translation
dict
{ "translation": { "en": "Education helps to develop people's abilities to break free from circles of violence and suffering.", "lg": "Ebyenjigiriza biyamba okuzimba obusobozi bw'abantu okwetakkuluza ku butabanguko n'okubonaabona." } }
{ "translation": { "en": "Dams help in power generation.", "lg": "Amabibiro gayamba mu kukola amasannyalaze." } }
{ "translation": { "en": "The president has the power to ease the lockdown.", "lg": "Pulezidenti alina obuyinza obukkakkanya ku muggalo." } }
{ "translation": { "en": "Saving club rules should be followed to prevent fraud.", "lg": "Amateeka g'ebibiina ebitereka ssente galina okugobererwa okwewala obufere." } }
{ "translation": { "en": "Who is the chief justice of Uganda?", "lg": "Ani ssaabalamuzi wa Uganda?" } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The district does not provide any help to the positive cases at the district.", "lg": "Disitulikiti tewa balwadde buyambi bwonna ku disitulikiti." } }
{ "translation": { "en": "The roof seems to be leaking.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "I have been mixing these colors since morning.", "lg": "Mbadde ntabula langi zino okuva kumakya." } }
{ "translation": { "en": "People in town centres face many challenges.", "lg": "Abantu mu bibuga basisinkana okusoomozebwa kungi." } }
{ "translation": { "en": "Many people complained about segregation.", "lg": "Abantu bangi beemulugunya ku busosoze." } }
{ "translation": { "en": "There were very many preachers in today's service.", "lg": "Ababuulizi babadde bangi mu mmisa ya leero." } }
{ "translation": { "en": "The registration centers were crowded with people that wanted to register sim cards", "lg": "Ebifo ewawandiisibwa byali bikubyeko abantu abaali baagala okuwandiisa layini z'amasimu." } }
{ "translation": { "en": "Their mother does not want him to play with us because he uses vulgar language.", "lg": "Maama tayagala azannye naffe kubanga akozesa olulimi oluwemula." } }
{ "translation": { "en": "His brother died in a car accident last month.", "lg": "Muganda we yafiira mu kabenje ka mmotoka omwezi oguwedde." } }
{ "translation": { "en": "My friend is contesting for the office of the Local Council's three chairperson.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "He resigned from his job because of mistreatment.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The funds allocated to the district for construction of the roads weren't enough.", "lg": "Ensimbi ezaaweebwa disitulikiti okukola enguudo zaali tezimala." } }
{ "translation": { "en": "The woman introduced her man to her parents.", "lg": "Omukyala yayanjulidde bazadde be omwami." } }
{ "translation": { "en": "The government will increase funds for palm oil production.", "lg": "Gavumenti ejja kwongera ku nsimbi z'essa mu kulima ebinazi." } }
{ "translation": { "en": "People need money to establish market stalls.", "lg": "Abantu beetaaga ssente okuzimba emidaala." } }
{ "translation": { "en": "Eating a balanced diet protects your body from some diseases.", "lg": "Okulya emmere erimu ebiriisa by'omubiri byonna etangira omubiri gwo endwadde ezimu." } }
{ "translation": { "en": "Has the game started?", "lg": "Omuzannyo gutandise?" } }
{ "translation": { "en": "My former secondary school English teacher is now a news anchor.", "lg": "Eyali omusomesa wange ow'Olungereza mu sekendule kaakano musomi wa mawulire." } }
{ "translation": { "en": "Did you participate in the training?", "lg": "Weetabye mu kutendekebwa?" } }
{ "translation": { "en": "What is the role of the church?", "lg": "Mugaso ki ogw'ekkanisa?" } }
