translation
dict
{ "translation": { "en": "The current board is chaired by the former Permanent Secretary of the Ministry of Tourism.", "lg": "Olukiiko oluliko kati lukulirwa eyali Omuwandiisi ow'Enkalakkalira mu Minisitule y'Ebyobulambuzi." } }
{ "translation": { "en": "A small black poisonous snake entered his house.", "lg": "\"Omusota omutono, omuddugavu era ogw'obusagwa gwayingidde ennyumba ye.\"" } }
{ "translation": { "en": "The data center will operate according to tier three standard facilities.", "lg": "Ennyungiro y'ebibalo ejja kuddukanyizibwa nga yeesigamiziddwa ku masiga asatu agafuga ekakkalabizo nga lino." } }
{ "translation": { "en": "She was happy to see her children again.", "lg": "Yasanyuka okuddamu okulaba ku baana be." } }
{ "translation": { "en": "The birds' nests were destroyed.", "lg": "Ebisu by'ebinyonyi byayonoonebwa." } }
{ "translation": { "en": "Quarrerling is an indicator of disunity.", "lg": "Okuyombagana kabonero akalaga okweyawulayawula." } }
{ "translation": { "en": "Muslim leaders are supposed to be united and not disunited.", "lg": "Abakulembeze b'abasiraamu bateekeddwa okwegatta so si kwawukana." } }
{ "translation": { "en": "Please let me stay here for only one night.", "lg": "Bambi kambeereko wano okumala ekiro kimu." } }
{ "translation": { "en": "Diseases lead to lots of health challenges.", "lg": "Endwadde ziviirako okusoomoozebwa kungi nnyo eri obulamu." } }
{ "translation": { "en": "The two officials lied about what they had done during the arrest.", "lg": "Abakungu ababiri baalimba ku ki kye baali bakoze nga bakwata abantu." } }
{ "translation": { "en": "Rural farmers have poor storage facilities for their harvest.", "lg": "Abalimi b'omu byalo balina amaterekero g'ebirime ag'ekiboggwe." } }
{ "translation": { "en": "Uganda now has very many fishing farms.", "lg": "Uganda kati erina amalundiro g'ebyennyanja mangi nnyo." } }
{ "translation": { "en": "The police did not attend the security meeting.", "lg": "Poliisi teyakiise mu lukiiko lw'ebyokwerinda." } }
{ "translation": { "en": "The speaker gave us his email address.", "lg": "Omukubiriza yatuwadde email ye." } }
{ "translation": { "en": "The law punishes criminal thugs.", "lg": "Amateeka gabonereza abakozi b'ebikolobero." } }
{ "translation": { "en": "The sales director position has been vacant since last year.", "lg": "Ekifo ky'akulira obwakitunzi kibadde kikalu okuva omwaka oguwedde." } }
{ "translation": { "en": "Please answer the questions in the space provided.", "lg": "Jjuza ebyokuddamu mu mabanga agalekeddwawo." } }
{ "translation": { "en": "She was disqualified after a fourth red card.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The government banned female circumcision in Uganda.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The streets were filled with protesters.", "lg": "Enguudo zaali zijjudde abawakanyi." } }
{ "translation": { "en": "He reads his children a bedtime story every night.", "lg": "Asomera abaana be obugero bw'okwebaka buli kiro." } }
{ "translation": { "en": "Areas with school dropouts are few.", "lg": "Ebitundu ebirimu okuwanduka kw'abaana mu masomero bitono." } }
{ "translation": { "en": "How are you doing today?", "lg": "Oli otya leero?" } }
{ "translation": { "en": "Poachers hunted the rhinos.", "lg": "Abayigga mu bumenyi bw'amateeka baayigga enkula." } }
{ "translation": { "en": "Artists work together to improve the music industry.", "lg": "Abayimbi bakolera wamu okutumbula ekisaawe ky'ebyokuyimba." } }
