translation
dict
{ "translation": { "en": "We must register for the courses that we're going to take by tomorrow.", "lg": "Tuteekeddwa okwewandiisa mu ssomo lye twagala okutwala olw'enkya we lunaatuukira." } }
{ "translation": { "en": "Health workers distributed contraceptive pills to the women in our village.", "lg": "Abakozi mu byobulamu baagaba amakerenda agaziyiza okufuna olubuto eri abakyala b'oku kyalao kyaffe." } }
{ "translation": { "en": "Don’t hurt each other with the sticks.", "lg": "Temwerumya n'obuti." } }
{ "translation": { "en": "The football matches for this season will be aired on local television.", "lg": "Emipiira gya sizoni eno gijja kulagibwa ku ttivi za kuno." } }
{ "translation": { "en": "My brother is among the protesters who were arrested.", "lg": "Muganda wange y'omu ku beekalakaasi abaakwatiddwa." } }
{ "translation": { "en": "The bird flew its eggs to the nest.", "lg": "Ekinyonyi kyatadde amagi gaakyo mu kisu." } }
{ "translation": { "en": "She found out why he cheated.", "lg": "Yamanya ensonga lwaki omwami we yayenda." } }
{ "translation": { "en": "The police saved the thief from the people that wanted to beat him.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The British funded the locals' rebellion against their king.", "lg": "Abangereza baawagira abantu okujeemera kabaka waabwe." } }
{ "translation": { "en": "\"With the availability of good roads, businesses are most likely to grow.\"", "lg": "\"Nga waliwo enguudo ennungi, bizinensi ziba n'emikisa mingi okukula.\"" } }
{ "translation": { "en": "The economic war between America and China has extended to Africa.", "lg": "Olutalo lw'eby'enfuna oluli wakati wa Amerika ne China lutuuse ne mu Afirika." } }
{ "translation": { "en": "Systems require reforms to improve.", "lg": "Enkola zeetaaga okuzzibwa obuggya okulongooka." } }
{ "translation": { "en": "Where have you been?", "lg": "Obadde ludda wa?" } }
{ "translation": { "en": "Breastfeeding more than two babies at the same time can be a problem.", "lg": "Okuyonsa abaana abassukka mu babiri mu kiseera ky'ekimu kisobola okuba ekizibu." } }
{ "translation": { "en": "Pineapple juice is the best.", "lg": "Omubisi gw'ennaanansi gwe gusinga." } }
{ "translation": { "en": "Preparations to solve land disputes in Amuru are ongoing.", "lg": "Enteekateeka z'okugonjoola enkayaana ezikwata ku ttaka mu Amuru zigenda mu maaso." } }
{ "translation": { "en": "Road construction is taking place in the district.", "lg": "Okuzimba oluguudo kugenda mu maaso mu disitulikiti." } }
{ "translation": { "en": "Parents bought all craft items made by students in last year's graduation.", "lg": "Abazadde baagula eby'emikono byonna abayizi bye bakola mu kutikkirwa kw'omwaka oguwedde ." } }
{ "translation": { "en": "Last week we shifted to our new home.", "lg": "Wiiki ewedde twasengukira mu maka gaffe amapya." } }
{ "translation": { "en": "She likes chocolate ice cream.", "lg": "Ayagala nnyo ayisi kkuliimu wa kyokoleeti." } }
{ "translation": { "en": "The school offered to clean the church after the Sunday service.", "lg": "Essomero lyewaayo okulongoosa mu kkanisa oluvannyuma lw'okusaba kw'oku Ssande." } }
{ "translation": { "en": "My bedroom door has a silver handle.", "lg": "Oluggi lw'oku kisenge kyange luliko omunyolo gwa ffeeza." } }
{ "translation": { "en": "I narrowly survived being knocked by a car while I was on my way to work.", "lg": "Nnasimattukira watono okutomerwa emmotoka nga ŋŋenda ku mulimu." } }
{ "translation": { "en": "Women need a market for their products.", "lg": "Abakyala beetaaga akatale k'ebyamaguzi byabwe." } }
