translation
dict
{ "translation": { "en": "Every region in Uganda has a tourism site.", "lg": "Buli kitundu mu uganda kirina ebifo ky'obulambuzi." } }
{ "translation": { "en": "She spread her beans in the sun to dry.", "lg": "Yayanika ebijanjaalo bye mu musana bikale." } }
{ "translation": { "en": "Where is the human rights office located?", "lg": "Woofiisi y'eddembe ly'obuntu esangibwa wa?" } }
{ "translation": { "en": "The house has only three rooms.", "lg": "Ennyumba erina ebisenge bisatu byokka." } }
{ "translation": { "en": "I eat fried cassava on breakfast.", "lg": "Ndya muwogo omusiike ku kyenkya." } }
{ "translation": { "en": "He is one of the most important people in attendance.", "lg": "Y'omu ku bagenyi abakulu abali ku mukolo guno." } }
{ "translation": { "en": "The Inter-Party Cooperation presidential candidate started campaigning.", "lg": "Eyali yeesimbiddewo mu bwa pulezidenti bw'Omukago Ttababibiina yatandika okukola kakuyege." } }
{ "translation": { "en": "Beer is often consumed more in the evening.", "lg": "Abantu abasinga bbiya bamunywa kawungeezi." } }
{ "translation": { "en": "The baby sleeps during the day.", "lg": "Omwana yeebaka emisana." } }
{ "translation": { "en": "Malaria affects both young and old.", "lg": "Omusujja gw'ensiri gukosa abato n'abakulu." } }
{ "translation": { "en": "He failed to identify a market for his produce.", "lg": "Yalemererwa okufunira ebirime bye akatale." } }
{ "translation": { "en": "A referral hospital was built in our town.", "lg": "Eddwaliro eddene erijulizibwamu abalwadde lyazimbibwa mu kibuga kyaffe." } }
{ "translation": { "en": "The team was arrested after a few days of monitoring their activities.", "lg": "Ttiimu yakwatibwa oluvannyuma lw'ennaku entono nga babalinnya akagere." } }
{ "translation": { "en": "What caused the thousand nine hundred sixty-six crisis in the Buganda Kingdom?", "lg": "Kiki ekyaleetawo ensasagge ya lukumi mu lwenda nkaaga mu mukaaga mu Bwakabaka bwa Buganda?" } }
{ "translation": { "en": "The Ugandan government has issued land titles to twenty three Mbale residents.", "lg": "Gavumenti ya Uganda ewadde abantu abiri mu basatu ebyappa by'ettaka e Mbale." } }
{ "translation": { "en": "When is his mother's birthday?", "lg": "Amazaalibwa ga maama ga ddi?" } }
{ "translation": { "en": "We all eat meat at home apart from my mother.", "lg": "Ffenna tulya ennyama awaka okuggyako maama." } }
{ "translation": { "en": "I cannot have sex before marriage.", "lg": "Sisobola kwegatta mu bya mukwano nga sinnafumbirwa." } }
{ "translation": { "en": "Lions climb trees when they need to rest too.", "lg": "Empologoma era ziwalampa emiti nga zeetaaga okuwummulamu." } }
{ "translation": { "en": "What are some of the water-borne diseases?", "lg": "Ndwadde ki ezireetebwa amazzi amakyafu?" } }
{ "translation": { "en": "The Ugandan government supported several programs to increase fish production and processing.", "lg": "Gavumenti ya Uganda yawagira puloogulaamu ez'enjawulo ez'okutumbula okulunda n'okulongoosa ebyennyanja." } }
{ "translation": { "en": "I went through the taxi park to go to my family’s clinic.", "lg": "\"\"\"Nnayitira mu kibangirizi omusimba takisi okugenda ku kalwaliro ka famire yange.\"\"\"" } }
{ "translation": { "en": "My little brother is scared of geese.", "lg": "Muto wange omulenzi atya embaatakabuzi." } }
{ "translation": { "en": "How many volunteers do you want?", "lg": "Bannakyewa bameka b'oyagala?" } }
{ "translation": { "en": "My brother has just returned from a trip to Sweden.", "lg": "Muganda wange/mwannyinaze yaakadda okuva ku lugendo lw'e Sweden." } }
