translation
dict
{ "translation": { "en": "Observe the standard operating procedures to slow the spread of the coronavirus", "lg": "Mwetegereze ebiragiro ebyateekebwawo mu kukendeeza okusaasaana kw'akawuka akaleeta ssenyiga omukambwe." } }
{ "translation": { "en": "The youth like the music program on that radio station.", "lg": "Abavubuka baagala puloogulaamu y'ennyimba ku leediyo eyo." } }
{ "translation": { "en": "Makerere University is the first public university in Uganda.", "lg": "Makerere ye ssettendekero ya gavumenti eyasooka mu Uganda." } }
{ "translation": { "en": "How can we prevent the spread of the human immune virus?", "lg": "Tusobola kutangira tutya ensaasaana y'akawuka akaleeta mukenenya?" } }
{ "translation": { "en": "Youths from refugee camps have greatly participated in the activities.", "lg": "Abavubuka okuva mu nkambi z'abanoonyiboobubudamu beetabye nnyo mu mirimu." } }
{ "translation": { "en": "Many foreign countries donate funds to African countries.", "lg": "Ensi z'ebweru nnyingi ziwa ssente amawanga ga Afirika." } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "There are pictures of him in the press grabbing him by the collar.", "lg": "Waliwo ebifaananyi bye mu mawulire ng'amusika ekitoji." } }
{ "translation": { "en": "Birds have light bones which makes it easy for them to fly.", "lg": "Amagumba g'ebinyonyi gawewuka era ekyo kikifuula kyangu gye biri okubuuka." } }
{ "translation": { "en": "Light attracts the fish to the net.", "lg": "Ekitangaala kisikiriza ebyennyanja okugenda mu katimba." } }
{ "translation": { "en": "The committee consists of thirty-one members.", "lg": "Akakiiko kaliko ba mmemba amakumi asatu mu omu." } }
{ "translation": { "en": "Two doctors check on that patient every thirty minutes.", "lg": "Abasawo babiri bakebera ku mulwadde buli luvannyuma lw'eddakiika asatu." } }
{ "translation": { "en": "The meeting was postponed by Rwanda.", "lg": "Rwanda yayongezaayo olukiiko." } }
{ "translation": { "en": "The police are investigating the cause of the matter.", "lg": "Poliisi enoonyereza ku kyavuddeko ensonga." } }
{ "translation": { "en": "The briquettes provide an alternative to deforestation for wood.", "lg": "Obubulooka bw'amanda buyambako okusaanyaawo ebibira okufuna enku." } }
{ "translation": { "en": "My job can be very frustrating sometimes.", "lg": "Omulimu gwange oluusi gukooya nnyo." } }
{ "translation": { "en": "The change in treatment occurred through the World Health Organization guide.", "lg": "Enkyukakyuka mu bujjannjabi yaliwo okuyita mu kuluŋŋamizibwa kw'Ekitongole ky'Ebyobulamu eky'Ensi Yonna." } }
{ "translation": { "en": "ItÕs the government's responsibility to educate farmers on what kind of seeds to plant.", "lg": "Mulimu gwa gavumenti okusomesa abalimi ensigo ezirina okusimbibwa." } }
{ "translation": { "en": "People have resisted offering their land to cater for road expansion.", "lg": "Abantu baagaanye okuwaayo ettaka lyabwe likozesebwe okugaziya oluguudo." } }
{ "translation": { "en": "The electoral commission uses new voters' registers for every new presidential election.", "lg": "Akakiiko k'ebyokulonda kakozesa olukalala lw'abalonzi olupya ku buli lulonda kw'pulezidenti omupya." } }
{ "translation": { "en": "The minister will attend our meeting.", "lg": "Minisita ajja kwetaba mu lukiiko lwaffe." } }
{ "translation": { "en": "Artists are earning less from music which makes them quit the fierd.", "lg": "Abayimbi bafuna kitono mu kuyimba ekibaletera okuva mu okukuvaamu." } }
{ "translation": { "en": "Uganda committed itself to barter exchanges with other countries.", "lg": "Uganda yeewaayo okuwaanyisiganya ebyamaguzi n'amawanga amalala." } }
{ "translation": { "en": "They were told to work even on public holidays.", "lg": "Baabagamba bakole ne ku nnaku z'okuwummula." } }
