translation
dict
{ "translation": { "en": "\"My body is weak, I cannot even move.\"", "lg": "\"Omubiri gwange munafu, sisobola na kutambula.\"" } }
{ "translation": { "en": "My mother called to wish me luck with my job interview this morning.", "lg": "Mmange yankubidde okunjagaliza emikisa mu kubuuzibwa kwange okw'omulimu amakya ga leero." } }
{ "translation": { "en": "Golf should be promoted in higher institutions of learning.", "lg": "Omuzannyo gwa goofu guteekeddwa okutumbulwa mu matendekero g'okusoma aga waggulu." } }
{ "translation": { "en": "He drank two glasses of wine.", "lg": "Yanywa ggiraasi z'envinnyo bbiri." } }
{ "translation": { "en": "The sport of golf hasn't been well promoted in Uganda.", "lg": "Omuzannyo gwa goofu tegutumbuddwa bulungi mu Uganda." } }
{ "translation": { "en": "Her father was a doctor.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "\"Wild animals like lions, buffaloes and elephants are common in the country.\"", "lg": "\"Ensolo z'omu nsiko nga empologoma, embogo n'enjovu bingi nnyo mu ggwanga.\"" } }
{ "translation": { "en": "How can we improve service delivery to our customers?", "lg": "Tuyinza kulongoosa tutya empeereza yaffe eri abawagizi baffe?" } }
{ "translation": { "en": "The communities should work together to strengthen unity.", "lg": "Abantu mu kitundu bateekeddwa okukolera awamu okusobola okunyweza obumu." } }
{ "translation": { "en": "Teachers should equip learners with the knowledge to guide them in the final examinations.", "lg": "Abasomesa bayina okuwa abayizi amagezi gabayambe mu bigezo by'akamalirizo." } }
{ "translation": { "en": "He has problems with his eyes and with his skin.", "lg": "Alina obuzibu ku maaso ne ku lususu lwe." } }
{ "translation": { "en": "What is the purpose of a coach on a team?", "lg": "Omutendesi aba na mugaso ki mu ttiimu?" } }
{ "translation": { "en": "Parents play an important role in their children's education.", "lg": "Abazadde bakola omulimu munene mu kusoma kw'abaana baabwe." } }
{ "translation": { "en": "What is the importance of making friends?", "lg": "Muganyulo ki oguli mu kukola emikwano?" } }
{ "translation": { "en": "The government pays her school fees.", "lg": "Gavumenti emusasulira ebisale by'essomero." } }
{ "translation": { "en": "The baby started crying when mother was leaving.", "lg": "Omwana yatandika okukaaba nga maama agenda." } }
{ "translation": { "en": "The ministry will partner with other organisations to improve coffee growing.", "lg": "Minisitule ejja kukwatagana n'ebitongole ebirala okutumbula okulima emmwanyi." } }
{ "translation": { "en": "He sang a song that he used to market his music studio.", "lg": "Yayimba oluyimba lwe yakozesa okulanga situdiyo ye." } }
{ "translation": { "en": "\"The other is Addis Ababa, Ethiopia\"", "lg": "\"Ekifo ekirala kye kya Addis Ababa, ethiopia.\"" } }
{ "translation": { "en": "What are the benefits of doing research?", "lg": "Miganyulo ki egiri mu kukola okunoonyereza?" } }
{ "translation": { "en": "He was not able to attend his sister's wedding because he was doing examinations.", "lg": "Teyasobodde kugenda ku mbaga ya mwannyina kubanga yabadde akola bigezo." } }
{ "translation": { "en": "How many power dams do we have in Uganda?", "lg": "Tulina amabibiro g'amasannyalaze ameka mu Uganda?" } }
{ "translation": { "en": "The receptionist told us about the ongoing riots outside the building.", "lg": "Ayaniriza abagenyi yatugamba ku kwekalakaasa okwali kugenda mu maaso wabweru w'ekizimbe." } }
{ "translation": { "en": "He took his family to the beach on Saturday.", "lg": "Yatwala famire ye ku bbiici ku Lwomukaaga." } }
