translation
dict
{ "translation": { "en": "Which class are you in?", "lg": "Oli mu kibiina ki?" } }
{ "translation": { "en": "Why do you wake up early every morning?", "lg": "Lwaki okeera buli kumakya?" } }
{ "translation": { "en": "His job is to carry other people's luggage.", "lg": "Omulimu gwe gwa kwetikka migugu gy'abantu balala." } }
{ "translation": { "en": "Ten of the prisoners were returned to the country today.", "lg": "Abasibe kkumi ku bo bakomezeddwawo mu ggwanga leero." } }
{ "translation": { "en": "The Parliamentary chambers should be respected by the members.", "lg": "Ba mmemba balina okussa ekitiibwa mu kisenge kya paalimenti awateesebwa." } }
{ "translation": { "en": "Women believe in traditional birth attendants more than in hospital staff.", "lg": "Abakyala bakkiririza nnyo mu bazaalisa ab'ekinnansi okusinga abo mu malwaliro." } }
{ "translation": { "en": "These days men spend their time and money in sports betting.", "lg": "Ennaku zino abasajja bamalira obudde n'ensimbi zaabwe mu kusiba ku mizannyo." } }
{ "translation": { "en": "\"Meantime, the search for a substantive Chief Executive Office continues.\"", "lg": "\"Mu kiseera kino, okunoonya Ofiisa Omukulu ow'Okuntikko omukakafu kukyagenda mu maaso.\"" } }
{ "translation": { "en": "Steps are being taken to prevent gender-based violence.", "lg": "Waliwo ekikolebwa okutangira okutyoboola ddembe ly'obuntu eryesigamiziddwa ku kikula." } }
{ "translation": { "en": "More people are dying from coronavirus disease in Uganda", "lg": "Abantu bangi bafa ekirwadde kya ssenyiga omukambwe mu Uganda." } }
{ "translation": { "en": "The company has failed to pay its debts.", "lg": "Kkampuni eremereddwa okusasula amabanja gaayo." } }
{ "translation": { "en": "What are some of the wild birds?", "lg": "Ebimu ku binyonyi by'omu nsiko bye biriwa?" } }
{ "translation": { "en": "Most business people are not happy with the new taxes imposed on them.", "lg": "Abasuubuzi abasinga obungi si basanyufu n'emisolo emiggya egyabagerekebwako." } }
{ "translation": { "en": "Most old people are short-tempered.", "lg": "Abakadde abasinga obungi banyiiga mangu." } }
{ "translation": { "en": "My former school was the first school to receive the tablets.", "lg": "Essomero lyange lye nnasomerako lye lyasooka okuweebwa essimu z'embaati." } }
{ "translation": { "en": "Why do some students fail to pay school fees?", "lg": "Lwaki abayizi abamu balemererwa okusasula ebisale by'essomero?" } }
{ "translation": { "en": "We shall celebrate after passing the exams highly.", "lg": "Tujja kujaguza nga tuyitidde waggulu ebibuuzo." } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "People contributed funds towards the establishment of the bridge.", "lg": "Abantu baawaddeyo obuyambi okuzimba olutindo." } }
{ "translation": { "en": "Our house is ten kilometers away from the market", "lg": "Enyumba yaffe yeesudde mayiro kkumi okuva ku katale" } }
{ "translation": { "en": "Koboko Town college has master debaters.", "lg": "Essomero lya Koboko Town lirina abakubaganyi b'ebirowoozo abalungi." } }
{ "translation": { "en": "Refugee hosting communities need help address immediate problems.", "lg": "Ebitundu ebirimu Abanoonyiboobubudamu byetaaga obuyambi mu kukwata ku bizibu ebyamangu." } }
{ "translation": { "en": "More development is achieved when we work together.", "lg": "Bwe tukolera awamu enkulaakulana enyingi efunibwa." } }
{ "translation": { "en": "Most people think court is for the rich not the poor.", "lg": "Abantu abasinga balowooza nti kkooti eba y'abagagga so si baavu." } }
