translation
dict
{ "translation": { "en": "Nobody should threaten you with a panga.", "lg": "Tewali muntu akkirizibwa kukutiisatiisa na jjambiya." } }
{ "translation": { "en": "We were supposed to meet at the hospital.", "lg": "Twali ba kusisinkana ku ddwaliro." } }
{ "translation": { "en": "Women are now being respected.", "lg": "Abakyala baweebwa ekitiibwa kaakano." } }
{ "translation": { "en": "He was arrested for selling things on the streets of Kampala.", "lg": "Yakwatibwa lwa kutunda bintu ku nguudo z'omu Kampala." } }
{ "translation": { "en": "The minister has hope that his department will perform better.", "lg": "Minisita alina essuubi nti ekitongole kye kijja kukola bulungi." } }
{ "translation": { "en": "\"\"\"They worked very hard on their farms.\"", "lg": "\"\"\"Baakola na maanyi mu nnimiro zaabwe.\"" } }
{ "translation": { "en": "The government has failed to handle the problems associated with the refugees.", "lg": "Gavumenti eremereddwa okukwasaganya ebizibu ebyekuusa ku banoonyiboobubudamu." } }
{ "translation": { "en": "He has malaria and typhoid.", "lg": "Alina omusujja gw'ensiri n'ogw'omu byenda." } }
{ "translation": { "en": "The school receives visitors every week.", "lg": "Essomero lifuna abagenyi buli wiiki." } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "I wonder why some midwives are rude to mothers during labor!", "lg": "Neewuunya lwaki abazaalisa abamu bakambuwalira nnyo bamaama mu kuzaala." } }
{ "translation": { "en": "The first person to test positive for coronavirus in Uganda was a thirty-three-year-old national.", "lg": "Omuntu eyasooka okuzuulibwamu akawuka ka kkolona mu Uganda yali munnansi wa myaka amakumi asatu mu esatu." } }
{ "translation": { "en": "The organization is recruiting for the new branch.", "lg": "Ekitongole kiyingiza abakozi ab'ettabi eppya." } }
{ "translation": { "en": "The people that disobeyed the president's directives were arrested.", "lg": "Abantu abaagyemera ebiragiro bya pulezidenti baakwatibwa." } }
{ "translation": { "en": "It was reported that most people on the team misuse the training equipment.", "lg": "Kyaloopebwa nti abantu abasinga obungi ku ttiimu bakozesa bubi ebikozesebwa mu kutendeka." } }
{ "translation": { "en": "Those in the quarantine are monitored by the health officers.", "lg": "Abo abali mu kkalantiini balondoolwa bakungu b'ebyobulamu." } }
{ "translation": { "en": "I want to eat food because I am angry.", "lg": "Njagala kulya mmere kubanga ndi munyiivu." } }
{ "translation": { "en": "\"During every election cycle, many churches preach politics.\"", "lg": "Mu buli kulonda ekanisa nnyingi zibuulirira ku byobufuzi." } }
{ "translation": { "en": "She proved to be a charming leader.", "lg": "Yakakasa nti yali mukulembeze asanyusa." } }
{ "translation": { "en": "He was the best footballer of the year.", "lg": "Ye yali omusambi w'omupiira ow'omwaka." } }
{ "translation": { "en": "My uncle is sitting in his chair reading a newspaper.", "lg": "Kojja wange atudde mu ntebe ye asoma olupapula lw'amawulire." } }
{ "translation": { "en": "Women in Northern Uganda protested against land grabbing.", "lg": "Abakazi ab'omu Mambuka ga Uganda beekalakasa olw'ekibba ttaka." } }
{ "translation": { "en": "The game will be played at night.", "lg": "Omuzannyo gujja kuzannyibwa kiro." } }
{ "translation": { "en": "Money must be accounted for.", "lg": "Ssente zirina okubalirirwa" } }
{ "translation": { "en": "There is a screening of truck drivers when entering the country.", "lg": "Waliwo okukeberebwa kw'abavuzi ba biroole nga bayingira eggwanga." } }
{ "translation": { "en": "She cried while talking to the journalists.", "lg": "Yakaabye ng'ayogera ne bannamawulire." } }
