translation
dict
{ "translation": { "en": "She decided to walk as a form of exercise.", "lg": "Yasalawo okutambula ng'engeri y'okukola dduyiro." } }
{ "translation": { "en": "There is no money to cater for the increase in salaries.", "lg": "Tewali ssente za kwongeza misaala." } }
{ "translation": { "en": "Have you seen the new school uniform?", "lg": "Olabye yunifoomu y'essomero empya?" } }
{ "translation": { "en": "The celebrations will take place at the headquarters.", "lg": "Ebikujjuko bijja kubeera ku kitebe ekikulu." } }
{ "translation": { "en": "There are seven games left for the interschool netball league to end.", "lg": "Wakyasigaddeyo emizannyo ena liigi eno ey'amasomero ey'okubaka eggwe." } }
{ "translation": { "en": "Teachers should make investments elsewhere for an extra source of income.", "lg": "Abasomesa balina okusiga ensimbi ewalala okufuna ensibuko y'ensimbi endala." } }
{ "translation": { "en": "Information is further studied at higher institutions of learning.", "lg": "Eby'amawulire byongerwa okusomesebwa mu matendekero aga waggulu." } }
{ "translation": { "en": "The judge ordered the policemen to release all the suspects that were found innocent.", "lg": "Omulamuzi yalagira abapoliisi okuta abo bonna abateeberezebwa okuzza emisango wabula nga tebaagizza." } }
{ "translation": { "en": "We closed the meeting with a prayer.", "lg": "Olukungaana twaluggalawo n'okusaba." } }
{ "translation": { "en": "Uganda has an Ebola case confirmed in Kasese district", "lg": "Uganda erina omulwadde wa Ebola eyakakasibwa okuva mu disitulikiti y'e Kasese." } }
{ "translation": { "en": "She is a wonderful co-worker.", "lg": "Mulungi okukola naye." } }
{ "translation": { "en": "Opposition political parties have more strongholds in the central region.", "lg": "Ebibiina by'obufuzi eby'oludda oluvuganya bisinga kuba na buwagizi mu bitundu by'amasekkati g'eggwanga." } }
{ "translation": { "en": "He was caught cheating on his wife.", "lg": "Yakwatiddwa ng'ayenda ku mukazi we." } }
{ "translation": { "en": "The man refused to pay rent for three months.", "lg": "Omusajja yagaana okusasula ebisale by'obupangisa okumala emyezi esatu." } }
{ "translation": { "en": "Ugandans must routinely go for body medical checkups for infections early.", "lg": "Bannayuganda bateekeddwa okugendanga okwekebeza omubiri okuzuula endwadde ze balina ng'obudde bukyali." } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The opposition presidential candidate said the ruling party rigged the election.", "lg": "Eyeesimbawo ku bwa pulezidenti ow'oludda oluvuganya yagamba nti ekibiina ekiri mu buyinza kyabba akalulu." } }
{ "translation": { "en": "The manager thanked the organization for agreeing to partner with us on the community project.", "lg": "Maneja yeebaza ekitongole kyabwe okukkiriza okukola omukago naffe ku puloojekiti y'ekitundu." } }
{ "translation": { "en": "\"Due to the flooding, twenty people lost their lives.\"", "lg": "\"Olw'amataba, abantu abiri baafudde.\"" } }
{ "translation": { "en": "Of what benefit is the human rights committee in the country?", "lg": "Akakiiko k'eddembe ly'obuntu mu ggwanga kalina mugaso ki?" } }
{ "translation": { "en": "She has been standing all day long.", "lg": "Abadde ayimiridde olunaku lwonna." } }
{ "translation": { "en": "Those children lost both their parents to coronavirus.", "lg": "Abaana abo ekirwadde kya corona kyatta bazadde baabwe bombi." } }
{ "translation": { "en": "Most of the men have failed to provide for their families.", "lg": "Abasajja abasinga balemereddwa okulabirira amaka gaabwe." } }
{ "translation": { "en": "The students are under eighteen years of age.", "lg": "Abayizi abo bali wansi wa myaka kkumi na munaana." } }
