translation
dict
{ "translation": { "en": "Some farmers in our village didn't receive the seedlings.", "lg": "Abalimi abamu mu byalo byaffe tebaafuna ndokwa." } }
{ "translation": { "en": "The officer was sent to schools to know the issue on ground.", "lg": "Omukungu yasindikibwa mu masomero okusobola okumanya ebifaayo." } }
{ "translation": { "en": "The angry youth blamed the police for not helping out.", "lg": "Abavubuka abaabadde abanyiivu banenyezza poliisi olw'obutabaako ky'eyamba." } }
{ "translation": { "en": "Muslims are forming associations to help the needy.", "lg": "Abasiraamu bali mu kugunjaawo ebibiina okuyamba abatalina mwasirizi" } }
{ "translation": { "en": "She eats her food with a spoon.", "lg": "Emmere ye agiriisa kijiiko." } }
{ "translation": { "en": "Do you think herbs are better than conventional medicine?", "lg": "Olowooza eddagala ly'ekinnansi ddungi okusinga ery'ekizungu?" } }
{ "translation": { "en": "The football federation is determined to end racism in sports activities.", "lg": "Ekitongole ky'omupiira gw'ebigere kimaliridde okukomya obusosoze mu nse mu byemizannyo." } }
{ "translation": { "en": "The headteacher became my friend after offering me a school bursary.", "lg": "Omukulu w'essomero yafuuka mukwano gwange oluvannyuma lw'okumpa omukisa okusomera obwereere." } }
{ "translation": { "en": "He is struggling to settle in one place.", "lg": "Afuba okutereera mu kifo ekimu." } }
{ "translation": { "en": "\"Recently, people have been kidnapped and driven away in cars.\"", "lg": "\"Gye buvuddeko, abantu babaddenga bawambibwa ne bateekebwa mu mamotoka ne batwalibwa.\"" } }
{ "translation": { "en": "The country did not qualify for the finals.", "lg": "Eggwanga teryayitamu kwetaba mu mpaka ez'akamalirizo." } }
{ "translation": { "en": "What is the relationship between China and the United States of America?", "lg": "Nkolagana ki eriwo wakati wa China ne Amerika?" } }
{ "translation": { "en": "The hospital has successfully treated coronavirus patients.", "lg": "Eddwaliro limalirizza bulungi okujjanjaba balwadde ba ssennyiga omukambwe." } }
{ "translation": { "en": "People will take some days without having power.", "lg": "Abantu bajja kumala nnaku eziwera nga tebalina masannyalaze." } }
{ "translation": { "en": "The car was blown off the road by a strong wind.", "lg": "Embuyaga ey'amaanyi yawugula emmotoka okuva ku luguudo." } }
{ "translation": { "en": "I was walking to the Senior Quarters where I lived.", "lg": "Nnali ntambula nga ngenda gye nnali nsula." } }
{ "translation": { "en": "Child labour is punishable.", "lg": "Okukozesa abaana kikangavvulwa." } }
{ "translation": { "en": "The airline company also cooperated with a British intelligence agency.", "lg": "Kkampuni y'ennyonyi era yakolagana n'ekitongole kya Bungereza ekikessi." } }
{ "translation": { "en": "She helped her mother to clean their house today.", "lg": "Yayambye nnyina okuyonja ennyumba yaabwe olwaleero." } }
{ "translation": { "en": "The government should carry out mass testing during the lockdown.", "lg": "Gavumenti erina okukola okukebera abantu okw'ekikungo mu muggalo." } }
{ "translation": { "en": "You need to do more to solve the problem.", "lg": "Olina okukola ekisingawo okugonjoola ekizibu." } }
{ "translation": { "en": "Set your targets early enough.", "lg": "Teekateeka ebiruubirirwa byo nga bukyali ekimala." } }
{ "translation": { "en": "We use electricity to cook food at our home.", "lg": "Tukozesa masannyalaze okufumba emmere ewaka waffe." } }
{ "translation": { "en": "The dance lessons shall be starting next month.", "lg": "Amasomo g'amazina gajja kutandika omwezi ogujja." } }
