translation
dict
{ "translation": { "en": "If you do not eat you will grow thin.", "lg": "\"Bw'otalya, ojja kukogga.\"" } }
{ "translation": { "en": "The monkeys ate the yellow bananas that we had kept in the garden.", "lg": "Enkima zaalidde amenvu ge twabadde tuterese mu nnimiro." } }
{ "translation": { "en": "Children failed to go to school because of the floods.", "lg": "Abaana baalemereddwa okugenda ku ssomero olw'amataba." } }
{ "translation": { "en": "Many people attended his burial.", "lg": "Abantu bangi beetaba mu maziika ge." } }
{ "translation": { "en": "The minister was invited to lead the opening prayer.", "lg": "Minisita yayitiddwa okukulemberamu essaala eggulawo." } }
{ "translation": { "en": "Today was a cloudy day.", "lg": "Leero lubadde lwa kikome." } }
{ "translation": { "en": "I prefer a sunny day to a rainy day.", "lg": "Njagala olunaku olw'akasana okusinga olw'enkuba." } }
{ "translation": { "en": "My little sister is scared of snakes.", "lg": "Muto wange omuwala atya emisota." } }
{ "translation": { "en": "They are having a meeting at the company headquarters.", "lg": "Bali mu lukiiko ku kitebe kya kkampuni ekikulu." } }
{ "translation": { "en": "My uncle was one of the people on the interview panel.", "lg": "Kkojja wange yali omu ku baatuula ku kakiiko akabuuza ebibuuzo." } }
{ "translation": { "en": "He sold his cow and got money.", "lg": "Yatunze ente ye n'afunamu ssente." } }
{ "translation": { "en": "He shed tears quietly in his bed.", "lg": "Yayungula amaziga mu kimugunyu ng'ali mu buliri bwe." } }
{ "translation": { "en": "Uganda is engaged in multi-party politics.", "lg": "Uganda egoberera enkola ey'ebibiina by'obufuzi ebingi." } }
{ "translation": { "en": "He explained why he paid the money to the minister.", "lg": "Yannyonnyodde ensonga eyamusasuzza ensimbi ewa mminisita." } }
{ "translation": { "en": "Thirty-four per cent of the children have stunted growth.", "lg": "Ebitundu asatu mu bina ku buli kikumi eby'abaana bakonzibye." } }
{ "translation": { "en": "Her parents passed on last year in a car accident.", "lg": "Bazadde be baafiira mu kabenje k'emmotoka omwaka oguwedde." } }
{ "translation": { "en": "Workers need to change their way of working.", "lg": "Abakozi balina okukyusa engeri gye bakolamu." } }
{ "translation": { "en": "The music attracted a large audience.", "lg": "Ennyimba zaaleese abantu bangi." } }
{ "translation": { "en": "You need to follow instructions before using any product.", "lg": "Weetaaga okugoberera ebiragiro nga tonnakozesa kintu kyonna." } }
{ "translation": { "en": "An ant bit my hand.", "lg": "Enkuyege yannuma omukono." } }
{ "translation": { "en": "The community should fight against the use of illegal guns.", "lg": "Abantu balina okulwanyisa okukozesa kw'emmundu okuli mu bumenyi bw'amateeka." } }
{ "translation": { "en": "She has more details about the story.", "lg": "Alina ebisingawo ku mboozi." } }
{ "translation": { "en": "He has inspired youths to actively engage in politics.", "lg": "Aleetedde abavubuka okwenyigira ennyo mu by'obufuzi." } }
{ "translation": { "en": "Police are involved to find out the cause of the fight.", "lg": "Poliisi yeenyigiddemu okuzuula ekiviirako okulwana." } }
{ "translation": { "en": "The federation has passed new rules for managing the football game.", "lg": "Ekibiina kiyisizza amateeka amapya ag'omuzannyo gw'omupiira gw'ebigere." } }
{ "translation": { "en": "African Union troops provide peacekeeping operations in African countries experiencing wars.", "lg": "Amagye g'Ekibiina ky'Obumu bwa Afirika gawa obukuumi mu mawanga ga Afirika agalimu entalo." } }