{ "translation": { "en": "Our bodies are the temple of God.", "lg": "Emibiri gyaffe ye yeekaalu ya Katonda." } }
{ "translation": { "en": "The wound is too painful.", "lg": "Ekiwundu kiruma nnyo." } }
{ "translation": { "en": "She threw all the seeds across the tilled ground.", "lg": "Yakasuka ensigo zonna mu ttaka ekkabale." } }
{ "translation": { "en": "He was laid to rest yesterday.", "lg": "Yaziikiddwa eggulo." } }
{ "translation": { "en": "Government-aided students are offered help with tuition and living expenses.", "lg": "Abayizi abayambibwako gavumenti baweebwa obuyambi okuyita mu kubaweerera n'okubawa ensimbi ezibabeezaawo." } }
{ "translation": { "en": "The rich businessman ran bankrupt.", "lg": "Omusuubuzi omugagga yafuluka." } }
{ "translation": { "en": "The company awarded the best employees of the year.", "lg": "Kkampuni yawa ebirabo eri abakozi b'omwaka abaasinga." } }
{ "translation": { "en": "Change is sometimes necessary.", "lg": "Oluusi enkyukakyuka eba yeetaagisa." } }
{ "translation": { "en": "\"Unfortunatery, she was knocked down by the car.\"", "lg": "Eby'embi yakooneddwa emmotoka." } }
{ "translation": { "en": "The Ministry of Education introduced a new curriculum for secondary school learners in two thousand twenty.", "lg": "\"Mu nkumi bbiri mu abiri, ekitongole ky'eby'enjigiriza kyafulumya enteekateeka y'okusoma empya enneegobererwa abayizi ba siniya.\"" } }
{ "translation": { "en": "This was the largest relative annual decrease since the war peak reached.", "lg": "Kuno kwe kukendeera okukyasinze obunene bwogeraageranya mu mwaka okuva ku ntikko y'olutalo." } }
{ "translation": { "en": "Learning resources have started being delivered freely door to door and online.", "lg": "Ebyeyambisibwa mu kusoma bitandise okugabibwa luggi ku luggi ne ku mutimbagano." } }
{ "translation": { "en": "We were encouraged to buy locally manufactured products.", "lg": "twakubirizibwa okugula ebintu ebikolebwa mu ggwanga." } }
{ "translation": { "en": "The size of the hook used depends on the type of fish.", "lg": "Obunene bw'eddobo erikozesebwa businziira ku kika kya kyennyanja." } }
{ "translation": { "en": "Deforestation may have also played a role in the flooding.", "lg": "Okutema ebibira nakwo kuyinza okuba nga kulina kwe kyakola ku mataba." } }
{ "translation": { "en": "He pulled out a handful of coins from his pocket.", "lg": "Yasikayo ebinusu ebitonotono mu nsawo ye." } }
{ "translation": { "en": "Her future professional career has always been surgery since her childhood.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Marrying your relative is not the right thing to do.", "lg": "Okuwasa ow'oluganda lwo si kintu kituufu kukola." } }
{ "translation": { "en": "She was appointed a member of the Uganda Manufacturers Association.", "lg": "Yalondebwa okubeera mmemba w'ekibiina kya Uganda Manufacturers Association." } }
{ "translation": { "en": "The wedding ceremony ended at midnight.", "lg": "Omukolo gw'embaga gwaggwa ku ssaawa mukaaga ez'ekiro." } }
{ "translation": { "en": "\"When his condition worsened, they took him to the main hospital.\"", "lg": "Embeera ye bwe yeeyongedde okuba embi ne bamutwala mu ddwaliro eddene." } }
{ "translation": { "en": "Some students have been taken to jail.", "lg": "Abayizi abamu baatwalibwa mu kkomera." } }
{ "translation": { "en": "The cooperative has twenty-three thousand members.", "lg": "Ekibiina ky'obwegassi kirimu bammemba emitwalo ebiri mu enkumi ssatu." } }
{ "translation": { "en": "The district committee organised a farewell party for the chairman.", "lg": "Akakiiko ka disitulikiti kaategese akabaga akasiibula ssentebe." } }
{ "translation": { "en": "She is the youngest member on the team.", "lg": "Ye mmemba asinga obuto ku ttiimu." } }