{ "translation": { "en": "People want to spread the word of God.", "lg": "Abantu baagala okubunyisa ekigambo kya Katonda." } }
{ "translation": { "en": "The performance of the district depends on the performance of the finance department.", "lg": "Okukola kwa disitulukiti esinziira ku nkola y'ekitongole ky'ebyensimbi." } }
{ "translation": { "en": "Government officials can be transferred to any part of Uganda for work purposes.", "lg": "Abakungu ba gavumenti basobola okutwalibwa mu kitundu kya Uganda kyonna olw'emirimu." } }
{ "translation": { "en": "My uncle blames his wife for not giving him a son.", "lg": "Bakkojja bange banenya mukyala we olw'obutamuzaalira mwana mulenzi." } }
{ "translation": { "en": "A growing economy is powered by a fast-growing banking sector.", "lg": "Ebyenfuna by'eggwanga ebikula biwagirwa ekisaawe kya bbanka ekikulira ku mbiro." } }
{ "translation": { "en": "Her husband slapped her for disrespecting him in front of his colleagues.", "lg": "Bba yamukuba oluyi bwe yali amuyisaamu amaaso nga mikwano gye giraba." } }
{ "translation": { "en": "Uganda's agricultural sector has received attention from foreign investors.", "lg": "Ebyobulimi bya Uganda bisikirizza ba musiga nsimbi ab'ebweeru" } }
{ "translation": { "en": "Bwire revealed that the Kenya Media Council is working with Makerere University.", "lg": "Bwire yategeezezza nti Kenya Media Council ekolagana ne ssettendekero wa Makerere." } }
{ "translation": { "en": "The students lack the capital to establish their own businesses.", "lg": "Abayizi tebalina ntandikwa okutandikawo bizinensi zaabwe." } }
{ "translation": { "en": "Has the class started?", "lg": "Omusomesa atandise okusomesa?" } }
{ "translation": { "en": "When reporting to school all children must enter through the main gate.", "lg": "Abaana bonna bateekwa okuyingirira mu wankaaki nga bajja ku ssomero." } }
{ "translation": { "en": "She ran away from home when her father tried to force her into marriage.", "lg": "Yadduka ewaka kitaawe bwe yagezaako okumukaka okufumbirwa." } }
{ "translation": { "en": "\"Yesterday, one of the prisoners escaped.\"", "lg": "\"Olunaku lwa jjo, omu ku basibe yatolose.\"" } }
{ "translation": { "en": "Epidemics usually spread fast.", "lg": "Ebirwadde ebibalukawo bisaasaana mangu." } }
{ "translation": { "en": "Why are you frightened?", "lg": "Lwaki otidde?" } }
{ "translation": { "en": "They established hatchery units and feed mills to import parent stock and baby chicks.", "lg": "Baatandikawo ejjalulizo n'ebyuma ebikuba emmere okusobola okusuubula enkoko enkulu n'obukoko obuto." } }
{ "translation": { "en": "There are increasing cases of domestic violence.", "lg": "Emisango gy'obutabanguko mu maka gyeyongedde." } }
{ "translation": { "en": "What are the qualities of a good salesman?", "lg": "Kitunzi omulungi alina kuba na ngeri ki?" } }
{ "translation": { "en": "The headteacher called upon all teachers to join the savings group.", "lg": "Omukulu w'essomero yasabye abasomesa bonna okwegatte ku bibiina ebiteresi by'ensimbi." } }
{ "translation": { "en": "They borrowed seventy million American dollars from the regional lenders.", "lg": "Beewola obukadde bwa doola za Amerika nsanvu okuva ku bawozi b'omu kitundu." } }
{ "translation": { "en": "These are the statutory government agencies in the East African Community.", "lg": "Bino bye bitongole bya gavumenti ebyawandiisibwa mu mateeka mu Mukago gwa Afirika ey'Obuvanjuba." } }
{ "translation": { "en": "The hospital runs out of space to admit more coronavirus patients.", "lg": "Eddwaliro lyaggweebwako ebifo by'okuteekamu abalwadde ba kkolona." } }
{ "translation": { "en": "\"In case of lack of adequate funds, one is free to borrow.\"", "lg": "\"Singa ebikozesebwa biba nga tebimala, omuntu wa ddembe okwewola.\"" } }