{ "translation": { "en": "There have been at least twenty landslides in that area in the past one hundred years.", "lg": "Wabaddewo okubumbulukuka kw'ettaka kwa mirundi nga makumi abiri mu myaka ekikumi egiyise." } }
{ "translation": { "en": "I really hate my former school.", "lg": "Mu butuufu nnakyawa essomero gye nnava." } }
{ "translation": { "en": "I work with local council leaders and police to follow up on the criminals.", "lg": "Nkolera wamu ne bassentebe awamu ne poliisi okulondoola abazzi b'emisango." } }
{ "translation": { "en": "My mother is sixty seven years old.", "lg": "Maama wange alina emyaka nkaaga mu musanvu." } }
{ "translation": { "en": "Lack of regulation of scrap dealers can result in problems.", "lg": "Okubulwa kw'ebiragiro ku batunda ebyuma ebikadde kiyinza okuvaamu ebizibu." } }
{ "translation": { "en": "Agriculture becomes difficult in dry areas.", "lg": "Obulimi n'obulunzi bifuuka kuzibu mu bitundu ebirimu omusana." } }
{ "translation": { "en": "Continuous violence can result in war.", "lg": "Okukozesa eryanyi okutatadde kuyinza okuvaamu olutalo." } }
{ "translation": { "en": "He has updated the database.", "lg": "Alina by'ayongedde mu tterekero lya data." } }
{ "translation": { "en": "He told us about the dangers of deforestation.", "lg": "Yatubuulira ku kabi akali mu kutema ebibira." } }
{ "translation": { "en": "The government urged people to stay connected with their churches while social distancing.", "lg": "Gavumenti ekubirizza abantu okusigala nga bakwatagana n'ekkanisa zaabwe nga beewa amabanga." } }
{ "translation": { "en": "The program aims at grooming students to be the leaders of tomorrow.", "lg": "Pulogulamu egenderera okuteekateeka abayizi okubeera abakulembeze b'enkya." } }
{ "translation": { "en": "The hole in the road was covered.", "lg": "Ekinnya ekyali mu luguudo kyazibibwa." } }
{ "translation": { "en": "The exercise book costs six hundred Ugandan shillings only.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The car got stuck in the mud.", "lg": "Emmotoka yatubidde mu bisooto." } }
{ "translation": { "en": "The seeds are in the pollen.", "lg": "Ensigo ziri mu luwungawunga olw'oku bimuli." } }
{ "translation": { "en": "The organization won't have enough revenue to pay all employee at once.", "lg": "Ebitongole tekijja kuba na nsimbi zimala kusasula bakonzi bonna mulundi gumu." } }
{ "translation": { "en": "He was accused of selling public land.", "lg": "Yavunaanibwa gwa kutunda ttaka lya gavumenti." } }
{ "translation": { "en": "Institutions of higher learning were reopened in November.", "lg": "Amatendekero aga waggulu gaggulwawo mu Gwakkuminagumu." } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "She is a news anchor at one of the radio stations.", "lg": "Musomi w'amawulire ku mukutu gwa leediyo ogumu." } }
{ "translation": { "en": "The president has removed taxes on roadside shops.", "lg": "Pulezidenti aggye omusolo ku maduuka agali ku mabbali g'enguudo." } }
{ "translation": { "en": "We shall have a seminar about how to manage success.", "lg": "Tujja kubaayo n'omusomo ku ngeri y'okukwatamu omukisa." } }
{ "translation": { "en": "How can we stop blood shade among people?", "lg": "Tuyinza tutya okukomya ekiyiwamusaayi mu bantu?" } }
{ "translation": { "en": "The friends took a group photograph while at the zoo.", "lg": "Ab'emikwano beekubya ekifaananyi nga bali wamu bwe baali ku kkuumiro ly'ebisolo." } }
{ "translation": { "en": "Workers are free to go back to school for further studies.", "lg": "Abakozi ba ddembe okuddayo ku ssomero okweyongerayo okusoma." } }
{ "translation": { "en": "Don’t ever speak to your elders while pocketing.", "lg": "Toyogeranga na bakulu ng'okutte mu nsawo." } }