{ "translation": { "en": "You have to respect your parents.", "lg": "Olina okussaamu bazadde bo ekitiibwa." } }
{ "translation": { "en": "Is Burundi part of the East African Community?", "lg": "Burundi nayo eri mu East African Community?" } }
{ "translation": { "en": "He has been running his business for ten years now.", "lg": "Bizineensi ye kati yakagikolera emyaka kumi." } }
{ "translation": { "en": "You need to wear a condom every time you have sex.", "lg": "Olina okwambala akapiira buli lwe weegatta." } }
{ "translation": { "en": "Dozens of studios have sprung up in the area.", "lg": "Situdiyo ezitalina mulamwa zijjudde mu kitundu." } }
{ "translation": { "en": "They lost their uncle and sister last year.", "lg": "Baafiirwa kojjaabwe/kitaabwe omuto ne muganda waabwe/mwannyinaabwe omwaka oguwedde." } }
{ "translation": { "en": "Market vendors and news anchors were allowed to work during the lockdown", "lg": "Abakola mu butale ne bannamawulire bakkirizibwa okukola mu kiseera ky'omuggalo." } }
{ "translation": { "en": "Priests have preached the gospel of unity.", "lg": "Abasumba babuulidde enjiri y'obwegassi." } }
{ "translation": { "en": "Everyone has their problems to solve.", "lg": "Buli omu alina ebizibu bye eby'okukolako." } }
{ "translation": { "en": "We received our bags in the morning.", "lg": "Twafuna ensawo zaffe ku makya." } }
{ "translation": { "en": "That car is so expensive.", "lg": "Eno emottoka ya beeyi nnyo." } }
{ "translation": { "en": "Some politicians rigged elections to become members of parliament.", "lg": "Bannabyabufuzi abamu babba obululu okufuuka ababaka ba paalamenti." } }
{ "translation": { "en": "The bad roads cause accidents every day.", "lg": "Enguudo amabi zireeta obubenje buli lunaku." } }
{ "translation": { "en": "What are some of the family planning methods?", "lg": "Enkola ki ezimu ez'ekizaalaggumba?" } }
{ "translation": { "en": "I don’t trust your information sources.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "What is the purpose of saving money in the bank?", "lg": "Okutereka ssente mu bbanka kya mugaso ki?" } }
{ "translation": { "en": "My parents own a banana plantation in Kamuli.", "lg": "Bazadde bange balina olusuku e Kamuli." } }
{ "translation": { "en": "She often visited her parents in the village.", "lg": "Yateranga okukyalira bazadde be mu kyalo." } }
{ "translation": { "en": "\"Being a big family, we have three servants at home.\"", "lg": "\"Olw'okuba nti famire yaffe nnene, tulina abakozi basatu awaka.\"" } }
{ "translation": { "en": "Communities lack funds to invest in fish farming.", "lg": "Ebitundu tebirina nsimbi kusiga mu kulunda byennyanja." } }
{ "translation": { "en": "There are few engineering students.", "lg": "Abayizi abakola obwa yinginiya batono." } }
{ "translation": { "en": "Educators reach young people who are far from one another to build a global network.", "lg": "Abayigisa batuuka ku bavubuka abato bangi abali ewala ne bannaabwe okuzimba olujegere lw'ebyempulizuganya olw'ensi yonna." } }
{ "translation": { "en": "Tell them the truth.", "lg": "Bagambe amazima." } }
{ "translation": { "en": "Roads should be constructed to ease the movement of cars.", "lg": "Enguudo ziteekeddwa okuzimbibwa okwanguya entambula y'emmotoka." } }
{ "translation": { "en": "He did not go to work today.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The teachers' strike lasted for three weeks.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "There were even reports about gunfights.", "lg": "Era waliwo n'ebigambibwa nti waaliwo okulwanagana kw'emmundu." } }
{ "translation": { "en": "What criteria is followed when appointing new Archbishops of Uganda?", "lg": "Nkola ki egobererwa mu kulonda bassaabalabirizi abapya mu Uganda?" } }
