translation
dict
{ "translation": { "en": "Health services should be extended to the people.", "lg": "Ebyobulamu bisaanye bituusibwe eri abantu." } }
{ "translation": { "en": "Ugandan artists have reaped big from the music industry.", "lg": "Abayimbi Bannayuganda baganyuddwa kinene okuva mu kisaawe ky'okuyimba." } }
{ "translation": { "en": "Youths had a counselling session.", "lg": "Abavubuka baabaddeyo n'okubudaabudibwa." } }
{ "translation": { "en": "They received two announcements on the radio.", "lg": "Bafunye ebirango bibiri ku laadiyo." } }
{ "translation": { "en": "Our legal team is comprised of five lawyers.", "lg": "Ekibinja kyaffe ekya bannamateeka kikolebwa ba puliida bataano." } }
{ "translation": { "en": "Subsistence farming was largely based on the supply of seed from farmer to farmer.", "lg": "Okulima emmere ey'okulya kwesigamizibwanga kuwaŋŋana ensigo wakati w'abalimi." } }
{ "translation": { "en": "She advised women to open up bank accounts as a way of saving money.", "lg": "Yakubirizza abakyala okuggulawo akawunti mu bbanka nga engeri y'okutereka ensimbi." } }
{ "translation": { "en": "Visiting the update stations is a way to confirm voter registration.", "lg": "Okutuuka webazizza enkalala obuggya y'engeri y'okukakasa obuwandiise bw'okulonda." } }
{ "translation": { "en": "Babies are blessings from God.", "lg": "Abaana mikisa okuva eri mukama." } }
{ "translation": { "en": "A doctor is a prominent person in that village.", "lg": "Omusawo muntu wa nkizo nnyo ku kyalo ekyo." } }
{ "translation": { "en": "He talked about the memories he made with his partner.", "lg": "Yayogera ku by'ajjukira bye yakolanga ne munne." } }
{ "translation": { "en": "The agricultural outreaches are being carried out across the country.", "lg": "Kaweefube w'okulambula ebyobulimi agenda mu maaso okwetooloola eggwanga." } }
{ "translation": { "en": "What is the name of your village?", "lg": "Ekyalo kyammwe bakiyita batya?" } }
{ "translation": { "en": "Our grandfather narrated to us a very good story yesterday.", "lg": "Jjajjaffe omusajja yatunyumirizza akagero akalungi ennyo eggulo." } }
{ "translation": { "en": "Flooding caused the mine to collapse.", "lg": "Amataba gaaviiriddeko ekirombe okugwamu." } }
{ "translation": { "en": "The city has so many police officers deployed on its streets.", "lg": "Abasirikale ba poliisi bangi bayiiriddwa ku nguudo z'ekibuga." } }
{ "translation": { "en": "His father earns a living from growing and selling coffee.", "lg": "Kitaawe ssente ezimubeezaawo aziggya mu kulima n'okutunda emmwanyi." } }
{ "translation": { "en": "What causes some projects to fail in some areas and succeed in other areas?", "lg": "Ki ekireetera puloojekiti ezimu okulema mu bitundu ebimu ate ne zimalako mu bitundu ebirala?" } }
{ "translation": { "en": "He contested against Kagame and remains critical to him.", "lg": "Yavuganya Kagame era n'asigala ng'amuvumirira." } }
{ "translation": { "en": "The hotel offers a tour of the caves at ten o'clock in the morning.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The alternative of a real democratic agenda is rooted in the pursuit of social justice.", "lg": "Engeri endala ey'okulwanirira demokulasiya kwe kufuba okulwanirira obw'enkanya mu bantu." } }
{ "translation": { "en": "His eyes were reddish.", "lg": "Amaaso ge gaali mamyukirivu." } }
{ "translation": { "en": "Be extra careful while dealing with strangers.", "lg": "Beera mwegendereza nnyo ng'okolagana n'abantu bootomanyi." } }
{ "translation": { "en": "Farmers need information on companies that have good seedlings for tomatoes.", "lg": "Abalimi beetaaga obubaka ku makampuni agalina ensigo y'ennyaanya ennungi" } }