{ "translation": { "en": "It is recommended to drink eight glasses of water per day.", "lg": "Okubirizibwa okunywa egiraasi za mazzi munaana buli lunaku." } }
{ "translation": { "en": "The characteristics of the disease are surprising.", "lg": "Ebiraga/enneeyisa y'ekirwadde yeewunyisa." } }
{ "translation": { "en": "The government should financially contribute to all church projects.", "lg": "Gavumenti esaanidde okuwagira mu by'ensimbe pulojekiti z'ekkanisa zonna." } }
{ "translation": { "en": "I am going to the banana plantation.", "lg": "Ŋŋenda mu lusuku." } }
{ "translation": { "en": "The company awarded the best performing employees with Christmas bonuses.", "lg": "Kampuni yawadde akasiimo ka Ssekkukulu eri abakozi abasinze okukola obulungi." } }
{ "translation": { "en": "He opened political space for their participation.", "lg": "Yawa abantu baabwe ekyanya mu kisaawe ky'eby'obufuzi." } }
{ "translation": { "en": "She started a commercial vegetable farm after graduation.", "lg": "Yatandikawo ennimiro y'enva endiirwa ez'okutunda oluvannyuma lw'okutikkirwa." } }
{ "translation": { "en": "The district has ignored the education institutions in the area.", "lg": "Disitulikiti yeebalamye amasomero mu kitundu." } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The government stopped all public gatherings.", "lg": "Gavumenti yayimiriza enkuŋŋaana z'abantu zonna." } }
{ "translation": { "en": "Technology will increase productivity.", "lg": "Tekinologiya ajja kwanguyaako enkola y'emirimu." } }
{ "translation": { "en": "All local government officials are asked to inform police about any insurgence.", "lg": "Abakungu ba gavumenti y'ebitundu basabibwa okutegeeza poliisi ku keekugungo konna." } }
{ "translation": { "en": "The water is in the jug.", "lg": "Amazzi gali mu jaaga." } }
{ "translation": { "en": "He went to the forest to hunt food for the dog.", "lg": "Yagenze mu kibira okuyiggira embwa ebyokulya." } }
{ "translation": { "en": "He fell out of the race because of inadequate funds.", "lg": "Yawanduka mu lwokaana olw'obutaba na nsimbi zimala." } }
{ "translation": { "en": "The family showed the journalist a picture of the deceased.", "lg": "Famire yalaga munnamawulire ekifaananyi ky'omugenzi." } }
{ "translation": { "en": "The government announced a compulsory inspection of all pharmacies in Ntinda.", "lg": "Gavumenti yagamba nti amaduuka g'eddagala gonna mu Ntinda galina okukeberebwa." } }
{ "translation": { "en": "He threw stones at the dog.", "lg": "Yakasukira embwa amayinja." } }
{ "translation": { "en": "She was very angry with her landlord for disconnecting the electricity in her house.", "lg": "Yanyiigira nnyo landiloodi we olw'okumusalako amasannyalaze." } }
{ "translation": { "en": "Winter is associated with snow.", "lg": "Ekiseer eby'obutiti kikwataganyizibwa n'omuzira." } }
{ "translation": { "en": "I am four months pregnant.", "lg": "Nnina olubuto lwa myezi ena." } }
{ "translation": { "en": "Sorry for the loss of your loved one.", "lg": "Nga olabye okufiirwa omwagalwa wo." } }
{ "translation": { "en": "\"It is too dark, I can't see anything.\"", "lg": "\"Enzikiza ekutte nnyo, sirina kye ndaba.\"" } }
{ "translation": { "en": "The injured player was carried on a stretcher to the ambulance.", "lg": "Omuzannyi eyali akoseddwa baamusitulira ku katanda n'atwalibwa mu ambyulensi." } }
{ "translation": { "en": "The people can refuse to comply with government orders.", "lg": "Abantu basobola okugaana okugondera ebiragiro bya gavumenti." } }
{ "translation": { "en": "There was another ebola virus discovered in Bundibugyo.", "lg": "Waaliwo akawuka akalala akalwaza Ebola akaazuulibwa e Bundibugyo." } }
