translation
dict
{ "translation": { "en": "They are working on having the ambulances released.", "lg": "Bali mu kukola ku ky'okuta emmotoka ezitambuza abalwadde." } }
{ "translation": { "en": "The objective of the ferlowship is to improve on the various efforts by the government to morale boost teachers", "lg": "Ekiruubirira ky'olukungaana kwe kutumbula amaanyi ga gavumenti geteekamu okuzzaamu abasomesa amaanyi." } }
{ "translation": { "en": "There is a high rate of dropouts in our schools today.", "lg": "Okuwanduka mu ssomero kuli waggulu nnyo mu masomero gaffe leero." } }
{ "translation": { "en": "Legal changes have to take effect.", "lg": "Enkyukakyuka mu mateeka zirina okutandika okukola." } }
{ "translation": { "en": "Some hospitals were filled with coronavirus patients during the lockdown.", "lg": "Amalwaliro agamu gajjula abalwadde b'akawuka ka kkolona mu muggalo." } }
{ "translation": { "en": "People in villages rarely accept new technologies.", "lg": "Abantu mu byalo tebatera kwanguyirwa kukkiriza tekinologiya mupya." } }
{ "translation": { "en": "My brother is a specialist in brain surgery.", "lg": "Muganda wange muswo mukugu mu kulongoosa obwongo." } }
{ "translation": { "en": "Piggery is a good business for me to invest in.", "lg": "Okulunda embizzi mulimu mulungi okuteekamu ssente." } }
{ "translation": { "en": "There are very many thieves here.", "lg": "Ababbi bangi nnyo wano." } }
{ "translation": { "en": "The court Martial pushed the court session to the next day", "lg": "Kkooti y'amagye yayongezaayo olutuula lwa kkooti ku lunaku oluddako." } }
{ "translation": { "en": "We never saw and will never see certain animals and plants that once existed.", "lg": "Tetwalaba era tetuliraba bisolo n'ebimera ebimu ebyali bibaddewo." } }
{ "translation": { "en": "Our eyes play an important role in keeping us from danger.", "lg": "Amaaso gaffe gakola kinene nnyo mu kutuyamba obutagwa mu buzibu." } }
{ "translation": { "en": "The community should work out a mechanism to handle all the court cases.", "lg": "Abantu mu kitundu balina okuyiiya engeri y'okukwasaganyamu emisango gya kkooti." } }
{ "translation": { "en": "The community dialogue will be held for two weeks.", "lg": "Okwogerezeganya kw'ekyalo kujja kumala wiiki bbiri." } }
{ "translation": { "en": "The judge criticized the outrageous greed of some lawyers.", "lg": "Omulamuzi yakolokota obuluvu bwa bannamateeka abamu obusukkiridde." } }
{ "translation": { "en": "Roads have been damaged during the installation of water pipes.", "lg": "Enguudo zoonooneddwa mu nga bateekayo emikutu egitambuza amazzi." } }
{ "translation": { "en": "He promised to come back early.", "lg": "Yasuubizza okukomawo nga bukyali." } }
{ "translation": { "en": "Her uncle died in Kenya.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Kickboxing has many boxing levels.", "lg": "Omuzannyo gw'ebikonde ogw'ensambagere gulimu emitendera mingi." } }
{ "translation": { "en": "The best netball team represents the nation in international matches.", "lg": "Tiimu y'okubaka omupiira ekyasinga ekiikirira eggwanga mu mipiira gy'amawanga." } }
{ "translation": { "en": "The village was declared a disaster area after the floods.", "lg": "Ekyalo kyatwalibwa okuba ekifo eky'akatyabaga oluvannyuma lw'amataba." } }
{ "translation": { "en": "\"A girl was knocked by a car, she was lying down and not moving.\"", "lg": "\"Omuwala yatomerwa emmotoka, yali agalamidde wansi nga teyeenyeenya.\"" } }
{ "translation": { "en": "Quarantine centers have limited capacity of people to hold.", "lg": "Ebifo bya kkalantiini birina obusobozi butono okuteebwamu abantu." } }