{ "translation": { "en": "There is discrimination amongst the district leaders.", "lg": "Waliwo okusosola mu bakulembeze ba disitulikiti." } }
{ "translation": { "en": "Several natural resources are available.", "lg": "Waliwo ebyobugagga eby'omu ttaka ebiwera." } }
{ "translation": { "en": "I was shocked when I was told that my father had died.", "lg": "Nafunamu ekyekango bwe nagambibwa nti taata wange yali afudde ." } }
{ "translation": { "en": "You need to have enough money to carry out a wedding ceremony these days.", "lg": "Ennaku zino olina kuba na ssente nnyingi okusobola okukola embaga." } }
{ "translation": { "en": "Girls' enrollment is dependent upon their age and their mother's level of schooling.", "lg": "Okwewandiisa kw'abaana abawala kusinzira ku myaka gyabwe n'obuyigirize bwa ba maama baabwe." } }
{ "translation": { "en": "I have three children.", "lg": "Nnina abaana basatu." } }
{ "translation": { "en": "People in Moyo have acquired skills and business knowledge.", "lg": "Abantu b'e Moyo baafunye obukugu n'amagezi mu byobusuubuzi." } }
{ "translation": { "en": "Parents lack the income to send their children to school.", "lg": "Abazadde tebalina ssente zitwala baana baabwe ku ssomero." } }
{ "translation": { "en": "I want to marry that lady.", "lg": "Njagala kuwasa mukyala oyo." } }
{ "translation": { "en": "They requested people to fundraise.", "lg": "Baasabye abantu okusonda ensimbi." } }
{ "translation": { "en": "The child kidnapper was sentenced to five years in prison.", "lg": "Eyawamba omwana yasalirwa emyaka etaano mu kkomera." } }
{ "translation": { "en": "\"When someone falls ill, they can go to any hospital.\"", "lg": "Omuntu bw'alwala asobola okugenda mu ddwaliro lyonna." } }
{ "translation": { "en": "They make money from nomination fees.", "lg": "Ssente bazifuna mu ezo eziweebwayo ng'abantu basembebwa." } }
{ "translation": { "en": "There is a high demand for water in the area.", "lg": "Waliwo obwetaavu bw'amazzi bungi mu kitundu." } }
{ "translation": { "en": "A new minister for Education and Sports was appointed.", "lg": "Minisita omuggya ow'Ebyenjigiriza n'Ebyemizannyo yalondebwa." } }
{ "translation": { "en": "There are very many snakes in the forest.", "lg": "Mu kibira mulimu emisota mingi." } }
{ "translation": { "en": "Concentrate on what you do best.", "lg": "Teeka nnyo ebirowoozo ku ky'osinga okukola." } }
{ "translation": { "en": "We shall never see anything like that again.", "lg": "Tetuliddamu kulaba kintu kiringa ekyo nate." } }
{ "translation": { "en": "The number of illiterates is alarming.", "lg": "Omuwendo gw'abatamanyi kusoma na kuwandiika gwewuniikiriza." } }
{ "translation": { "en": "Two thousand nineteen had wild bush fires which destroyed homes and displaced people.", "lg": "Nkumi bbiri mu kkumi na mwenda gwalimu omuliro ogwasaanyaawo amaka n'okusengula abantu." } }
{ "translation": { "en": "There may be a lot of changes within the company.", "lg": "Wayinza okubaawo enkyukakyuka nnyingi mu kampuni." } }
{ "translation": { "en": "Mobilise resources in an effort to prepare for disasters.", "lg": "Kungaanya e byetaagisa mu kaweefube w'okwetegekera ebibamba." } }
{ "translation": { "en": "It is assumed that men are good decision-makers.", "lg": "Kirowoozebwa nti abasajja balungi mu kukola okusalawo." } }
{ "translation": { "en": "Are there slums in Uganda?", "lg": "Mu Uganda mulimu ebifo eby'omugotteko?" } }
{ "translation": { "en": "We told her grandmother to forgive her.", "lg": "Twagamba jjajja omukazi amusonyiwe." } }