{ "translation": { "en": "The water pipe has rust.", "lg": "Omudumu gw'amazzi gutalazze." } }
{ "translation": { "en": "In the past marrying many wives was prestigious in society.", "lg": "Edda ng'okuwasa abakyala abangi kya kitiibwa mu kitundu." } }
{ "translation": { "en": "I have a right to support what I feel I want.", "lg": "Nina eddembe okuwagira kye mpulira nga kye njagala." } }
{ "translation": { "en": "They beat up each other during the campaign.", "lg": "Baakubagaganye mu kakuyege." } }
{ "translation": { "en": "She took the photographs at my wedding.", "lg": "Ebifaananyi yabikubira ku mbaga yange." } }
{ "translation": { "en": "Lack of evidence is common in corruption cases since corrupt officials cover their tracks", "lg": "Ebbula ly'obujulizi lingi mu misango gy'obuli bw'enguzi olw'okuba abakungu abalya enguzi bakweka ebibakwatako." } }
{ "translation": { "en": "Highly infectious diseases include Ebola.", "lg": "Obulwadde obusiiga amangu mulimu ne Ebola." } }
{ "translation": { "en": "The Mineral Development Beneficiation Center will be one of its kind in Ntungamo District", "lg": "Ekitongole kya Mineral Development Beneficiation Centre kye kijja okuba ekisookedde ddala mu disitulikiti y'e Ntungamo." } }
{ "translation": { "en": "The country hopes to become a vibrant economy with developed infrastructures.", "lg": "Eggwanga lisuubira okubeera ery'amaanyi mu byenfuna nga lirina n'ebizimbe eby'omutindo." } }
{ "translation": { "en": "The poverty rates have increased during the pandemic.", "lg": "Obwavu bweyongedde nnyo mu kiseera ky'ekirwadde ky'ekikungo." } }
{ "translation": { "en": "I am going to start making masks.", "lg": "Ŋŋenda kutandika okukola obukookolo." } }
{ "translation": { "en": "My son got a scholarship to attend a school abroad.", "lg": "Mutabani wange yafunye sikaala okusomera emitala w'amayanja." } }
{ "translation": { "en": "His son wants to be a musician.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The leaders shall have assistants to help them fulfil their duties.", "lg": "Abakulembeze bajja kubeera n'abayambi okubayambako okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe." } }
{ "translation": { "en": "The management committee had a meeting this morning.", "lg": "Akakiiko k'abakulembeze kaabadde n'olukiiko kumakya ga leero." } }
{ "translation": { "en": "The party flag bearer asked people to vote for him.", "lg": "Akwatidde ekibiina bendera yasabye abantu okumulonda." } }
{ "translation": { "en": "Most Ugandans are presumably poor.", "lg": "Bannayuganda abasinga bateeberezebwa okubeera abaavu." } }
{ "translation": { "en": "We all know that the disaster can come again this year.", "lg": "Ffenna tukimanyi bulungi nti enjega esobola okuddamu n'egwa omwaka guno." } }
{ "translation": { "en": "He remained at the hospital for his medical career.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "He is the best football striker in the world.", "lg": "Ye muteebi wa ggoolo asinga mu muzannyo gw'omupiira mu nsi yonna." } }
{ "translation": { "en": "The government wanted to encourage farmers to deal with government purchasing agents.", "lg": "Gavumenti yayagala okukubiriza abalimi bakwatagane n'abaguzi ba gavumenti." } }
{ "translation": { "en": "\"When the communal \"\"We\"\" is undermined they deliver different information to tribes in secret.\"", "lg": "\"Kasita ekigambo kya bonna kinyoomebwa, bafulumya bubaka bwanjawulo mu kyama eri ebika.\"" } }
