translation
dict
{ "translation": { "en": "Free haircuts are being offered to the young ones.", "lg": "Abaana abato baweebwa omukisa gw'okusalibwa enviiri ku bwereere." } }
{ "translation": { "en": "What is the color of the trouser that you are looking for?", "lg": "Empale gy'onoonya ya langi ki?" } }
{ "translation": { "en": "\"RapidSet is recommended for concrete applications such as culverts, pavers, bridge beams, and others.\"", "lg": "\"RapidSet asembebwa okukola ebintu eby'enkokoto nga ebigoma, ppeeva, entindo n'ebirala.\"" } }
{ "translation": { "en": "The news anchor spoke about the attempted murder of the general.", "lg": "Omusomi w'amawulire yayogera ku mbeera ya genero eyagezebwamu okuttibwa." } }
{ "translation": { "en": "They want to provide easy access to health services.", "lg": "Baagala basobozese abantu okwanguyirwa okufuna obujjanjabi." } }
{ "translation": { "en": "Some of my friends think that my mother-in-law is pretending to help me so that she can spy on my family.", "lg": "Abamu ku mikwano gyange balowooza nti nnyazaala wange yeefuula annyamba asobole okuketta amaka gange." } }
{ "translation": { "en": "He cares more about his mother than the other relatives.", "lg": "Afaayo nnyo ku nnyina okusinga ab'eŋŋanda abalala." } }
{ "translation": { "en": "There are other methods of birth control.", "lg": "Waliwo engeri endala eziziyiza okuzaala." } }
{ "translation": { "en": "We do not have access to clean water.", "lg": "Tetuyina mazzi mayonjo" } }
{ "translation": { "en": "The thief was put in the police cell.", "lg": "Omubbi baamuteeka mu kaduukulu ka poliisi." } }
{ "translation": { "en": "This is the same concept that possessed Leonardo Da Vinci.", "lg": "Eno y'endowooza y'emu eyakwata Leonardo Da Vinci." } }
{ "translation": { "en": "They were caught on camera carrying sticks.", "lg": "Baakwatibwa ku kkamera nga bakaalakaala n'emiggo." } }
{ "translation": { "en": "The issue is on all ballot boxes.", "lg": "Ensonga ekwata ku busanduuko bw'obululu bwonna." } }
{ "translation": { "en": "We need to find out her background.", "lg": "twetaaga okuzuula gy'ava." } }
{ "translation": { "en": "The headteacher has called for a staff meeting.", "lg": "Omukulu w'essomero ayise olukungaana lw'abasomesa." } }
{ "translation": { "en": "The number eighty-eight is reserved for the new player.", "lg": "Ennamba ya kinaana mu munaana eterekeddwa muzannyi muggya." } }
{ "translation": { "en": "Many students were suspended for abusing drugs.", "lg": "Abayizi bangi baagobeddwa ku lwa kukozesa ebiragalalagala." } }
{ "translation": { "en": "\"After harvesting, he had high yields from his large farm.\"", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The teacher is going to come to our class again.", "lg": "Omusomesa agenda kuddamu ajje mu kibiina kyaffe." } }
{ "translation": { "en": "The army is fighting against the rebels in that country.", "lg": "Amagye galwanyisa abayeekera mu ggwanga eryo." } }
{ "translation": { "en": "Poor sanitation reduces human well being.", "lg": "Obukyafu bukendeeza ku kubeerawo kw'omuntu obulungi." } }
{ "translation": { "en": "Our organization helps prisoners to be released on bail.", "lg": "Ekitongole kyaffe kiyamba abasibe okweyimirirwa." } }
{ "translation": { "en": "\"Maybe after the elections, we shall be able to see some changes.\"", "lg": "Oboolyawo oluvannyuma lw'okulonda tujja kusobola okulabawo enkyukakyuka." } }
{ "translation": { "en": "The private sector is encouraged to invest in tourism.", "lg": "Banneekolera gyange bakubirizibwa okusiga ssente mu byobulambuzi." } }