{ "translation": { "en": "What are some of the seasonal rivers in Uganda?", "lg": "Emiga egimu mu Uganda egibaawo ebiseera ebimu ate ebirala ne gitabaawo gye giruwa?" } }
{ "translation": { "en": "Many people have resorted to fishing as a business.", "lg": "Abantu bangi bazze mu buvubi nga bizinensi." } }
{ "translation": { "en": "The ladies gave birth on the same day.", "lg": "Abakazi baazaalira ku lunaku lwe lumu." } }
{ "translation": { "en": "They lay a wreath on the deceased.", "lg": "Baaganzise ekimuli ku mugenzi." } }
{ "translation": { "en": "The reward boosted his confidence and commitment.", "lg": "Ekirabo kyayongezza obuvumu n'obumalirivu bwe." } }
{ "translation": { "en": "There should be a testing center for coronavirus at the airport.", "lg": "Wasaanidde okuteekebwawo ekifo we bakeberera obulwadde bwa corona ku kisaawe ky'ennyonyi." } }
{ "translation": { "en": "Our church received a new priest last Sunday.", "lg": "Ekkanisa yaffe yafuna kabona omuggya Ssande ewedde." } }
{ "translation": { "en": "The leader had prepared a donation for a Womens' group.", "lg": "Omukulembeze yali ategese ekirabo ky'ekibiina ky'abakyala." } }
{ "translation": { "en": "He was rearrested after escaping from prison.", "lg": "Yaddamu okukwatibwa oluvannyuma lw'okutoloka mu kkomera." } }
{ "translation": { "en": "People shouldn't drink and drive.", "lg": "Abantu tebasaanidde kunywa mwenge ate ne bavuga." } }
{ "translation": { "en": "Is there another way for the government to raise money besides collecting taxes?", "lg": "Waliwo engeri endala gavumenti gy'esobola okufunamu ssente nga tesoloozezza misolo?" } }
{ "translation": { "en": "He is not on good terms with his neighbors.", "lg": "Talina nkolagana nnungi ne baliraanwa be." } }
{ "translation": { "en": "She can take care of her children in her husband's absentia.", "lg": "Asobola okulabirira abaana be nga bbaawe taliiwo." } }
{ "translation": { "en": "Political parties have supporters.", "lg": "Ebibiina by'obufuzi birina abawagizi." } }
{ "translation": { "en": "The meeting was held at Hilltop hoter in Northern Uganda.", "lg": "Olukungaana lw'abadde ku Hilltop hoter mu bukiikakkono bwa Uganda." } }
{ "translation": { "en": "We are yet to establish why the country is living in fear.", "lg": "Tetunnamanya nsonga lwaki ensi eri mu kutya." } }
{ "translation": { "en": "It's important to understand project benefits before implementation.", "lg": "Kirungi okutegeera emiganyulo gya pulojekiti nga temunnassa mu nkola" } }
{ "translation": { "en": "Laws have been established to prevent people from killing others.", "lg": "Amateeka gayisiddwa okutangira abantu okutemula abalala." } }
{ "translation": { "en": "Schools also organize elections for students to elect their leaders.", "lg": "Amasomero era gateekateeka okulonda abayizi mwe balondera abakulembeze baabwe." } }
{ "translation": { "en": "Leaders had a team building session today.", "lg": "Abakulembeze babadde n'olukiiko lw'okwongera ku bungi bw'abantu leero." } }
{ "translation": { "en": "Donkeys can be used for domestic and commercial purposes.", "lg": "Endogoyi zisobola okukozesebwa emirimu gy'ewaka n'egivaamu ensimbi." } }
{ "translation": { "en": "No help is given to their family when they die.", "lg": "Tewali buyambi buweebwa ba mu maka gaabwe nga bafudde." } }
{ "translation": { "en": "He has been accused of murder.", "lg": "Avunaaniddwa gwa kutta muntu." } }
{ "translation": { "en": "Why are people very unfaithful when it comes to money?", "lg": "Lwaki abantu si beesigwa bwe kituuka ku ssente?" } }
{ "translation": { "en": "Some men fear going for a Human Immune Virus test.", "lg": "Abasajja abamu batya okugenda okwekebeza akawuka ka Mukenenya." } }