{ "translation": { "en": "The people that tested positive for coronavirus were placed under isolation.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "An exhibition of some of his work has come to Kampala.", "lg": "Omwoleso kw'egimu ku mirimu gye guzze mu Kampala." } }
{ "translation": { "en": "Meetings are organised in order for people to share ideas.", "lg": "Enkiiko zitegekebwa abantu basobole okugabana ebirowoozo." } }
{ "translation": { "en": "Rehabilitated vegetation at Bamburi Haller Park.", "lg": "Omuddo ogwaddaabirizibwa ku Bamburi Haller Park." } }
{ "translation": { "en": "The coronavirus pandemic first surfaced in a country in Asia.", "lg": "Akawuka ka kkolona kaasooka kuzuuka mu ggwanga eriri mu Asia." } }
{ "translation": { "en": "His mother beat him for finishing all the food before his siblings ate.", "lg": "Nnyina yamukubye lwa kumalawo mmere yonna nga baganda be tebannalya." } }
{ "translation": { "en": "Health workers will do their best to provide the best health services.", "lg": "Abasawo bajja kukola ekisoboka okuwa obujjanjabi obusinga." } }
{ "translation": { "en": "We worked in shifts during the lockdown.", "lg": "Twakoleranga mu mpalo mu kiseera ky'omuggalo." } }
{ "translation": { "en": "\"\"\"Her friend looked after me.\"", "lg": "Mukwano gwe yandabirira." } }
{ "translation": { "en": "The president has declared tomorrow a public holiday.", "lg": "Pulezidenti olunaku lw'enkya alulangiridde nga olw'okuwummula." } }
{ "translation": { "en": "The Olympic games have to be postponed for health reasons.", "lg": "Emizannyo gya Olympic girina okwongezebwayo olw'ensonga z'eby'obulamu." } }
{ "translation": { "en": "The city council intends to construct more roads in Kampala district.", "lg": "Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga kiteekateeka okwongera okuzimba enguudo mu disitulikiti y'e Kampala." } }
{ "translation": { "en": "The airline was awarded the World's Youngest Aircraft.", "lg": "Kkampuni y'ennyonyi yatuumibwa Kkampuni y'Ennyonyi Esinga Obuto mu Nsi Yonna." } }
{ "translation": { "en": "Our football club has won the district tournament of the year.", "lg": "Ttiimu yaffe ey'omupiira gw'ebigere ewangudde empaka za disitulikiti ez'omwaka." } }
{ "translation": { "en": "How charity organizations are impacting our communities.", "lg": "Engeri ebitongole ebirabirira abatalina mwasirizi gye bikyusiza ebitundu byaffe." } }
{ "translation": { "en": "I love smelling good.", "lg": "Njagala okuwunya obulungi." } }
{ "translation": { "en": "This street has no lights at all.", "lg": "Oluguudo luno teruliiko mataala yadde." } }
{ "translation": { "en": "The headteacher directed all sick students to be sent home immediately.", "lg": "Omukulu w'essomero yalagira abayizi abalwadde bonna bazzibweyo ekka embagirawo." } }
{ "translation": { "en": "Students should abide by the coronavirus standard operation procedures.", "lg": "Abayizi balina okugondera emitendera egigobererwa okulwanyisa akawuka ka kolona." } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Resentment causes hatred.", "lg": "Ekiruyi kireeta obukyaayi." } }
{ "translation": { "en": "How much is the cost of a car?", "lg": "Emmotoka ya ssente mmeka?" } }
{ "translation": { "en": "He was shocked by the demise of his rerative.", "lg": "Yatidde nnyo olw'okufa kw'owooluganda lwe." } }
{ "translation": { "en": "There was snake in the grass thatched shelter.", "lg": "Waaliwo omusoka mu kifo ekyeggamwamu ekyaserekebwa n'essubi." } }
{ "translation": { "en": "Stop playing in the rain.", "lg": "Lekera awo okuzannyira mu nkuba." } }
{ "translation": { "en": "I have great plans for my life.", "lg": "Nnina pulaani ennungi ennyo ze nkoze ezikwata ku bulamu bwange." } }
{ "translation": { "en": "Anthrax can also be contacted by human beings.", "lg": "Obulwadde bwa Anthrax busobola okukwata abantu." } }