{ "translation": { "en": "Fans will have no access to watch matches.", "lg": "Abawagizi tebajja kuba na lukusa kulaba mipiira." } }
{ "translation": { "en": "Her husband paid for everything at their wedding.", "lg": "Omwami we yasasulira buli kimu ku mbaga yaabwe." } }
{ "translation": { "en": "I was attracted to my husband because of his kindness.", "lg": "Nnasikirizibwa eri omwami wange olw'ekisa kye yalina." } }
{ "translation": { "en": "She writes very interesting novels.", "lg": "Awandiika obutabo bw'engero obunyuvu ennyo." } }
{ "translation": { "en": "Her parents received money to send her to secondary school.", "lg": "Bazadde be baafuna ssente ez'okumutwala mu ssomero lya siniya." } }
{ "translation": { "en": "The government should increase funding to women savings groups.", "lg": "Gavumenti eteekeddwa okwongeza ensimbi z'ewa ebibiina by'abakyala ebiteresi by'ensimbi." } }
{ "translation": { "en": "Centenary bank is a project for catholic church.", "lg": "Bbanka ya Centenary pulojekiti ya kereziya ey'abakatoliki." } }
{ "translation": { "en": "The judges convicted the leader of a serious crime sentencing him to life imprisonment as a punishment.", "lg": "Abalamuzi baasingisizza omukulembeze omusango ogw'amaanyi era ne bamusalira ekibonerezo kya kusibibwa obulamu bwe bwonna." } }
{ "translation": { "en": "Accident and emergency units are being equipped.", "lg": "Ebifo awajjanjabirwa ab'obubenje n'abali mu mbeera embi biwereddwa ebyetaagisa." } }
{ "translation": { "en": "She kept some food for my young brother to eat when he wakes up.", "lg": "Yaterekedde muto wange omulenzi emmere y'okulya ng'azuukuse." } }
{ "translation": { "en": "Water bodies have several landing sites that act as centers for fishing activities.", "lg": "Ennyanja zibeera n'emyalo egy'enjawulo egikola nga entabiro y'emirimu gy'obuvubi." } }
{ "translation": { "en": "The school sports galla was postponed.", "lg": "Okuwakanya kw'ebyemizannyo ku ssomero kwayongezebwayo." } }
{ "translation": { "en": "Women and men have equal opportunities in the media industry today.", "lg": "Leero abakazi n'abasajja balina omukisa ogwenkanankana mu by'amawulire." } }
{ "translation": { "en": "Some people instead of saying yes or no just shake their heads.", "lg": "Abantu abamu mu kifo ky'okugamba nti yee oba nedda banyeenyawo mitwe gyabwe." } }
{ "translation": { "en": "Practising journalism in Uganda is challenging.", "lg": "Okukola obw'obwannamawulire mu Uganda kisoomooza." } }
{ "translation": { "en": "Overspeeding causes accidents.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Most districts presented one COVID-19 case that day.", "lg": "Disitulikiti ezisinga obungi zaavaamu abalwadde ba kolona olunaku olwo." } }
{ "translation": { "en": "\"Before his death, he had planted many trees in his home village.\"", "lg": "\"Nga tannafa, yali asimbye emiti mingi mu kyalo ky'ewaabwe.\"" } }
{ "translation": { "en": "Students who have not yet cleared tuition fees are not allowed to graduate.", "lg": "Abayizi abatannamalayo bisale tebakkirizibwa kutikkirwa." } }
{ "translation": { "en": "The youths blamed leaders for denying them chances of benefiting from the government programs.", "lg": "Abavubuka baanenya abakulembeze okubalemesa okwenyigira mu nteekateeka za gavumenti" } }
{ "translation": { "en": "He thanked his coach for equipping him with excellent football skills.", "lg": "Yeebaza omutendesi we olw'okumwa obukodyo bw'okusamba omupiira obusuffu." } }