{ "translation": { "en": "We have not received any rain this month.", "lg": "Tetunnafuna nkuba omwezi guno." } }
{ "translation": { "en": "\"Palm trees are grown in Entebbe, Ssese Islands, Kalangala, and Jinja.\"", "lg": "\"Ebinazi birimibwa mu Entebbe, ebizinga by'e Ssese, Kalangala ne Jinja.\"" } }
{ "translation": { "en": "The Bible emphasizes that those who don't work will not eat.", "lg": "Bbayibuli ekkaatiriza nti abo abataakole tebajja kulya." } }
{ "translation": { "en": "Some officers have already been arrested.", "lg": "Abasirikale abamu baamala dda okukwatibwa." } }
{ "translation": { "en": "A good working rerationship between the employer and employee is significant.", "lg": "Enkolagana ennungi wakati w'omukozi ne mukama we ya mugaso nnyo" } }
{ "translation": { "en": "She is on a music tour in America.", "lg": "Atambuza bivvulu bye bya nnyimba mu Amerika." } }
{ "translation": { "en": "Going against the law is punishable.", "lg": "Bw'omenya amateeka obonerezebwa." } }
{ "translation": { "en": "Government Stock farmland has been encroached on by officials.", "lg": "Eddundiro lya gavumenti lyesenzezzaako abakungu." } }
{ "translation": { "en": "She was appointed as the Inspectorate of Government to fight corruption.", "lg": "Yalondebwa nga Kaliisoliiso wa Gavumenti okulwanyisa obukenuzi." } }
{ "translation": { "en": "Some locals have asked the president to lift the lockdown completely.", "lg": "Bannansi abamu basabye pulezidenti okuggyirawo ddala omuggalo." } }
{ "translation": { "en": "His son dropped out of school to pursue a career in fashion design.", "lg": "Mutabani we yava mu ssomero okutandika okukola mu by'emisono." } }
{ "translation": { "en": "There is poor hygiene at that health center.", "lg": "Waliwo obukyafu ku ddwaliro." } }
{ "translation": { "en": "She cares for her baby so much.", "lg": "Alabirira nnyo omwana we." } }
{ "translation": { "en": "Ugandans should always pay their water and also share water with the needy.", "lg": "Bannayuganda bulijjo balina okusasula amazzi gaabwe ate era bagabane amazzi n'abali mu bwetaavu." } }
{ "translation": { "en": "The officials were responding to the findings of the teams.", "lg": "Abakungu baali baanukula ebyali bizuuliddwa zi ttiimu." } }
{ "translation": { "en": "Uganda has both traditional and democratic leaders.", "lg": "Uganda erina abakulembeze ab'ennono n'abalondebwa." } }
{ "translation": { "en": "The teacher praised him for his intelligennce.", "lg": "Omusomesa yamuwaana olw'amagezi ge." } }
{ "translation": { "en": "He promised to give us more land.", "lg": "Yatusuubizza okutwongera okutuwa ettaka." } }
{ "translation": { "en": "The government is obliged to compensate people who are affected by its projects.", "lg": "Gavumenti eba erina okusasulira abo ababa bakoseddwa pulojekiti zaayo." } }
{ "translation": { "en": "What brings about drug shortage in hospitals?", "lg": "Ki ekireetera ebbula ly'eddagala mu malwaliro?" } }
{ "translation": { "en": "The operations in the north and east caused great destruction.", "lg": "Ebikwekweto mu bukiikakkono n'obuvanjuba byaleetawo okufiirizibwa okw'amaanyi." } }
{ "translation": { "en": "They used the art of photography to communicate this mess.", "lg": "Baakozesa ebifaananyi okumanyisa obubaka buno." } }
{ "translation": { "en": "The woman leader has served as a Member of Parliament for many years.", "lg": "Omukulembeze w'abakyala akoze ng'omubaka wa Paalimenti okumala emyaka mingi." } }
{ "translation": { "en": "They do not have enough money for treating the cattle.", "lg": "Tebalina ssente zimala ez'okujjanjaba ente." } }
