translation
dict
{ "translation": { "en": "Children should be taught the value of saving from a young age.", "lg": "\"Okuviira ddala mu buto, abaana basaanidde okuyambibwa okumanya obukulu bw'okuterekawo ssente.\"" } }
{ "translation": { "en": "Some people do not have access to clean water.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The dance performance excited the audience.", "lg": "Amazina gaasanyusizza nnyo abantu." } }
{ "translation": { "en": "How many survived the floods?", "lg": "Bameka abaawona amataba?" } }
{ "translation": { "en": "What do we do in order to access clean water?", "lg": "Tukola tutya okufuna amazzi amayonjo?" } }
{ "translation": { "en": "Accountability is so important in a work place.", "lg": "Ensaasaanya ya mugaso nnyo ku mulimu." } }
{ "translation": { "en": "More youths should take part in community outreaches.", "lg": "Abavubuka abalala balina okwenyigira mu bintu ebiyamba ekitundu." } }
{ "translation": { "en": "I watched only the headlines.", "lg": "Nalabye mitwe gyokka." } }
{ "translation": { "en": "Christians should have their faith and trust in God.", "lg": "Abakulisitaayo balina okuteeka okukkiriza n'obwesigwa bwabwe mu Katonda." } }
{ "translation": { "en": "You can use mobile money to pay your bills.", "lg": "Osobola okukozesa mobayiro mmane okusasula ebisale byo." } }
{ "translation": { "en": "There are allegations of fraud in the district procurement department", "lg": "Waliwo obufere obugambibwa obuli mu kitongole kya disitulikiti ekiguzi ky'ebintu." } }
{ "translation": { "en": "Many animals died of anthrax.", "lg": "Ebisolo bingi byafa kalusu." } }
{ "translation": { "en": "Communities need to be sensitized about the prevailing human rights.", "lg": "Abantu balina okusomesebwa ku bikwata ku ddembe ly'obuntu eririwo." } }
{ "translation": { "en": "The village leader urged the community to work hand in hand with the officers.", "lg": "Omukulembeze w'ekyalo yasabye ekitundu okukolaganira awamu n'abakungu." } }
{ "translation": { "en": "Work hard and avoid waiting to get free things.", "lg": "Kola nnyo weewale okulinda ebintu eby'obwereere." } }
{ "translation": { "en": "The farmer had fifty sacks of beans ready for sale.", "lg": "Omulimi yalina ekkutiya z'ebijanjaalo amakumi ataano ez'okutunda." } }
{ "translation": { "en": "This is the woman who sells cassava flour.", "lg": "Ono ye mukyala atunda obuwunga bwa muwogo." } }
{ "translation": { "en": "The Reverend prayed for elections to go on well during service.", "lg": "Omwawule yasabira okulonda kutambule bulungi mu kusaba." } }
{ "translation": { "en": "The community should fundraise for hospital construction.", "lg": "Ekitundu kiteekeddwa okusondera okuzimba kw'eddwaliro." } }
{ "translation": { "en": "Is it healthy for venders to sleep in the market?", "lg": "Kya bulamu abatembeeyi okusula mu katale?" } }
{ "translation": { "en": "There students results will be rereased next week.", "lg": "Ebyava mu bibuuzo by'abayizi baabwe bijja kufuluma sabbiiti ejja." } }
{ "translation": { "en": "This report has more information about the event.", "lg": "Alipoota eno erimu obubaka obusingawo ku mukolo." } }
{ "translation": { "en": "Why are your eyes red?", "lg": "Lwaki amaaso go mamyufu?" } }
{ "translation": { "en": "Some logs are used as electric poles.", "lg": "Endoddo z'emiti ezimu bazikozesa ng'ebikondo by'amasannyalaze." } }
{ "translation": { "en": "The team will participate in the upcoming football competitions.", "lg": "Ttiimu ejja kwetaba mu mpaka z'omupiira gw'ebigere ezibindabinda." } }
{ "translation": { "en": "Strategy is always important before doing anything.", "lg": "Bulijjo kikulu okubaga enteekateeka nga tonnakola kintu kyonna." } }