{ "translation": { "en": "What should the government do to raise education standards?", "lg": "Gavumenti eteekeddwa kukola ki okusitula omutindo gw'ebyensoma?" } }
{ "translation": { "en": "There are some young children that have penetrated the music industry in Uganda.", "lg": "Waliwo abaana abato abayingidde ekisaawe ky'okuyimba mu Uganda." } }
{ "translation": { "en": "The madman was very dirty and smelly.", "lg": "Omusajja omulalu yali addugala nnyo ate ng'awunya." } }
{ "translation": { "en": "We have the right to access information.", "lg": "Tulina obuweebwa okufuna amawulire." } }
{ "translation": { "en": "The cat has eaten several rats over the last two days.", "lg": "Kkapa eridde emmese eziwerera ddala mu nnaku ebbiri eziyise." } }
{ "translation": { "en": "\"During the lockdown, prices of some food items were high.\"", "lg": "\"Mu biseera by'omuggalo, emiwendo gy'ebintu ebimu gyali waggulu.\"" } }
{ "translation": { "en": "\"In total, the rehabilitated land is three hundred twenty hectares in Mombasa.\"", "lg": "\"Omugatte, ettaka eriddaabiriziddwa e Mombaasa liri yiika bisatu mu abiri.\"" } }
{ "translation": { "en": "You only get paid if you complete the tasks assigned to you", "lg": "Osasulwa singa omaliriza obuvunaanyizibwa obukuwereddwa" } }
{ "translation": { "en": "I am making twenty years next month.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "People need to have access to good water sources.", "lg": "Abantu beetaaga okufuna we bajja amazzi amalungi." } }
{ "translation": { "en": "He got married last year.", "lg": "Yawasa omwaka oguwedde." } }
{ "translation": { "en": "Where will the meeting be held?", "lg": "Olukiiko lunaatuula wa?" } }
{ "translation": { "en": "The manager announced that our company has hired a new employee.", "lg": "Maneja yalangirira nti kkampuni yaffe yafunye omukozi omupya." } }
{ "translation": { "en": "Students are advised to participate in sports activities.", "lg": "Abayizi baweebwa amagezi okwenyigira mu byemizannyo." } }
{ "translation": { "en": "Tax fraud is increasing.", "lg": "Okufera omusolo kweyongedde." } }
{ "translation": { "en": "The truck has just delivered the building materials to the site.", "lg": "Loole ebadde yaakaleeta eby'okuzimbisa mu kifo we bazimba." } }
{ "translation": { "en": "She started counting from the front bench.", "lg": "Yatandika okubala okuva ku ntebe ey'omu maaso." } }
{ "translation": { "en": "Good builders need good quality construction materials to build a good house.", "lg": "Abazimbi abalungi beetaaga ebizimbisibwa eby'omutindo omulungi okuzimba ennyumba ennungi." } }
{ "translation": { "en": "Hoters and bars in areas near the stadium make a lot of money during home games.", "lg": "Wooteeri n'amabaala agaliraanye ebisaawe gakola ssente nnyingi nga waliwo emizannyo gy'awaka." } }
{ "translation": { "en": "There was a lot of air pollution in Kampala last month.", "lg": "Waaliwo okwonoona empewo kungi mu Kampala omwezi oguyise." } }
{ "translation": { "en": "No decision has been made yet.", "lg": "Tewali kusalawo kwakoleddwa." } }
{ "translation": { "en": "Her mother encouraged her to first finish school.", "lg": "Maama we yamukubiriza asooke amalirize okusoma." } }
{ "translation": { "en": "It is good to listen to people's advice.", "lg": "Kirungi okuwuliriza amagezi g'abantu." } }
{ "translation": { "en": "During this time she worked heavily with street children.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The press is a platform for popular causes.", "lg": "Amawulire kye kituuti okwogerebwa ensonga ezikosa abantu bonna." } }
{ "translation": { "en": "This is a unique phenomenon.", "lg": "Kino ekitalo kya njawulo." } }