{ "translation": { "en": "What are the key points to note in this story?", "lg": "Bintu ki eby'enkizo by'olina okwekaliriza mu lugero luno?" } }
{ "translation": { "en": "Some men greet each other by shaking hands and knocking shoulders.", "lg": "Abasajja abamu beebuuza nga beekwata mu ngalo n'okukoonagana ebibegabega." } }
{ "translation": { "en": "\"Dreams if worked upon, can be realised.\"", "lg": "Ebirooto bwe bikolebwako bisobola okutuukirira ." } }
{ "translation": { "en": "He promised to love her till death.", "lg": "Yasuubiza okumwagala mpaka lwalifa." } }
{ "translation": { "en": "The students were told not to play around rivers without adult supervision.", "lg": "Abayizi baabagamba okwewala okuzannyira okumpi n'omugga nga tebali na bantu bakulu." } }
{ "translation": { "en": "Challenges faced in the quality of service delivery to pregnant mothers is being investigated.", "lg": "Okusoomoozebwa okusangibwa mu buweeereza bwa bamaama ab'embuto kunoonyerezebwako." } }
{ "translation": { "en": "Trucks help transport garbage to destined places.", "lg": "Loore ziyamba okutwala kasasiro mu bifo gy'alina okutwalibwa." } }
{ "translation": { "en": "Diabetes is a dangerous disease with no cure.", "lg": "Obulwadde bwa sukaali bwa bulabe ate tebulina ddagala libuwonya." } }
{ "translation": { "en": "The new employees in the company introduced themselves to the old team.", "lg": "Abakozi abapya mu kampuni beeyanjula eri abakadde." } }
{ "translation": { "en": "We have worked together with my employees.", "lg": "Tukoledde wamu n'abakozi bange." } }
{ "translation": { "en": "The federation had no choice but to cancel the deal", "lg": "Akakiiko tekaalina kya kusalawo kyonna okuggyako okusazaamu endagaano." } }
{ "translation": { "en": "This hostel can only accommodate two hundred students.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "We stocked a lot of food in preparation for the total lockdown.", "lg": "Twatereka emmere nnyingi nnyo nga twetegekera omuggalo." } }
{ "translation": { "en": "Many people had lost trust in him.", "lg": "Abantu bangi abaali bamuggyeemu obwesige." } }
{ "translation": { "en": "He declared himself the winner of the presidential seat without conducting elections.", "lg": "Yeerangirira ng'omuwanguzi w'entebe y'obwa pulezidenti awatali kutegeka kulonda." } }
{ "translation": { "en": "Uganda has different religions.", "lg": "Mu Uganda mulimu eddiini ezitali zimu." } }
{ "translation": { "en": "He has also played professionally for the villa football club.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Adopting to the winter season was a very big challenge for him.", "lg": "Kyamukaluubiriza nnyo okumanyiira sizoni ey'obunyogovu." } }
{ "translation": { "en": "I am saving money for my old age.", "lg": "Ntereka ssente za bukadde bwange." } }
{ "translation": { "en": "Hospitals should be well facilitated to handle all kinds of health issues.", "lg": "Amalwaliro galina okutekebwatekebwa ebintu okusobola okukola ku ndwadde zonna." } }
{ "translation": { "en": "The youth are becoming shameless nowadays.", "lg": "Abavubuka ennaku zino baweddemu ensonyi." } }
{ "translation": { "en": "People without company identification cards were not allowed to enter the building.", "lg": "Abantu abataalina kaadi ya kampuni tebaakkirizibwa kuyingira mu kizimbe." } }
{ "translation": { "en": "She cannot play alone.", "lg": "Tasobola kuzannya yekka." } }
{ "translation": { "en": "The pot fell on the ground and it smashed into pieces.", "lg": "Ensuwa yagwa wansi n'eyatikayatikamu ebipapajjo." } }
{ "translation": { "en": "Bad roads affect businesses.", "lg": "Amakubo amabi gakosa eby'obusuubuzi." } }
{ "translation": { "en": "Embezzling government funds can lead to imprisonment.", "lg": "Okuzesa obubi obuyambi bwa gavumenti kiyinza okuviirako okusibwa." } }
