translation
dict
{ "translation": { "en": "Are you a citizen of Uganda?", "lg": "Oli munnansi wa Uganda?" } }
{ "translation": { "en": "The Indians became traders and took control of some businesses.", "lg": "Abayindi bafuuka basuubuzi n'ebeddiza bizinensi ezimu." } }
{ "translation": { "en": "She has been appointed as the new prime minister of Uganda.", "lg": "Alondeddwa nga ssaabaminisita wa Uganda omuggya." } }
{ "translation": { "en": "This disease spreads so easily from one person to another.", "lg": "Obulwadde buno busaasaana mangu okuva ku muntu omu okudda ku mulala." } }
{ "translation": { "en": "My brother has gone to fetch water from the tap.", "lg": "Muganda wange agenze kukima mazzi ku ttaapu." } }
{ "translation": { "en": "\"When farmers get information about disease outbreaks early, it helps them to plan better.\"", "lg": "\"Abalimi bwe bamanyisibwa amangu ku kubalukawo kw'obulwadde, kibayambako okweteekateeka obulungi\"" } }
{ "translation": { "en": "On teachers day they were cautioned to love their students like their own.", "lg": "Ku lunaku lw'abasomesa baakubirizibwa okwagala abayizi baabwe nga abaabwe." } }
{ "translation": { "en": "Many girls do not like participating in sports activities.", "lg": "Abawala bangi tebaagala kwenyigira mu bya mizannyo." } }
{ "translation": { "en": "Mothers are discouraged about postnatal care because no medical checkup is done.", "lg": "Bamaama baggwamu amaanyi ku lw'okulabirirwa nga bamaze okuzaala kubanga tewali kukeberebwa kukolebwa." } }
{ "translation": { "en": "The district officials have given directives to demarcate the quarry.", "lg": "Abakungu ba disitulikiti bawadde ebiragiro okulamba ensalosalo z'ekirombe." } }
{ "translation": { "en": "The public rerations officer informs the public about the ongoing activities.", "lg": "Omukwanaganya wa kkampuni n'abantu ategeeza abantu ku bigenda mu maaso." } }
{ "translation": { "en": "The people thanked the government for giving them aid.", "lg": "Abantu beebaza gavumenti olw'okubawa obuyambi." } }
{ "translation": { "en": "The board is made up of nine directors.", "lg": "Olukiiko lutuulako ba dayirekita mwenda." } }
{ "translation": { "en": "She is a hardworking woman.", "lg": "Mukazi mukozi nnyo." } }
{ "translation": { "en": "He will be waiting from prison.", "lg": "Ajja kulindira mu kkomera." } }
{ "translation": { "en": "What kind of fruits does the palm tree bear?", "lg": "Ekisansa kivaako bibala ki?" } }
{ "translation": { "en": "The university students will resume their studies next month.", "lg": "Abayizi ba yunivaasite bajja kuddamu okusoma omwezi ogujja." } }
{ "translation": { "en": "The president sent a representative to their meeting.", "lg": "Pulezidenti yabasindika omusigire mu lukiiko lwabwe." } }
{ "translation": { "en": "He held a press conference to address the political situation in Uganda.", "lg": "Yakubye olukungaana lwa bannamawulire okwogera ku mbeera y'eby'obufuzi mu ggwanga." } }
{ "translation": { "en": "They have kidnapped my son.", "lg": "Bawambye mutabani wange." } }
{ "translation": { "en": "Drought is one of the causes of poverty in this country.", "lg": "Ekyeye y'emu ku nsonga ezireeta obwavu mu ggwanga lino." } }
{ "translation": { "en": "We suspect our neighbor to be a cannibal.", "lg": "Muliraanwa waffe tumuteebereza okubeera omuli w'abantu." } }
{ "translation": { "en": "The city traders went on a one-week strike.", "lg": "Abasuubuzi b'omu kibuga beekalakaasa okumala wiiki emu." } }
