translation
dict |
---|
{
"translation": {
"en": "Destruction of homes leads to displacement of people.",
"lg": "Okusaanyaawo amaka kuviirako okusenguka kw'abantu."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "He sings that song as he drives home every day.",
"lg": "Ayimba oluyimba buli lunaku ng'avuga okudda ewaka."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "\"At his farewell party, the managing director said his departure is a great loss to the whole company.\"",
"lg": "\"Ku kabaga ak'okumusiibula, omukulu wa kampuni yagambye nti okugenda kwe kukosezza nnyo kampuni yonna.\""
}
}
|
{
"translation": {
"en": "The costs involved in his treatment have become unmanageable to his family.",
"lg": "Ebisale by'obujjanjabi bwe tebikyasoboka eri famire ye."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "How do I set a reminder on my phone?",
"lg": "Nsobola ntya okuteekamu ekijjukizo mu ssimu yange?"
}
}
|
{
"translation": {
"en": "He kept the water safe in a clay pot.",
"lg": "Amazzi yagakuumira bulungi mu nsuwa."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "Cultural leaders help in emphasizing good morals among the people.",
"lg": "Abakulembeze ab'ennono bayamba mu kukkaatiriza empisa enungi mu bantu."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "Which team won the Uganda Premier League last season?",
"lg": "Ttiimu ki eyawangula empaka za pulimiya liigi eza Uganda sizoni ewedde."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "Vehicles under poor mechanical conditions should not be driven.",
"lg": "Ebidduka ebiri mu mbeera embi tebiteekeddwa kuvugibwa."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "What is the best way to resolve political conflicts?",
"lg": "Ngeri ki esinga eyinza okumalawo obukuubagano mu byobufuzi?"
}
}
|
{
"translation": {
"en": "His name is a bit difficult to read.",
"lg": "Erinnya lye zzibuzibu okusoma."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "Most people retire at the age of sixty five.",
"lg": "Abantu abasinga obungi bawummulira ku myaka nkaaga mu ettaano."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "Historical sites need to be protected for your future children study.",
"lg": "Ebifo eby'ebyafaayo byetaaga okukuumibwa olw'abaana bo abaliddawo okubisomako."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "He was sent to keep the president in power.",
"lg": "Yasindikibwa kukuumira pulezidenti mu buyinza."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "The Ebola outbreak in the Democratic Republic of Congo has spread since August twenty-eighteen.",
"lg": "Okubalukawo kwa Ebola mu Democratic Republic of Congo kusaasaanye okuva mu August wa nkumi bbiri mu kkumi na munaana."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "Harsh weather conditions can lead to death.",
"lg": "Embeera y'obudde enkakali esobola okuviirako okufa."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "I bought this land twenty years ago.",
"lg": "Nnagula ettaka lino emyaka abiri emabega."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "The poverty rates in Uganda increased during the lockdown",
"lg": "Obwavu mu Uganda bweyongera mu kaseera k'omuggalo"
}
}
|
{
"translation": {
"en": "He named his company after his wife.",
"lg": "Kampuni yagibbulamu erinnya lya mukyala we."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "The government funded the evacuation of the Afghanistan refugees last week.",
"lg": "Gavumenti yavujjirira okusengula ababudami Abafaganisitaani wiiki ewedde."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "We hope to have a fair election.",
"lg": "Tusuubira okuba n'okulonda okw'obwenkanya."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "The doctor encouraged me to eat more fruits and vegetables to improve my health.",
"lg": "nan"
}
}
|
{
"translation": {
"en": "The district leader strengthened the erderly in the district.",
"lg": "Omukulembeze wa disitulikiti yazizzaamu abakadde amaanyi mu disitulikiti."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "They no longer have oxygen in the hospital.",
"lg": "Amalwaliro tegakyalina mukka gwa oxygen."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "No officers should claim to be above the law.",
"lg": "Tewali mukungu wa gavumenti asaanidde okulowooza nti ali waggulu w'amateeka."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "The government officials are known to be corrupt.",
"lg": "Abakungu ba gavumenti bamanyiddwa ku kuba abali b'enguzi."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "Each doughnut costs five hundred Ugandan shillings.",
"lg": "Buli kindaazi kigula siringi bitaanu ebya siringi."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "These violence normally lead to injuries and death.",
"lg": "Obutabanguko buno buviirako nnyo obuvune n'okufa."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "We are going to buy new furniture for the schools.",
"lg": "Tugenda kugula ebibajje ebipya eby'essomero."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "Vendors are to be relocated to a new place.",
"lg": "Abatunzi baakutwalibwa mu kifo ekipya."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "Some maternal deaths result from abortion complications.",
"lg": "Abakazi abamu abafa nga bazaala kiva ku buzibu bwe bafuna nga baggyamu embuto."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "The heavy rains last night damaged the road.",
"lg": "Enkuba ennyingi ekiro ekyayise yayonoonye oluguudo."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "Who is a good Samaritan?",
"lg": "Ani musamaaliya omulungi?"