{ "translation": { "en": "The police kept quiet about the killings happening in our village last year.", "lg": "Poliisi yasirika ku kittabantu ekyali ekigenda mu maaso ku kyalo kyaffe omwaka oguwedde." } }
{ "translation": { "en": "The accident left him disabled.", "lg": "Akabenje kaamulemaza." } }
{ "translation": { "en": "\"According to the offense committed, he might be jailed for five years.\"", "lg": "\"Okusinziira ku musango gwe yazza, ayinza okusibibwa okumala emyaka etaano.\"" } }
{ "translation": { "en": "He is a football striker.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "He tied the pot to his back.", "lg": "Yasibye ensuwa ku mugongo gwe." } }
{ "translation": { "en": "The heavy wind blew a lot of dust.", "lg": "Omuyaga omungi gwasitula enfuufu." } }
{ "translation": { "en": "More people have been arrested.", "lg": "Abantu abalala bakwatiddwa." } }
{ "translation": { "en": "He will leave Uganda for his country.", "lg": "Ajja kuba mu Uganda addeyo mu nsi ye." } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "We no longer have any problem with her.", "lg": "Tetukyamulinako buzibu." } }
{ "translation": { "en": "She does not have money to clear the loan.", "lg": "Talina ssente kusasula looni." } }
{ "translation": { "en": "The resident may have been kidnapped.", "lg": "Omutuuze bayinza okuba nga baamuwamba." } }
{ "translation": { "en": "All village landowners met the local council chairman.", "lg": "Bannannyini ttaka mu byalo baasisinkanye ssentebe wa gavumenti z'ebitundu." } }
{ "translation": { "en": "Which school did you join for secondary?", "lg": "Weegatta ku ssomero ki mu sekendule?" } }
{ "translation": { "en": "Politicians were the people that society most looked up to.", "lg": "Abantu abasinga obungi baali bassa nnyo ekitiibwa mu bannabyabufuzi era nga babatunuulira ng'ekyokulabirako." } }
{ "translation": { "en": "The winner of the presidential elections won with fifty-nine percent of the votes.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The bridge is set to boost tourism and economic growth.", "lg": "Olutindo lugenda kutumbula eby'obulambuzi n'ebyenfuna." } }
{ "translation": { "en": "Some people in rural areas are alcoholics.", "lg": "Abantu abamu mu byalo batamiivu." } }
{ "translation": { "en": "He broke my heart.", "lg": "Yamenya omutima gwange." } }
{ "translation": { "en": "\"In businesses, it is expected to make losses.\"", "lg": "Bw'oba okola bizineesi oba osuubira n'okufiirwa." } }
{ "translation": { "en": "Do you think the teacher will be angry if we miss our classes today?", "lg": "Olowooza omusomesa anaanyiiga singa tetubaawo mu kibiina leero?" } }
{ "translation": { "en": "Our water supply has been cut off.", "lg": "Amazzi gaffe gasaliddwako." } }
{ "translation": { "en": "We hope things will soon improve.", "lg": "Ka tusuubire nti mu kaseera katono ebintu binaatereera." } }
{ "translation": { "en": "The law in Uganda prohibits the employment of children under the age of twelve.", "lg": "Etteeka mu Uganda likugira okukozesa abaana abali wansi w'emyaka ekkumi n'ebiri ng'abakozi." } }
{ "translation": { "en": "Promotions resulted from stiff competition among the telecom companies.", "lg": "Pulomoosoni zajjawo olw'okuvuganya okw'amaanyi okuliwo wakati wa kampuni z'amasimu." } }
{ "translation": { "en": "He should receive immediate treatment.", "lg": "Ateekeddwa okufuna obujjanjabi obwamangu." } }
{ "translation": { "en": "Yesterday two staff at the high court faced disciplinary action over corruption.", "lg": "Eggulo abakozi babiri ku kkooti eya waggulu baabonerezeddwa olw'obuli bw'enguzi." } }
{ "translation": { "en": "I grew up from the village.", "lg": "Nakulira mu kyalo." } }