{ "translation": { "en": "A needle and a thread are some of the materials required to make reusable pads.", "lg": "Empiso ne wuzi bye bimu ku bintu e byetaagisa okukola ppamba w'ekikyala addibwamu." } }
{ "translation": { "en": "I am not ready to be a father.", "lg": "Siri mwetegefu kufuuka taata." } }
{ "translation": { "en": "My children were excited to see the giraffes.", "lg": "Abaana bange baasanyuka okulaba entugga." } }
{ "translation": { "en": "The leopard walked slowly to capture its prey.", "lg": "Engo yatambula mpola okusobola okukwata omuyiggo gwaayo." } }
{ "translation": { "en": "\"Be honest and transparent, please.\"", "lg": "Beera mwesimbu ate omwerufu bambi." } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "They held a fundraising drive for the construction of a new church.", "lg": "Baasolooza ssente ez'okuzimba esinzizo eppya." } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The vegetables are washed before cooking to remove any dirt.", "lg": "Enva endiirwa zoozebwa nga tezinnafumbibwa okusobola okuziggyako obukyafu bwonna." } }
{ "translation": { "en": "My noisy neighbours are ruining my life.", "lg": "Baliraanwa bange abawoggana bakosa obulamu bwange." } }
{ "translation": { "en": "Farmers have increased agricultural output.", "lg": "Abalimi bongedde ku makungula." } }
{ "translation": { "en": "Some babies are born before nine months.", "lg": "Abaana abamu bazaalibwa nga emyezi mwenda teginnawera." } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Children in Uganda face multiple challenges for survival.", "lg": "Abaana mu Uganda bayita mu bizibu nkumu okusobola okubeerawo." } }
{ "translation": { "en": "The minister for lands is sick.", "lg": "Minisita w'eby'ettaka mulwadde." } }
{ "translation": { "en": "The vendors are stranded with their goods outside the market.", "lg": "Abasuubuzi bali awo ebweru w'akatale nga tebamanyi kya kukolera by'amaguzi byabwe." } }
{ "translation": { "en": "We were told to dress decently.", "lg": "Baatugamba okwambala obulungi." } }
{ "translation": { "en": "Tourism will improve Uganda's economy in the coming years.", "lg": "Obulambuzi bujja kutumbula ebyefuna bya Uganda mu myaka egijja." } }
{ "translation": { "en": "Some parents frustrate the grooms by asking for a lot of money for the bride price.", "lg": "Abazadde abamu bafubira abagole abasajja nga basaba omutwalo ogw'essente ennyingi ennyo." } }
{ "translation": { "en": "Some men and women are often reluctant to report violence cases.", "lg": "Abasajja n'abakyala abamu emirundi egisinga bagayaala okuwaaba emisango gy'obutabanguko ." } }
{ "translation": { "en": "Cutting down trees for burning charcoal is affecting the natural environment.", "lg": "Okutema emiti egy'okwokyamu amanda kikosa obutonde bw'ensi obwetoolodde." } }
{ "translation": { "en": "National Water and Sewerage Corporation has trained about one thousand people.", "lg": "National water and Sewerage Corporation ebangudde abantu nga lukumi." } }
{ "translation": { "en": "The council has set up rubbish pits in all centers to maintain cleanliness.", "lg": "Akakiiko kataddewo awateekebwa kasasiro mu bitundu byonna okukuuma obuyonjo." } }
{ "translation": { "en": "He grows his flowers in a greenhouse.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The savings group is composed of people of different cultures.", "lg": "Ekibiina ekiterekebwamu ensimbi kibeeramu abantu ab'obuwangwa obw'enjawulo." } }
{ "translation": { "en": "Investments help us generate revenue.", "lg": "Okusiga ssente kituyamba okufuna omusolo." } }
{ "translation": { "en": "We are going to play with the boys.", "lg": "Tugenda kuzannya n'abalenzi." } }
