translation
dict
{ "translation": { "en": "There are many contestants for the presidential seat.", "lg": "Abesimbyewo bangi ku kifo ky'obukulembeze bw'eggwanga.." } }
{ "translation": { "en": "The rebel group was finished as a fighting force.", "lg": "Ekbinja ky'abayeekera kyali kisaanyeewo ng'eggye eddwaanyi." } }
{ "translation": { "en": "I came to see you.", "lg": "Nnazze kukulaba." } }
{ "translation": { "en": "This boy thinks that the rat gave him money for his teeth.", "lg": "Omulenzi ono alowooza nti emmese ye yamuwadde ssente z'okukuula amannyo." } }
{ "translation": { "en": "Women have been empowered in society.", "lg": "Abakazi baweereddwa obuyinza mu kitundu." } }
{ "translation": { "en": "Leaders should save their people's property.", "lg": "Abakulembeze balina okutaasa ebintu by'abantu baabwe." } }
{ "translation": { "en": "\"In commercial agriculture, farmers sell their produce to get money.\"", "lg": "\"Mu bulimi bw'esimbi, abalimi batunda ebirime byabwe okufuna ssente .\"" } }
{ "translation": { "en": "General Katumbe Wamala launched the Hima Cement.", "lg": "Generaali Katumba Wamala yaggulawo sseminti wa Hima." } }
{ "translation": { "en": "Courts handle all sorts of cases that are legally abiding.", "lg": "Kkooti zikwasaganya emisango egy'engeri yonna egiri mu mateeka." } }
{ "translation": { "en": "Some people have been entrusted to run government organizations.", "lg": "Abantu abamu baweereddwa obuvunaanyizibwa okuddukanya ebitongole bya gavumenti." } }
{ "translation": { "en": "How best can the government manage violence.", "lg": "Gavumenti eyinza kukwatamu etya obulungi obutabanguko?" } }
{ "translation": { "en": "The public should freely enjoy certain services.", "lg": "Abantu balina okunyumirwa empereza ezimu ku bwereere." } }
{ "translation": { "en": "Students have a chance to interact with teachers during online classes.", "lg": "Abayizi balina omukisa okwogerezeganya n'abasomesa nga basomera ku mutimbagano." } }
{ "translation": { "en": "Some patients can be treated from home.", "lg": "Abalwadde abamu basobola okujjanjabirwa ewaka." } }
{ "translation": { "en": "The children ate porridge yesterday morning.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The police came and arrested his father without any explanation.", "lg": "Poliisi yajja n'ekwata kitaawe awatali kunnyonnyola kwonna." } }
{ "translation": { "en": "\"Lately, the weather is unpredictable.\"", "lg": "Ennaku zino sikyangu kuteebereza mbeera ya budde." } }
{ "translation": { "en": "Some parents in rural areas lack funds to educate their children.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "We have several fruit trees in our garden.", "lg": "Tulina emiti gy'ebibala egiwera mu nnimiro yaffe." } }
{ "translation": { "en": "She helped her brother to fight his drug addiction.", "lg": "Yayamba muganda we okulwanyisa ekirookolooko ku kukozesa ebiragalalagala." } }
{ "translation": { "en": "He told us about his future plans.", "lg": "Yatubuulidde ku nteekateeka ze ez'omu maaso." } }
{ "translation": { "en": "The project will start as soon as possible.", "lg": "Pulojekiti ejja kutandika mu bwangu ddala." } }
{ "translation": { "en": "He was found at his home.", "lg": "Yasangibwa mu maka ge." } }
{ "translation": { "en": "He is not behaving in a normal way.", "lg": "Teyeeyisa mu ngeri ya bulijjo." } }
{ "translation": { "en": "Patients must follow the doctor's medical prescriptions.", "lg": "Abalwadde bateekeddwa okugoberera enkozesa y'eddagala ebaweereddwa dokita." } }
{ "translation": { "en": "No one has the right to evict the army forces if they occupy a given place.", "lg": "Teri alina buyinza kugoba magye singa gakuba enkambi mu kifo kyonna." } }