{ "translation": { "en": "I was requested to address the congregation.", "lg": "Nasabibwa okwogera eri olukungaana." } }
{ "translation": { "en": "Everyone is responsible for their healthy wellbeing.", "lg": "Buli omu avunaanyizibwa ku bulamu bwe okubeera obulungi." } }
{ "translation": { "en": "Doctors have not received their salaries yet .", "lg": "Abasawo tebannafuna misaala gyabwe." } }
{ "translation": { "en": "The university will retain students with first-class degrees.", "lg": "Yunivaasite ejja kusigaza abayizi abanaaba bayitidde mu ddiguli ey'eddaala erisooka." } }
{ "translation": { "en": "He worked on the Jinja bridge as the main engineer.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "She was a member of the Board for many years.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "My grandmother was accused of being a witch.", "lg": "Jjajja wange omukazi avunaanibwa gwa bulogo." } }
{ "translation": { "en": "An interview is usually between two or more people.", "lg": "Yiintaaviyu bulijjo ebeerawo wakati w'abantu babiri oba abasukkamu." } }
{ "translation": { "en": "Even pipes where clean water passes can also get damaged.", "lg": "N'emidumu amazzi amayonjo mwe gayita nagyo gisobola okwononeka." } }
{ "translation": { "en": "Some people make financial transactions using the internet.", "lg": "Abantu abamu emirimu gy'ebyensimbi bagikolera ku yintaneeti." } }
{ "translation": { "en": "He is one of the leaders opposing the age limit campaign.", "lg": "Y'omu ku bakulembeze abawakanya kkampeyini y'ekkomo ku myaka." } }
{ "translation": { "en": "What is the history of the Bunyoro kingdom in Uganda?", "lg": "Ebyafaayo by'obwakabaka bwa Bunyoro obusangibwa mu Uganda bye biriwa?" } }
{ "translation": { "en": "Ministry of Education and Sports offices are closed whenever they have important activities .This is to allow their staff to participate in these activities.", "lg": "woofiisi za Minisitule y'ebyenjigiriza n'emizannyo ziggalwa buli lwe wabaawo ebikolebwa. Kino kikolebwa kusobozesa kukkiriza bakozi kwetaba mu mirimu gino." } }
{ "translation": { "en": "Think twice before you join any anti-government protests.", "lg": "Lowooza nnyo nga tonneegatta ku keegugungo konna akagendereddwa okuwakanya gavumenti." } }
{ "translation": { "en": "The whole family was very happy when she returned home.", "lg": "Famire yonna yali nsanyufu ng'akomyewo ewaka." } }
{ "translation": { "en": "All non-Ugandans who tested positive for coronavirus were sent back to their countries for treatment.", "lg": "Abatali bannayuganda bonna abaazuuliddwamu kkolona baddiziddwayo mu mawanga gaabwe okujjanjabwa." } }
{ "translation": { "en": "If indeed we were strategic we would be having partnerships in many areas.", "lg": "\"Singa ddala twali tubala, twalibadde tulina bannamikago mu ngeri nnyingi.\"" } }
{ "translation": { "en": "Restaurants make a lot of money from University students.", "lg": "Ebirabo by'emmere bikola ensimbi nnyingi okuva mu bayizi ba ssettendekero.." } }
{ "translation": { "en": "He may not be able to repay the loan.", "lg": "Ayinza obutasobola kusasula bbanja." } }
{ "translation": { "en": "I had a scary dream last night.", "lg": "Nafunye ekirooto eky'entiisa ekiro kya jjo." } }
{ "translation": { "en": "He wants to spend more time with his family.", "lg": "Ayagala okumala obudde obungiko ne famire ye." } }
{ "translation": { "en": "All her fruits fell into the river.", "lg": "Ebibala bye byonna byagwa mu mugga." } }
{ "translation": { "en": "The company hired more vehicles.", "lg": "Kampuni yapangisizza emmotoka endala." } }
{ "translation": { "en": "The cattle raiders attacked the herd.", "lg": "Abanyazi b'ente baalumba eggana." } }
{ "translation": { "en": "They applied for a bank loan.", "lg": "Baasabye okwewola ssente mu tterekero ly'ensimbi." } }
