translation
dict
{ "translation": { "en": "He planted oranges in the garden.", "lg": "Yasimba emicungwa mu nnimiro." } }
{ "translation": { "en": "Football fans give hope and motivate players on the pitch.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "I cried because she was crying.", "lg": "Nnakaaba kubanga yali akaaba." } }
{ "translation": { "en": "A protocol for the establishment of the East Africa Monetary Union was signed.", "lg": "Endagaano etandikawo ssente ya East Afirika ey'awamu yateekebwako emikono." } }
{ "translation": { "en": "I can speak six languages.", "lg": "Nsobola okwogera ennimi mukaaga." } }
{ "translation": { "en": "We have a very good strategy in defeating this line of business.", "lg": "Tulina ppulaani ennungi enneetusobozesa okuwangula bizineesi eno." } }
{ "translation": { "en": "The Uganda prison service heed to the presidential directives.", "lg": "Ekitongole ky'amakomera kyafaayo ku biragiro by'omukulembeze w'eggwanga." } }
{ "translation": { "en": "They were arrested for vandalizing school property.", "lg": "Baakwatiddwa olw'okwonoona ebintu by'essomero." } }
{ "translation": { "en": "My little boy is growing up so fast.", "lg": "Mutabani wange omuto akula mangu nnyo." } }
{ "translation": { "en": "Working together is a key to development .", "lg": "Okukolera awamu kye kisumuluzo ky'enkulaakulana." } }
{ "translation": { "en": "The young girl has enough money to look after her child.", "lg": "Omuwala omuto alina ssente ezimala okulabirira omwana we." } }
{ "translation": { "en": "People shouldn't carry out mob justice.", "lg": "Abantu tebalina kutwalira mateeka mu ngalo." } }
{ "translation": { "en": "The clergy were ready to begin the celebrations.", "lg": "Bannaddiini baali beetegefu okutandika ebijaguzo." } }
{ "translation": { "en": "Never take your friends for granted.", "lg": "Mikwano gyo togigyagyamya." } }
{ "translation": { "en": "Children grow up with guardians these days.", "lg": "Abaana ennaku zino bakula na bakuza." } }
{ "translation": { "en": "The case files are missing from the court.", "lg": "Ffayiro z'emisango gibula mu kkooti." } }
{ "translation": { "en": "Everyone requires a national identity card to vote in this year's elections.", "lg": "Buli omu yeetaaga endagamuntu okulonda mu kalulu k'omwaka guno." } }
{ "translation": { "en": "\"\"\"I was doing house chores when my friends visited me.\"", "lg": "\"\"\"Nali nkola mirimu gya waka mikwano gyange we gyankyalira.\"" } }
{ "translation": { "en": "The community needs to support religious leaders.", "lg": "Ab'ekitundu beetaaga okuwagira abakulembeze b'amaddiini." } }
{ "translation": { "en": "The Ministry of Education and sports has successfully created an ESSP draft which will be shared at a consultative workshop.", "lg": "Minisitule y'ebyenjigiriza n'ebyemizannyo eteeseteese bulungi ebbago lya ESSP erinaagabanyizibwa mu musomo gw'okwebuuza." } }
{ "translation": { "en": "Some people cut trees for charcoal burning.", "lg": "Abantu abamu batema emiti kukola manda." } }
{ "translation": { "en": "Most of the crimes are investigated by the police.", "lg": "Emisango egisinga obungi poliisi y'eginoonyerezaako." } }
{ "translation": { "en": "She planted those tomatoes in March.", "lg": "Ennyaanya ezo yazisimba mu Gwakusatu." } }
{ "translation": { "en": "He says long gone are the days of amateur football.", "lg": "Agamba nti ekiseera abantu we baazannyiranga omupiira ne batasasulwa kyayitawo dda." } }
{ "translation": { "en": "Priests vowed to fulfill their responsibilities.", "lg": "Abasumba baalayidde okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe." } }