{ "translation": { "en": "Only forty-seven percent of twenty births are attended by skilled health personnel.", "lg": "Enzaalo ana mu musanvu ku kikumi ku nzaalo amakumi abiri zikolebwa abasawo abakugu." } }
{ "translation": { "en": "She was the first female chief executive at the Bank of Uganda.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "There were company profile pamphlets at the reception.", "lg": "Ewatuukirwa waaliwo obutabo obukwata ku kkampuni" } }
{ "translation": { "en": "Most people are afraid of being taken to court.", "lg": "Abantu abasinga batya okutwalibwa mu kkooti." } }
{ "translation": { "en": "My head has been hurting since morning.", "lg": "Okuva ku makya omutwe gubadde gunnuma." } }
{ "translation": { "en": "You can put aloe vera in your hair to make it soft.", "lg": "Osobola okuteeka ekigaji mu nviiri zo okuzigonza." } }
{ "translation": { "en": "I mop my house every day.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Very few Ugandans eat rabbit meat.", "lg": "Bannayuganda batono nnyo abalya ennyama y'obumyu." } }
{ "translation": { "en": "All leaders ought to be exemplary.", "lg": "Abakulembeze bonna basuubirwa okuba ekyokulabirako." } }
{ "translation": { "en": "Let us meet at the usual place.", "lg": "Tusisinkana mu kifo ekya bulijjo." } }
{ "translation": { "en": "Many women grow vegetables.", "lg": "Abakyala bangi balima enva endiirwa." } }
{ "translation": { "en": "The police are carrying out investigations to find the murderer.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Many people are getting sick.", "lg": "Abantu bangi balwadde." } }
{ "translation": { "en": "The funds will be used to improve health facilities.", "lg": "Ssente zijja kukozesebwa okulongoosa ebyobulamu" } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "He sponsored her education.", "lg": "Yamuweerera." } }
{ "translation": { "en": "Rent goes for far less as one moves away from prime locations.", "lg": "Ebisale by'okupangisa ennyumba bikka nnyo ng'omuntu avuddeko katono mu bifo ebyettanirwa ennyo." } }
{ "translation": { "en": "Some teachers are not comfortable with transfers.", "lg": "Abasomesa abamu tebaagala kukyusibwa.." } }
{ "translation": { "en": "The deputy should take charge if the speaker has not recovered.", "lg": "Omumyuka alina okutwala obuvunaanyizibwa singa omwogezi aba tannawona." } }
{ "translation": { "en": "The land no longer belongs to the royal family.", "lg": "Ettaka terikyali lya bwakabaka." } }
{ "translation": { "en": "Government has promised to increase teachers' salaries next year.", "lg": "Gavumenti esuubizza okwongeza omusaala gw'abasomesa omwaka ogujja" } }
{ "translation": { "en": "Some birds eat fruits from the trees.", "lg": "Ebinyonyi ebimu birya ebibala okuva ku miti." } }
{ "translation": { "en": "Health and understanding are the two great blessings of life.", "lg": "Obulamu n'okutegeera gye mikisa ebiri egisinga mu bulamu." } }
{ "translation": { "en": "That story was told to us by our friend.", "lg": "Olugero olwo lwatunyumizibwa mukwano gwaffe." } }
{ "translation": { "en": "The news is on television right now.", "lg": "Eggulire liri ku ttivvi kati." } }
{ "translation": { "en": "\"According to the judge, his evidence was insufficient.\"", "lg": "\"Okusinziira ku mulamuzi, obujulizi bwe bwali tebumala.\"" } }
{ "translation": { "en": "The government advised the locals to wash their hands with soap and water for at least twenty seconds to kill the coronavirus.", "lg": "Gavumenti yakubiriza bannansi okunaaba engalo zaabwe ne ssabbuuni n'amazzi okumala obutikitiki waakiri amakumi abiri okutta akawuka ka kkolona." } }