{ "translation": { "en": "Some dreams are so close to reality.", "lg": "Ebirooto ebimu byekuusa ku bibaawo mu buliwo." } }
{ "translation": { "en": "Some people settle in national game parks because they like green vegetation.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "He doesn’t know how to use a computer.", "lg": "Tamanyi kukozesa kompyuta." } }
{ "translation": { "en": "The two classmates made a bet on who will win tonight's match.", "lg": "Abayizi ababiri ab'ekibiina ekimu baasiba ku ani anaawangula omuzannyo gwa leero." } }
{ "translation": { "en": "Our mission is to support single mothers to start small businesses to support themselves.", "lg": "Ekiruubirirwa kyaffe kya kuyamba bamaama abali obw'omu okutandikawo bizineesi entono okweyimirizaawo." } }
{ "translation": { "en": "Over speeding can lead to road accidents.", "lg": "Okuvuga endiima kisobola okuviirako obubenje ku nguudo." } }
{ "translation": { "en": "He is the best author of African books.", "lg": "Ye muwandiisi w'ebitabo by'Abafirika asinga." } }
{ "translation": { "en": "The results of the match are still unknown.", "lg": "Ebyavudde mu luzannya na kati tebinnamanyika." } }
{ "translation": { "en": "I can always count on you.", "lg": "Nsobola okukwesiga bulijjo." } }
{ "translation": { "en": "Can one self-test for coronavirus from home?", "lg": "Omuntu asobola okwekebera ekirwadde kya korona awaka?" } }
{ "translation": { "en": "\"Most fishermen engage in the fishing of silverfish, tilapia and Nile perch.\"", "lg": "\"Abavubi abasinga beenyigira mu kuvuba mukene, engege n'empuuta.\"" } }
{ "translation": { "en": "Some of the money will be given to the security forces.", "lg": "Ensimbi ezimu zijja kuwebwa abakuuma ddembe." } }
{ "translation": { "en": "They signed a peace agreement at the beginning of this year.", "lg": "Bassa emikono ku ndagaano y'emirembe ku ntandikwa y'omwaka guno." } }
{ "translation": { "en": "There were a few yellow cards in today's football game.", "lg": "Mu muzannyo gwa leero mwabaddemu kaadi za kyenvu ntonotono." } }
{ "translation": { "en": "The company now has a new branch.", "lg": "Kampuni kati yaggulawo ettabi eppya." } }
{ "translation": { "en": "He was the company president for eight years.", "lg": "Ye yali pulezidenti wa kkampuni okumala emyaka munaana." } }
{ "translation": { "en": "The government has not provided support to the district.", "lg": "Gavumenti tewadde buwagizi eri disitulikiti." } }
{ "translation": { "en": "He hasn't produced a report for his final year project.", "lg": "Tannawaayo alipoota esembayo ekwata ku pulojekiti ye." } }
{ "translation": { "en": "I want to learn some cultural dances.", "lg": "Njagala kuyigayo ku mazina g'ekinnansi." } }
{ "translation": { "en": "What have you discovered so far?", "lg": "Biki bye waakazuula?" } }
{ "translation": { "en": "If you are irresponsible there is careressness about the results of your actions.", "lg": "Bw'oba tolina buvunaanyizibwa wabeerawo obulagajjavu mw'ebo ebiva mu by'okola." } }
{ "translation": { "en": "Refugees have a right to the labor market and to establish businesses.", "lg": "Ababudami balina eddembe okunoonya n'okutondawo emirimu wamu n'okutandikawo bizinensi." } }
{ "translation": { "en": "Uganda's favorable soil conditions and climate have contributed to the country's agricultural success.", "lg": "Ettaka lya Uganda ejjimu n'embeera y'obudde ennungi bikulaakulanyizza ebyobulimi n'obulunzi mu ggwanga." } }
