translation
dict
{ "translation": { "en": "Some children are tortured by adults.", "lg": "Abaana abamu batulugunyizibwa abantu abakulu." } }
{ "translation": { "en": "Do we have any bamboo forests in Uganda?", "lg": "Tulinayo ebibira by'amabanda mu Uganda?" } }
{ "translation": { "en": "There are many insects in the soil.", "lg": "Mu ttaka mulimu ebiwuka bingi." } }
{ "translation": { "en": "Majority of the people use motorcycles for transportation.", "lg": "Abantu abasinga bakozesa ppikipiki ku by'entambula." } }
{ "translation": { "en": "The twins go to school together.", "lg": "Abalongo bagenda bonna ku ssomero." } }
{ "translation": { "en": "The issue has been reported to the village police.", "lg": "Ensonga eroopeddwa ku poliisi y'ekyalo." } }
{ "translation": { "en": "The company approves the offers of all securities to the public and licenses market professionals.", "lg": "Kkampuni eyisa emisingo gyonna egiteekebwa mu lukale wamu n'okuwa layisinsi eri abakugu mu bwakitunzi." } }
{ "translation": { "en": "My grandfather taught me how to make pots.", "lg": "Jajja wange omusajja yanjigiriza okukola ensuwa." } }
{ "translation": { "en": "Onduparaka management aims at having a team that the supporters can be proud of.", "lg": "Abakulembeze ba Onduparaka baluubirira okuba ne ttiimu abawagizi gye beenyumirizaamu." } }
{ "translation": { "en": "Where do you fellowship from on Sundays?", "lg": "Osabira wa ku Ssande?" } }
{ "translation": { "en": "The story that you telling is not true.", "lg": "Emboozi gy'onyumya si ntuufu." } }
{ "translation": { "en": "All of our supporters were at the stadium during the match.", "lg": "Abawagizi baffe bonna baali ku kisaawe nga tuzannya." } }
{ "translation": { "en": "How many African countries are subscribed to the African Union?", "lg": "Amawanga ga Afirika ameka agali mu mukago ogugatta amawanga ga Afirika?" } }
{ "translation": { "en": "He has been part of the government leadership seeking investors investment in Uganda Telecom", "lg": "Abadde kitundu ku bukulembeze bwa gavumenti okuperereza bamusigansimbi okusiga ssente mu Uganda Telecom." } }
{ "translation": { "en": "Some presidents are dictators.", "lg": "Ba pulezidenti abamu bannakyemalira." } }
{ "translation": { "en": "The constitution was revised.", "lg": "Ssemateeka yakolebwamu ennongoosereza." } }
{ "translation": { "en": "She will go back to school tomorrow.", "lg": "Ajja kuddayo enkya ku ssomero." } }
{ "translation": { "en": "Uganda works with Enable a Bergian development Agency to improve the education quality.", "lg": "Uganda ekkola ne Enable ekitongole ky'e Berigium okutumbula omutido gw'ebyenjigiriza." } }
{ "translation": { "en": "All licenses for foreign traders will be reviewed.", "lg": "Layisinsi zonna ez'abasuubuzi abagwira zijja kuzzibwa buggya." } }
{ "translation": { "en": "Do not get involved in witchcraft.", "lg": "Teweenyigira mu bulogo." } }
{ "translation": { "en": "He saved his money for a year to buy her that engagement ring.", "lg": "Yasonda ssente ze okumala omwaka mulamba okumugulira empeta ya nkusibidde awo eyo." } }
{ "translation": { "en": "What must one do to be recognized as a hero?", "lg": "Biki omuntu by'alina okukola okusobola okubalibwa ng'omuzira?" } }
{ "translation": { "en": "It is not right to kill someone.", "lg": "Kikyamu okutta omuntu." } }
{ "translation": { "en": "Some opposition members joined the ruling party.", "lg": "Ba mmemba b'oludda oluvuganya abamu beegatta ku kibiina ekiri mu buyinza." } }
