translation
dict
{ "translation": { "en": "Massive human rights violations continued in the country.", "lg": "Okutyoboola eddembe ly'obuntu kweyongera mu ggwanga." } }
{ "translation": { "en": "The message was translated into different languages.", "lg": "Obubaka bwavvunulwa mu nnimi ez'enjawulo." } }
{ "translation": { "en": "\"When people get married, they form a family.\"", "lg": "\"Abantu bwe bafumbiriganwa, bakola amaka\"" } }
{ "translation": { "en": "Employees should have respect for each other at work.", "lg": "Abakozi balina okuwaŋŋana ekitiibwa ku mulimu." } }
{ "translation": { "en": "All these things are against me.", "lg": "Ebintu bino byonna babitadde ku nze." } }
{ "translation": { "en": "The commander in the field is the one who controls the others.", "lg": "Omuduumizi ali mu kisaawa y'alambika abalala." } }
{ "translation": { "en": "Training is a learning process.", "lg": "Okutendekebwa mutendera gwa kuyiga." } }
{ "translation": { "en": "Roads leading to trading centers should be worked on.", "lg": "Enguudo ezituuka mu bitundu byobusuubuzi ziteekeddwa okukolwako." } }
{ "translation": { "en": "Milk has lots of health benefits.", "lg": "Amata galimu emiganyulo gy'ebyobulamu mingi." } }
{ "translation": { "en": "Our school debate team qualified for the semi-finals of the national school championship.", "lg": "Ttiimu yaffe ey'essomero yayitawo okugenda ku luvuganya oluddirira olw'akamalirizo mu mpaka z'amasomero ez'eggwanga lyonna ez'okukontanya ebirowoozo okw'ekiyivu." } }
{ "translation": { "en": "The sound woke up the lion from its sleep.", "lg": "Eddoboozi lyazuukusa empologoma mu tulo." } }
{ "translation": { "en": "This is how cakes are made.", "lg": "Eno ye ngeri y'okukolamu keeki." } }
{ "translation": { "en": "He said those backed by foreign forces will pay heavily for their actions.", "lg": "Yagambye abo abawagirwa amawanga g'ebweru bajja kusasulira nnyo ebikolwa byabwe." } }
{ "translation": { "en": "Many people tested positive for the coronavirus disease.", "lg": "Abantu bangi baazuuliddwamu akawuka ka kolona." } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The education sector has been greatly affected by the pandemic.", "lg": "Ekisaawe ky'ebyenjigiriza kikoseddwa nnyo ekirwadde ky'ekikungo." } }
{ "translation": { "en": "Pilsner's super eight football tournament had Ndejje university and Onduparaka in the fourth game.", "lg": "Empaka z'omupiira gw'ebigere eza Plisner super eight zeetabwamu yunivaasite y'e Ndejje ne Onduparaka mu luzannya olwokuna." } }
{ "translation": { "en": "The workshop was held for two days.", "lg": "Olukungaana lwamala ennaku bbiri." } }
{ "translation": { "en": "My sister went with my mother to the market.", "lg": "Muganda wange/mwannyinaze yagenze ne maama mu katale." } }
{ "translation": { "en": "They can get drugs from government health institutions.", "lg": "Basobola okufuna eddagala okuva mu malwaliro ga gavumenti." } }
{ "translation": { "en": "A senior medical officer said Ebola and cholera could kill once not treated early.", "lg": "Omukugu w'ebyobulamu omukulu yagamba nti Ebola ne kolera biyinza okutta singa tebijjanjabibwa bukyali." } }
{ "translation": { "en": "The traders hate being taxed.", "lg": "Abasuubuzi tebaagala kubasaba misolo." } }
{ "translation": { "en": "Most people in rural areas are poor and uneducated.", "lg": "Abantu abasinga mu byalo baavu ate era si bayigirize." } }
{ "translation": { "en": "Electronic goods are one of the main imports for Uganda.", "lg": "Ebyamasannyalaze by'ebimu ku bintu ebikulu ebisinga okuyingizibwa mu Uganda." } }
{ "translation": { "en": "There is a shortage of pasture for the cattle during the dry season.", "lg": "Waliwo ebbula ly'omuddo gw'ente mu kiseera ky'ekyeya." } }