{ "translation": { "en": "Design of the feasibility study will be done in six months.", "lg": "Engeri y'okuteekateekamu ejja kukolebwa mu myezi mukaaga." } }
{ "translation": { "en": "Some people only remember others when they are in trouble.", "lg": "Abantu abamu bajjukira bannabwe nga bamaze okutuuka mu buzibu." } }
{ "translation": { "en": "Her baby is five months old now.", "lg": "Omwana we kati wa myezi etaano." } }
{ "translation": { "en": "The university was told to protect its land carefully.", "lg": "Yunivaasite baagigamba okukuuma ettaka lyayo butiribiri." } }
{ "translation": { "en": "When are you picking your admission letter from the university?", "lg": "Oli kima ddi ebbaluwa yo kakasa okuweebwa ekifo ku ssettendekero?" } }
{ "translation": { "en": "The kidnappers tortured him before dumping him in the forest.", "lg": "Abaamuwamba baasooka kumutulugunya nga tebannamusuula mu kibira." } }
{ "translation": { "en": "His fiftieth birthday celebrations were at the beach.", "lg": "Ebijaguzo by'amazaalibwa ge ag'amakumi ataano byali ku bbiici." } }
{ "translation": { "en": "The blood transfusion saved my mother's life.", "lg": "Maama wange okumuteekako omusaayi kyataasa obulamu bwe." } }
{ "translation": { "en": "That old man was one of the people who fought for the independence of this country.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "He has divorced his wife.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The historians should organise the history of Uganda because it is rich and unique.", "lg": "Bannabyafaayo balina okutegeka ebyafaayo bya Uganda kubanga bigagga ate bya njawulo." } }
{ "translation": { "en": "Some locals have set up savings groups within themselves because banks are far.", "lg": "Abatuuze abamu beekozeemu omulimu ne beetandikirawo ebibiina ebitereka ssente kubanga bbanka ziri wala." } }
{ "translation": { "en": "The sixty-man delegation was on a five-day visit to the country.", "lg": "Ekibinja ky'abantu kyali ku bugenyi bwa nnaku ttaano mu ggwanga." } }
{ "translation": { "en": "My brother is reading a school book.", "lg": "Muganda wange asoma ekitabo ky'essomero." } }
{ "translation": { "en": "Arua registered a high crime rate this month.", "lg": "Arua yabaddemu obuzzi bw'emisango bungi omwezi guno." } }
{ "translation": { "en": "He arrived at the airport this morning.", "lg": "Yatuuse ku kisaawe ku maka ga leero." } }
{ "translation": { "en": "Many people betted on different teams during the championship league.", "lg": "Abantu bangi baasiba ku ttiimu za njawulo mu liigi ya bannantammegwa." } }
{ "translation": { "en": "Eleven aspirants contested for presidency in the general elections of this year.", "lg": "Abantu kkuminoomu be baavuganya ku bwa pulezidenti mu kulonda kwa bonna okw'omwaka guno." } }
{ "translation": { "en": "My sister has the full details about the story.", "lg": "Mwannyinaze alina obubaka bwonna ku mboozi eyo." } }
{ "translation": { "en": "The lockdown has negatively affected the national sports calendar.", "lg": "Omuggalo gukosezza kalenda y'ebyemizannyo gy'eggwanga." } }
{ "translation": { "en": "The retired archbishop was laid to rest at the Anglican shrine.", "lg": "Ssaabalabirizi eyawummula yaziikibwa ku kiggwa ky'Abakulisitaayo." } }
{ "translation": { "en": "There is an increase in trade in areas where more refugees are present.", "lg": "Waliwo enkulaakulana mu byobusuubuzi mu bifo omuli ababudami." } }