{ "translation": { "en": "Every man in that kingdom wanted to marry that princess.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The bank made a huge profit during the lockdown because many people got loans to support their families.", "lg": "Bbanka yafuna amagoba mangi mu kiseera ky'omuggalo olw'okuba abantu bangi baafuna looni okulabirira ab'omu maka gaabwe." } }
{ "translation": { "en": "Police have delayed releasing a report from investigations on the recent murder cases.", "lg": "Poliisi eruddewo okufulumya alipoota eva mu kunoonyereza ku misango gy'obutemu egibaddewo gye buvuddeko." } }
{ "translation": { "en": "Parents are against the Measles and Polio Campaign", "lg": "Abazadde bawakanyizza kaweefube w'okulwanyisa olukusense ne ppooliyo." } }
{ "translation": { "en": "Health experts advised coronavirus patients to eat a balanced diet.", "lg": "Abakugu mu byobulamu baakubirizza abalwadde ba ssennyiga omukambwe okulya emmere erimu ebiriisa." } }
{ "translation": { "en": "The president supports the changing of the constitution.", "lg": "Pulezidenti awagira okukyusa ssemateeka." } }
{ "translation": { "en": "The mourners fert consoled by the sermon.", "lg": "Abakungubazi baawulidde nga bazziddwamu amaanyi ekyawandiikibwa." } }
{ "translation": { "en": "There was a total lockdown in the first wave of the coronavirus disease.", "lg": "Waaliwo omuggalo omujjuvu mu jjengo ly'obulwadde bwa kkolona eryasooka." } }
{ "translation": { "en": "He attributes rises in inequality to poor governance and corruption.", "lg": "Obutenkanankana abussa ku bufuzi bubi n'obukenuzi." } }
{ "translation": { "en": "What rights are landlords entitled to in Uganda?", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Your life is very important.", "lg": "Obulamu bwo bwa mugaso nnyo." } }
{ "translation": { "en": "I will go to the salon over the weekend.", "lg": "Nja kugenda mu ssaluuni ku wiikendi." } }
{ "translation": { "en": "Increasing the presidential age limit to favor himself was an illegal act.", "lg": "Okwongezaayo ekkomo ku myaka gya pulezidenti okumuganyula kyali kikolwa kya bumenyi bwa mateeka." } }
{ "translation": { "en": "We went to Mecca last year.", "lg": "Omwaka oguwedde twagenda e Mecca." } }
{ "translation": { "en": "The president was talking to students yesterday.", "lg": "Pulezidenti yabadde ayogerako eri abayizi eggulo." } }
{ "translation": { "en": "The attacks should not happen again.", "lg": "Obulumbaganyi obwo tebusaanidde kuddamu kubaawo." } }
{ "translation": { "en": "She knows how to handle visitors.", "lg": "Amanyi enkwata y'abagenyi." } }
{ "translation": { "en": "Many young girls are engaging in prostitution these days.", "lg": "Abawala abato bangi beenyigira mu bwa malaaya ensangi zino." } }
{ "translation": { "en": "\"By use of ballot papers, you can now secretly cast your vote.\"", "lg": "Nga tukozesa obukonge bw'okulonda osobola kati okulonda gw'oyagala mu kyama." } }
{ "translation": { "en": "Sudan faces serious challenges.", "lg": "Sudan erina okusoomozebwa okw'amaanyi." } }
{ "translation": { "en": "football funs like attending opening matchings", "lg": "Abawagizi b'omupiira baagala okwetaba mu nzannya eziggulawo." } }
{ "translation": { "en": "Why do her children look miserable?", "lg": "Lwaki abaana be balabika nga bannakuwavu?" } }
{ "translation": { "en": "He explained to us how he comes up with his final price.", "lg": "Yatunnyonnyola engeri gy'asalawo omuwendo ogw'enkomeredde kw'atundira." } }
{ "translation": { "en": "He kicked his friend in the stomach.", "lg": "Yasamba mukwano gwe mu lubuto." } }
{ "translation": { "en": "He makes clay pots.", "lg": "Abumba ensuwa ensuwa." } }