{ "translation": { "en": "Some refugees can access better meals and food.", "lg": "Abanoonyiboobubudamu abamu basobola okufuna ebyendya n'emmere ennungi." } }
{ "translation": { "en": "The company put a job advert in the newspapers for tour guides.", "lg": "Kkampuni yalanga omulimu gw'okulambuza abalambuzi mu mpapula z'amawulire." } }
{ "translation": { "en": "\"For a doctor to serve well , he needs to be well paid.\"", "lg": "\"Omusawo okuweereza obulungi, yeetaaga okusasulwa obulungi.\"" } }
{ "translation": { "en": "He sent representatives to the meeting because he was busy.", "lg": "Yasindise abaamukiikiridde mu lukungaana kubanga yabadde n'eby'okukola bingi." } }
{ "translation": { "en": "What is the purpose of quarantining non coronavirus patients?", "lg": "Kigendererwa ki ekiri mu kuteeka mu kalantiini abantu abatali balwadde b'ekirwadde kya korona?" } }
{ "translation": { "en": "The two murder suspects have their first court session today.", "lg": "Abateeberezebwa okuba abatemu ababiri leero bagenda kulabikako mu kkooti omulundi ogusooka." } }
{ "translation": { "en": "Members of parliament are in parliament for a five-year term.", "lg": "Ekisanja ky'ababaka ba paalimenti kya myaka etaano." } }
{ "translation": { "en": "We wrote a statement at the police station after the theft incident.", "lg": "Twawandiika sitaatimenti ku poliisi oluvannyuma lw'okubbiwa." } }
{ "translation": { "en": "The girl has long legs.", "lg": "Omuwala alina amagulu amawanvu." } }
{ "translation": { "en": "He loves playing chess.", "lg": "Ayagala okuzannya omweso omuzungu." } }
{ "translation": { "en": "What are the advantages of an open-air market?", "lg": "Birungi ki ebiri mu katale k'omu kyangaala?" } }
{ "translation": { "en": "The driver called me by a certain name.", "lg": "Ddereeva alina erinnya lye yampise." } }
{ "translation": { "en": "His trial has been in line for three years.", "lg": "Omusango gwe gukandaaliridde okumala emyaka esatu." } }
{ "translation": { "en": "The head of state says his previous assistant is the cause of conflicts.", "lg": "Pulezidenti agamba nti omumyuka we eyavaako ye yaviirako obukuubagano." } }
{ "translation": { "en": "He tried to restart the car but it failed.", "lg": "Yagezezzaako okutandika emmotoka naye n'egaana." } }
{ "translation": { "en": "They are fundraising to build a school.", "lg": "Basonda nsimbi kuzimba ssomero." } }
{ "translation": { "en": "Two cases have been confirmed to be Bundibugyo virus.", "lg": "Abantu babiri bakakasiddwa okuba n'akawuka ka ebola aka Bundibugyo." } }
{ "translation": { "en": "What is involved in the procurement process?", "lg": "Biki ebibeera mu mutendera gw'okugula gw'okugula ebintu?" } }
{ "translation": { "en": "The government has financed the construction of the bridge.", "lg": "Gavumenti etadde ssente mu kuzimba olutindo." } }
{ "translation": { "en": "They invited over five hundred people to their wedding.", "lg": "Baayita abantu abasukka ebikumi ebitaano ku mbaga yaabwe." } }
{ "translation": { "en": "They attend all their team's football matches.", "lg": "Babaayo ku mipiira gyonna egya ttiimu yaabwe." } }
{ "translation": { "en": "Life expectancy at birth in Uganda was fifty-eight years.", "lg": "Emyaka gy'obuwangaazi ng'ozaaliddwa mu Uganda gyali emyaka ataanu mu munaana." } }
{ "translation": { "en": "Of what benefit is Bible study to a Christian?", "lg": "Okuyiga Bayibuli kigasa kitya Omukristaayo?" } }
{ "translation": { "en": "The fans loved the song I sang with my father during my concert.", "lg": "Abawagizi bayagala oluyimba lwe nayimba ne kitange ku kivvulu kyange." } }
{ "translation": { "en": "Everyone in the army will be trained.", "lg": "Buli omu mu magye ajja kutendekebwa." } }