{ "translation": { "en": "Elections are starting to take a violent turn.", "lg": "Okulonda kutandise okubeeramu eryanyi." } }
{ "translation": { "en": "He has gone back to bed.", "lg": "Azzeeyo mu buliri." } }
{ "translation": { "en": "My mother and father are very caring people.", "lg": "Mmange ne kitange bantu bafaayo nnyo." } }
{ "translation": { "en": "The dispute can be decided under Swiss legal procedures and guidelines.", "lg": "Obutakkaanya buyinza okusalibwawo wansi w'amateeka ga Swiss n'ebigobererwa." } }
{ "translation": { "en": "Becoming rich is not a one-day activity.", "lg": "Okugaggawala tekituukawo mu lunaku lumu." } }
{ "translation": { "en": "The games will resume this weekend.", "lg": "Emizannyo gijja kuddamu wiikendi eno." } }
{ "translation": { "en": "Some women prefer their husbands to be at least five years older than them.", "lg": "Abakazi abamu baagala abaami baabwe babeere nga babasingako waakiri emyaka etaano." } }
{ "translation": { "en": "She is not a police commander.", "lg": "Si muduumizi wa poliisi." } }
{ "translation": { "en": "\"Uganda raises profile as Meetings, Incentives, Conferences and tourism destination.\"", "lg": "\"Uganda eri waggulu mu bintu nga enkiiko, ebisikiriza, emisomo n'ebifo by'obulambuzi.\"" } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The government should regulate the activities of betting companies in society.", "lg": "Gavumenti erina okulondoola emirimu gya kampuni ezisiba ku mizannyo mu kitundu." } }
{ "translation": { "en": "Uganda is one of East Africa's developing countries.", "lg": "Uganda y'emu ku nsi z'Obuvanjuba bwa Afirika ezikyakula." } }
{ "translation": { "en": "\"During colonialism, the Arabs played an important role in the slave trade.\"", "lg": "\"Mu kiseera ky'obufuzi bw'amatwale, Abawalabu baazannya ekifo kya ku mwanjo mu busuubuzi bw'abaddu.\"" } }
{ "translation": { "en": "In 2005 he won the Uganda Championships with a throw of 65 meters.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "We waited for the rain because it had taken a long time without rain.", "lg": "Twalindirira enkuba kubanga yali emaze ebbanga ppanvu nga tetonnya." } }
{ "translation": { "en": "The children are learning how to play tennis.", "lg": "Abaana bali mu kuyiga kuzannya ttena." } }
{ "translation": { "en": "The university where he works manufactured a coronavirus vaccine.", "lg": "Yunivaasite gy'akoleramu yakola eddagala erigema akawuka ka kkolona." } }
{ "translation": { "en": "They protested because of delayed payments.", "lg": "Beekalakaasa olw'okulwawo okusasulwa." } }
{ "translation": { "en": "The tourist took photographs of the animals with his camera.", "lg": "Omulambuzi yakozesa kamera ye okukuba ebifaananyi by'ebisolo." } }
{ "translation": { "en": "I felt so tired after climbing the hill.", "lg": "Nnawulira nga nkooye oluvannyuma lw'okulinnya akasozi." } }
{ "translation": { "en": "What can help businesses perform better and more efficiently?", "lg": "Kiki ekiyinza okuyamba bizinensi okukola obulungi n'okuddukanyizibwa mu magezi?" } }
{ "translation": { "en": "My elder brother has always wanted to be the manager of that company.", "lg": "Mukulu wange omulenzi kuva dda ng'ayagala okubeera maneja wa kkampuni eyo." } }
{ "translation": { "en": "There will be a delay in the government plans.", "lg": "Wajja kubaawo okulwawo mu nteekateeka za gavumenti." } }
{ "translation": { "en": "The electoral commission has rereased dates for presidential elections", "lg": "Akakiiko k'ebyokulonda kafulumizza nnaku ez'okulonderako pulezidenti." } }