{ "translation": { "en": "The church encouraged people to love one another.", "lg": "Ekkanisa yakubiriza abantu okwagalana." } }
{ "translation": { "en": "The election results are being challenged by one of the presidential candidates.", "lg": "Ebyava mu kulonda kw'obwa pulezidenti biwakanyizibwa omu ku baali beesimbyewo." } }
{ "translation": { "en": "She took photographs of her baby with the phone.", "lg": "Yakozesa essimu okukuba ebifaananyi by'omwana we omuwere." } }
{ "translation": { "en": "Doctors encouraged us to eat fruits to boost our immunity.", "lg": "Abasawo baatukubiriza okulya ebibala omubiri gusobole okuba n'amaanyi agalwanyisa obulwadde." } }
{ "translation": { "en": "It is my goal to be the leading movie actor.", "lg": "Kiruubirirwa kyange okubeera omuzannyi wa ffirimu asinga." } }
{ "translation": { "en": "They need to work together to finish the projects.", "lg": "Beetaaga okukolera awamu okumaliriza pulojekiti." } }
{ "translation": { "en": "The president is accountable to the citizens of the country.", "lg": "Pulezidenti avunaanyizibwa ku bannansi b'eggwanga." } }
{ "translation": { "en": "Your mother said that you shouldn’t leave home at night.", "lg": "Maama wo yagambye nti tolina kuva waka kiro." } }
{ "translation": { "en": "The district council put a ban on commercial charcoal businesses.", "lg": "Akakiiko ka disitulikiti kaawera buzinensi z'amanda." } }
{ "translation": { "en": "He was swinging his stick around.", "lg": "Yali awuuba omuggo gwe." } }
{ "translation": { "en": "My father bought me some traditional necklaces from the museum.", "lg": "Kitange yangulira ku mikuufu egy'edda okuva mu kkaddiyizo ly'ebintu." } }
{ "translation": { "en": "Farmers asked the government for assistance in terms of capital.", "lg": "Abalimi baasaba gavumenti okubayambako okubawa bye basobola okutandisaawo emirimu." } }
{ "translation": { "en": "There are very many young mothers these days.", "lg": "Ennaku zino waliwo abazadde bangi abato mu myaka." } }
{ "translation": { "en": "We shall go to the market to buy food on Saturday morning.", "lg": "Tujja kugenda mu katale okugula emmere ku Lwomukaaga kumakya." } }
{ "translation": { "en": "Professionals have experience in what they do and are academically qualified.", "lg": "Abakugu balina obumanyirivu mu ebyo bye bali ne mu ebyo bye baasomerera." } }
{ "translation": { "en": "I want to be paid highly.", "lg": "Njagala omusaala munene." } }
{ "translation": { "en": "The coronation ceremony will take place tomorrow.", "lg": "Omukolo gw'amattikira gujja kubaawo nkya." } }
{ "translation": { "en": "Historicals need a special day from the government to celebrate their return from exile.", "lg": "Bannabyafaayo beetaaga olunaku olw'enjawulo okuva mu gavumenti okujaganya okudda kwabwe okuva mu buwanganguse." } }
{ "translation": { "en": "Education helps people to get good-paying jobs.", "lg": "Obuyigirize buyamba abantu okufuna emirimu egisasula obulungi." } }
{ "translation": { "en": "Have you ever been to the Southern part of Uganda?", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "What do you have to say about this land matter?", "lg": "Kiki ky'oyogera ku nsonga y'ettaka eno?" } }
{ "translation": { "en": "\"When the football season ends, some players are sold to other clubs.\"", "lg": "\"Sizoni y'omupiira gw'ebigere bwe komekkerezebwa, abazannyi abamu batundibwa mu ttiimu endala.\"" } }
{ "translation": { "en": "She started wearing long dresses because she converted to Islam.", "lg": "Yatandika okwambala ebiteeteeyi ebiwanvu kubanga yasiramuka" } }
{ "translation": { "en": "I'm proud of my father.", "lg": "Neenyumiriza mu kitange." } }
{ "translation": { "en": "The leader disappeared mysteriously.", "lg": "Omukulembeze yabulawo mu ngeri eyeewuunyisa." } }
{ "translation": { "en": "She sang a beautiful song at the concert.", "lg": "Yayimba oluyimba olulungi mu kivvulu." } }