{ "translation": { "en": "This requires that we take care of the complexity of a situation.", "lg": "Ekyo kiba kitwetaagisa okulowooza ku bizingirwa mu mbeera." } }
{ "translation": { "en": "Most people have attained employment opportunities.", "lg": "Abantu abasinga bafunye emirimu." } }
{ "translation": { "en": "I am going to sleep.", "lg": "Ŋŋenda kwebaka." } }
{ "translation": { "en": "Some parents marry off their daughters early inorder to get bridal wealth.", "lg": "Abazadde abamu bafumbiza abaana baabwe nga tebanneetuuka okusobola okufuna ebyobugagga by'obuko." } }
{ "translation": { "en": "Do not walk on the cold floor with bare feet.", "lg": "Totambulira wansi wannyogoga mu bigere." } }
{ "translation": { "en": "He was arrested for drunk driving after the accident.", "lg": "Yasibiddwa olw'okuvuga nga mutamiivu oluvannyuma lw'akabenje." } }
{ "translation": { "en": "The football tournament will be held next week.", "lg": "Empaka z'omupiira zakubaawo wiiki ejja." } }
{ "translation": { "en": "A police officer died.", "lg": "Omukungu wa poliisi yafudde." } }
{ "translation": { "en": "We played a lot of games during our childhood.", "lg": "Twazannya emizannyo mingi mu buto bwaffe." } }
{ "translation": { "en": "Make sure you brush your teeth.", "lg": "Kakasa nti osenya emannyo go." } }
{ "translation": { "en": "A memorandum has been signed to promote cooperation in Health.", "lg": "Enzikiriziganya eteekeddwako omukono okutumbula enkolagana mu byobulamu." } }
{ "translation": { "en": "Is the rest of the public allowed to enter parliament?", "lg": "Abantu abalala bakkirizibwa okuyingira mu paalimenti?" } }
{ "translation": { "en": "Uganda collects a lot of income from tourism every year.", "lg": "Uganda ekungaanya ensimbi nnyingi okuva mu by'obulambuzi buli mwaka." } }
{ "translation": { "en": "Investigations are being done to find out the thief.", "lg": "Okunoonyereza kukolebwa okuzuula obubbi." } }
{ "translation": { "en": "Running is a talent and a game that’s why we run together.", "lg": "Okudduka kitone ate muzannyo y'ensonga lwaki tuddukira wamu." } }
{ "translation": { "en": "The money should be spent on our people and not greedy politicians", "lg": "Ssenti zirina kusaasaanyizibwa ku bantu baffe si ku bannabyabufuzi abaluvu." } }
{ "translation": { "en": "Some hospitals lack enough medical officers.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Government services are usually sub-standard.", "lg": "Empeereza za gavumenti zitera kubeera za mutindo gwa wansi." } }
{ "translation": { "en": "Some foreign tourists adopted that kind of fishing.", "lg": "Abalambuzi abamu abagwira be batandika okukozesa envuba eyo." } }
{ "translation": { "en": "Is too much freedom bad?", "lg": "Eddembe erisusse bbi?" } }
{ "translation": { "en": "New ways of working have come up during the pandemic.", "lg": "Engeri z'okukola empya zimeruse mu kiseera ky'ekirwadde bbunansi." } }
{ "translation": { "en": "Politicians are important people in society.", "lg": "Bannabyabufuzi bantu ba mugaso mu kitundu." } }
{ "translation": { "en": "Any discussion must have participants.", "lg": "Okukubaganya ebirowoozo kwonna kulina okwenyigiramu abantu." } }
{ "translation": { "en": "We spent our time on it to ensure that we help the ecosystem recover.", "lg": "Twamala obudde bwaffe ku ekyo okusobola okulaba nga obutonde buddawo." } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Do you know how to cook meat?", "lg": "Omanyi okufumba ennyama?" } }
{ "translation": { "en": "China is one of the densely populated countries.", "lg": "China y'emu ku nsi ezisinga okubaamu abantu abangi." } }