{ "translation": { "en": "Is her driving permit still valid?", "lg": "Ebbaluwa emuwa olukusa okuvuga ebidduka ekyaliko?" } }
{ "translation": { "en": "The most recent Ebola outbreak began in August and continued into the present.", "lg": "Okubalukawo kwa Ebola okukyasembyeyo kwatandika mu Gwamunaana n'agenda mu maaso okutuusa leero." } }
{ "translation": { "en": "Her parents came to visit her at school.", "lg": "Bazadde be bajja okumukyalira ku ssomero." } }
{ "translation": { "en": "I am sure it will not matter if I put a little meat on the fire.", "lg": "Nkimanyi tewajja kuba buzibu bwonna singa nkalirira ennyama ntono ku muliro." } }
{ "translation": { "en": "The lawyer made sure she wasn't forced into marriage.", "lg": "Munnamateeka yakakasa nti takakibwa kufumbirwa." } }
{ "translation": { "en": "Lake Victoria is large.", "lg": "Ennyanja Nalubaale nnene." } }
{ "translation": { "en": "Carnivores eat fresh meat.", "lg": "Waliiwo ekika ky'ensolo ezirya ennyama embisi." } }
{ "translation": { "en": "She went to bed without food yesterday.", "lg": "Yagenze okwebaka nga talidde mmere eggulo." } }
{ "translation": { "en": "Most tribes in Uganda have kingdoms.", "lg": "Amawanga agasinga mu Uganda galina obwakabaka." } }
{ "translation": { "en": "Women face several challenges in the motorcycling sector.", "lg": "Abakyala basanga okusoomoozebwa okw'enjawulo mu mulimu gw'okuvuga ppikippiki." } }
{ "translation": { "en": "The number of Muslims is increasing.", "lg": "Omuwendo gw'abasiraamu gweyongera ." } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "you have a right to plead not guilty in a court", "lg": "Olina olukusa okwewozaako mu kkooti" } }
{ "translation": { "en": "My mother reminded me to take my medicine in the morning.", "lg": "Maama wange yanzijukizza okumira eddagala lyange ku makya." } }
{ "translation": { "en": "The Minister of Finance prepares and reads the budget for every financial year on behalf of the President.", "lg": "Minisita w'eby'ensimbi ateekateeka era n'asoma embalirira y'eggwanga eya buli mwaka gw'eby'enfuna era nga kino akikola ku lwa pulezidenti." } }
{ "translation": { "en": "Let us work together to achieve our set goals.", "lg": "Tukolere wamu okutuuka ku biruubiriwa byaffe." } }
{ "translation": { "en": "You take a long to understand.", "lg": "Olwawo okutegeera." } }
{ "translation": { "en": "People are living in very poor conditions.", "lg": "Abantu babeera mu mbeera embi ennyo." } }
{ "translation": { "en": "Many people said that she was a good leader.", "lg": "Abantu bangi baagambye nti yali mukulembeze mulungi." } }
{ "translation": { "en": "The subject also worked as an escort to several commanders.", "lg": "Ayogerwako era yakolako ng'omukuumi w'abaduumizi ab'enjawulo." } }
{ "translation": { "en": "Some students did not submit their documents.", "lg": "Abayizi abamu tebaawaayo biwandiiko byabwe." } }
{ "translation": { "en": "\"People have been killed in this conflict, and hundreds are victims of sexual violence.\"", "lg": "\"Abantu battiddwa mu bukuubagano buno, era ebikumi byabwe baakosebwa obuliisamaanyi.\"" } }
{ "translation": { "en": "People are still embracing corruption in the country.", "lg": "Abantu bakyawagira enguzi mu ggwanga." } }
{ "translation": { "en": "He is a witness to his father's murder trial.", "lg": "Mujulizi ku kuwulira omusango gw'okutemulwa kwa kitaawe." } }
{ "translation": { "en": "He admired the way his parents loved each other and vowed to love his wife too.", "lg": "Yeegomba engeri bazadde be gye baagalana era n'alayira naye okwagala mukyala we." } }