{ "translation": { "en": "The community groups are a source of extra income to farmers.", "lg": "Ebibiina mu kitundu nabyo nsibuko ya nyingiza ndala eri abalimi n'abalunzi." } }
{ "translation": { "en": "Real citizens should participate as a way to refuse being silenced.", "lg": "Abatuuze bennyini balina okwenyigiramu baleme okubuutikirwa." } }
{ "translation": { "en": "Poaching is one of the challenges faced by wildlife.", "lg": "Okuyigga ebisolo mu ngeri emmenya amateeka kwe kumu ku kusoomooza ekitongole ky'ebisolo eby'omu nsiko bwe kyolekaganye nakwo." } }
{ "translation": { "en": "He has no permanent address.", "lg": "Talina w'abeera wa nkalakalira." } }
{ "translation": { "en": "People sleep late because of different reasons.", "lg": "Abantu beebaka kikeerezi olw'ensonga ez'enjawulo." } }
{ "translation": { "en": "People have earned income from providing transport services.", "lg": "Abantu bafunye ssente okuva mu buweereza y'ebyentambula." } }
{ "translation": { "en": "The government should provide brick making machines to the people.", "lg": "Gavumenti erina okuwa bantu ebyuma ebikuba bbulooka." } }
{ "translation": { "en": "My uncle is a member of the Democratic Party.", "lg": "Kojjange munnakibiina kya Democratic Party." } }
{ "translation": { "en": "Budgets are presented to superiors and stakeholders", "lg": "Embalirira z'angulwa abakulu n'abagivunaanyizibwako." } }
{ "translation": { "en": "He danced with the group from 1978 to 1984.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "He is the youngest football player in this year's tournament.", "lg": "Ye musambi w'omupiira asinga obuto mu mpaka z'omwaka guno." } }
{ "translation": { "en": "Veterans are to be paid in cash as resolved by the commissioner.", "lg": "Abaazirwanako baakusasulirwa mu ssente nkalu nga bwe kyasalibwawo kamiisona." } }
{ "translation": { "en": "She did not listen.", "lg": "Teyawuliriza." } }
{ "translation": { "en": "Many people's houses were destroyed.", "lg": "Amayumba g'abantu mangi gaayonoonebwa." } }
{ "translation": { "en": "Count up to thirty hens.", "lg": "Bala okutuua ku nkoko amakumi asatu." } }
{ "translation": { "en": "He gave away his car.", "lg": "Emmotoka ye yagigaba." } }
{ "translation": { "en": "No one knows why some workers were laid off.", "lg": "Teri amanyi lwaki abakozi abamu baagobeddwa." } }
{ "translation": { "en": "The football team recruited a new manager.", "lg": "Ttiimu y'omupiira yayingiza maneja omupya." } }
{ "translation": { "en": "Political parties have presented their candidates.", "lg": "Ebibiina by'obufuzi bireese abesimbyewo." } }
{ "translation": { "en": "Some young girls are married off at an early age.", "lg": "Abawala abamu abato bafumbizibwa ku myaka emito ennyo." } }
{ "translation": { "en": "\"Now go home and get some rest, you must be tired.\"", "lg": "\"Kati genda ewaka owummulemu, oteekwa okuba nga okooye.\"" } }
{ "translation": { "en": "I don’t know what to say.", "lg": "Simanyi kya kwogera." } }
{ "translation": { "en": "Majority of people in Uganda grow crops basically for home consumption.", "lg": "Abantu abasinga mu Uganda balima ebirime nga bya kuliibwa waka." } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "\"When mother is around, the children are very disciplined.\"", "lg": "Abaana babeera ba mpisa nnyo nga maama waali." } }
{ "translation": { "en": "Refugee camps contain people from different countries.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "There are very many saving groups in our district.", "lg": "Ebibiina ebitereka ensimbi bingi nnyo mu ddisitulikiti yaffe." } }