{ "translation": { "en": "The peaceful demonstration was in the district headquarters.", "lg": "Okwekalakaasa okw'emirembe kwabaddewo ku bitebe bya disitulikiti." } }
{ "translation": { "en": "The deceased had thirty acres of maize plantation in our village.", "lg": "Omugenzi yalina yiika za kasooli amakumi asatu mu kyalo kyaffe." } }
{ "translation": { "en": "I retired ten years ago.", "lg": "Nnawummula emyaka kkumi emabega." } }
{ "translation": { "en": "\"When things do not go well for some people, they think they are cursed.\"", "lg": "Abantu abamu ebintu bwe bitabagendera bulungi babeera balowooza nti bakolimire." } }
{ "translation": { "en": "The floods have destroyed people's property.", "lg": "Amataba goonoonye ebintu by'abantu." } }
{ "translation": { "en": "The newlyweds are enjoying a good time at the beach.", "lg": "Abagole bali mu kunyumirwa akaseera akalungi ku lubalama lw'ennyanja." } }
{ "translation": { "en": "Most farmers did not harvest anything this season because their crops dried up.", "lg": "Abalimi abasinga tebaakungula kantu konna sizoni eno kubanga ebimera byabwe byakala." } }
{ "translation": { "en": "The leaders thanked Christians for their commitment to developing God's work.", "lg": "Abakulembeze beebaza abakulisitaayo olw'okwewaayo mu kukulaakulanya omulimu gwa mukama." } }
{ "translation": { "en": "Whistle blowers help disclose information on what is taking place.", "lg": "Ababagulizaako bayamba okuggyayo obubaka obwekusifu kw'ekyo ekigenda mu maaso." } }
{ "translation": { "en": "His actions are different from what he speaks.", "lg": "Ebikolwa bye bya njawulo ku by'ayogera." } }
{ "translation": { "en": "Who broke the teacher's stick?", "lg": "Ani yamenya omuggo gw'omusomesa?" } }
{ "translation": { "en": "My mother is hosting a party for her friends at our home.", "lg": "Maama wange akoledde mikwano gye akabaga ewaffe." } }
{ "translation": { "en": "We are training for the national soccer finals.", "lg": "Tutendekebwa nga twetegekera empaka z'okusamba omupiira ezaakamalirizo." } }
{ "translation": { "en": "The new church leaders were warmly welcomed.", "lg": "Abakulembeze abapya bayanirizibwa bulungi." } }
{ "translation": { "en": "He proved his innocence before the judge.", "lg": "Yakakasa omulamuzi nti taliiko musango." } }
{ "translation": { "en": "The legislator attended a press conference about the proposed new education system.", "lg": "Omuteekamateeka yeetaba mu lukiiko lwa bannamawulire olw'enkola y'ebyenjigiriza eteesebwa." } }
{ "translation": { "en": "The speaker has to investigate if the minister was involved in bribing.", "lg": "Omukubiriza w'olukiiko alina okunoonyereza oba nga minisita yeenyigira mu kulya enguzi." } }
{ "translation": { "en": "The opposition has a lot of support in northern Uganda.", "lg": "Ab'oludda oluvuganya gavumenti balina obuwagizi bungi mu bitundu by'omu bukiikakkono bwa Uganda." } }
{ "translation": { "en": "He has gone to the market.", "lg": "Agenze mu katale." } }
{ "translation": { "en": "People worry so much about the future.", "lg": "Abantu beeraliikirira nnyo ebiseera byabwe eby'omu maaso." } }
{ "translation": { "en": "The deceased was under a reber group.", "lg": "Omufu yabadde mu kibinja ky'abayeekera." } }
{ "translation": { "en": "The partnership will rerieve the club of transportation costs.", "lg": "Omukago gujja kuyambako ttiimu mu bisale by'entambula." } }
{ "translation": { "en": "The parliamentarian was exemplary to other leaders.", "lg": "Omubaka wa paalamenti yali kyakulabirako eri abakulembeze abalala." } }
{ "translation": { "en": "\"My blanket is so old, I need to buy a new one.\"", "lg": "Bulangiti yange nkadde nnyo nneetaaga okugulayo empya." } }