{ "translation": { "en": "There are somethings that are not supposed to be talked about in public.", "lg": "Waliwo ebintu ebimu ebitalina kwogerwa mu lujjudde lw'abantu." } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "I was asked to pay for drugs at the health center.", "lg": "Naasabibwa okusasula eddagala mu ddwaliro." } }
{ "translation": { "en": "The role of the army forces is to protect the people of the country from external enemies.", "lg": "Omulimu gw'amagye kwe kukuuma abantu b'eggwanga ku balabe okuva ebweru." } }
{ "translation": { "en": "The army has been able to maintain peace and stability in the country.", "lg": "Eggye lisobodde okukuuma eddembe n'obutebenkevu mu ggwanga." } }
{ "translation": { "en": "The chairman requested us to meet and resolve the issues.", "lg": "Ssentebe yatusabye tusisinkane tugonjoole ensonga." } }
{ "translation": { "en": "Genuine revolutions never take back the values they hold dear.", "lg": "Ebibiina ebirwanirira enkyukakyuka mu bwesimbu tebiggyawo mitindo bye gitwala nga mikulu." } }
{ "translation": { "en": "The emergency phase was a stressful one.", "lg": "Akaseera k'akazigizigi kaali keeraliikiriza." } }
{ "translation": { "en": "Activities to ensure a healthy population are being advised by the Ministry of Health", "lg": "Ebintu ebiyamba abantu okubeera abalamu biri mu kuwabulwa aba minisitule y'ebyobulamu." } }
{ "translation": { "en": "They are hard-working.", "lg": "Bakozi nnyo." } }
{ "translation": { "en": "How do you manage adolescent problems?", "lg": "Okwasaganya otya ebizibu by'abaana abavubuka?" } }
{ "translation": { "en": "Has he stamped the letter?", "lg": "Ebbaluwa agikubyeko sitampu?" } }
{ "translation": { "en": "Travelers had to pay for their hotel rooms where they were quarantined.", "lg": "Abatambuze baalina okwesasulira ebisenge bya wooteeri gye baali babatadde mu kalantiini." } }
{ "translation": { "en": "We need more for the project.", "lg": "Twetaaga ebirala ku pulojekiti." } }
{ "translation": { "en": "She makes good quality liquid soap.", "lg": "Akola ssabuuni w'amazzi omulungi." } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Some companies are excused from paying taxes for a given period of time.", "lg": "Kkampuni ezimu zisonyiyibwa okuwa emisolo okumala ekiseera ekigere." } }
{ "translation": { "en": "Some football fans are obsessed with the sport.", "lg": "Abawagizi b'omupiira gw'ebigere abamu omuzannyo baagutamiira bwenge." } }
{ "translation": { "en": "Prominent people in our town are contesting for the seat.", "lg": "Abantu abatutumufu mu kibuga kyaffe beesimbyewo ku kifo." } }
{ "translation": { "en": "Don’t be scared about the floods.", "lg": "Totya mataba." } }
{ "translation": { "en": "The children rebelled against their curfew rules.", "lg": "Abaana bagyemera amateeka gaabwe aga kafiyu." } }
{ "translation": { "en": "The motorcycle was stolen when he was deep asleep.", "lg": "Ppikipiki yabbibwa nga yeebase nnyo." } }
{ "translation": { "en": "Experts say bickering among government officials could scare away prospective investors", "lg": "Abakugu bagamba okuyombagana mu bakungu ba gavumenti kiyinza okutiisa bamusigansimbi." } }
{ "translation": { "en": "The milkman is friendly with his customers.", "lg": "Omusajja atunda amata akola omukwano ku bakasitoma be." } }
{ "translation": { "en": "The deceased loved dogs so much!", "lg": "Omugenzi yali ayagala nnyo embwa!" } }
{ "translation": { "en": "She has a skin rash on her face.", "lg": "Yabutuka ku maaso." } }
{ "translation": { "en": "Poor hygiene leads to diseases like cholera", "lg": "Obukyafu buvaako endwadde nga kkolera." } }