}
}
|
{
"translation": {
"en": "Quarantining patients helps with diseases control.",
"lg": "Okuteeka abalwadde mu kalantiini kiyamba okiziyiza endwadde."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "He promised to call me back in five minutes.",
"lg": "Yasuubizza okuddamu ankubireko mu ddakiika ttaano."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "\"He had nothing to feed his family, the only option was to sell my cow.\"",
"lg": "\"Teyalina kintu konna kulabirira famire ye, kye yalina okukola kyokka kwali kutunda nte yange.\""
}
}
|
{
"translation": {
"en": "My elder sister always counseled me whenever I went wrong.",
"lg": "Mukulu wange omuwala yambuuliriranga buli lwe nasobyanga."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "Let us try to work together.",
"lg": "Tugezeeko okukolera awamu."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "People of mixed race were subjected to discrimination by the ministry officials.",
"lg": "Abantu ab'omusaayi omutabule baalinga basosolebwa abakungu ba minisitule."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "The money will be transferred to the school account.",
"lg": "Ssente zijja kuddizibwa ku akawunti y'essomero."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "My dog has given birth to four puppies.",
"lg": "Embwa yange ezadde obubwa buna."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "The plaintiff wasn't satisfied with the court ruling.",
"lg": "Omuwaabi teyali mumativu na nsala ya kkooti."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "The municipal council has provided tax holidays which has boosted business activities.",
"lg": "Akakiiko ka munisipaali kasonyiye abantu omusolo ekitumbude ebyobusuubuzi."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "nan",
"lg": "nan"
}
}
|
{
"translation": {
"en": "His brother left a note on the table.",
"lg": "Muganda we yalese obubaka ku mmeeza."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "Follow the instructions to avoid delays.",
"lg": "Goberera ebiragiro okwewala okulwisibwa."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "It was announced on Friday last week.",
"lg": "Kyalangirirwa olwokutaano lwa wiiki ewedde."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "The election between the two candidates was very tight.",
"lg": "Okulonda wakati mu beesimbyeyo ababiri kwabadde kunywevu nnyo."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "The police should tighten security.",
"lg": "Poliisi erina okunyweza obukuumi."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "Do the right things at the right time.",
"lg": "Kola ebintu ebituufu mu kiseera ekituufu."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "People should not engage in mob justice.",
"lg": "Abantu tebalina kwenyigira mu bikolwa eby'okutwalira amateeka mu ngalo."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "It is always good to monitor and evaluate a project.",
"lg": "Kirungi okulondoolanga n'okwekaliriza pulojekiti."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "Potential leaders should be visionary and developmental.",
"lg": "Abakulembeze ab'enkizo balina okuba nga balengerera wala era nga bankulaakulana."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "He said that we had nothing wrong.",
"lg": "Yagambye mbu teyabadde na kikyamu kyonna."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "The names should be spelled correctly in the registrar.",
"lg": "Amannya galina okuba nga gawandiikiddwa bulungi mu nkalala."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "Mountain Rwenzori is the highest mountain in Uganda.",
"lg": "Olusozi Rwenzori lwe lusinga obuwanvu mu Uganda."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "Mrs. Namatovu apologized to her husband.",
"lg": "nan"
}
}
|
{
"translation": {
"en": "Agents can immediately access money from the bank to meet customer demands.",
"lg": "Bakitunzi banguyirwa mangu okufuna ensimbi okuva mu bbanka okutuukiriza ebwetaavu bwa bakasitoma baabwe."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "Oil pollution harms animals and insects.",
"lg": "Okwonoona amafuta kyabulabe eri ebisolo n'ebiwuka."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "The twins worked together and played together.",
"lg": "Abalongo baakolera wamu era ne bazannyira wamu."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "The money will be used to buy pesticides for spraying the locusts.",
"lg": "Ssente zijja kweyambisibwa okugula eddagala eritta ebiwuka ery'okufuuyira enzige."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "The best way to keep your daughter safe is to supervise her.",
"lg": "Engeri esingayo obulungi ey'okukuumamu muwalawo n'atatuukibwako kizibu kwe kumulabirira."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "The officer was accused of the negligence of his duties.",
"lg": "Omukungu yavunaanibwa okusuulirira emirimu gye."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "The Uganda constitution can be amended.",
"lg": "Ssemateeka wa Uganda asobobola okulongoosebwamu."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "Your teacher told me that you fought with your classmate yesterday.",
"lg": "Omusomesa wo yaŋŋambye nti walwanye ne muyizi munno mu kibiina eggulo."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "There is more quality assurance in services purchased by farmers under cooperatives.",
"lg": "Waliwo okweyongera ku mutindo ku bintu ebigulibwa abalimi abali mu bibiina by'obwegassi."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "The district officer noted an increase in the number of coronavirus cases in the region.",
"lg": "Omukungu mu disitulikiti yakiraba nti waliwo okweyongerayongera mu muwendo gw'abo abakwatibwa ekirwadde kya korona mu kitundu."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "Murderers do not deserve mercy.",
"lg": "Abatemu tebasaana kukwatibwa kisa."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "Several health centers in villages have unqualified workers.",
"lg": "Amalwaliro agasinga mu byalo galina abakozi abatali batendeke."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "Several people have passed on during the pandemic season.",
"lg": "Abantu abawerako bafudde mu biseera by'ekirwadde ekikambwe."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "We close our eyes while praying.",
"lg": "Tuzibiriza amaaso gaffe nga tusaba."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "The coach was disappointed with the match results.",
"lg": "Omutendesi yanyoleddwa olw'ebyavudde mu muzannyo."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "Has the electoral commission confirmed the polling date?",
"lg": "Akakiiko k'okulonda kakasizza olunaku lw'okulonda?"