{ "translation": { "en": "In 1977 he became a social worker with the department at the University.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "You are supposed to make your payment in the bank.", "lg": "Oteekeddwa kusasulira mu bbanka." } }
{ "translation": { "en": "Children need to be counselled.", "lg": "Abaana beetaaga okubudaabudibwa." } }
{ "translation": { "en": "The doctor advised my father to stop drinking alcohol.", "lg": "Ddokita yawa taata amagezi okulekera awo okunywa omwenge." } }
{ "translation": { "en": "I didn't know that babies can hear their mothers from a distance.", "lg": "Nnali simanyi nti abaana abato basobola okuwulira bamaama baabwe nga babali wala." } }
{ "translation": { "en": "Some areas are having network challenges which bring about ineffectiveness.", "lg": "Ebitundu ebimu birina okusoomooza kwa neetiwaaka ekireetawo obutakola birungi mirimu." } }
{ "translation": { "en": "East African countries spend more on defense than any other sector of government.", "lg": "Ensi za East Afirika zisaasaanya nnyo ku bukuumi okusinga ekintu ekirala kyonna." } }
{ "translation": { "en": "\"As soon as the thief saw the policeman, he ran away.\"", "lg": "\"Amangu ddala ng'omubbi alabye omupoliisi, yadduka.\"" } }
{ "translation": { "en": "Four people survived by holding onto pieces of the boat wreckage.", "lg": "Abantu bana baawonawo nga beekwata ku bipampagalo by'eryato." } }
{ "translation": { "en": "He was betrayed by his right hand man.", "lg": "Yalirwamu olukwe mukwano gwe ennyo." } }
{ "translation": { "en": "\"Given the current rainy season, only farmers are the beneficiaries of it.\"", "lg": "Mu kino ekiseera ky'enkuba balimi bokka be bakifunyemu." } }
{ "translation": { "en": "Golf has no age restrictions.", "lg": "Ggoofu taliiko bukwakkulizo ku myaka." } }
{ "translation": { "en": "My sister sings in the church choir.", "lg": "Muganda wange/mwannyinaze ayimbira mu kwaaya y'ekkanisa." } }
{ "translation": { "en": "Can you recommend to me some legal books I can read?", "lg": "Osobola okumbuulirayo ku bitabo by'amateeka bye nnyinza okusoma?" } }
{ "translation": { "en": "That land belongs to the church of Uganda.", "lg": "Ettaka lya Kkanisa ya Uganda enkulu." } }
{ "translation": { "en": "\"To achieve this, a change in mindset needs to happen.\"", "lg": "\"Okufuna kino, walina okubeerawo okukyuusa mu ndowooza.\"" } }
{ "translation": { "en": "\"Pigs have a gestation period of three months, three weeks, and three days.\"", "lg": "\"Embizzi zimala n'olubuto ebbanga lya myezi esatu, ssabbiiti ssatu n'ennaku ssatu.\"" } }
{ "translation": { "en": "Sit and wait for me to come back.", "lg": "Tuula onninde nkomewo." } }
{ "translation": { "en": "What is he going to do?", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Some school dropouts work on farms in villages.", "lg": "Abaana abamu abava mu masomero bakola ku masamba mu byalo." } }
{ "translation": { "en": "I haven't done anything since morning.", "lg": "Sirina kye naakoze okuva ku makya." } }
{ "translation": { "en": "The community bought a new bus.", "lg": "Ekitundu kyaguze bbaasi empya." } }
{ "translation": { "en": "That was a sign that he believes there should be a democracy.", "lg": "Ako kaali kabonero akalaga nti akkiriza nti wasaanidde okubaawo demokulasiya." } }
{ "translation": { "en": "She is charging her phone.", "lg": "Atadde ssimu ye ku masannyalaze kuteekako muliro." } }
{ "translation": { "en": "There are germs all around us.", "lg": "Kumpi buli we tubeera twetooloddwa obuwuka (germs)." } }
{ "translation": { "en": "He started playing football at a young age.", "lg": "Yatandika okusamba omupiira ng'akyali muto." } }
{ "translation": { "en": "All of us at home are good singers.", "lg": "Ffenna awaka tuli bayimbi balungi." } }
{ "translation": { "en": "The current regime has not done enough.", "lg": "Guno omulembe oguliko tegukoze kimala." } }