{ "translation": { "en": "There is corruption and nepotism in many government departments.", "lg": "Waliwo obuli bw'enguzi n'obulyake bingi mu bitongole bya gavumenti." } }
{ "translation": { "en": "An army was deployed outside the market to handle the riots.", "lg": "Amagye gaayiibwa wabweru w'akatale okulwanyisa abeekalakaasa." } }
{ "translation": { "en": "Medication is a basic service.", "lg": "Obujjanjabi buweereza bwa mugaso." } }
{ "translation": { "en": "Family planning reduces on the population in the country.", "lg": "Enkola ya kizaala ggumba ekendeeza ku bungi bw'abantu mu ggwanga." } }
{ "translation": { "en": "Why do projects fail to achieve their goal?", "lg": "Lwaki pulojekiti ziremererwa okutuukiriza ebiruubirirwa byazo?" } }
{ "translation": { "en": "Take the route with the fewest stops and turns.", "lg": "Vugira ku nguudo ezirimu okuyimirira okutono n'amakoona amatono." } }
{ "translation": { "en": "The tomato leaves are yellow and dry.", "lg": "Ebikoola by'ennyaanya bya kyenvu era bikalu." } }
{ "translation": { "en": "People should love one another.", "lg": "Abantu balina okwagalana." } }
{ "translation": { "en": "May you read for me as I write.", "lg": "Nsaba onsomere nga bwe mpandiika." } }
{ "translation": { "en": "Fire outbreaks cause losses to business owners.", "lg": "Omuliroogukwata ebizimbe guleetera bannannyini bbiizineesi okufiirizibwa." } }
{ "translation": { "en": "She sells photo albums.", "lg": "Atunda alubaamu za bifaananyi." } }
{ "translation": { "en": "The government has constructed a new road from my village to the town.", "lg": "Gavumenti ezimbye oluguudo olupya okuva mu kyalo kyange okutuuka mu kibuga." } }
{ "translation": { "en": "Bridges can last for a period of over twenty years.", "lg": "Entindo zisobola okuwangaala emyaka egisukka mu makumi abiri." } }
{ "translation": { "en": "How do you plan to make yourself useful around here?", "lg": "Osuubira kwefuula otya ow'omugaso ng'oli wano?" } }
{ "translation": { "en": "She stole food from the kitchen.", "lg": "Yabba emmere okuva mu ffumbiro." } }
{ "translation": { "en": "Museveni has ruled over this country for over three decades", "lg": "Museveni afuze eggwanga lino okumala ebyasa bisatu." } }
{ "translation": { "en": "There is no electricity at home.", "lg": "Awaka tewaliiwo masannyalaze." } }
{ "translation": { "en": "He will represent the interests of all his people.", "lg": "Ajja kukiikirira ebirowoozo by'abantu be bonna." } }
{ "translation": { "en": "My brother slashed the grass in the compound.", "lg": "Muganda wange/mwannyinaze yasaaye omuddo mu luggya." } }
{ "translation": { "en": "She paid for my brother's medical bills.", "lg": "Yasasula ebisale bya muganda wange/mwannyinaze eby'eddwaliro." } }
{ "translation": { "en": "I felt tired after work.", "lg": "Nawulira nga nkooye oluvannyuma lw'okukola." } }
{ "translation": { "en": "Why are you asking me the same questions?", "lg": "Lwaki ombuuza ebibuuzo bye bimu?" } }
{ "translation": { "en": "The police said nothing had been stolen.", "lg": "Poliisi yagambye nti tewali kyabadde kibbiddwa." } }
{ "translation": { "en": "There is an increase in the number of Ugandans who use financial services.", "lg": "Omuwendo gwa bannayunganda abakozesa empeereza z'ebyensimbi gweyongedde." } }
{ "translation": { "en": "Government officials need to have more security because they have many enemies.", "lg": "Abakungu ba gavumenti beetaaga obukuumi obulala kuba balina abalabe bangi." } }
{ "translation": { "en": "The retirement age for civil servants is sixty years.", "lg": "Abakozi ba gavumenti bawummulira ku myaka nkaaga." } }
