balina ebibasoomooza ebibaviirako okuwanduka mu masomero." } }
{ "translation": { "en": "Only students with health conditions will be excused from athletics.", "lg": "Abayizi abalina ensonga ezeekuusa ku by'obulamu be bokka abatajja kwenyigira mu kudduka." } }
{ "translation": { "en": "We should wash our hands regularly.", "lg": "Tulina okunaaba engalo zaffe buli kadde." } }
{ "translation": { "en": "He died yesterday morning.", "lg": "Yafudde ggulo ku makya." } }
{ "translation": { "en": "We have to come up with solutions to overcome gender-based violence in homes.", "lg": "Tulina okuvaayo n'ebisola okukolebwa okusobola okugonjoola obutakkaanya mu nkula y'abantu mu maka." } }
{ "translation": { "en": "They will begin getting weekly allowances next year.", "lg": "Bajja kutandika okusasulwa ensimbi ezitali ku musaala eza buli sabbiiti omwaka ogujja." } }
{ "translation": { "en": "Politics shouldn't be mixed with cultural matters.", "lg": "Obufuzi tebulina kugatibwa na nsonga za bya buwangwa." } }
{ "translation": { "en": "People have been advised to start saving money for their future.", "lg": "Abantu bakubiriziddwa okutandika okuterekawo ssente ezinaabayamba mu biseera eby'omu maaso." } }
{ "translation": { "en": "The ambulance driver was arrested for taking money from patients before taking them to the hospital.", "lg": "Omuvuzi wa ambyulensi yakwatibwa olw'okuba yaggyanga ssente ku balwadde nga tannabatwala mu ddwaliro." } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "I heard your father talking about the water issue over the radio.", "lg": "Nnawulidde kitaawo nga ayogera ku nsonga y'amazzi ku leediyo." } }
{ "translation": { "en": "He is the new owner of the shop.", "lg": "Ye nnannyini dduuka omuggya." } }
{ "translation": { "en": "The company is known by many people.", "lg": "Kkampuni emanyiddwa abantu bangi." } }
{ "translation": { "en": "Some officials have doubts about bridge construction.", "lg": "Abakungu abamu balina okubuusabuusa ku kuzimba olutindo." } }
{ "translation": { "en": "Many religious leaders attended the event.", "lg": "Omukolo gwetabwako bannaddiini bangi." } }
{ "translation": { "en": "He got a lot of wealth from his clothing business.", "lg": "Yafuna ssente nnyingi okuva mu bizinensi ye ey'engoye." } }
{ "translation": { "en": "She misplaced her phone somewhere around the office.", "lg": "Essimu ye yagibuliza awantu awaliranye woofiisi." } }
{ "translation": { "en": "It might rain in the afternoon.", "lg": "Enkuba eyinza okutonnya mu ttuntu." } }
{ "translation": { "en": "The African continent is made up of many countries.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "We filled the store with food.", "lg": "Eggwanika twalijjuza emmere." } }
{ "translation": { "en": "They ensured that the new government gets no foreign assistance.", "lg": "Bakakasa nti gavumenti empya tefuna buyambi kuva mu nsi za bweru." } }
{ "translation": { "en": "He is the editor of that magazine.", "lg": "Ye musunsuzi w'akatabo k'amawulire ako." } }
{ "translation": { "en": "Kenya is the most affected country in East Africa by the coronavirus .", "lg": "Kenya y'esize okukosebwa akawuka ka kolona mu East Africa." } }
{ "translation": { "en": "The debate about the country’s leadership has been conducted earlier.", "lg": "Guno si gwe mulundi ogusoose ensonga ekwata ku bukulembeze bw'eggwanga lino okukubaganyizibwako ebirowoozo." } }
{ "translation": { "en": "Students should always be disciplined.", "lg": "Abayizi bateekeddwa okubeera n'empisa.." } }
{ "translation": { "en": "He has brought your money.", "lg": "Aleese ssente zo." } }
{ "translation": { "en": "Everyone deserves an opportunity.", "lg": "Buli muntu asaana aweebwe omukisa." } }
{ "translation": { "en": "I wonder why he left the desk so quickly.", "lg": "Nneebuuza lwaki yavudde ku ntebe mangu." } }
{ "translation": { "en": "We can increase company sales if we advertise the juice to potential customers.", "lg": "Tusobola okwongeza ku muwendo gw'ebitundibwa mu kkampuni singa omubisi tumulanga eri abantu be tusuubira okumugula." } }
{ "translation": { "en": "He diverted the church funds to personal use.", "lg": "Ssente z'ekkanisa yazizza mu bibye." } }
{ "translation": { "en": "Ugandans are friendly people.", "lg": "Bannayuganda bantu balungi nnyo." } }
{ "translation": { "en": "Business people pay taxes to the government.", "lg": "Abantu abalina bizinensi basasula omusolo eri gavumenti." } }
{ "translation": { "en": "Children should respect their elders.", "lg": "Abaana balina okuwa bakulu baabwe ekitiibwa." } }
{ "translation": { "en": "A personal assessment will be carried out for records and archives purposes.", "lg": "Okwekebejja omuntu kujja kukolebwa okukuuma n'okutereka ebiwandiiko." } }
{ "translation": { "en": "His mother is very sick.", "lg": "Nnyina mulwadde nnyo." } }
{ "translation": { "en": "An electricity pole fell and killed three people.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Political analysts have criticized the president’s most recent statement.", "lg": "Abayungulula ebyobufuzi bakolokose ebyasembyeyo okwogerwa pulezidenti." } }
{ "translation": { "en": "He is a member of a Rotary club.", "lg": "Mmemba mu kibiina kya Lotale." } }