{ "translation": { "en": "\"Unfortunately, opposition to the said proposals has been met.\"", "lg": "\"Ekiteebereka,ekiteeso kivuganyiziddwa.\"" } }
{ "translation": { "en": "A suspect may be innocent or guilty.", "lg": "Ateeberezebwa asobola okuba n'omusango oba obutaba nagwo." } }
{ "translation": { "en": "The local council leader attends to the people's requests in time.", "lg": "Omukulembeze w'akakiiko k'ekyalo akola ku kusaba kw'abantu mu budde." } }
{ "translation": { "en": "He has spoken out against the oppression of locals in his area.", "lg": "Avumiridde eky'okuyigganya abatuuze mu kitundu kye." } }
{ "translation": { "en": "Students in candidate classes go for a vacation after sitting for their national examinations.", "lg": "Abayizi abali mu bibiina ebyakamalirizo bagenda mu luwummula oluvannyuma lw'okutuula ebibuuzo byabwe eby'eggwanga lyonna." } }
{ "translation": { "en": "Patients are referred to the hospital in the nearby district.", "lg": "Abalwadde basindikibwa mu ddwaliro eriri mu disitulikiti eriraanyeewo." } }
{ "translation": { "en": "Why would one kill another?", "lg": "Lwaki omuntu yandisse munne?" } }
{ "translation": { "en": "People need basic needs to survive this tough season.", "lg": "Abantu beetaaga ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo okusobola okuyita mu mbeera eno enzibu." } }
{ "translation": { "en": "The ministry is working towards finding solutions to certain problems.", "lg": "Minisitule ekolerera kuzuula ngeri ya kugonjoolamu ebizibu ebimu." } }
{ "translation": { "en": "What can I do to keep my body healthy?", "lg": "Kiki kye nnyinza okukola okwekuuma nga ndi mulamu?" } }
{ "translation": { "en": "That coach has vast experience in football.", "lg": "Omutendesi oyo alina obumanyirivu bungi mu mupiira." } }
{ "translation": { "en": "All neighbouring countries should sign the agreement.", "lg": "Amawanga gonna ageeriraanye galina okusa omukono ku ndagaano." } }
{ "translation": { "en": "The ball disappeared into the thick clouds.", "lg": "Omupiira gw'abulira mu bire ebikwafu." } }
{ "translation": { "en": "He sustained head and knee injuries when playing football.", "lg": "Yafuna obuvune bw'oku mutwe ne ku vviivi ng'azannya omupiira gw'ebigere." } }
{ "translation": { "en": "We need to know if our money is being well used.", "lg": "twetaaga okumanya oba ssente zaffe zikozesebwa bulungi." } }
{ "translation": { "en": "Murders and robberies cause insecurity in the community.", "lg": "Abatemu n'abanyaguluzi baleetawo obunkenke mu kitundu." } }
{ "translation": { "en": "The order requires them to leave.", "lg": "Ekiragiro kibeetaaza okuvaawo." } }
{ "translation": { "en": "He is very popular among the locals in this area.", "lg": "Amanyikiddwa nnyo mu batuuze b'omu kitundu kino." } }
{ "translation": { "en": "The district management has failed to make road changes to adapt to new conditions.", "lg": "Akakiiko akafuzi aka disitulikiti kalemeddwa okukola ekyukakyuka mu nguudo okutuuka ku mbeera eriwo." } }
{ "translation": { "en": "The elections were not free and fair.", "lg": "Okulonda tekwali kwa mazima na bwenkanya." } }
{ "translation": { "en": "That district has no official headquarters.", "lg": "Disitulikiti terina kitebe kikulu kitongole." } }
{ "translation": { "en": "The clergy condemned the act of false miracles.", "lg": "Omukulembeze w'eddiini yavvumirira eby'amagero eby'obulimba." } }
{ "translation": { "en": "An environment with trees is usually cool.", "lg": "Ekitundu ekirimu emiti kitera okubeera ekiweweevu." } }
{ "translation": { "en": "The mayor requested the health facility to be kind to the patients.", "lg": "Omukulu w'ekibuga yasabye abasawo okubeera ab'ekisa eri abalwadde." } }
{ "translation": { "en": "Some banks charge high-interest rates to customers.", "lg": "Bbanka ezimu ziwooza amagoba mangi okuva ku ba kasitooma." } }