{ "translation": { "en": "All leaders responsibilities are to serve the people in the communities", "lg": "Obuvunaanyizibwa bw'abakulembeze bonna kwe kuweereza abantu b'omu bitundu." } }
{ "translation": { "en": "Disability is not inability.", "lg": "Obulema si buteesobola." } }
{ "translation": { "en": "God created man on the sixth day.", "lg": "Katonda yatonda omuntu ku lunaku olw'omukaaga." } }
{ "translation": { "en": "Refugees in camps with high population density have limited access to basic services.", "lg": "Ababudami b'omu nkambi ezirimu abantu abangi tebafuna bikozesebwa bimala." } }
{ "translation": { "en": "The police has arrested twenty people in connection to the murder.", "lg": "Poliisi ekutte abantu amakumi abiri ku byekuusa ku butemu." } }
{ "translation": { "en": "Student leaders should show a good example in all that they do.", "lg": "Abakulembeze b'abayizi balina okulaga eky'okulabirako ekirungi mu byonna bye bakola." } }
{ "translation": { "en": "Every December holiday she takes the children to visit their grandparents.", "lg": "Abaana abatwala okukyalira bajjajjaabwe buli luwummula lwa Desemba." } }
{ "translation": { "en": "People should eat well to avoid malnutrition.", "lg": "Abantu balina okulya obulungi obutakonziba." } }
{ "translation": { "en": "The poachers killed all the white rhinoceroses in this game park.", "lg": "Abayizzi batta enkula zonna mu kkuumiro ly'ebisolo lino." } }
{ "translation": { "en": "That can't happen to me.", "lg": "Ekyo tekisobola kuntuukako." } }
{ "translation": { "en": "The task force should work hand in hand with the police", "lg": "Akakiiko akadduukirize kalina okukolagana ne poliisi." } }
{ "translation": { "en": "Bodabodas can also be used to transport patients.", "lg": "Aba booda booda basobola okukozesebwa mu kutambuza abalwadde." } }
{ "translation": { "en": "What is your body weight?", "lg": "Ozitowa kyenkana ki?" } }
{ "translation": { "en": "The football club has signed new players for this season.", "lg": "Ttiimu y'omupiira ewandiise abazannyi abapya mu sizoni eno." } }
{ "translation": { "en": "My daughter was among the best students in the school.", "lg": "Muwala wange y'omu ku baana abaasinze okukola obulungi ku ssomero ." } }
{ "translation": { "en": "The best performers were rewarded.", "lg": "Abaasinga okukola baasiimibwa." } }
{ "translation": { "en": "The police is being reformed.", "lg": "Ppoliisi eddabirizibwa." } }
{ "translation": { "en": "The youth are advised to think twice before applying for jobs abroad.", "lg": "Abavubuka baweereddwa amagezi okusookanga okwerowooza nga tebannasaba mirimu bweru." } }
{ "translation": { "en": "Once you pledge you should endeavour to fulfil your pledge.", "lg": "Buli lwe weyama oteekeddwa okutuukiriza obweyamo." } }
{ "translation": { "en": "He denied all the allegations.", "lg": "Yegaana byonna ebyali bimuvunaanibwa." } }
{ "translation": { "en": "All my family members attended the feast.", "lg": "Aba famire yange bonna beetaba ku kijjulo." } }
{ "translation": { "en": "Ghosts are invisible creatures that we cannot see with our eyes.", "lg": "Emizimu bitonde ebitalabika bye tutasobola kulaba na maaso gaffe." } }
{ "translation": { "en": "Our elder sister is kind to us.", "lg": "Mukulu waffe omuwala alina ekisa gye tuli." } }
{ "translation": { "en": "She started equipping people with knowledge at the Uganda Christian University.", "lg": "Yatandika okuwa abantu amagezi ku ssettendekero ya Uganda Christian University." } }
{ "translation": { "en": "Culture guides people to live morally upright.", "lg": "Obuwangwa bulambika abantu okubeera n'empisa ennungi." } }