{ "translation": { "en": "I would like to visit the palace someday.", "lg": "Nandyagadde okugendako mu lubiri olunaku lumu." } }
{ "translation": { "en": "My sister is two years older than me.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The government of Uganda introduced private sponsorship into public universities.", "lg": "Gvaumenti ya Uganda yatandikawo enkola y'abayizi okweweerera mu ssettendekero za gavumenti." } }
{ "translation": { "en": "The company has hired two new employees.", "lg": "Kkampuni eyingizza abakozi babiri abapya." } }
{ "translation": { "en": "A least number of people in Uganda live about up to eighty years.", "lg": "Abantu batono mu Uganda abawangaala okutuuka ku myaka kinaana." } }
{ "translation": { "en": "The lockdown resulted in girls spending more time with boys and men.", "lg": "Omuggalo gwaviirako abawala okumala obudde obungi n'abalenzi wamu n'abasajja." } }
{ "translation": { "en": "The students are graduating with first-class degrees.", "lg": "Abayizi abattikkirwa bayitidde mu ddaala erisooka." } }
{ "translation": { "en": "There was a fight between two local leaders yesterday.", "lg": "Waabaddewo okulwanagana wakati w'abakulembeze b'ekitundu ababiri olunaku lw'eggulo." } }
{ "translation": { "en": "She keeps praising her husband.", "lg": "Agenda mu maaso n'okuwaana bba." } }
{ "translation": { "en": "This kind of disease will be eradicated soon.", "lg": "Ekika ky'obulwadde kino kijja kumalibwawo mangu." } }
{ "translation": { "en": "Who talked to the gods?", "lg": "Ani yayogedde ne bakatonda?" } }
{ "translation": { "en": "This country has lost many important people over the years.", "lg": "Eggwanga lino lifiiriddwako abantu bangi ab'enkizo mu myaka egiyise." } }
{ "translation": { "en": "The doctor said she was safe to be discharged.", "lg": "Ddokita yagamba nti ali mu mbeera nnungi okusiibulwa." } }
{ "translation": { "en": "The total budget expenditure will be at least ten percent lower than intended.", "lg": "Ssente ezinaasaasaanyizibwa zijja kuba wansiko waakiri ebitundu kkumi ku buli kikumi ku zaali zisuubirwa." } }
{ "translation": { "en": "They were the winners of the netball trophy.", "lg": "Baawangula ekikopo ky'omuzannyo gw'okubaka emirundi egiwera." } }
{ "translation": { "en": "Rose Kaggwa revealed that the latest graduation attracted three hundred twenty-three graduates.", "lg": "Rose Kaggwa yayanjjizza nti amatikkirwa agaakaggwa gaalimu abaatikkirwa bisatu abiri mu basatu." } }
{ "translation": { "en": "The new maid has no experience with handling children.", "lg": "Omukozi w'awaka omupya talina bumanyirivu mu kulabirira abaana." } }
{ "translation": { "en": "Don’t touch my bag.", "lg": "Tokwata ku nsawo yange." } }
{ "translation": { "en": "Why should we give awards to students?", "lg": "Lwaki tulina okuwa abayizi ebirabo?" } }
{ "translation": { "en": "Limping animals can still survive longer.", "lg": "Ensolo eziwenyera zisobola okuwangaala." } }
{ "translation": { "en": "Farming is one of the main economic activities in sub-Saharan Africa.", "lg": "Okulima gwe gumu ku mirimu egisinga okukolebwa mu mawanga agali mu Afirika y'Obukiikaddyo bwa Sahara." } }
{ "translation": { "en": "Where does she stay?", "lg": "Abeera wa?" } }
{ "translation": { "en": "Voters should physically visit updated stations in their parish.", "lg": "Abalonzi balina okwetuukira webatereereza enkalala ku magombolola." } }
{ "translation": { "en": "EducatorsÕ attitude to be enhanced by the government and its associates.", "lg": "Endowooza z'abasomesa zaakusitulwa gavumenti ne banywanyi baayo." } }
{ "translation": { "en": "The law enforcement officers took away some of the goods confiscated from street vendors.", "lg": "Abakwasissa amateeka baatwala ebimu ku bintu by'abo abantundira ku nguudo." } }