{ "translation": { "en": "He has a terrible skin condition.", "lg": "Embeera y'olususu lwe mbi nnyo." } }
{ "translation": { "en": "He withdrew some money from his bank account.", "lg": "Yaggyayo ssente ezimu ku akawunta ye eya bbanka." } }
{ "translation": { "en": "\"In Uganda, some places are being turned into cities\"", "lg": "\"Mu Uganda, ebifo ebimu bifuulibwa bibuga\"" } }
{ "translation": { "en": "The price of charcoal keeps on changing every year.", "lg": "Ebbeeyi y'amanda ekyukakyuka buli mwaka." } }
{ "translation": { "en": "The mice dug a hole in our house.", "lg": "Emmese yasima omukwesese mu nnyumba yaffe." } }
{ "translation": { "en": "How many subscribers does she have on her YouTube channel?", "lg": "Alina abogoberezi bameka ku mukutu gwe ogwa Youtube?" } }
{ "translation": { "en": "The government will pay medical bills of all the injured people.", "lg": "Gavumementi ejja kusasulira bonna abalumiziddwa ebisale by'eddwaliro." } }
{ "translation": { "en": "What has made you laugh?", "lg": "Kiki ekikusesezza?" } }
{ "translation": { "en": "He was sacked for abuse of his office.", "lg": "Yagobeddwa lwa kukozesa bubi woofiisi ye." } }
{ "translation": { "en": "The old leaders should leave power to the younger generation.", "lg": "Abakulembeze abakaddiye basaanidde okuva mu buyinza balekere abakyali abato." } }
{ "translation": { "en": "The youth caused lots of chaos in the party nominations.", "lg": "Abavubuka baaleetawo akavuyo kangi mu kusunsula kw'abeesimbyewo mu kibiina." } }
{ "translation": { "en": "The truth about the murder case will eventually come out.", "lg": "Amazima agakwata ku ttemu eryo gajja kuvaayo." } }
{ "translation": { "en": "Christians came together to respond to the needs of the clergy.", "lg": "Abakrisitu begasse okuddamu eri ebyetaago by'abakulembeze b'eddiini." } }
{ "translation": { "en": "They waited for us until we finished eating.", "lg": "Baatulinda okutuusa lwe twamaliriza okulya." } }
{ "translation": { "en": "The family relocated from Kampala to Kabale.", "lg": "Famire yasenguka okuva e Kampala okudda e Kabale." } }
{ "translation": { "en": "They did not want their parents to know about the wedding.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Health workers cannot trace down people diagnosed with the disease.", "lg": "Abasawo tebasobola kulondoola bantu bazuuliddwa na kirwadde." } }
{ "translation": { "en": "She was appointed to serve as the Minister of Health.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Is it true that she bribed student voters to vote for her?", "lg": "Kituufu nti yawa abayizi abalonzi enguzi okumulonda?" } }
{ "translation": { "en": "When is your phone interview?", "lg": "Okubuuzibwa kwo ku imu kwa ddi?" } }
{ "translation": { "en": "My cousin died in a motorcycle accident along the Masaka highway last Thursday.", "lg": "Kizibwe wange yafiira mu kabenje ka ppikippiki ku luguudo lw'e Masaka ku Lwokuna oluyise." } }
{ "translation": { "en": "The way out is making innovative concepts.", "lg": "Engeri ey'okukiyitamu kwe kukola endowooza ezizimba." } }
{ "translation": { "en": "The local art fraternity is almost familiar with the name Leonardo Da Vinci.", "lg": "Bannakisaawe kya art abawano abasinga obungi bamanyi erinnya Leonardo Da Vinci." } }
{ "translation": { "en": "His father sells pesticides at the market every Wednesday.", "lg": "Kitaawe atunda eddagala eritta ebiwuka mu katale buli Lwakusatu." } }