{ "translation": { "en": "The deceased will be buried tomorrow at two o'clock.", "lg": "Omugenzi ajja kuziikibwa enkya ku ssaawa munaana." } }
{ "translation": { "en": "Drug abuse is very unhealthy.", "lg": "Okukozesa ebiragalalagala kibi nnyo." } }
{ "translation": { "en": "The leaders are trying to settle the disagreement amongst themselves.", "lg": "Abakulembeze bagezaako okugonjoola obutakkaanya obuliwo wakati waabwe." } }
{ "translation": { "en": "The twins are so cute.", "lg": "Abalongo balungi nnyo." } }
{ "translation": { "en": "Results were promising as the disease was almost eliminated.", "lg": "Ebyali bivaamu byali biwa essuubi kubanga kumpi obulwadde bwonna bwali bumaliddwawo." } }
{ "translation": { "en": "This building will collapse if these cracks are not repaired.", "lg": "Ekizimbe kino kijja kugwa singa enjatika zino tezidaabirizibwa." } }
{ "translation": { "en": "Today's news was annoying.", "lg": "Amawulire ga leero gabadde ganyiiza" } }
{ "translation": { "en": "I completed my secondary level of education five years ago.", "lg": "Nnamaliriza eddaala ly'ebyenjigiriza erya sekendule emyaka etaano emabega." } }
{ "translation": { "en": "Under what conditions can one get a promotion at work?", "lg": "Mbeera ki omuntu gy'ayinza okukuzibwa ku mulimu?" } }
{ "translation": { "en": "We visited Bethlehem last month.", "lg": "Twalambula ekibuga Besirekemu omwezi oguwedde." } }
{ "translation": { "en": "Is goat milk good for human consumption?", "lg": "Amata g'embuzi gaba malungi okunywebwa abantu?" } }
{ "translation": { "en": "He poured cold water into the glass.", "lg": "Yayiwa amazzi agannyogoga mu ggiraasi." } }
{ "translation": { "en": "My phone was stolen.", "lg": "Essimu yange baagibba." } }
{ "translation": { "en": "Projects like poultry and piggery are a source of income to many.", "lg": "Pulojeekiti ng'ey'okulunda enkoko n'embizzi bye bimu ku bintu abamu mwe baggya ennyingiza." } }
{ "translation": { "en": "A number of people do not have jobs in Uganda.", "lg": "Abantu bangi mu Uganda tebalina mirimu." } }
{ "translation": { "en": "She was born in a very poor family.", "lg": "Yazaalibwa mu maka maavu nnyo." } }
{ "translation": { "en": "Girls have performed better than boys this year.", "lg": "Abawala bakoze okusinga abalenzi omwaka guno." } }
{ "translation": { "en": "Witchcraft has discouraged women from delivering in hospitals.", "lg": "Okweraguza kulemesezza abakyala okuzaalira mu malwaliro." } }
{ "translation": { "en": "The financial institution he works at is owned by the government.", "lg": "Ekitongole ky'ebyensimbi ky'akoleramu kya gavumenti." } }
{ "translation": { "en": "Most students in school fail science subjects.", "lg": "Abayizi abasinga obungi ku ssomero baggwa essomo lya sayansi." } }
{ "translation": { "en": "The health summit will enforce strategies in order to tackle health challenges", "lg": "Olukungaana lw'ebyobulamu lujja kuteeka essira ku kwenganga okusomoozebwa kw'ebyobulamu" } }
{ "translation": { "en": "These messages will be automatically deleted from the customer's phone after a month.", "lg": "Obubaka buno bujja kwesangula bwokka mu ssimu ya kasitooma oluvannyuma lw'omwezi." } }
{ "translation": { "en": "The man came back home late.", "lg": "Omusajja yakomawo kikeerezi ewaka." } }
{ "translation": { "en": "The situation worsened when the United Nations imposed sanctions on the Libyan assets.", "lg": "Embeera yasajjuka United Nation bwe yassa envumbo ku bintu bya Libya." } }
{ "translation": { "en": "She was caught with a piece of paper containing answers in the examination room.", "lg": "Yakwatibwa n'akapapula akaliko ebyokuddamu mu kizimbe omukolerwa ebigezo." } }