{ "translation": { "en": "The president's national address was shown live on every television.", "lg": "Okwogera kwa pulezidenti eri eggwanga kwali ku ttivi." } }
{ "translation": { "en": "My grandmother is tired and sick.", "lg": "Jjajja wange omukazi mukoowu ate nga era mulwadde." } }
{ "translation": { "en": "It would shift power from voters at the grassroots.", "lg": "Kyandikyusizza obuyinza okuviira ddala ku balonzi abasookebwako." } }
{ "translation": { "en": "Abu Dhabi encouraged increased investment in vaccine-preventable diseases.", "lg": "Abu Dhabi yakubiriza okwongera okusiga ensimbi mu ndwadde eziyinza okwewalibwa." } }
{ "translation": { "en": "I know someone who can get you a job.", "lg": "Nnina gwe mmanyi asobola okukufunira omulimu." } }
{ "translation": { "en": "Refugees had misunderstandings between themselves.", "lg": "Abanoonyiboobubudamu b'abadde n'obutakkaanya wakati waabwe." } }
{ "translation": { "en": "The newly appointed chief judge has dealt with many criminal cases.", "lg": "Omulamizi omukulu eyaakalondebwa alamudde emisango mingi egy'obumenyi bw'amateeka." } }
{ "translation": { "en": "He got a new job at a hospital in Nairobi.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "He is accused of disobeying the president's instructions.", "lg": "Avunaanibwa gwa kujeemera biragiro bya pulezidenti." } }
{ "translation": { "en": "Very few people donated blood last year.", "lg": "Abantu batono nnyo abaagaba omusaayi omwaka oguyise." } }
{ "translation": { "en": "How big is your garden?", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The football players were advised to invest in business activities.", "lg": "Abazannyi b'omupiira gw'ebigere baawabulwa basige ensimbi mu bizinensi." } }
{ "translation": { "en": "The person in charge of this training is very experienced in the field.", "lg": "Omuntu avunaanyizibwa ku kutendeka kuno mumanyirivu nnyo mu kisaawe ." } }
{ "translation": { "en": "This disease has affected all the people in our community.", "lg": "Ekirwadde kino kikosezza abantu bonna mu kitundu kyaffe." } }
{ "translation": { "en": "She had her last Christmas in prison.", "lg": "Ssekukkulu ewedde yagiriira mu kkomera." } }
{ "translation": { "en": "Namirembe Cathedral is the main place of worship for the Anglican Church in Uganda.", "lg": "Lutikko y'e Namirembe lye ssinzizo ekkulu ery'Ekkanisa y'Abangirikaani mu Uganda." } }
{ "translation": { "en": "The journalist collected people's opinions about the appointment of the new cabinet ministers.", "lg": "Munnamawulire yakuŋŋaanya endowooza z'abantu ku kulonda kwa baminisita abaggya." } }
{ "translation": { "en": "How much does a bunch of banana cost?", "lg": "Ekiwagu ky'amatooke kigula ssente mmeka?" } }
{ "translation": { "en": "Christians are usually persecuted by other religious sects.", "lg": "Abakiristo batera okuyigganyizibwa ebiwayi by'eddiini endala." } }
{ "translation": { "en": "The company reduced the financial support that it used to offer.", "lg": "Kkampuni yakendeeza ku buyambi bw'ensimbi bwe yalinga egaba." } }
{ "translation": { "en": "Do you think you are a king?", "lg": "Olowooza oli kabaka?" } }
{ "translation": { "en": "He mobilized money for the party.", "lg": "Yakuɳɳaanya ssente ez'okukola akabaga." } }
{ "translation": { "en": "She walks from home to school daily.", "lg": "Atambula buli lunaku okuva ewaka okugenda ku ssomero." } }
{ "translation": { "en": "She was arrested for murdering her husband.", "lg": "Yakwatibwa olw'okutemula bba." } }
{ "translation": { "en": "There is an ongoing war between those two families.", "lg": "Waliwo olutalo olugenda mu maaso wakati wa famire ezo ebbiri." } }