{ "translation": { "en": "He was seated in the cool shade.", "lg": "Yali atudde mu kisiikirize ekiweweera." } }
{ "translation": { "en": "\"When he woke up, he rushed to the bathroom.\"", "lg": "Bwe yazuukuka yagenda mangu mu kinaabiro." } }
{ "translation": { "en": "Parents sponsor their children to learn various western musical instruments.", "lg": "Abazadde bateekamu baana baabwe ensimbi okusoma ebivuga by'abazungu eby'enjawulo." } }
{ "translation": { "en": "Our father used to tell us bedtime stories when we were young.", "lg": "Kitaffe yateranga okutunyumiza obugero nga tugenda kwebaka bwe twali abato." } }
{ "translation": { "en": "There is a reduced risk of some sexually transmitted diseases in men.", "lg": "Waliwo okukendeera kw'obulabe bw'endwadde z'ekikaba ezimu mu basajja." } }
{ "translation": { "en": "There was no evidence of her being beaten.", "lg": "Tewaaliwo bujulizi nti yakubibwa." } }
{ "translation": { "en": "He killed the old woman with the motive of taking over her land.", "lg": "Yatta omukazi omukadde n'ekigendererwa ky'okweddiza ettaka lye." } }
{ "translation": { "en": "Everyone has their time of working and how long they take to work.", "lg": "Buli omu alina obudde bwe bw'akoleramu n'ekiseera ky'amala ng'akola." } }
{ "translation": { "en": "New districts are created so that the government can bring its services nearer to the people.", "lg": "Disitulikiti empya zitondebwawo gavumenti esobole okuleeta empeereza okumpi n'abantu." } }
{ "translation": { "en": "Despite the low salary some teachers continue to do their work.", "lg": "\"Wadde omusaala mutono, abasomesa abamu bagenze mu maaso n'okukola omulimu gwaabwe.\"" } }
{ "translation": { "en": "Patients that tested negative for coronavirus in Gulu have been discharged.", "lg": "Abalwadde abataazuulibwamu kawuka ka kolona e Gulu basiibuddwa." } }
{ "translation": { "en": "That man and woman are met to be together.", "lg": "Omusajja oyo n'omukazi baatondebwa kubeera bombi." } }
{ "translation": { "en": "The company pays a ten thousand Ugandan shillings commission for every new client an employee brings in.", "lg": "Kampuni ewa akasiimo ka mutwalo gumu eri buli mukozi ku buli kasitoma gw'aleeta." } }
{ "translation": { "en": "People were sensitized about sanitation.", "lg": "Abantu baabanguddwa ku buyonjo." } }
{ "translation": { "en": "A strike may spoil the fairness of an electoral process.", "lg": "Obwegugungo busobola okulemesa okulonda okuba okw'obw'enkanya." } }
{ "translation": { "en": "There will be training on how to do health sensitization using social media.", "lg": "Wajja kubaawo okutendekebwa ku ngeri y'okubunyisaamu amawulire ku byobulamu ku mikutu emigattabantu." } }
{ "translation": { "en": "She works as a sub-editor for one of the newspapers.", "lg": "Akola nga omusunsuzi asookerwako ow'olumu ku mpapula z'amawulire." } }
{ "translation": { "en": "The whole city is under attack from the rebels.", "lg": "Ekyalo kyonna kirumbiddwa abayeekera." } }
{ "translation": { "en": "What is the car going to carry?", "lg": "Emmotoka egenda kwetikka ki?" } }
{ "translation": { "en": "He used a pot as his campaign symbol.", "lg": "Yakozesa ensuwa nga akabonero ka kkampeyini ze." } }
{ "translation": { "en": "My grandmother cooks on firewood.", "lg": "Jjajjange omukazi afumbisa nku." } }
{ "translation": { "en": "Waterbodies attract many tourists.", "lg": "Ebifo by'amazzi bisikiriza abalambuzi bangi." } }
{ "translation": { "en": "She inherited her good cooking skills from her mother.", "lg": "Enfumba ennungi yagisikira kuva ku nnyina." } }
{ "translation": { "en": "The government arrested people for being idle and disorderly.", "lg": "Gavumenti yakwata abantu olw'okutaayaaya wamu n'okutabangula emirembe." } }