{ "translation": { "en": "The land where church and church institutions are established is under dispute.", "lg": "Ettaka okuli kkanisa n'amatendekero gaayo kiriko enkaayana." } }
{ "translation": { "en": "\"On drowning, he drank a lot of water through his mouth and he died.\"", "lg": "\"Bwe yabbira, yanywa amazzi mangi okuyita mu kamwa n'afa.\"" } }
{ "translation": { "en": "The last court session will be held today.", "lg": "Olutuula lwa kkooti olusembayo lwa kubaayo leero." } }
{ "translation": { "en": "He is going to be tried.", "lg": "Agenda kuwozesebwa." } }
{ "translation": { "en": "He tested positive for the coronavirus.", "lg": "Yakeberwa n'asangibwamu ekirwadde kya korona." } }
{ "translation": { "en": "Elephants are very big animals.", "lg": "Enjovu nsolo nnene nnyo." } }
{ "translation": { "en": "The number of tourists coming to Uganda has reduced this year.", "lg": "Omuwendo gw'abalambuzi abajja mu Uganda gukendedde omwaka guno." } }
{ "translation": { "en": "Several institutions supplied credit to local farmers.", "lg": "Ebitongole bingi byawola abalimi bannansi." } }
{ "translation": { "en": "The radio presenters interviewed him about his job promotion.", "lg": "Abaweereza ku leediyo baamubuuzizza ku by'okulinnyisiddwa eddaala ku mulimu." } }
{ "translation": { "en": "Do you know how to cook grasshoppers?", "lg": "Omanyi okufumba enseenene?" } }
{ "translation": { "en": "They were not able to finish the work as per the schedule in the contract.", "lg": "Tebaasobola kumaliriza mulimu mu budde nga bwe bwali bulagiddwa mu ndagaano." } }
{ "translation": { "en": "The richest countries were ranked in ascending order.", "lg": "Amawanga agasinga obugagga gaasengekebwa okuva wansi." } }
{ "translation": { "en": "Human rights were violated.", "lg": "Eddembe ly'obuntu lyavvoolwa." } }
{ "translation": { "en": "Did you wash your hair properly?", "lg": "Enviiri zo wazinaabyemu bulungi?" } }
{ "translation": { "en": "They fetched water from the well.", "lg": "Baakima amazzi ku luzzi." } }
{ "translation": { "en": "Our focus is on the agricultural sector.", "lg": "Essira lyaffe liri ku kisaawe ky'ebyobulimi." } }
{ "translation": { "en": "Local industries provide jobs to people.", "lg": "Amakolero aga kuno gawa abantu emirimu." } }
{ "translation": { "en": "\"Through advertisements and media, the public has been informed about the prevalence of coronavirus.\"", "lg": "Abantu bategeezeddwa ku kucaaka kw'akawukaka kkolona okuyita mu birango n'emikutu gy'ebyempiliziganya." } }
{ "translation": { "en": "He was one of the judges of the competition.", "lg": "Yali omu ku basazi b'empaka." } }
{ "translation": { "en": "His arrest was unfair.", "lg": "Tekyali kya bwenkanya kumukwata." } }
{ "translation": { "en": "When was this house built?", "lg": "Ennyumba eno yazimbibwa ddi?" } }
{ "translation": { "en": "We may not vote this year.", "lg": "Tuyinza obutalonda omwaka guno." } }
{ "translation": { "en": "There are several saving schemes in our town.", "lg": "Mu katundu kaffe waliwo ebibiina bingi ebisonda ssente." } }
{ "translation": { "en": "He advised community members to live a peaceful life while on earth.", "lg": "Yakubirizza abantu b'omu kitundu okubeera mu mirembe nga bali ku nsi." } }
{ "translation": { "en": "We always need to reflect and thank God for what he has done for us", "lg": "Bulijjo twetaaga okwefumiitiriza ne twebaza Katonda olw'ebyo byatukoledde." } }
{ "translation": { "en": "The security personner must distinguish themselves from the people.", "lg": "Abeebyokwerinda balina okweyawula ku bantu." } }