{ "translation": { "en": "Most women couldn't plait their hair during the lockdown because salons were closed.", "lg": "Abakyala abasinga obungi tebaasiba nviiri zaabwe mu muggalo kubanga saaluuni zaali nzigale." } }
{ "translation": { "en": "Farmers sell their farm yield and get money.", "lg": "Abalimi batunda ebirime byabwe ne bafuna ssente." } }
{ "translation": { "en": "World health organization wants to progress in domestic investment for surveillance activities.", "lg": "Ekitongole kya World Health Organisation kyagala wabeerewo okwongeza ku kuteeka ensimbi mu kunoonyereza ku ndwadde mu mawanga." } }
{ "translation": { "en": "Where did you take your children?", "lg": "Abaana bo wabatwala wa?" } }
{ "translation": { "en": "\"Currently, the number of refugees has increased in Uganda.\"", "lg": "\"Kaakano, omuwendo gw'abanoonyiboobubudamu gweyongedde mu Uganda.\"" } }
{ "translation": { "en": "She uses her computer to do her work as well as watch movies.", "lg": "Akozesa kompyuta ye okukola emirimu gye n'okulabirako firimu." } }
{ "translation": { "en": "How do the banks show support to the local businesses?", "lg": "Bbanka ziraga zitya obuyambi eri bizinesi eziri mu kitundu." } }
{ "translation": { "en": "The parish celebrated its golden jubilee last year.", "lg": "Essaza lyajaguza okuweza emyaka amakumi ataano omwaka oguwedde." } }
{ "translation": { "en": "There is a smooth workflow in our company.", "lg": "Emirimu mu kkampuni yaffe gitambula bulungi." } }
{ "translation": { "en": "The lights on the street have improved security on the road.", "lg": "Amataala agali ku luguudo galongoosezza ku byokwerinda ku luguudo." } }
{ "translation": { "en": "There is a need to employ more doctors in the village health centre.", "lg": "Waliwo obwetaavu bw'okuteeka abasawo mu malwaliro g'omu kyalo." } }
{ "translation": { "en": "He lives with his wife and their three children.", "lg": "Abeera ne mukyala we n'abaana baabwe abasatu." } }
{ "translation": { "en": "The picture shows who attended the debate on Wednesday.", "lg": "Ekifaananyi kiraga abaaliwo mu kukubaganya ebirowoozo ku Lwokusatu." } }
{ "translation": { "en": "Some youth claim to have started sex from the age of fifteen.", "lg": "Abavubuka abamu bagamba nti baatandika ebyokwegatta nga balina emyaka kkumi n'etaano." } }
{ "translation": { "en": "She left her husband's house because he used to beat her.", "lg": "Yanoba mu maka ga bba kubanga yamukubanga." } }
{ "translation": { "en": "Her brother is now ten years old.", "lg": "Mwannyina kati alina emyaka kkumi." } }
{ "translation": { "en": "It discourages outside donor funding to support justice projects.", "lg": "Kiremesa abagabi b'ensimbi okuva mu nsi z'ebweru okussa ssente mu nteekateeka ezirwanirira obwenkanya." } }
{ "translation": { "en": "Musicians make a lot of money from concerts.", "lg": "Abayimbi bakola ssente nnyingi nnyo okuva mu bivvulu." } }
{ "translation": { "en": "What should be included in a funeral program?", "lg": "Biki ebirina okuteekebwa mu nteekateeka y'okuziika?" } }
{ "translation": { "en": "The frog was hiding behind a big rock.", "lg": "Ekikere kyali kyekwese emabega w'olwazi olunene." } }
{ "translation": { "en": "The push intensified after the killing of Ibrahim Abiriga.", "lg": "Akanyigo keeyongera oluvannyuma lw'okuttibwa kwa Ibrahim Abiriga." } }
{ "translation": { "en": "Parents have a negative attitude towards education.", "lg": "Abazadde balina endowooza embi eri okusoma." } }
{ "translation": { "en": "Too much heat from the sun can cause plants to dry.", "lg": "Ebbugumu eringi eenyo okuva mu njuba lisobola okukaza ebimera." } }