{ "translation": { "en": "My uncle has been paying for my university education since my father died.", "lg": "Kojjange/kitange omuto abadde asasulira okusoma kwange mu yunivaasite okuva kitange lwe yafa." } }
{ "translation": { "en": "The actions of the previous leaders affected the country's development.", "lg": "Ebikolwa by'abakulembeze abaavaako byakosa enkulaakulana y'eggwanga." } }
{ "translation": { "en": "The dead cannot breathe.", "lg": "Omufu tasobola kussa." } }
{ "translation": { "en": "He is dearly loved by his colleagues.", "lg": "Mikwano gye gimwagala nnyo." } }
{ "translation": { "en": "The local processors will provide a market for the palm oil farmers.", "lg": "Amakolero ga wano gajja kuwa abalimi b'ebinazi akatale." } }
{ "translation": { "en": "The government has provided fertilizers to farmers in Northern Uganda.", "lg": "Gavumenti ewadde abalimi abali mu Bukiikakkono bwa Uganda ebigimusa." } }
{ "translation": { "en": "The people started rioting in the morning.", "lg": "Abantu baatandise okwediima ku makya." } }
{ "translation": { "en": "We had only a few guests at our wedding.", "lg": "Twalina abagenyi batono ku mbaga yaffe." } }
{ "translation": { "en": "Bank of Uganda has a role of regulating the interests charged on loans.", "lg": "Banka ya Uganda enkulu erina omulimu gw'okuluŋŋamya amagoba agaggyibwa ku ssente ezeewolebwa." } }
{ "translation": { "en": "She covered herself with the blanket.", "lg": "Yeebikka ne bulangiti." } }
{ "translation": { "en": "The algorithms of social media do not provide such an open opportunity.", "lg": "Amagezi ag'emikutu gimukwanirawala tegireeta mikisa mirambulukufu." } }
{ "translation": { "en": "Resilience is the ability to recover from difficulties.", "lg": "Obusobozi bw'okudda amangu mu mbeera bwe busobozi bw'okuva mu buzibu." } }
{ "translation": { "en": "Many students will graduate a year later than they had planned because of the pandemic.", "lg": "Abayizi bangi bajja kutikkirwa nga wayiseewo omwaka ku bbanga lye baali balina okutikkirirwamu olw'ekirwadde ky'ekikungo." } }
{ "translation": { "en": "Some children on the streets eat leftovers found in trash bins.", "lg": "Abaana abamu ku nguudo balya amawolu ge basanga mu kasasiro." } }
{ "translation": { "en": "I bought new fancy earrings for her.", "lg": "Namugulidde obuuma bw'oku matu obwa malidaadi." } }
{ "translation": { "en": "Countries sent representatives to play in the different Olympic games.", "lg": "Ensi zaaweereza abazikiikirira okuzannya emizannyo egitali gimu mu mizannyo gya Olimpiki." } }
{ "translation": { "en": "I wonder why everyone was laughing at me.", "lg": "Nneewuunya lwaki buli omu yali ansekerera." } }
{ "translation": { "en": "Bookkeeping is an essential skill in tracking business performance.", "lg": "Okubala ebitabo kakodyo ka nkizo mu kulondoola entambula ya bizinensi." } }
{ "translation": { "en": "Several units consequently defected to her.", "lg": "Ebibinja ebirala bingi oluvannyuma byatandika okumwabulira." } }
{ "translation": { "en": "You can book a flight online.", "lg": "Osobola okwekwata ekifo mu nnyonyi ng'oyita ku mutimbagano." } }
{ "translation": { "en": "Uganda is one of the member states of the United Nations organization.", "lg": "Uganda limu ku mawanga agali mu kibiina kya United Nations Organisation." } }
{ "translation": { "en": "The Brazilian national football team has won the World Cup five times.", "lg": "Ttiimu y'eggwanga lya Brazil ey'omupiira gw'ebigere ewangudde Ekikopo ky'Ensi yonna emirundi etaano." } }
{ "translation": { "en": "They have failed to conclude.", "lg": "Balemereddwa okutuuka ku nzikiriziganya." } }
{ "translation": { "en": "Health facilities need to be improved during this fight against coronavirus .", "lg": "Ebyobulamu byetaaga okutumbulwa mu kiseera ky'okulwanyisa akawuka ka kolona." } }