{ "translation": { "en": "The ruling political party considered different political views.", "lg": "Ekibiina ekyali mu buyinza kyatwala endowooza z'ebyobufuzi ez'enjawulo." } }
{ "translation": { "en": "\"You should have hope, things will get better someday.\"", "lg": "Olina okuba n'essuubi nti ebintu bijja kukyuka olunaku olumu." } }
{ "translation": { "en": "Mobile Telephone companies have increased tax on the internet.", "lg": "Kampuni z'amasimu zongezza omusolo ku intaneeti." } }
{ "translation": { "en": "Some people shared their views on the matter.", "lg": "Abantu abamu baawa ebirowoozo byabwe ku nsonga." } }
{ "translation": { "en": "People love access to free resources.", "lg": "Abantu baagala okufuna ebintu by'obwereere." } }
{ "translation": { "en": "Politicians claimed that media campaigns are not effective.", "lg": "Bannabyafuzi baagambye nti emikutu gy'amawulire si tegikola kimala." } }
{ "translation": { "en": "She got so scared when someone knocked at her door at night.", "lg": "Yatya omuntu bwe yakonkona ku luggi lwe ekiro." } }
{ "translation": { "en": "She never expected him to buy her a watch.", "lg": "Teyamusuubira kumugulira ssaawa." } }
{ "translation": { "en": "Beans are rich in proteins whereas cassava is rich in carbohydrates.", "lg": "Mu bijanjaalo mulimu ekizimba omubirii so nga ate muwogo mulimu ekireeta amaanyi." } }
{ "translation": { "en": "The leader talked about free education for everyone.", "lg": "Omukulembeze yayogedde ku kusomera obwereere okwa buli muntu." } }
{ "translation": { "en": "The government is looking into the oil issue.", "lg": "Gavumenti etunula mu nsonga y'amafuta." } }
{ "translation": { "en": "He tried to convince her into getting married.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "He was given a ten percent interest on his loan.", "lg": "Yaweebwa amagoba ga bitundu kkumi ku buli kikumi ku ssente ze yawola." } }
{ "translation": { "en": "Donations should serve the required purpose.", "lg": "Obuyambi bulina okukola omulimu ogwabwetaagisa." } }
{ "translation": { "en": "Everyone is leaving in fear because of the outbreak of COVID-19.", "lg": "Buli omu atambulira mu kutya olw'okubalukawo kwa COVID-19." } }
{ "translation": { "en": "There is a rise of teenage pregnancies in that district.", "lg": "Omuwendo gw'abattiini abali embuto mu disitulikiti eyo gweyongedde." } }
{ "translation": { "en": "The vaccine will not be given to children.", "lg": "Abaana abato tebajja kugemebwa." } }
{ "translation": { "en": "What is your lucky number in this game?", "lg": "Ennamba yo ey'omukisa mu muzannyo guno eri ki?" } }
{ "translation": { "en": "The heavy rain in Eastern Uganda has caused road accidents.", "lg": "Enkuba ey'amaanyi mu Buvanjuba bwa Uganda ereeseewo obubenje bw'oku nguudo." } }
{ "translation": { "en": "Kajura isn't the only former politician to find himself in financial trouble.", "lg": "Kajura si ye munnabyabufuzi yekka eyaliko okwesanga ng'ali mu buzibu bwa ssente." } }
{ "translation": { "en": "The crime rate in Arua town has reduced.", "lg": "Obuzzi bw'emisango mu kibuga kya Arua bukendedde." } }
{ "translation": { "en": "Everyone is special in their way.", "lg": "Buli omu wa njawulo mu ngeri ye." } }
{ "translation": { "en": "All travellers are being screened for coronavirus at the border points.", "lg": "Abasaabaze bonna bakeberebwa akawuka ka kolona ku nsalo." } }
{ "translation": { "en": "\"For continuity, family businesses need succession plans.\"", "lg": "Bizineesi za famire okw'eyongerayo zisaana engeri y'ensikirano." } }
{ "translation": { "en": "Some traders in the area were not observing the standard operating procedures.", "lg": "Abasuubuzi b'omu kitundu baali tebagoberera biragiro ebyateekebwawo okugobererwa." } }