}
}
|
{
"translation": {
"en": "It is not good to judge people.",
"lg": "Si kirungi okusalira abantu omusango."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "It is not a guarantee that a home team has to win a match.",
"lg": "Si kya tteeka nti ttiimu y'awaka erina okuwangula."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "It was recovered after tracking.",
"lg": "Yazuuliddwa oluvannyuma lw'okulondoolwa."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "Her father owns the largest herd of cattle in the village.",
"lg": "Kitaawe y'asinza eggana ly'ente eddene ku kyalo."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "Apologising is very important in case you make a mistake.",
"lg": "Okwetonda kya mugaso nnyo singa oba okoze ensobi."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "Am waiting for blood culture test results from the laboratory.",
"lg": "Nindirira bivudde mu musaayi okuva mu kisenge mwe kabakerera omusaayi."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "Islamic banking has advantages and disadvantages.",
"lg": "Enkola ya bbanka ey'ekisiraamu erina ebirungi n'ebibi."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "\"In northern Uganda, the increasing violence against women has been reported to the police.\"",
"lg": "Poliisi etegeezeddwa nti ebikolwa eby'obukambwe ebikolebwa ku bakazi byeyongedde nnyo mu bukiikakkono bwa Uganda."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "Many people cannot maintain the practice.",
"lg": "Abantu bangi tebasobola kusigala nga bakola ebintu ebyo."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "People with disabilities need to be well taken care of.",
"lg": "Abantu abaliko obulemu beetaaga okulabirirwa obulungi."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "A Ugandan has won the prestigious news award.",
"lg": "Munnayuganda awangudde ekirabo ky'amawulire eky'ekitiibwa."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "What is the purpose of the piloting phase?",
"lg": "Omutendera gw'okugezesa gugasa ki?"
}
}
|
{
"translation": {
"en": "The project will solve sanitation problems in the region.",
"lg": "Pulojekiti ejja kugonjoola ebizibu by'obuyonjo mu kitundu."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "Most people like the man for his excellent football skills.",
"lg": "Abantu abasinga baagala omusajja oyo olw'obukodyo bwe obw'omupiira obulungi ennyo."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "Police and the army are independent entities.",
"lg": "Poliisi n'amaggye bitongole bya njawulo."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "Some of my students are poor at Mathematics.",
"lg": "Abamu ku bayizi bange bazibuwalirwa okubala."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "Most lawyers usually end up joining politics.",
"lg": "Bannamateeka abasinga obungi bakommekereza bayingidde eby'obufuzi."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "The school library does not have enough text books.",
"lg": "Etterekero ly'ebitabo ery'essomero teririna bitabo bimala."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "Locally produced goods are cheaper.",
"lg": "Ebintu ebikolebwa wano biba ku bbeeyi ya wansiko."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "He stood behind me in the line.",
"lg": "Yayimirira mabega wange ku layini."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "A lie can get halfway around the world before the truth gets its boots on.",
"lg": "Obulimba busobola okudduka ensi yonna nga amazima tegalinaako wegaatuuse."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "Many schools will benefit from the festival.",
"lg": "Amasomero mangi gajja kuganyulwa mu bikujjuko."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "He made an in-depth study of the political party.",
"lg": "Yeekenneenya ekibiina ky'eby'obufuzi."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "The practice drags the country behind.",
"lg": "Ekikolwa ekyo kizza ensi emabega."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "\"\"\"She invited her friends to eat with her.\"",
"lg": "\"\"\"Yayise mikwano gye girye naye.\""
}
}
|
{
"translation": {
"en": "My father has retired from teaching after forty years.",
"lg": "Kitange awummudde omulimu gw'okusomesa oluvannyuma lw'emyaka amakumi ana."
}
}
|
{
"translation": {
"en": "The government compensated some people in places where new roads are to be constructed.",
"lg": "Gavumenti yaliyirira abantu abamu mu bifo amakubo amapya gye gagenda okuzimbibwa."
}
}
|
Subsets and Splits
No community queries yet
The top public SQL queries from the community will appear here once available.