{ "translation": { "en": "This eases the struggle to translate the ideal nature of paintings", "lg": "Ekyo kikifuula kyangu okutegeera ekifaananyi." } }
{ "translation": { "en": "The government offered relief funds to private school teachers during the lockdown.", "lg": "Gavumenti yawa abasomesa b'amasomero ag'obwannannyini ensimbi ez'okweyambisa mu kiseera eky'omuggalo." } }
{ "translation": { "en": "Schools ought to fund their activities.", "lg": "Amasomero gateekeddwa okuteeka ensimbi mu mirimu gyago." } }
{ "translation": { "en": "\"Stop throwing stones, you might hurt someone.\"", "lg": "Lekera awo okukasuka amayinja oyinza okulumya omuntu." } }
{ "translation": { "en": "The book has no pictures at all.", "lg": "Ekitabo tekiriimu kifaananyi kyonna." } }
{ "translation": { "en": "She visited the prisoners.", "lg": "Yakyalira abasibe." } }
{ "translation": { "en": "Many people will benefit from the arrangement.", "lg": "Enteekateeka ejja kuganyula abantu bangi." } }
{ "translation": { "en": "We are going to clean the market.", "lg": "Tugenda kulongoosa katale." } }
{ "translation": { "en": "The bank manager will be addressing the journalists today.", "lg": "Maneja wa bbanka ajja kwogerako eri bannamawulire leero." } }
{ "translation": { "en": "She is among the four girls impregnated last year.", "lg": "Y'omu ku bawala abana abaafunisibwa embuto omwaka oguwedde." } }
{ "translation": { "en": "Their school has been selected to represent our region in the national soccer finals.", "lg": "Essomero lyabwe lyalondeddwa okukiikirira ekitundu kyaffe mu mpaka z'omupiira ez'eggwanga." } }
{ "translation": { "en": "Activities help people to be active in the local decision-making processes.", "lg": "Ebintu ebyo biyamba abantu okwenyigira mu bisalibwawo." } }
{ "translation": { "en": "Christians preach about the good news of Jesus Christ.", "lg": "Abakristaayo babuulira amawulire amalungi agakwata ku Yesu Kristo." } }
{ "translation": { "en": "The ambulances were distributed to different hospitals in the district.", "lg": "Emmotoka ezitambuza abalwadde zaaweereddwa malwaliro ag'enjawulo mu disitulikiti." } }
{ "translation": { "en": "Faithfulness reduces the rate of sexually transmitted diseases among married people.", "lg": "Obwesigwa bukendeeza ku ndwadde z'obukaba mu bafumbo." } }
{ "translation": { "en": "It is always good to determine the resale value of a used car.", "lg": "Bulijjo kirungi okumanya omuwendo gw'emmotoka ekozeeko." } }
{ "translation": { "en": "My mother taught me how to prepare food.", "lg": "Mmange yanjigiriza engeri y'okuteekateekamu emmere." } }
{ "translation": { "en": "He is the chief of staff.", "lg": "Y'akulira abakozi." } }
{ "translation": { "en": "There a very many spies in the city center.", "lg": "Waliyo ba mbega bangi nnyo mu kibuga wakati." } }
{ "translation": { "en": "\"Despite his religious formation, he becomes a doctor.\"", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "That football team increased the salary of my uncle.", "lg": "Ttiimu y'omupiira gw'ebigere eyo yayongeza omusaala gwa kojjange/kitange omuto." } }
{ "translation": { "en": "The tomatoes are very perishable.", "lg": "Ennyaanya zivunda mangu." } }
{ "translation": { "en": "People have lost a lot of wealth in witchcraft.", "lg": "Abantu bafiiriddwa ebyobugagga bingi mu bulogo." } }
{ "translation": { "en": "The security guard opens the gate for him every day.", "lg": "Omukuumi amuggulirawo oluggi lwa wankaaki buli lunaku." } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Over the weekend my friends shall go to the disco.", "lg": "Ku ssabbiiti mikwano gyange gijja kugenda mu kiduula." } }