{ "translation": { "en": "The unfairness will not help in enabling women to achieve their full emancipation.", "lg": "Obutali bwenkanya obwo tebusobola kuyamba bakazi kukozesa busobozi bwabwe mu bujjuvu." } }
{ "translation": { "en": "It chose to ignore popular opinion together with other parties.", "lg": "Kyasalawo obutagoberera ndowooza ya bangi awamu n'ebibiina ebirala." } }
{ "translation": { "en": "\"Through unity, we can achieve a lot.\"", "lg": "\"Bwe twegatta, tusobola okutuuka ku bingi.\"" } }
{ "translation": { "en": "Saturday is commonly known as a market day.", "lg": "Olwomukaaga lumanyikiddwa ng'olunaku lw'akatale." } }
{ "translation": { "en": "The women turned to look at the handsome man.", "lg": "Abakazi baakyuka ne batunuulira omusajja alabika obulungi." } }
{ "translation": { "en": "This incident is quite common.", "lg": "Ebintu ng'ebyo bitera okubaawo." } }
{ "translation": { "en": "That basketball team is owned by the vice president.", "lg": "Ttiimu eyo ey'omupiira gw'ensero ya mummyuka wa pulezidenti." } }
{ "translation": { "en": "People celebrated when he announced his resignation.", "lg": "Abantu baajaguza bwe yalangirira okulekulira kwe." } }
{ "translation": { "en": "The two doses will effectively prevent a mass outbreak.", "lg": "Enzijjanjaba bbiri zijja kugema okusaasaana kw'obulwadde." } }
{ "translation": { "en": "A journalist wrote a detailed story about the situation in Kalangala.", "lg": "Munnamwulire yawandiika emboozi ennambulukufu ekwata ku mbeera eri e Kalangala." } }
{ "translation": { "en": "Football funs sometimes are not happy when the club sells its players.", "lg": "Abawagizi b'omupiira gw'ebigere ebiseera ebimu tebaba basanyufu nga ttiimu etunda abazannyi baayo." } }
{ "translation": { "en": "Most children abandoned by their parents are taken to orphanages.", "lg": "Abaana abasinga basuulibwawo bazadde baabwe batwalibwa mu bifo ewakuumibwa bamulekwa." } }
{ "translation": { "en": "Exercising reduces the risk of a heart attack.", "lg": "Okukola dduyiro kukendeeza akatyabaga k'okulwala omutima." } }
{ "translation": { "en": "The sky had all the wisdom of the world.", "lg": "Eggulu lyalina amagezi gonna ag'ensi." } }
{ "translation": { "en": "This hospital pays doctors according to the number of patients they treat in a month.", "lg": "Eddwaliro lino abasawo libasasula okusinziira ku balwadde bameka be bajjanjabye mu mwezi." } }
{ "translation": { "en": "Which course do you plan to do at the university?", "lg": "Koosi ki gy'oyagala okukola ku yunivasite?" } }
{ "translation": { "en": "Our actions send a message to those around us.", "lg": "Ebikolwa byaffe bisindika obubaka eri abo abatulinaanye." } }
{ "translation": { "en": "All attendees of the party parked their cars in one place.", "lg": "Bonna abazze ku mukolo emmotoka zaabwe baazitadde mu kifo kimu." } }
{ "translation": { "en": "Different projects have been established to empower women in society.", "lg": "Waliwo projekiti ezitali zimu ezitandikiddwawo okuyamba abakyala." } }
{ "translation": { "en": "My uncle removed his first son from the will because of his bad behavior.", "lg": "Kojja wange yasazaamu mu kiraamo kye mutabani we omubereberye olw'enneeyisa ye embi." } }
{ "translation": { "en": "You did an outstanding job on the project.", "lg": "Wakola omulimu ogwensusso ku puloojekiti." } }
{ "translation": { "en": "Exercises are very good for maintaining a healthy body.", "lg": "Dduyiro mulungi nnyo mu kukuuma omubiri nga mulamu." } }
{ "translation": { "en": "Some of the key successes achieved by Ministry of Education and Sports have been shared on social media.", "lg": "Obumu ku buwanguzi obukulu ekitongole ky'ebyenjigiriza n'emizannyo kye butuuseeko buteereddwa ku mikutu emigattabantu." } }