{ "translation": { "en": "The organisation was known for misusing resources.", "lg": "Ekitongole kyali kimanyiddwa olw'okukozesa obubi ebintu." } }
{ "translation": { "en": "Public institutions shall give equal treatment to all candidates and their agents.", "lg": "Ebitongole bya gavumenti bijja kuyisa kyenkanyi bonna abeesimbyewo n'abasigire baabwe." } }
{ "translation": { "en": "We are going to play hide and seek with our father.", "lg": "Tugenda kuzannya jangu onkwekule ne taata." } }
{ "translation": { "en": "The prisoners should be released from jail.", "lg": "Abasibe basaana okuyimbulwa mu kkomera." } }
{ "translation": { "en": "Any work man needs tools to operate.", "lg": "Omusajja omukozi yenna yeetaaga ebikozesebwa okukola." } }
{ "translation": { "en": "The ruling party won the elections for the third time.", "lg": "Ekibiina ekiri mu buyinza kyawangula okulonda omulundi ogw'okusatu" } }
{ "translation": { "en": "Gender and equity are important subjects in our society.", "lg": "Ekikula ky'omuntu n'obwenkanya kintu kikulu nnyo okwogerwako mu kitundu kyaffe." } }
{ "translation": { "en": "Everyone in the village attended the traditional ceremony.", "lg": "Buli omu ku kyalo yeetaba ku mukolo gw'ennono." } }
{ "translation": { "en": "What if she is pregnant?", "lg": "Watya ng'ali lubuto?" } }
{ "translation": { "en": "We should develop generic guidelines for supervision.", "lg": "Tusaanidde okussaawo obulagirizi basupavayiza bonna okutwalira awamu bwe balina okugoberera." } }
{ "translation": { "en": "My sister owns a retail shop near that church.", "lg": "Muganda wange alina edduuka lya ccakala okumpi n'ekkanisa eyo." } }
{ "translation": { "en": "That house is owned by a very rich man.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "He was laid to rest on Sunday.", "lg": "Yaziikibwa ku Sande." } }
{ "translation": { "en": "The Ugandan government will formally suspend the acceptance of refugees and asylum seekers.", "lg": "Gavumenti ya Uganda ejja kuyimiriza mu butongole okukkiriza ababudami n'abanoonya obuddukiro." } }
{ "translation": { "en": "\"In 1963, she moved with her parents to Kenya.\"", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The lawbreakers have been taken to the courts of law", "lg": "Abamenyi b'amateeka batwaliddwa mu mbuga z'amateeka" } }
{ "translation": { "en": "Our neighbour joined the Police Force last year.", "lg": "Muliraanwa waffe yeegatta ku Kitongole kya Poliisi omwaka oguwedde." } }
{ "translation": { "en": "The organisation will continue providing its services.", "lg": "Ekitongole kijja kugenda mu maaso n'okuwa obuweereza bwakyo." } }
{ "translation": { "en": "The bill was presented before parliament for discussion.", "lg": "Ebbago ly'etteeka lyayanjulwa eri paalimenti okulikubaganyaako ebirowoozo." } }
{ "translation": { "en": "The telecommunication companies followed the government's directive and removed social media taxes.", "lg": "Kkampuni z'ebyempuliziganya zaagoberera ekiragiro kya gavumenti ne zijja emisolo ku mikutu emigattabantu." } }
{ "translation": { "en": "What are the commonly used fish gears?", "lg": "Bintu ki ebisinga okukozesebwa okukwata ebyennyanja?" } }
{ "translation": { "en": "The couple has been married for thirty years.", "lg": "Abafumbo bamaze emyaka amakumi asatu mu bufumbo." } }
{ "translation": { "en": "The officer in charge of the new police post hates bribes.", "lg": "Omukulu akulira poliisi empya yakyawa enguzi." } }
{ "translation": { "en": "He had no idea what went wrong.", "lg": "Yali tamanyidde ddala ki ekyasoba." } }
{ "translation": { "en": "Show accountability for the money given to you.", "lg": "Laga embalirira ya ssente ezikuweebwa." } }