{ "translation": { "en": "He lost interest in playing football.", "lg": "Yakyawa okusamba omupiira." } }
{ "translation": { "en": "The agreement strengthens Uganda towards international cooperation.", "lg": "Endagaano enyweereza Uganda mu nkolagana n'amawanga amalala." } }
{ "translation": { "en": "Friends of the bishop is a group which was established in two thousand eighteen.", "lg": "Mikwano gy'omulabirizi kibinja ekyatandikibwawo mu nkumi bbiri kkumi na munaana" } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Police officers are deployed at different stations for effective service delivery.", "lg": "Abakungu ba poliisi bayiiriddwa ku sitenseni ez'enjawulo okusobola okuweereza obulungi." } }
{ "translation": { "en": "He waited for the cocks to crow.", "lg": "Yalinda sseggwanga zikookolime." } }
{ "translation": { "en": "Majority of children from settled Christian marriages are well behaved.", "lg": "Abaana bangi okuva mu maka ga bakrisito agateredde mu bufumbo beeyisa bulungi." } }
{ "translation": { "en": "Youths are strong and energetic.", "lg": "Abavubuka bagumu era ba maanyi." } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Some women believed that the war years strengthened their independence.", "lg": "Abakazi abamu baalina endowooza nti emyaka gy'olutalo gyanyweza obwetwaze bwabwe." } }
{ "translation": { "en": "The fight of the year is yet to happen.", "lg": "Okulwanagana kw'omwaka tekunaatera okubaawo." } }
{ "translation": { "en": "Who has beaten you?", "lg": "Ani akukubye?" } }
{ "translation": { "en": "The government should explain why the politicians were arrested.", "lg": "Gavumenti erina okunnyonyola lwaki bannabyabufuzi baasibibwa." } }
{ "translation": { "en": "Nutrition indicators for young children and their mothers have not improved that much.", "lg": "Ebiraga endya ennungi mu baana abato ne bannyaabwe tebyeyongedde kiri awo." } }
{ "translation": { "en": "He allied with another political party during the independence elections.", "lg": "Yatta omukago n'ekibiina ky'ebyobufuzi ekirala mu kulonda kw'ameefuga." } }
{ "translation": { "en": "He was asked to release a report on the large number of killings in the country.", "lg": "Yasabibwa okufulumya alipoota ekwata ku kittabantu ekirinnye enkandaggo mu ggwanga." } }
{ "translation": { "en": "He went looking for his mother at the farm.", "lg": "Yagenda anoonya nnyina mu nnimiro." } }
{ "translation": { "en": "Soil erosion decreases soil fertility.", "lg": "Okukulugguka kw'ettaka kukeendeeza obugimu bw'ettaka." } }
{ "translation": { "en": "The constitution also talks about tax payment.", "lg": "Ssemateeka naye ayogera ku kusasula omusolo" } }
{ "translation": { "en": "She is very disappointed that she did not get the promotion at work.", "lg": "Yaweddemu nnyo amaanyi olw'okuba teyakuziddwa ku mulimu." } }
{ "translation": { "en": "After how long does the court issue its judgment on a case?", "lg": "Kkooti etwala bbanga ki okuwa ensala yaayo ku musango?" } }
{ "translation": { "en": "What time shall he depart from the village?", "lg": "Budde ki bw'anaaviirako mu kyalo?" } }
{ "translation": { "en": "Bridge construction is expected to be complete in four years.", "lg": "Okuzimba olutindo kusuubirwa okumalirizibwa mu myaka ena." } }
{ "translation": { "en": "We got lost because the driver used the wrong route.", "lg": "Twabula kubanga omuvuzi w'emmotoka yakwata ekkubo ekyaamu." } }
{ "translation": { "en": "Most of the alleged attackers were killed in the clashes.", "lg": "Abaali bagambibwa okulumba abasinga battibwa mu buvuvungano." } }