{ "translation": { "en": "My mother told me to never move with strangers.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The members of parliament fought over the age limit bill.", "lg": "Ababaka ba paalimenti baalwanagana olw'ebbago ly'etteeka ery'ekkomo ku myaka." } }
{ "translation": { "en": "\"My passport is expired, it needs to be renewed.\"", "lg": "\"Pasipoota yange yaggwaako, yeetaaga okuzza obuggya.\"" } }
{ "translation": { "en": "Some Indians were given residence in Uganda.", "lg": "Abayindi abamu baaweebwa obusenze mu Uganda." } }
{ "translation": { "en": "The leader promised to eliminate corruption in the country.", "lg": "Omukulembeze yasuubiza okumalawo obukenuzi mu ggwanga." } }
{ "translation": { "en": "Loneliness can lead to stress.", "lg": "Obwomu busobola okuviirako okweraliikirira." } }
{ "translation": { "en": "The education officer wants to improve the examination act.", "lg": "Ofiisa w'ebyenjigiriza ayagala kutereezaamu ku tteeka erifuga enkola y'ebigezo." } }
{ "translation": { "en": "To ban is to hinder something from happening.", "lg": "Okuwera kwe kulemesa ekintu okubaawo." } }
{ "translation": { "en": "They wrote to the ministry to warn them of the new weed.", "lg": "Bawandiikidde minisitule okubalabula ku muddo omupya." } }
{ "translation": { "en": "The children would not have fought if they had both got the same presents.", "lg": "Abaana tebandirwanye singa baaweereddwa ebirabo bye bimu." } }
{ "translation": { "en": "He lost too much blood after the motorcycle accident.", "lg": "Yavaamu omusaayi mungi bwe yagwa ku kabenje ka ppikippiki." } }
{ "translation": { "en": "Football has been here for many years.", "lg": "Omupiira gugabadde wano okumala emyaka mingi." } }
{ "translation": { "en": "How can the younger generation be inspired?", "lg": "Omugigi omuto guyinza kuzzibwamu gutya amaanyi?" } }
{ "translation": { "en": "Who were the two people that the chairman of the commission was close to?", "lg": "Bantu ki abo ababiri abaali ku lusegere lwa ssentebe w'akakiiko?" } }
{ "translation": { "en": "Many factories have been forced to close due to inadequate funding.", "lg": "Amakolero mangi gakakiddwa okuggalawo olw'ebbula ly'ensimbi." } }
{ "translation": { "en": "He is a successful taxi driver.", "lg": "Muvuzi wa takisi ali obulungi." } }
{ "translation": { "en": "She took tomatoes to her mother.", "lg": "Yamutwalira nnyina ennyaanya." } }
{ "translation": { "en": "Seasonal rivers are filled with water during rainy seasons.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Regular sensitization is a measure to eliminate malnutrition in families.", "lg": "Okumanyisibwa entakera luwenda lw'okumalawo endya embi mu maka." } }
{ "translation": { "en": "Where did you put the basket?", "lg": "Ekisero wakitadde wa?" } }
{ "translation": { "en": "He threatened to bomb Kigali.", "lg": "Yatiisatiisa okukuba bbomu ku Kigali." } }
{ "translation": { "en": "Arua district has a shortage of power supply.", "lg": "Disitulikiti y'Arua eyina ebbula ly'amasannyalaze." } }
{ "translation": { "en": "The police should be notified of any public events.", "lg": "Poliisi erina okutegeezebwa ku buli mukolo ogw'omulujjudde." } }
{ "translation": { "en": "Eating a balanced diet helps in keeping our bodies healthy.", "lg": "Okulya emmere erimu ekiriisa kiyamba emibiri gyaffe okuba emiramu obulungi." } }
{ "translation": { "en": "Corrupt tax officials will be arrested.", "lg": "Abasolooza emisolo abalya enguzi bajja kukwatibwa." } }
{ "translation": { "en": "The police can try to resolve conflicts between the husband and the wife.", "lg": "Poliisi esobola okugezaako okugonjoola obutakkaanya wakati w'omwami n'omukyala." } }
{ "translation": { "en": "Planned activities are usually achieved.", "lg": "Emirimu emiteeketeeke gikolebwa bulijjo." } }
{ "translation": { "en": "Pictures are not allowed in this area.", "lg": "Ebifaananyi tebikkirizibwa mu kifo kino." } }