{ "translation": { "en": "Some youth fail to complete secondary school level due to a lack of school fees.", "lg": "Abavubuka abamu balemererwa okumalako omutendera gwa sekendule olw'ebbula ly'ebisale by'essomero." } }
{ "translation": { "en": "Our workers should go and enjoy themselves on this special day.", "lg": "Abakozi baffe balina okugenda ne banyumirwamu ku lunaku luno olukulu." } }
{ "translation": { "en": "I have started growing coffee.", "lg": "Ntandise okulima emmwanyi." } }
{ "translation": { "en": "The country has won very many gold medals from the continental boxing championship.", "lg": "Eggwanga liwangudde emidaali mingi egya zaabu mu mpaka z'ebikonde eza bannantameggwa ezibadde mu ssemazinga waffe." } }
{ "translation": { "en": "What are the sources of water?", "lg": "Ebifo ebisibukamu amazzi bye biruwa?" } }
{ "translation": { "en": "The program will help a lot of people.", "lg": "Puloogulaamu ejja kuyamba abantu bangi." } }
{ "translation": { "en": "They wished the President a happy birthday.", "lg": "Baayagaliza pulezidenti amazaalibwa ag'essanyu." } }
{ "translation": { "en": "The only thing I watch on the television is football.", "lg": "Ekintu kyokka kye ndaba ku ttivvi gwe mupiira gw'ebigere." } }
{ "translation": { "en": "The bill was signed last week.", "lg": "Ebbago ly'etteeka lyateekebwako omukono wiiki ewedde." } }
{ "translation": { "en": "A strong immune system helps the body to resist diseases.", "lg": "Obusibage bw'omubiri obw'amaanyi guyamba omubiri okulwanyisa endwadde." } }
{ "translation": { "en": "\"Money seems to capture us, not liberate us.\"", "lg": "\"Ssente zirabika nga ezitukuumira mu buwambe, so si kutununula.\"" } }
{ "translation": { "en": "The minister visited the victims at the main hospital.", "lg": "Minisita yakyalirako abaalumizibwa mu ddwaliro ekkulu." } }
{ "translation": { "en": "The government wants to be part of a global movement.", "lg": "Gavumenti eyagala kubeera kitundu ku kisinde ky'ensi yonna." } }
{ "translation": { "en": "It is not safe to leave children in the house alone.", "lg": "Si kirungi kuleka baana mu nnyumba bokka." } }
{ "translation": { "en": "We found a girl crying along the road.", "lg": "Twasanze omuwala ng'akaabira ku kkubo." } }
{ "translation": { "en": "She took a photograph of her baby using her phone.", "lg": "Yakuba ekifaananyi ky'omwana we ng'akozesa essimu ye." } }
{ "translation": { "en": "Few Ugandans can register for these services because they lack Identification cards.", "lg": "Bannayuganda batono abasobola okwewandiisa okufuna obuweereza buno kubanga tebalina ndagamuntu." } }
{ "translation": { "en": "The ministry of water and environment has preserved over five thousand wetlands.", "lg": "Ministule y'amazzi n'obutonde bw'ensi ekuumye entobazi ezisoba mu nkumi ettaano." } }
{ "translation": { "en": "Who bought this bread?", "lg": "Ani yaguze omugaati guno?" } }
{ "translation": { "en": "Parents should teach children how to do house chores during their holidays.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The rich man is looking for a wife to marry.", "lg": "Omusajja omugagga anoonya mukyala wa kuwasa." } }
{ "translation": { "en": "The teacher is not in class.", "lg": "Omusomesa tali mu kibiina." } }
{ "translation": { "en": "He is a lawyer.", "lg": "Ye munnamateeka." } }
{ "translation": { "en": "She works with her mother at the stall.", "lg": "Akola ne nnyina ku mudaala." } }
{ "translation": { "en": "What are you doing up there?", "lg": "Eyo okolayo ki?" } }