{ "translation": { "en": "He stole ten bulls from different people in our village.", "lg": "Yabba ennume kkumi ku bantu ab'enjawulo ku kyalo kyaffe." } }
{ "translation": { "en": "The land in Amuru district will be used for the sugar project.", "lg": "Ettaka eriri mu Amuru lijja kukozesebwa mu pulojekiti y'okukola sukaali." } }
{ "translation": { "en": "He added onions and garlic to the cooking oil.", "lg": "Yatadde obutungulu ne katunguluccumu mu butto." } }
{ "translation": { "en": "They continued investigating the matter.", "lg": "Baagenda mu maaso n'okunoonyereza ku nsonga." } }
{ "translation": { "en": "People need access to better health services in the area.", "lg": "Abantu beetaaga obusobozi okufuna ebyobulamu ebirungi mu kitundu." } }
{ "translation": { "en": "Don’t lean on the walls.", "lg": "Tewesigama ku kisenge." } }
{ "translation": { "en": "These types of men are irritating.", "lg": "Abasajja ng'abo banyiiza." } }
{ "translation": { "en": "Some medical doctors refused to do their work due to delayed salary payment.", "lg": "Abasawo abamu baagaanye okukola omulimu gwaabwe olw'okulwawo okubasasula." } }
{ "translation": { "en": "She assisted the blind man to cross the road.", "lg": "Yayamba omusajja omuzibe okusala oluguudo." } }
{ "translation": { "en": "The industry sector in Uganda is growing.", "lg": "Ekisaawe ky'ebyamakolero mu Uganda kikulaakulana." } }
{ "translation": { "en": "There were very many dancers in the music video.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Pretending to be what your not is not good.", "lg": "Okwefuula kyotoli si kirungi." } }
{ "translation": { "en": "My teammates oppose every idea I bring.", "lg": "Bannange bawakanya buli kirowoozo kye ndeeta." } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "She was involved in a car accident last Christmas.", "lg": "Yagwa ku kabenje ku Ssekukulu ewedde." } }
{ "translation": { "en": "Banks should provide small businesses with loans.", "lg": "Bbanka zisaanye okuwola bizinensi entonotono." } }
{ "translation": { "en": "Where does he come from?", "lg": "Aviira wa?" } }
{ "translation": { "en": "The engineers have embarked on road construction.", "lg": "Bayinginiya bazze ku kukola luguudo." } }
{ "translation": { "en": "The candidate needs to prepare sufficiently for their exams.", "lg": "Abayizi basaanidde okweteekerateekera obulungi ebigezo." } }
{ "translation": { "en": "Many deaths were registered this month.", "lg": "Abafudde bangi omwezi guno." } }
{ "translation": { "en": "This follows the increasing insecurity in the country.", "lg": "Kino kigoberera obutali butebenkevu obuli mu ggwanga." } }
{ "translation": { "en": "Uganda will not be hosting the volleyball tournament this year due to the pandemic.", "lg": "Yuganda tejja kukyaza mpaka za 'volley ball' olw'ekyaguddewo mu nsi yonna." } }
{ "translation": { "en": "\"During the lockdown, many people lost their jobs.\"", "lg": "\"Mu biseera by'omuggalo, abantu bangi baafiirwa emirimu gyabwe.\"" } }
{ "translation": { "en": "We ought to love others despite their imperfections.", "lg": "Tulina okwagala abalala wadde nga tebatuukiridde." } }
{ "translation": { "en": "Good road networks promote the growth of agriculture.", "lg": "Enguudo ennungi zireetawo enkulaakulana mu by'obulimi." } }
{ "translation": { "en": "His younger brother started school at the age of two.", "lg": "Muganda we/mwannyina omuto yatandika okusoma ku myaka ebiri." } }