{ "translation": { "en": "Every smartphone can have access to the internet.", "lg": "Buli ssimu ey'okuseereza esobola okubaako yintaneeti." } }
{ "translation": { "en": "The opposition must suggest alternative policies to the government.", "lg": "Ab'oludda oluvuganya basobola okuwa gavumenti ebirowoozo ku bintu bye balowooza nti byetaaga okukyusibwamu." } }
{ "translation": { "en": "We are preparing lunch.", "lg": "Tuteekateeka eky'emisana." } }
{ "translation": { "en": "He will not be able to afford the price of that house.", "lg": "Tajja kusobola bbeeyi ya nnyumba eyo." } }
{ "translation": { "en": "There are reports that drug theft in government hospitals is on a rise", "lg": "Waliwo alipoota nti obubbi bw'eddagala mu malwaliro ga gavumenti bweyongedde." } }
{ "translation": { "en": "Payroll is the list of employees who get paid by the company.", "lg": "Payroll lwe lukalala lw'abakozi abasasulibwa ekitongole." } }
{ "translation": { "en": "\"Usually, the employer sets a target number of required recruits.\"", "lg": "\"Ebiseera ebisinga, omukozesa ateekawo omuwendo gw'abeetaagibwa okuyingizibwa.\"" } }
{ "translation": { "en": "The price of sugar has increased to four thousand Ugandan shillings.", "lg": "Bbeeyi ya ssukaali erinnye nga kati agula ssente za Uganda enkumi nnya." } }
{ "translation": { "en": "We visit our grandmother's grave twice a year.", "lg": "Tulambula amalaalo ga jjajja wange omukazi emirundi ebiri buli mwaka." } }
{ "translation": { "en": "Bodaboda cyclists are not allowed to carry two passengers.", "lg": "Abavuzi ba boodabooda tebakkirizibwa kutikka basaabaze babiri." } }
{ "translation": { "en": "He pulled off his sweater when the weather changed.", "lg": "Yaggyako essweeta ye embeera y'obudde bwe yakyuka." } }
{ "translation": { "en": "The coaches did a great job of preparing the team.", "lg": "Abatendesi baakoze omulimu omulungi okuteekateeka ttiimu." } }
{ "translation": { "en": "The program will focus on a number of illnesses.", "lg": "Pulogulaamu ejja kutunuulira ebirwadde ebiwerako." } }
{ "translation": { "en": "Inquiries are being made and culprits in detention.", "lg": "Okunoonyeraza kukolebwa era abazzi b'emisango mu kaduukulu." } }
{ "translation": { "en": "I wonder why she's more open to my friend than me.", "lg": "Neewuunya lwaki yeeyabiza nnyo mukwano gwange okusinga nze." } }
{ "translation": { "en": "She has taken the bicycle to the mechanic.", "lg": "Atutte eggaali ewa makanika." } }
{ "translation": { "en": "She drinks a cup of milk every morning.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The young girl was raped on her way to school.", "lg": "Omuwala omuto yakwatibwa bwe yali agenda ku ssomero." } }
{ "translation": { "en": "The government is working hand in hand with organizations to fight malnutrition.", "lg": "Gavumenti ekolera wamu n'ebitongole okulwanyisa endya embi." } }
{ "translation": { "en": "Youths are encouraged to be patient.", "lg": "Abavubuka bakubirizibwa okubeera abagumiikiriza." } }
{ "translation": { "en": "What are the signs and symptoms of Ebola virus?", "lg": "Akawuka ka Ebola kalina bubonero ki?" } }
{ "translation": { "en": "There have been complaints of coronavirus false myths on social media during the lockdown", "lg": "Wabaddewo okwemulugunya bintu ebikyamu ebyogerebwa ku mutimbagano ku kawuka akaleeta ssenyiga omukambwe." } }
{ "translation": { "en": "The leaders are going to demonstrate because of the poor pay.", "lg": "Abakulembeze bagenda kwegugunga olw'ensasula embi." } }
{ "translation": { "en": "He wants to sell his fridge to me.", "lg": "Ayagala kunguza ffiriigi ye." } }
{ "translation": { "en": "We traveled to the village last week.", "lg": "Twagenda mu kyalo wiiki ewedde." } }