{ "translation": { "en": "The hospitals lack drugs to treat people.", "lg": "Amalwaliro tegaliimu ddagala kujjanjaba bantu ." } }
{ "translation": { "en": "Time waits for no man.", "lg": "Ebiseera tebirinda." } }
{ "translation": { "en": "She joined all the pieces to make grandmother's bag", "lg": "Yayunze obutundutundu bwonna okukola ensawo ya jjajja omukazi." } }
{ "translation": { "en": "The driver parked on the wrong side of the road.", "lg": "Ddereeva ekidduka yakisimba ku ludda lw'oluguudo olukyamu." } }
{ "translation": { "en": "The band leader addressed the audience at the end of the concert.", "lg": "Akulira bbandi yayogeddeko eri abantu oluvannyuma lw'ekivvulu." } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "This is the largest Ebola outbreak in the Democratic Republic of Congo.", "lg": "Kuno kwe kubalukawo kwa Ebola okukyasinze mu Democratic Republic eya Kongo." } }
{ "translation": { "en": "Hugs are a sign of friendship.", "lg": "Okunywegeragana kabonero akalaga omukwano." } }
{ "translation": { "en": "Two agriculturalists wrote a report about tomato growing.", "lg": "Abalimi babiri baawandiika alipoota ku kulima ennyaanya." } }
{ "translation": { "en": "His brother serves in the army of Uganda.", "lg": "Muganda we aweereza mu maggye." } }
{ "translation": { "en": "Christian families yieldgood future citizens of the nation.", "lg": "Amaka amakrisitaayo gavaamu abantu b'eggwanga abalungi." } }
{ "translation": { "en": "The school has a water leakage problem.", "lg": "Essomero lirina obuzibu bw'amazzi okukulukuta." } }
{ "translation": { "en": "The media rarery reports on the recovered coronavirus cases", "lg": "Amawulire tegatera kwogera ku bantu bawonye kawuka ka kolona." } }
{ "translation": { "en": "She brought many gifts for her parents to thank them for raising her well.", "lg": "Yaleetera bazadde b'omuwala ebirabo bingi nga abeebaza okumukuza obulungi." } }
{ "translation": { "en": "The deceased advocated for growth and unity for everyone in society.", "lg": "Omugenzi yalwanirira okukula n'obumu bwa buli omu mu kitundu." } }
{ "translation": { "en": "He attended one of the best technology universities in Uganda.", "lg": "Yasomera mu emu ku zi yunivaasite za tekinologiya ezisinga obulungi mu Uganda." } }
{ "translation": { "en": "My mother makes sure that we are all away by seven in the morning.", "lg": "Mmange afuba okulaba nti we ziwerera ssaawa emu ez'okumakya ffenna tuba tuvuddewo ewaka." } }
{ "translation": { "en": "The government encouraged school administrators to provide lunch to students.", "lg": "Gavumenti yakubiriza abakulembeze b'amasomero okuwa abayizi ekyemisana." } }
{ "translation": { "en": "This year's presidential debate was very vibrant.", "lg": "Okukubaganya ebirowoozo wakati w'abeesimbawo ku bwa pulezidenti omwaka guno kwalimu ebbugumu." } }
{ "translation": { "en": "Most leaves are green in color.", "lg": "Ebikoola ebisinga bya kiragala." } }
{ "translation": { "en": "I am going to clean the bicycle.", "lg": "Ŋŋenda kulongoosa ggaali." } }
{ "translation": { "en": "Many people want to buy that house because it has a big compound.", "lg": "Abantu bangi baagala okugula ennyumba eyo kubanga erina oluggya lunene." } }
{ "translation": { "en": "Did you brush your teeth in the morning?", "lg": "Wasenyezza amannyo go ku makya?" } }
{ "translation": { "en": "My brother is fond of pointing out my mistakes.", "lg": "Muganda wange atera kunnoonyaamu nsobi." } }
{ "translation": { "en": "He could have listened to his grandmother's warning.", "lg": "Yaaliwulirizza okulabulwa kwa jjajjaawe omukazi." } }