{ "translation": { "en": "The land is a key factor in infrastructure development.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Some people are addicted to cigarette smoking in our community.", "lg": "Abantu abamu mu kitundu kyaffe balina omuze gw'okunywa sigala." } }
{ "translation": { "en": "She has a client's dress to sew.", "lg": "Alina ekiteeteeyi kya kasitooma eky'okutunga." } }
{ "translation": { "en": "He was interviewed after his overthrow.", "lg": "Yabuuzibwa ng'amaze okumaamulwako." } }
{ "translation": { "en": "He went to fetch water from the tap.", "lg": "Yagenda okukima amazzi okuva ku ttaapu." } }
{ "translation": { "en": "The contractors hired to construct the bridge used substandard material.", "lg": "Abaaweebwa ttenda okuzimba olutindo baakozesa ebintu ebitatuukana na mutindo." } }
{ "translation": { "en": "The chairperson is preparing the event.", "lg": "Ssentebe y'ategeka omukolo." } }
{ "translation": { "en": "His deputy was the aggressive female spirit.", "lg": "Omumyuka we gwali muzimu gwa mukazi omukambwe ennyo." } }
{ "translation": { "en": "The leader appointed new judges to fill vacant positions in the high court.", "lg": "Omukulembeze yalonda abalamuzi abaggya okujjuza ebifo by'abalamuzi ba kkooti enkulu." } }
{ "translation": { "en": "The criminals should not be released.", "lg": "Abamenyi b'amateeka tebasaana kuteebwa." } }
{ "translation": { "en": "They were very serious about moving to a new district.", "lg": "Baabadde bakakasizza ddala ensonga y'okusengukira mu disitulikiti endala." } }
{ "translation": { "en": "She was transferred to another prison because the other inmates wanted to kill her.", "lg": "Yatwalibwa mu kkomera eddala kubanga abasibe abalala baali baagala kumutta." } }
{ "translation": { "en": "Many organizations are trying their best to remove all children from the streets.", "lg": "Ebitongole bingi bigezaako okukola kyonna kye bisobola okuggya abana bonna ku nguudo." } }
{ "translation": { "en": "I scored twenty aggregates in ten subjects.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "My parents will not allow me to attend your birthday party.", "lg": "Bazadde bange tebajja kukkiriza kubeera ku kabaga ko ak'amazaalibwa." } }
{ "translation": { "en": "The event had several sponsors.", "lg": "Omukolo gwabadde n'abategesi bangi." } }
{ "translation": { "en": "Beni is the base of the United Nations stabilization mission in the Democratic Republic of Congo.", "lg": "Beni kye kitebe kya United Nations stabilisation mission mu Democratic Republic of Congo." } }
{ "translation": { "en": "My parents agreed to our marriage and they were very happy.", "lg": "Bazadde bange baasanyukira okufumbiriganwa kwaffe era baali basanyufu nnyo." } }
{ "translation": { "en": "The supporters reacted violently towards the arrest of their favorite politician.", "lg": "Abawagizi baayoleka ebikolwa eby'obukambwe bwe baakwata munnabyabufuzi gwebaagala." } }
{ "translation": { "en": "The police have arrested some suspects.", "lg": "Poliisi ekutte abamu ku bateeberezebwa." } }
{ "translation": { "en": "People should be sensitized about cultural beliefs.", "lg": "Abantu balina okumanyisibwa ku nzikiriza z'obuwangwa." } }
{ "translation": { "en": "Why do you like sitting at the back of the class?", "lg": "Lwaki oyagala okutuula emabega mu kibiina?" } }
{ "translation": { "en": "Goats are some of the animals we rear at home.", "lg": "Embuzi bye bimu ku bisolo bye tulunda awaka." } }
{ "translation": { "en": "Business partners from outside make good quality products.", "lg": "Bannamikago mu busuubuzi okuva ebweru bakola ebintu ebiri ku mutindo." } }