{ "translation": { "en": "Small plots of land can be used for subsistence farming.", "lg": "Poloti z'ettaka entono zisobola okukozesebwa okulimibwako emmere y'okulya ewaka." } }
{ "translation": { "en": "She is cooking in the kitchen.", "lg": "Afumba mu ffumbiro." } }
{ "translation": { "en": "She is struggling to pay back the business loan she spent on new clothes.", "lg": "Alwana okusasula ebbanja ly'obusuubuzi lye yasaasaanyiza ku ngoye empya." } }
{ "translation": { "en": "He was released from jail this afternoon.", "lg": "Yateereddwa okuva mu kkomera olweggulo lwa leero." } }
{ "translation": { "en": "\"Currently, a big number of males in the country are circumcised.\"", "lg": "\"Kati, omuwendo gw'abasajja abasinga mu ggwanga bakomole.\"" } }
{ "translation": { "en": "Records were taken on the aircraft procured.", "lg": "Ebiwandiiko byakolebwa ku nnyonyi eyagulibwa." } }
{ "translation": { "en": "My car is not in a good condition.", "lg": "Emmotoka yange teri mu mbeera nnungi." } }
{ "translation": { "en": "He is very good at swimming.", "lg": "Amanyi nnyo okuwuga." } }
{ "translation": { "en": "He lost the elections to my mother.", "lg": "Maama wange yamuwangula mu kulonda." } }
{ "translation": { "en": "How can one evaluate the performance of his business?", "lg": "Omuntu ayinza atya okwekenneenya engeri bizinensi ye gy'ekolamu?" } }
{ "translation": { "en": "A new doctor was commissioned at the hospital.", "lg": "Ddokita omupya yaleetebwa mu ddwaliro." } }
{ "translation": { "en": "It is very dangerous for citizens to possess guns in their hands.", "lg": "Kyabulabe nnyo bannansi okuba n'emmundu mu mikono gyabwe." } }
{ "translation": { "en": "He got a loan of five million shillings.", "lg": "Yeewola obukadde butaano." } }
{ "translation": { "en": "My mother wished me a safe journey.", "lg": "Mmange yanjagaliza olugendo olulungi." } }
{ "translation": { "en": "They had plans of returning home.", "lg": "Baalina enteekateeka z'okudda ewaka." } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "\"The hospital services are good, effective and efficient.\"", "lg": "\"Obuweereza bw'eddwaliro bulungi, bwangu era bwesigika.\"" } }
{ "translation": { "en": "She collapsed from class.", "lg": "Yazirikira mu kibiina." } }
{ "translation": { "en": "He is a respectable man in the community.", "lg": "Omusajja oyo assibwamu ekitiibwa mu kitundu." } }
{ "translation": { "en": "Tea production later increased.", "lg": "Okulima amajaani oluvannyuma kweyongera." } }
{ "translation": { "en": "What is your religious name?", "lg": "\"Erinnya lyo ery'eddiini, gw'ani?\"" } }
{ "translation": { "en": "Think of a song sung to babies in your culture.", "lg": "Lowooza ku luyimba lwonna oluyimbibwa abaana mu buwangwa bwammwe." } }
{ "translation": { "en": "The musician died in a car accident.", "lg": "Omuyimbi yafiiridde mu kabenje k'emmotoka." } }
{ "translation": { "en": "She is a beautiful girl.", "lg": "Muwala mulungi." } }
{ "translation": { "en": "Laws are against early marriages and early pregnancies.", "lg": "Amateek tegakkiriza bufumbo bw'abantu abatanneetuuka n'embuto mu bantu abatanneetuuka." } }
{ "translation": { "en": "They all support the new law.", "lg": "Bonna bawagira etteeka eppya." } }
{ "translation": { "en": "There is a lot that the young ones do not know.", "lg": "Waliwo bingi abato bye batamanyi." } }
{ "translation": { "en": "There are a lot of people coming in to see the doctor.", "lg": "Waliwo abantu bangi abajja okulaba omusawo." } }