{ "translation": { "en": "How can we ensure effective communication?", "lg": "Tuyinza kufuba tutya kukola empuliziganya ennungi?" } }
{ "translation": { "en": "The boy hid in the forest.", "lg": "Omulenzi yeekweka mu kibira." } }
{ "translation": { "en": "She became an orphan at a very young age.", "lg": "Yafuuka mulekwa ku myaka emito ddala." } }
{ "translation": { "en": "The father's union is aimed at drawing men in the church.", "lg": "Ekibiina ky'abasajja kiruubirira kuleeta baami mu kkanisa." } }
{ "translation": { "en": "We can choose among print publications as well as broadcast for different editorial positions.", "lg": "Tusobola okulondako ku mpapula wamu n'empewo ku bifo eby'okusunsula eby'enjawulo." } }
{ "translation": { "en": "This region is industrialized.", "lg": "Ekitundu kirimu kkampuni nnyingi." } }
{ "translation": { "en": "He studied at Makerere University.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Traders are free to import or export their products.", "lg": "Abasuubuzi ba ddembe okuyingiza oba okufulumya ebintu byabwe eggwanga." } }
{ "translation": { "en": "We walked for ten kilometers today.", "lg": "Twatambudde kiromita kkumi leero." } }
{ "translation": { "en": "My work license was stolen.", "lg": "Layisinsi yange enzikiriza okukola yabibbwa." } }
{ "translation": { "en": "The plant is poisonous and can lead to death if eaten.", "lg": "Ekimera ekyo kya butwa era kisobola okutta omuntu singa akirya." } }
{ "translation": { "en": "Changing water meter to commercial means selling to more people not only your tenants.", "lg": "Okukyusa mmita y'amazzi okuzza ku z'ettunzi kitegeeza kuguza abantu abalala abatali bapangisaabo bokka." } }
{ "translation": { "en": "The car is popularly known by many people in the community.", "lg": "Emmotoka emanyiddwa abantu bangi mu kitundu." } }
{ "translation": { "en": "Avoid information from untrusted sources like rumours.", "lg": "Weewale amawulire agava ku mikutu egiteesigika nga engambo." } }
{ "translation": { "en": "There are worms in the garden.", "lg": "Mu nnimiro mulimu ensiriŋŋanyi." } }
{ "translation": { "en": "What is considered bribery?", "lg": "Kiki ekitwalibwa okuba obuli bw'enguzi?" } }
{ "translation": { "en": "The motorcycle business is a source of income for many youths nowadays.", "lg": "Bizineesi ya ppikippiki abavubuka bangi ensangi zino bagifunamu ensimbi." } }
{ "translation": { "en": "Rules and regulations must be followed.", "lg": "Amateeka n'ebiragiro birina okugobererwa." } }
{ "translation": { "en": "\"Please don't drink and drive, terl a a sober friend to drive you home\"", "lg": "Tonywa n'ovuga gamba mukwano gwo atanywedde akuvuge akutwale ewaka." } }
{ "translation": { "en": "The district will include youth development projects in the next year's budget.", "lg": "Disitulikiti ejja kussa pulojekiti z'abavuka ez'okwekulaakulanya mu mbalirira y'omwaka ogujja." } }
{ "translation": { "en": "She stayed at her aunt's home when she was in primary school.", "lg": "Yabeeranga mu maka ga ssengaawe/nnyuna omuto ng'ali mu pulayimale." } }
{ "translation": { "en": "What happened at the bar?", "lg": "Kiki ekyabaddewo ku bbaala?" } }
{ "translation": { "en": "He is such an extravagant person when it comes to money.", "lg": "Muntu mwejeeguuzi nnyo bwe kituuka ku ssente." } }
{ "translation": { "en": "They paid thirty-three bail extensions before they were acquitted.", "lg": "Baasasula ssente ku kakalu ka kkooti emirundi asatu mu esatu nga tebannaba kwejeerezebwa." } }
{ "translation": { "en": "She owned the largest farm in the village.", "lg": "nan" } }