{ "translation": { "en": "A person can die of malaria if they don't get treatment.", "lg": "Omuntu asobola okufa omusujja gw'ensiri singa tebafuna bujjanjabi." } }
{ "translation": { "en": "The community is protected from danger.", "lg": "Ekitundu kikuumibwa okuva eri obulabe." } }
{ "translation": { "en": "He ran towards her and hugged her.", "lg": "Yadduka ng'adda gy'ali era n'amugwa mu kifuba." } }
{ "translation": { "en": "The youths can now make liquid soap after the training.", "lg": "Abavubuka kati basobola okukola ssabuuni w'amazzi oluvannyuma lw'okutendekebwa." } }
{ "translation": { "en": "Most of the team members tested negative for coronavirus.", "lg": "Ba mmemba ba ttiimu abasinga tebaazuulibwamu kawuka ka kkolona." } }
{ "translation": { "en": "He hired a piece of land to grow tomatoes.", "lg": "Yapangisa ettaka asobole okulima ennyaanya." } }
{ "translation": { "en": "The Bank of Uganda does not regulate mobile money transactions.", "lg": "Bbanka ya Uganda tefuga kutambuliza ssente ku ssimu." } }
{ "translation": { "en": "Observers accuse him of playing a quiet campaign role for the president.", "lg": "Abatunuulizi bamuvunaana okukubira pulezidenti kkampeyini mu kyama." } }
{ "translation": { "en": "Talking about young Africans using smartphones.", "lg": "Twogera ku baana ba Afirika okukozesa amasimu agali ku mutimbagano." } }
{ "translation": { "en": "The party was on the twenty-sixth of November.", "lg": "Omukolo gwaliwo nga abiri mu mukaaga mu mwedzi gwa Museenene." } }
{ "translation": { "en": "Women are trying as much as they can to empower ferlow women.", "lg": "Abakyala bagezaako nga bwe basobola okusitula bakazi bannaabwe." } }
{ "translation": { "en": "Presidential campaigns will officially kick off next Monday.", "lg": "Kkampeyini z'obwa pulezidenti zijja kutandika ku Lwokusooka mu butongole." } }
{ "translation": { "en": "What should be done to minimize land conflicts in society?", "lg": "Ki ekiteekeddwa okukolebwa okukendeza ku bukuubagano bw'ettaka mu kitundu?" } }
{ "translation": { "en": "The mode of arriving at solutions is being questioned.", "lg": "Enkola omuyitibwa okusobola okutuuka ku ngeri y'okugonjoola obuzibu eriko akabuuza." } }
{ "translation": { "en": "The peoples' hostility is complicating the health workers' job of suppressing outbreaks.", "lg": "Obukambwe bw'abantu bukalubizza omulimu gw'obusawo okumalawo okubalukawo kw'endwadde." } }
{ "translation": { "en": "The army general was killed in the war.", "lg": "Omukulu w'eggye yafiiridde mu lutalo." } }
{ "translation": { "en": "We have a cat at home.", "lg": "Tulina kkapa ewaka." } }
{ "translation": { "en": "They want to get more information about the case.", "lg": "Baagala okufuna obubaka obusingako ku musango." } }
{ "translation": { "en": "What scares you most?", "lg": "Kiki ekisinga okukutiisa?" } }
{ "translation": { "en": "The basketball team got thirty-two points which led to their victory.", "lg": "Ttiimu y'omupiira ogw'ensero yafuna obubonero amakumi asatu mu bubiri obwagituusa ku buwanguzi." } }
{ "translation": { "en": "It is good to have more than one email address to handle different communications.", "lg": "Kirungi okubeera n'endagiriro ya email okusobola okukwasaganya empuliziganya ez'enjawulo." } }
{ "translation": { "en": "The priest preached about the prodigal son.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The leader was falsely accused of rape.", "lg": "Omukulembeze yawaayirizibwa nti yakwata omukazi." } }
{ "translation": { "en": "Fishing is the main source of livelihood for many people on the lake shores.", "lg": "Obuvubi gw'emulimu omukulu ogw'abantu ababeera ku mbalama z'ennyanja." } }