{ "translation": { "en": "I opened a foundation to help the orphans in this village.", "lg": "Nnatandikawo ekitongole ekiyamba bamulekwa ku kyalo kino." } }
{ "translation": { "en": "He needed a car to ease his campaigns.", "lg": "Yali yeetaaga emmotoka okwanguya kakuyege we." } }
{ "translation": { "en": "I won't help you.", "lg": "Sijja kukuyamba." } }
{ "translation": { "en": "Youths have not embraced higher institutions of learning.", "lg": "Abavubuka tebeeyunidde matendekero aga waggulu." } }
{ "translation": { "en": "Some district officials mismanage government funds.", "lg": "Abakungu ba disitulikiti abamu bakozesa bubi ensimbi za gavumenti." } }
{ "translation": { "en": "The bank strongly resisted the act of lowering the interest rates.", "lg": "Bbanka yawakanya ne ssekuwakanya ekikolwa ky'okukendeeza amagoba ku ssente ezeewolebwa." } }
{ "translation": { "en": "He has spoken out about the oppression of widows and orphans in this village.", "lg": "Ayogedde ku kutulugunyizibwa kwa bannamwandu ne bamulekwa ku kyalo kino." } }
{ "translation": { "en": "Some students are complaining about being left out during class activities.", "lg": "Abayizi abamu beemulugunya ku kulekebwa ebbali mu mirimu egikolebwa mu kibiiina." } }
{ "translation": { "en": "The event sponsors were thanked for their work.", "lg": "Abaavujjiridde omukolo beebaziddwa olw'omulimu gwaabwe." } }
{ "translation": { "en": "One patient had a Kenyan accent.", "lg": "Omulwadde omu yali ayogera nga Munnakenya." } }
{ "translation": { "en": "People selling pork will start selling goat meat.", "lg": "Abatunda embizzi bajja kutandika okutunda ennyama y'embuzi." } }
{ "translation": { "en": "The master of the ceremony asked everyone at the party to introduce themselves.", "lg": "Kalabaalaba w'omukolo yasabye buli omu ku kabaga yeeyanjule." } }
{ "translation": { "en": "Majority accounts for the largest proportion", "lg": "Abangi be babalirira ekitundu ekisinga obunene" } }
{ "translation": { "en": "The presidential age limit bill was passed by parliament.", "lg": "Ebbago ly'etteeka eriggya ekkomo ku myaka gya pulezidenti lyayisibwa paalimenti." } }
{ "translation": { "en": "Actors and artists are now pursuing politics.", "lg": "Bannakatemba ne bannabitone kati bali mu byabufuzi." } }
{ "translation": { "en": "I am the salesperson for this company.", "lg": "Nze kitunzi wa kkampuni eno." } }
{ "translation": { "en": "His swimming skills have improved greatly because of the new coach.", "lg": "Obukodyo bwe mu kuwuga bweyongeddeko nnyo olw'omutendesi omuggya." } }
{ "translation": { "en": "There was no salt in the food.", "lg": "Mu mmere temubaddemu munnyo." } }
{ "translation": { "en": "The government supports most business sectors.", "lg": "Gavumenti eyamba ebiwayi bya bizinensi ebisinga." } }
{ "translation": { "en": "I want to be the next chairperson of our village.", "lg": "Njagala kuba ssentebe w'ekyalo kyaffe addako." } }
{ "translation": { "en": "The dead man was a principled shepherd.", "lg": "Omugenzi yali musumba atambulira ku nnono." } }
{ "translation": { "en": "Government policies should always be introduced at the district level.", "lg": "Enkola za gavumenti bulijjo zisaanidde okutandikira ku disitulikiti." } }
{ "translation": { "en": "\"In the tournament, the victors were to walk away with cash prizes.\"", "lg": "\"Mu mpaka, abawanguzi baali ba kwewangulira birabo by'ensimbi.\"" } }
{ "translation": { "en": "The team has arrived.", "lg": "Ttiimu etuuse." } }
{ "translation": { "en": "The doctor said that you will be fine soon.", "lg": "Ddokita yagamba nti ojja kuba bulungi mu bwangu." } }
{ "translation": { "en": "\"Lucky her, she got married to the king.\"", "lg": "Alina omukisa okuba nga yafumbirwa Kabaka." } }