{ "translation": { "en": "\"When the girl got home, she removed her school uniform and went to shower.\"", "lg": "\"Omuwala bwe yatuuka ekka, yaggyamu yunifoomu ye ey'esomero n'agenda okunaaba.\"" } }
{ "translation": { "en": "The timekeeper rings the bell when break time is over.", "lg": "Omukwasi w'obudde akuba ekide ng'ekiseera ky'okuwummulamu kiweddeko." } }
{ "translation": { "en": "Not enough money has been collected to pay the councillors.", "lg": "Ssente ezikungaanyiziddwa tezimala kusasula bakansala." } }
{ "translation": { "en": "All mothers gathered at the parish.", "lg": "Bamaama bonna baakungaanidde ku ssaza." } }
{ "translation": { "en": "Coronavirus has killed four members of parliament.", "lg": "Akawuka ka kolona kasse abakiise mu paalamenti bana." } }
{ "translation": { "en": "Some artists took praise and worship music out of the church to the streets.", "lg": "Abayimbi abamu baddira ennyimba ezitendereza n'okusinza Omutonzi ne baziggya mu makanisa ne baziyimbira ku nguudo." } }
{ "translation": { "en": "That family has a beautiful home.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The Uganda premier league was stopped due to the coronavirus.", "lg": "Liigi ya Uganda ey'omupiira gw'ebigere ogwa babinywera yayimirizibwa olwa kkolona." } }
{ "translation": { "en": "Cigarette smoking causes lung cancer.", "lg": "Okufuuwa sigala kuleeta kookolo w'amawuggwe." } }
{ "translation": { "en": "Government has debts from other countries.", "lg": "Gavumenti erina amabanja ge yalya mu mawanga amalala." } }
{ "translation": { "en": "Her vision was blurred by cataract disease.", "lg": "Okulaba kwe kwagendamu olufu olw'obulwadde bw'ensenke." } }
{ "translation": { "en": "My grandmother goes to the garden every morning.", "lg": "Jjajjange omukazi agenda mu nnimiro buli ku makya." } }
{ "translation": { "en": "Uganda has a reserve army.", "lg": "Uganda erina eggye ery'okwekuumisa." } }
{ "translation": { "en": "This happens a lot on vehicles that are parked outside in the hot sun all day.", "lg": "Ekyo kye kitera okutuuka ku mmotoka ezisimbibwa mu kasana akaaka ennyo olunaku lwonna." } }
{ "translation": { "en": "A political candidate can either belong to a political party or be independent.", "lg": "Munnabyabufuzi eyeesimbyewo asobola okuba mu kibiina ky'ebyobufuzi oba okuba ku bwannamunigina." } }
{ "translation": { "en": "She has finished her coronavirus research.", "lg": "Amalirizza okunooneyereza kwe ku kawuka ka kkolona." } }
{ "translation": { "en": "Political candidates have been given only two months to campaign", "lg": "Abeesimbyewo baweereddwa emyezi ebiri gyokka okukola kakuyege." } }
{ "translation": { "en": "All my classmates passed their exams apart from me.", "lg": "Bayizi bannange bonna baayita ebigezo okuggyako nze." } }
{ "translation": { "en": "What are the main causes of famine?", "lg": "Nsonga ki enkulu ezivaako enjala?" } }
{ "translation": { "en": "The region has only one existing army shop.", "lg": "Ekitundu kirina edduuka ly'amagye limu eririwo." } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "I doubt their level of integrity.", "lg": "Mbusaabuusa obwesigwa bwabwe." } }
{ "translation": { "en": "He met his girlfriend in a bar.", "lg": "Omuwala muganzi we yamusisinkana mu bbaala." } }
{ "translation": { "en": "There are many sexually transmitted diseases in the country.", "lg": "Waliwo endwadde z'ekikaba nnyingi mu ggwanga." } }
{ "translation": { "en": "Many candidates contested for the presidential seat.", "lg": "Abantu bangi abeesimbawo okuvuganya ku ntebe y'obwa pulezidenti." } }