{ "translation": { "en": "Bars have remained closed as more restrictions are lifted on various businesses", "lg": "Amabbaala gasigadde maggale nga bizinesi ez'enjawulo ziggyiddwako omuggalo." } }
{ "translation": { "en": "People lack agricultural inputs to engage in agricultural activities.", "lg": "Abantu tebalina bikozesebwa mu kulima kwenyigira mu bya bulimi." } }
{ "translation": { "en": "Church members collected money to build a house for the pastor.", "lg": "Ba mmemba b'ekkanisa baakuŋŋaanya ssente okuzimbira omusumba ennyumba." } }
{ "translation": { "en": "People should take measures to prevent diseases.", "lg": "Abantu balina okukola enteekateeka okutangira endwadde." } }
{ "translation": { "en": "He has been admitted to the hospital for three weeks now.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Who heads the electoral commission of Uganda?", "lg": "Ani akulira akakiiko k'ebyokulonda mu Uganda?" } }
{ "translation": { "en": "He is an expert at repairing computers.", "lg": "Mukugu mu kuddaabiriza kompyuta." } }
{ "translation": { "en": "He was arrested on allegations that he stole the car.", "lg": "Yasibiddwa ku bigambibwa nti yabba emmotoka." } }
{ "translation": { "en": "The suspect escaped to another country after murdering his brother.", "lg": "Ateeberezebwa okutta yaddukira mu nsi endala oluvannyuma lw'okutta muganda we." } }
{ "translation": { "en": "He slept comfortably lying in his bed.", "lg": "Yeebase bulungi nga agalamidde mu buliri bwe." } }
{ "translation": { "en": "The locals were angry with the district leaders for closing the market.", "lg": "Abantu b'omu kitundu baanyigira nnyo abakulembeze ba disitulikiti olw'okuggalawo akatale." } }
{ "translation": { "en": "The witness told the court the truth.", "lg": "Omujulizi yagamba kkooti amazima." } }
{ "translation": { "en": "District leaders brought the ministry of transport on board to improve road transport.", "lg": "Abakulembeze ba disitulikiti baatudde ne minisitule y'ebyentambula ku nsonga y'okutumbula entambula y'oku nguudo." } }
{ "translation": { "en": "Prevention is better than cure.", "lg": "Okutangira kusinga okuwonya." } }
{ "translation": { "en": "She has worked at the company for many years.", "lg": "Akoledde ku kkampuni okumala emyaka mingi." } }
{ "translation": { "en": "We were told to avoid crowded places.", "lg": "Tugambibwa okwewala ebifo ebirimu omujjuzo." } }
{ "translation": { "en": "The group soon began to clash with another rebel group", "lg": "Ekibinja bunnambiro kyatandika okukuubagana n'ekibinja ky'abayeekera ekirala" } }
{ "translation": { "en": "He dipped his fingers in honey and licked them.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "He was a delegate of the one thousand nine hundred ninety-four Constituent.", "lg": "Yali mubaka omulonde owa konsitituwensi olukumi mu lwenda kyenda mu nnya." } }
{ "translation": { "en": "The Bible emphasizes that sex before marriage is a sin.", "lg": "Bbayibuli ekkaatiriza nti okwegatta nga tonnafumbirwa kibi." } }
{ "translation": { "en": "The municipality leaders have failed to plan for the district.", "lg": "Abakulembeze ba Munisipaali balemereddwa okuteekateekera disitulikiti." } }
{ "translation": { "en": "Which medicine do you usually take when you have cramps?", "lg": "Ddagala ki ly'omira ng'ebinywa bikuluma?" } }
{ "translation": { "en": "More ponds were constructed to support vigorous fish farming.", "lg": "Ebidiba ebirala byazimbibwa okuwagira omulimu gw'okulunda ebyennyanja ogwongeddwamu amaanyi." } }
{ "translation": { "en": "Good hygiene can prevent the spread of most diseases", "lg": "Obuyonjo busobola okutangira ensaasaanya y'endwadde ezisinga" } }