{ "translation": { "en": "\"Uganda needs healthy, disciplined and responsible youth.\"", "lg": "\"Uganda yeetaaga abavubuka abalamu, ab'empisa era ab'obuvunaanyizibwa.\"" } }
{ "translation": { "en": "The groundbreaking ceremony will take place at our king's palace", "lg": "Omukolo ogw'okutongoza gujja kuba mu lubiri lwa kabaka waffe." } }
{ "translation": { "en": "The army protects people's lives and property.", "lg": "Amagye gakuuma obulamu bw'abantu n'ebintu byabwe." } }
{ "translation": { "en": "\"China has accused Zimbabwe of making a \"\"serious mistake\"\".\"", "lg": "China ennenyezza Zimbabwe olw'okukola ensobi ey'amaanyi." } }
{ "translation": { "en": "\"When they complained, they were told to ask the government to recruit more staff.\"", "lg": "\"Bwe beemulugunya, baabagamba basabe gavumenti eyongere ku muwendo gw'abakozi.\"" } }
{ "translation": { "en": "The youth should choose their leaders wisely.", "lg": "Abavubuka balina okulonda abakulembe baabwe n'amagezi." } }
{ "translation": { "en": "Education is the key to success.", "lg": "Okusoma kye kisumuluzo ky'obuwanguzi." } }
{ "translation": { "en": "Their contract with the government was terminated because of poor services.", "lg": "Endagaano yaabwe ne gavumenti yasazibwamu olw'obuweereza obubi." } }
{ "translation": { "en": "Refugees are hosted by other countries.", "lg": "Abanoonyiboobubudamu beebudama mu nsi ndala." } }
{ "translation": { "en": "This road was renovated by the people of this community.", "lg": "Abantu b'oku kyalo kino be badaabiriza oluguudo luno." } }
{ "translation": { "en": "Infrastructure like roads should be developed.", "lg": "Emizimbo ng'enguudo birina okuteekebwawo." } }
{ "translation": { "en": "The excitement that builds in the audiences arising from locals watching themselves is simply unbelievable.", "lg": "Engeri abantu gye basanyukamu nga beerabye ku lutimbe yeewuunyisa nnyo." } }
{ "translation": { "en": "The curfew restricts the movement of people who go to bars at night.", "lg": "Kafiyu akugira entambula y'abantu abagenda mu mabaala ekiro." } }
{ "translation": { "en": "She wants to join a tertiary institution.", "lg": "Ayagala kugenda mu ttendekero erya waggulu." } }
{ "translation": { "en": "\"Besides grass, cows also eat banana peelings.\"", "lg": "\"Nga oggyeeko omuddo, ente nazo zirya ebiwata.\"" } }
{ "translation": { "en": "The president took power over Uganda in nineteen eighty-six.", "lg": "Pulezidenti yeddiza obuyinza mu Uganda mu lukumi mu lwenda kinaana mu mukaaga." } }
{ "translation": { "en": "The games will start next week.", "lg": "Emizannyo gijja kutandika wiiki ejja." } }
{ "translation": { "en": "They went to buy food from the market.", "lg": "Baagenda kugula mmere mu katale." } }
{ "translation": { "en": "Women have taken up high positions in government.", "lg": "Abakazi bafunye ebifo ebya waggulu mu gavumenti." } }
{ "translation": { "en": "I do not know why women wear plastic nails.", "lg": "Simanyi lwaki abakazi beeteekako enjala ezitali za ddala." } }
{ "translation": { "en": "Some people were arrested during the by-elections.", "lg": "Abantu abamu baakwatibwa mu kulonda okwaddibwamu." } }
{ "translation": { "en": "The soup did not have any salt.", "lg": "Enva tezaabaddemu munnyo yadde." } }
{ "translation": { "en": "He is studying to confirm whether they are withdrawing a planned move.", "lg": "Yeetegereza alabe obanga basazaamu pulaani yaabwe." } }
{ "translation": { "en": "People will have the opportunity to participate in income-generating activities.", "lg": "Abantu bajja kufuna omukisa okwetaba mu mirimu egivaamu ssente." } }