{ "translation": { "en": "There was a heavy downpour last night.", "lg": "Waaabaddewo ekire eky'amaanyi ekiro ekyayise." } }
{ "translation": { "en": "\"Police spends money on tear gas, uniforms, and other.\"", "lg": "\"Poliisi esaasaanyiza ssente ku mukka ogubalagala, yunifoomu zaayo n'ebirala.\"" } }
{ "translation": { "en": "Those are the two teams that qualified for the football final match.", "lg": "Ezo ze ttiimu z'omupiira ebbiri ezaayitamu okuzannya empaka ez'akamalirizo." } }
{ "translation": { "en": "What should be done to ensure safety on the road?", "lg": "Ki ekirina okukolebwa okwekuuma ku luguudo?" } }
{ "translation": { "en": "Political candidates can appoint agents at every polling station to monitor electoral practices.", "lg": "Bannabyabufuzi abeesimbyewo basobola okulonda abasigire ku buli kifo ewalonderwa okulondoola ebigenda mu maaso mu kulonda." } }
{ "translation": { "en": "His team's football grounds are not very far away from ours.", "lg": "Ekisaawe kya ttiimu ye tekiri wala n'ekyaffe." } }
{ "translation": { "en": "The goalkeeper made a great save in the last minutes of the match.", "lg": "Omukwasi wa ggoolo yaggyamu omupiira ogw'amaanyi mu ddakiika ezisembayo mu muzannyo." } }
{ "translation": { "en": "That voice sounds familiar.", "lg": "Eddoboozi eryo nninga alimanyi." } }
{ "translation": { "en": "Tuesday is the day slated for opposition candidates to campaign in our region.", "lg": "Olwokubiri lwe lunaku olwateekebwateekebwa abeesimbyewo b'oludda oluvuganya okunoonya obulu mu kitundu kyaffe." } }
{ "translation": { "en": "He spends most of his time with the children.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The January two thousand eight elections in Kenya had widespread violence and destruction.", "lg": "Okulonda kw'omu Kenya okwa Janwali nkumi bbiri kwalimu okulwanagana kungi n'okwonoona." } }
{ "translation": { "en": "The local security killed four cattle rustlers.", "lg": "Abakuumi ba wansi basse ababbi b'ente bana." } }
{ "translation": { "en": "The loss of her two children to the war brought about her mental damage.", "lg": "Okufiirwa abaana be babiri mu lutalo kyamuviirako okukosebwa obwongo." } }
{ "translation": { "en": "It's the district's responsibility to approve all construction plans before construction begins", "lg": "Buvunaanyizibwa bwa disitulikiti okukakasa enteekateeka z'okuzimba ng'okuzimba tekunatandika" } }
{ "translation": { "en": "Islam is the second-largest religion in Uganda.", "lg": "Obusiraamu ye ddiini ey'okubiri ku zisinga bunene mu Uganda." } }
{ "translation": { "en": "Arua municipality is located in the North West region of Uganda.", "lg": "Munisipaali ya Arua esangibwa mu bukiikakkono bwa Uganda." } }
{ "translation": { "en": "They want every contract to be looked at again.", "lg": "Baagala buli ndagaano eddemu okwetegerezebwa." } }
{ "translation": { "en": "I developed diarrhea after lunch.", "lg": "Nagwamu embiro oluvannyuma lw'ekyemisana." } }
{ "translation": { "en": "Most African countries are ethnically and religiously diverse.", "lg": "Amawanga ga Afirika agasinga gakyusibwa obuwangwa n'amadiini." } }
{ "translation": { "en": "The prices of products usually go high due to an increase in taxes.", "lg": "Ebbeeyi y'ebintu etera okulinnya ng'emisolo girinnye." } }
{ "translation": { "en": "He bought for his mother a silver bracelet.", "lg": "Yagulira maama we amajolobera aga feeza." } }
{ "translation": { "en": "I did not trust that life would be return to the land and seas.", "lg": "Saakakasa nti obulamu bujja kudda ku lukalu ne n'ennyanja ezirimu omunnyo." } }
{ "translation": { "en": "Some refugees came from Congo.", "lg": "Abanoonyiboobubudamu abamu baava Congo." } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }