translation
dict
{ "translation": { "en": "He prefers to do most of his things alone.", "lg": "Ayagala nnyo okukola ebintu bye ebisinga ng'ali yekka." } }
{ "translation": { "en": "He was the Artistic Director of the dance company from 2002 to 2018.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The election results will be announced at two o'clock in the afternoon.", "lg": "Ebivudde mu kulonda bijja kulangirirwa ku ssaawa munaana ez'omu ttuntu." } }
{ "translation": { "en": "The bishop asked people to put their trust in God.", "lg": "Omulabirizi yasaba abantu okuteeka obwesigwa bwabwe mu Katonda." } }
{ "translation": { "en": "My brother rents a two-roomed self-contained house.", "lg": "Muganda wange apangisa ennyumba ya bisenge bibiri erimu buli kintu." } }
{ "translation": { "en": "Parents should personally make school fees payments.", "lg": "Abazadde balina okwesasulira ebisale by'essomero." } }
{ "translation": { "en": "We were surprised that they knew each other before.", "lg": "Kyatwewuunyisa nti baali baamanyigana dda." } }
{ "translation": { "en": "\"I listened to peasants accusing government officials, including the police.\"", "lg": "\"Nnawuliriza abantu ba bulijjo nga balumiriza abakungu ba gavumenti, nga mw'otwalidde ne poliisi.\"" } }
{ "translation": { "en": "He is the minister's bodyguard.", "lg": "Ye mukuumi wa minisita." } }
{ "translation": { "en": "\"\"\"Many tourists come to Uganda to see the source of the river Nile.\"\"\"", "lg": "\"\"\"Abalambuzi bangi bajja mu Uganda okulaba ensibuko y'omugga Kiyira.\"\"\"" } }
{ "translation": { "en": "Parents are advised to protect their children from strangers.", "lg": "Abazadde baweebwa amagezi okukuuma abaana baabwe okuva eri abalabe." } }
{ "translation": { "en": "You need to have a clear goal before you set up a project.", "lg": "Olina okuba n'ekiruubirirwa ekiteeketeeke obulungi nga tonnatandikawo pulojekiti." } }
{ "translation": { "en": "She has borrowed money from many people around the village.", "lg": "Yeewoze ssente ku bantu bangi mu kyalo." } }
{ "translation": { "en": "One community member laughed at his comment.", "lg": "Omutuuze omu yeesekerera kye yayogera." } }
{ "translation": { "en": "Most police officers stay in the barracks.", "lg": "Abapoliisi abasinga babeera mu nkambi." } }
{ "translation": { "en": "The headquarters of the ministry is located in the country's central region.", "lg": "Ebitebe bya minisitule bisangibwa mu masekkati g'eggwanga." } }
{ "translation": { "en": "The language barrier is still a major challenge to many.", "lg": "Obutamanya nnimi kikyali kya kusoomooza mu bantu bangi." } }
{ "translation": { "en": "Children should stay in school.", "lg": "Abaana balina okubeera mu ssomero." } }
{ "translation": { "en": "He was also a student in the department of physics.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "He has been admitted to the main hospital in the district for two weeks now.", "lg": "Amaze wiiki bbiri kati nga ali ku kitanda mu ddwaliro ekkulu erya disitulikiti." } }
{ "translation": { "en": "Her husband is not yet home.", "lg": "Bba tannadda waka." } }
{ "translation": { "en": "Health Centre Two is intended to serve five thousand people.", "lg": "Eddwaliro ery'oku Mutendera Ogwokubiri lyategekebwa okuweereza abantu enkumi ttaano." } }
{ "translation": { "en": "Several bars stayed open till late.", "lg": "Amabaala mangi gaasigala maggule ppaka ng'obudde buyise." } }
{ "translation": { "en": "The ministry declared the country free from ebola after a massive check-up.", "lg": "Minisitule yalangiridde eggwanga obutaba na bulwadde bwa Ebola oluvanyuma lw'okukebera abangi." } }
{ "translation": { "en": "Hermets are protective gear for motorcyclists in case of any accident.", "lg": "Erementi zitaasa abavuzi singa bafuna akabenje konna." } }
{ "translation": { "en": "All employees of the company were tested for the virus yesterday.", "lg": "Abakozi ba kkampuni bonna baakebeddwa akawuka eggulo." } }
{ "translation": { "en": "The company profits have increased.", "lg": "Amagoba ga kkampuni geeyongedde." } }
{ "translation": { "en": "power-sharing gives the people a sense of belonging to the nation", "lg": "Engabanya y'obuyinza ewa abantu endowooza nti eggwanga lyabwe." } }
{ "translation": { "en": "Victims to bullet wounds on orders improvised a visit to the commission for justice.", "lg": "Abaakubwa amasasi ku biragiro baategekawo olukyala eri akakiiko okunoonya obwenkanya." } }
{ "translation": { "en": "Most people start with cohabiting and later do traditional or religious marriages.", "lg": "Abantu abasinga basooka kubeera wamu ng'abafumbo oluvannyuma ne bakola okwanjula oba obufumbo obw'eddiini." } }
{ "translation": { "en": "My little sister has hidden the keys.", "lg": "Mwannyinaze/mugandawange omuto akwese ebisumuluzo." } }
{ "translation": { "en": "We were friends since childhood.", "lg": "Twali ba mukwano okuva mu buto." } }
{ "translation": { "en": "The centenary torch is a sign of unity and hope for young Christians.", "lg": "Tooki ya centenary kabonero ak'obumu n'essuubi mu bagoberezi ba krisitu abato." } }
{ "translation": { "en": "She always cleans herself with water after using the toilet.", "lg": "Yeerongoosa n'amazzi buli lw'amaliriza okukozesa kaabuyonjo." } }
{ "translation": { "en": "Kind people are always rewarded.", "lg": "Abantu ab'ekisa bawebwa ebirabo." } }
{ "translation": { "en": "She will tell us what she knows.", "lg": "Ajja kutubuulira ky'amanyi." } }
{ "translation": { "en": "The thieves attacked us late in the night.", "lg": "Ababbi baatuzinda mu matumbibudde." } }
{ "translation": { "en": "The leader is worried about the people working towards achieving the vision.", "lg": "Omukulembeze mweraliikirivu eri abantu abakola okutuukiriza ekyoleko." } }
{ "translation": { "en": "He took a burden off my shoulders.", "lg": "Yantikudde omugugu." } }
{ "translation": { "en": "\"According to the president's directive, only twenty people are allowed to attend a burial ceremony.\"", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The pandemic claimed a lot of people's lives in Europe.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "It is wise to cease every opportunity at hand.", "lg": "Kya magezi okukozesa buli mukisa gw'olina." } }
{ "translation": { "en": "Residents in your community are very aggressive.", "lg": "Abatuuze mu kitundu kyammwe bakambwe nnyo." } }
{ "translation": { "en": "Supervisors follow up on activities taking place.", "lg": "Abalondoozi bagoberera emirimu egigenda mu maaso." } }
{ "translation": { "en": "The beneficiaries are divided into groups.", "lg": "Abaganyuzi bagabanyizibwamu mu bibinja." } }
{ "translation": { "en": "Students were taught about culture.", "lg": "Abayizi baasomesebwa ku byobuwangwa." } }
{ "translation": { "en": "Lewis Mukasa studied at Entebbe High School.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The motorcycle was burnt by the youth from the opposition party.", "lg": "Ppikipiki yayokyeddwa abavubuka b'ekibiina ekiri ku ludda oluwakanya." } }
{ "translation": { "en": "Our new teacher is a Kenyan.", "lg": "Omusomesa waffe omupya Munnakenya." } }
{ "translation": { "en": "Mobilization is also an expensive activity.", "lg": "Okukola kakuyege nagwo mulimu gwa bbeeyi." } }
{ "translation": { "en": "The sniffer dog led the police from the crime scene to his house.", "lg": "Ebwa ewunyiriza yakulembeddemu poliisi okuva ku kizibiti okutuuka ku nyumba ye." } }
{ "translation": { "en": "He explained why he arrived home late last night.", "lg": "Yannyonnyodde lwaki yatuuse kikeerezi eka ekiro ekyayise." } }
{ "translation": { "en": "His legs were cut off after the accident", "lg": "Amagulu ge gaatemebwako oluvannyuma lw'akabenje." } }
{ "translation": { "en": "The man walked with his son and daughter.", "lg": "Omusajja yatambula ne mutabani we wamu ne muwala we." } }
{ "translation": { "en": "Some politicians from the opposition are only concerned about their welfare.", "lg": "Bannabyabufuzi abamu abali ku ludda oluvuganya bafaayo ku byabwe byokka." } }
{ "translation": { "en": "The whole region has no electricity.", "lg": "Ekitundu kyonna tekirina masannyalaze." } }
{ "translation": { "en": "The King was removed from politics.", "lg": "Kabaka yaggyibwa mu byobufuzi." } }
{ "translation": { "en": "We shall get more supporters if that player joins our netball team.", "lg": "Tujja kufuna abawagizi abalala singa omuzannyi oyo yeegatta ku ttiimu yaffe ey'omupiira ogw'okubaka." } }
{ "translation": { "en": "It is wise to always mind your own business.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "My mother gave the robbers three million Ugandan shillings hoping that they would spare our lives.", "lg": "Maama yawa abazigu obukadde busatu obwa siringi za Uganda ng'asuubira nti bajja kutuleka nga tuli balamu." } }
{ "translation": { "en": "She requested I stay with her son.", "lg": "Yansabye mbeere ne mutabani we." } }
{ "translation": { "en": "Their current president believes in listening to the citizens.", "lg": "Pulezidenti waabwe aliko akkiririza mu kuwuliriza bannansi." } }
{ "translation": { "en": "The doctor explained to us the cause of our grandmother's death.", "lg": "Omusawo yatunnyonnyola ekyaviirako jjajjaffe omukazi okufa." } }
{ "translation": { "en": "Most people have migrated from rural areas to towns.", "lg": "Abantu abasinga obungi baasenguse okuva mu byalo okudda mu bibuga." } }
{ "translation": { "en": "I was attracted to him by his bright smile.", "lg": "Nnasikirizibwa akamwenyumwenyu ke akalungi." } }
{ "translation": { "en": "He scored five goals during the match.", "lg": "Yateeba goolo ttaano mu muzannyo." } }
{ "translation": { "en": "There is an increase in the number of white rhinos.", "lg": "Walwo okweyongera kw'omuwendo gw'envubu enjeru." } }
{ "translation": { "en": "Youths engage in work-rerated activities at an early age.", "lg": "Abavubuka beenyigira mu kukola ku myaka emito." } }
{ "translation": { "en": "You need to find out if the land you own is really yours.", "lg": "Weetaaga okuzuula oba ddaala ettaka lyo ddaala liryo." } }
{ "translation": { "en": "He helped his daughter with her homework.", "lg": "Yayamba muwalawe okukola homuwaaka." } }
{ "translation": { "en": "Different species of birds fly in the air.", "lg": "Waliwo ebika by'ebinyonyi eby'enjawulo ebibuuka mu bbanga." } }
{ "translation": { "en": "An investment of four billion dollars will be made over a decade.", "lg": "Mu myaka kkumi bajja kuteekamu obuwumbi buna obwa ddoola ya America." } }
{ "translation": { "en": "\"After a long break, he gained back his position.\"", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The boy resorted to carpentry after the accident.", "lg": "Omulenzi yazze mu kubajja oluvannyuma lw'akabenje." } }
{ "translation": { "en": "There are a few explanations for the increased enrollment.", "lg": "Waliwo ebitonotono ebinnyonnyolwa okweyongera kw'okwewandiisa okusoma." } }
{ "translation": { "en": "I found these kids playing from the road.", "lg": "Abaana bano mbasanze bazannyira ku kkubo." } }
{ "translation": { "en": "We need to promote talents in students.", "lg": "Twetaaga okutumbula ebitone mu bayizi." } }
{ "translation": { "en": "They have used the strike as a means of getting to the university council.", "lg": "Bakozesezza okwekalakaasa ng'omuyitiro gw'okutuuka ku kakiiko akaddukanya ssettendekero." } }
{ "translation": { "en": "My uncle has many supporters in his race for Member of Parliament.", "lg": "Kojja wange/kitange omuto alina abawagizi bangi mu kuvuganya kwe ku bwa mmemba bwa paalimenti." } }
{ "translation": { "en": "Factories with more than ten employees are thinking of laying off workers.", "lg": "Amakolero agalina abakozi abasukka mu kkumi galowooza kusalako bakozi." } }
{ "translation": { "en": "Do you know how to plant mushrooms?", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "We have an officer from Gulu present at the scene.", "lg": "Tulinawo ofiisa okuva e Gulu ali mu kifo." } }
{ "translation": { "en": "New studios with better musical systems and new technology emerged in the town.", "lg": "Situdiyo empya ezirina ebyuma ebirungi ne tekinologiya omupya zaatandikibwawo mu kibuga." } }
{ "translation": { "en": "The Medical implementation plan has been launched.", "lg": "Enteekateeka z'obujjanjabi zitongozeddwa." } }
{ "translation": { "en": "She has spent three weeks in the intensive care unit.", "lg": "Amaze wiiki ssatu ng'ajjanjabirwa gye bajjanjabira abalwadde abayi." } }
{ "translation": { "en": "The government should establish strict laws for people encroaching on the wetlands.", "lg": "Gavumenti erina okuteekawo amateeka amakakali ku bantu abasenga mu ntobazi." } }
{ "translation": { "en": "Taxpayers can now pay taxes electronically.", "lg": "Kati abasasuzi b'emisolo basobola okugisasulira ku byuma bya tekinologiya." } }
{ "translation": { "en": "The animals fought one another.", "lg": "Ebisolo byalwanagana." } }
{ "translation": { "en": "He had the highest number of votes.", "lg": "Ye yafuna obululu obusinga obungi." } }
{ "translation": { "en": "People demonstrated over the cutting down of shea nut trees.", "lg": "Abantu bekalakaasizza lwa kutema miti gy'ebinazi egya Shea." } }
{ "translation": { "en": "The opposition relied on a campaign to win the upcoming elections.", "lg": "Oludda oluvuganya lwesigama nnyo ku kakuyege okusobola okuwangula akalulu akabindabinda." } }
{ "translation": { "en": "The parents and relatives were so happy during the ceremony.", "lg": "Abazadde n'abeŋŋnganda baali basanyufu nnyo ku mukolo." } }
{ "translation": { "en": "Please allow me to go home.", "lg": "Bambi nzikiriza ŋŋende ewaka." } }
{ "translation": { "en": "Teachers are advised to do their best in educating learners.", "lg": "Abasomesa bawabuddwa okukola n'amaanyi mu kusomesa abayizi." } }
{ "translation": { "en": "She waited for her husband to come back home.", "lg": "Yalindirira omwami we okudda ekka." } }
{ "translation": { "en": "ItÕs not a must that you have to serve in your community.", "lg": "Si kya tteeka nti olina okuweereza mu kitundu kyo." } }
{ "translation": { "en": "My neighbor was attacked by thieves last night.", "lg": "Muliraanwa wange yalumbiddwa ababbi ekiro ekyayise." } }
{ "translation": { "en": "What kind of content is included in the handover report?", "lg": "Bintu ki ebibeera mu alipoota ewaayo obuyinza?" } }
{ "translation": { "en": "What is the total population of Uganda?", "lg": "Abantu bali bameka mu Uganda?" } }
{ "translation": { "en": "The National Planning Authority is owned by the government.", "lg": "Ekitongole Ekiteekateekera eggwanga kya gavumenti." } }