{ "translation": { "en": "Hawkers pushed their way into the bus to sell their goods to passengers.", "lg": "Abatembeeyi beekukuutiriza mu bbaasi okuguza abasaabaze ebintu byabwe." } }
{ "translation": { "en": "That country's team sang beautifully in the competitions.", "lg": "Ttiimu y'eggwanga eryo yayimba bulungi mu mpaka." } }
{ "translation": { "en": "\"She is daydreaming, watching bees visiting flowers.\"", "lg": "Yeefumiitiriza ku kulaba njuki nga zikyalira ebimuli." } }
{ "translation": { "en": "She consulted the teacher to help her with answering questions in the homework.", "lg": "Yeebuuzizza ku musomesa amuyambeko okwanukula ebibuuzo by'omulimu ogwamuweereddwa okukolera ewaka." } }
{ "translation": { "en": "There is a need for working together.", "lg": "Waliwo obwetaavu bw'okukolera awamu." } }
{ "translation": { "en": "Malaria kills more people than other diseases.", "lg": "Omusujja gwe'nsiri gutta abantu bangi okusinga endwadde endala." } }
{ "translation": { "en": "There are several kidnaps happening in the district now.", "lg": "Abantu bangi mu disitulikiti bawambiddwa." } }
{ "translation": { "en": "They need to pay their bills.", "lg": "Beetaaga okusasula ebisale byabwe ." } }
{ "translation": { "en": "I am home now.", "lg": "Ndi waka kati." } }
{ "translation": { "en": "The suspect fled the village.", "lg": "Ateeberezebwa okuzza omusango yadduse ku kyalo." } }
{ "translation": { "en": "The burning of the Nebbi National Resistance Movement chairman's building is under investigation .", "lg": "Okwaka kw'ekizimbe ssentebe wa National Resistance Movement e Nebbi kukyanoonyerezebwaako." } }
{ "translation": { "en": "The chairperson of the cooperative explained that they had set the launch date already.", "lg": "Ssentebe w'ekibiina ky'obwegassi yannyonnyodde nti baali baategeka dda olunaku lw'okutongoza." } }
{ "translation": { "en": "The baby has not yet learned how to talk properly.", "lg": "Omwana tannayiga bulungi kwogera." } }
{ "translation": { "en": "Parents are urged to play their role in educating their children.", "lg": "Abazadde bakubirizibwa okutuukiriza omulimu gwaabwe ogw'okusomesa abaana." } }
{ "translation": { "en": "Milk is a source of proteins and calcium which are good for the body.", "lg": "Amata nsibuko ya kiiriisa ekizimba omubiri n'ekigumya amagumba ebirungi eri omubiri." } }
{ "translation": { "en": "He is now more mindful of his financial expenditure.", "lg": "Kati mwegendereza nnyo ku nsaasaanya ye." } }
{ "translation": { "en": "I want to charge my phone.", "lg": "Essimu yange njagala kugissa ku muliro." } }
{ "translation": { "en": "The girl cried out loud when she heard about her friend's death.", "lg": "Omuwala yakuba omulanga bwe yawulira ku kufa kwa mukwano gwe." } }
{ "translation": { "en": "How much were you charged for transport?", "lg": "Baakusabye ssente mmeka ez'entambula?" } }
{ "translation": { "en": "The president may impose another lockdown due to an increase in the number of coronavirus cases.", "lg": "Pulezidenti ayinza okuzzaawo omuggalo olw'omuwendo gw'abalwadde ba corona ogweyongedde." } }
{ "translation": { "en": "People need to save income and establish stalls themselves.", "lg": "Abantu beetaaga okutereka ssente era batandikewo emidaala bo bennyini." } }
{ "translation": { "en": "Women have an arena for cooperating to oppose male dominance.", "lg": "Abakazi balina ekifo ky'okwegattira awamu okuwakanya obufuge bw'abasajja." } }
{ "translation": { "en": "The teachers advised the students to maintain personal hygiene.", "lg": "Abasomesa baakubiriza abayizi okwekuuma nga bayonjo." } }
{ "translation": { "en": "You can quit your job if you to.", "lg": "Osobola okulekulira omulimu gwo bw'oba nga oyagala." } }