translation
dict
{ "translation": { "en": "We communicate in our local language at home.", "lg": "Tuwuliziganya mu lulimi lwaffe oluzaaliranwa awaka." } }
{ "translation": { "en": "We have been friends for over ten years.", "lg": "Tubadde ba mikwano okumala emyaka egisukka mu kkumi." } }
{ "translation": { "en": "The stone broke into extra smaller pieces.", "lg": "Ejjinja lyamenyekamenyekamu obutundutundu obutono." } }
{ "translation": { "en": "He postponed his trip at the eleventh hour.", "lg": "Yayongezaayo olugendo lwe ku ssaawa esembayo." } }
{ "translation": { "en": "He is a talented basket ballplayer.", "lg": "Alina ekitone mu kuzannya omupiira gw'ensero." } }
{ "translation": { "en": "We shall arrest all the thieves in this village.", "lg": "Tujja kukwata ababbi bonna mu kyalo kino." } }
{ "translation": { "en": "He does not know how to use a spear.", "lg": "Tamanyi ngeri ya kukozesaamu ffumu." } }
{ "translation": { "en": "\"Store condoms in a cool, dry place.\"", "lg": "Tereka obupiira mu kifo ekiweweevu." } }
{ "translation": { "en": "Candidates performed poorly in last yearÕs Primary Leaving Examinations.", "lg": "Abayizi abaali mu bibiina by'akamalirirzo baakola bubi mu bibuuzo bya pulayimale ebyakamalirizo." } }
{ "translation": { "en": "The evidence brought by the lawyers was adequate", "lg": "Obujulizi bannamateeka bwe baaleeta bwali bumala." } }
{ "translation": { "en": "Farmers were advised to start sowing since it is a rainy season.", "lg": "Abalimi baaweebwa amagezi okutandika okusiga kubanga kiseera kya nkuba." } }
{ "translation": { "en": "Racism is not tolerated in this organization.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Solutions to curb environmental degradation are being discussed.", "lg": "Engeri z'okumalawo okwonoona obutonde bw'ensi zikubaganyizibwako ebirowoozo." } }
{ "translation": { "en": "Tea is in high demand.", "lg": "Obwetaavu bw'amajaani buli waggulu." } }
{ "translation": { "en": "The little girl has a cough.", "lg": "Omuwala omuto alina ekifuba." } }
{ "translation": { "en": "Information about increasing insecurities in the country is available.", "lg": "Obubaka obukwata ku kweyongera kw'obwerinde mu ggwanga weebuli." } }
{ "translation": { "en": "The two teams scored the same number of goals in last night's match.", "lg": "Ttiimu ebbiri zaateeba omuwendo gwa ggoolo gwe gumu mu muzannyo ogwazannyiddwa ekiro kya jjo." } }
{ "translation": { "en": "It was prohibited for women to wear trousers in the old days.", "lg": "Edda abakazi baali tebakkirizibwa kwambala mpale." } }
{ "translation": { "en": "The aspirants fought in the midst of the voters.", "lg": "Abeesimbyewo baalwanidde mu maaso g'abalonzi." } }
{ "translation": { "en": "She was around the scene to report the events as they occurred.", "lg": "Yali mu kifo okusobola okumanyisa ebintu nga bwe byali bigenda mu maaso." } }
{ "translation": { "en": "Health workers are working hard to stop the spread of diseases in the refugee camps.", "lg": "Abeebyobulamu bakola butaweera okutangira ensaasaana y'endwadde mu nkambi z'ababudami." } }
{ "translation": { "en": "Chairperson of the Uganda Human Rights Commission Med Kaggwa passed away.", "lg": "Ssentebe wa Uganda human Rights Commission Meddie Kaggwa yafudde." } }
{ "translation": { "en": "Marketing of goods and services is currently done through the internet.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The police were informed about the ongoing threats.", "lg": "Poliisi yategeezebwako ku kutiisibwatiisibwa okwali kugenda mu maaso." } }
{ "translation": { "en": "He reached home to an empty room.", "lg": "Eka yasanga kisenge kikalu." } }
{ "translation": { "en": "That country is surrounded by water.", "lg": "Ensi eyo yeetooloddwa amazzi." } }
{ "translation": { "en": "Discos usually happen at night.", "lg": "Ebiduula bitera kubeerawo kiro." } }
{ "translation": { "en": "She sings with the village church choir every Sunday.", "lg": "Ayimba ne kkwaya y'oku kyalo ey'ekkanisa buli Ssande." } }
{ "translation": { "en": "The air conditioning alone makes the room too cold.", "lg": "Ekyuma ekitereeza ebbugumu kyokka kinnyogoza ekisenge." } }
{ "translation": { "en": "His parents gave him all the necessary school requirements.", "lg": "Bazadde be baamuwa ebyetaago by'essomero byonna." } }
{ "translation": { "en": "There are many vocational training schools in the country.", "lg": "Waliwo amasomero g'ebyemikono mangi mu ggwanga." } }
{ "translation": { "en": "People cut down trees to get firewood.", "lg": "Abantu batema emiti okufuna enku." } }
{ "translation": { "en": "Water pollution is a threat to aquatic life.", "lg": "Okukyafuwaza amazzi kiteeka obulamu bw'ebitonde eby'omu mazzi mu katyabaga." } }
{ "translation": { "en": "Normally the white spots on the maize leaves are brought about by the pests.", "lg": "Bulijjo amabala ameeru ku bikoola bya kasooli galeetebwa biwuka." } }
{ "translation": { "en": "No street vendors are allowed to do their business on the roadside.", "lg": "Tewali mutembeeyi akkirizibwa kukolera bizinensi ku mabbali g'ekkubo." } }
{ "translation": { "en": "He is going to visit his sponsors in London.", "lg": "Agenda kukyalira bavujjirizi be mu London." } }
{ "translation": { "en": "People should be taught how they can gain from farming.", "lg": "Abantu balina okusomesebwa engeri gye basobola okufuna mu byobulimi." } }
{ "translation": { "en": "There was inadequate food supply to people in the cities during the lockdown.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The government has given the money to the team.", "lg": "Gavumenti ssente eziwadde ttiimu." } }
{ "translation": { "en": "The reconstruction of Kasubi tombs begins today.", "lg": "Okuddamu okuzimba amasiro g'e Kasubi kutandika leero." } }
{ "translation": { "en": "My longtime friend wrote me a letter.", "lg": "Mukwano gwange bwe twazirunda yampandiikidde ebbaluwa." } }
{ "translation": { "en": "She is in a long-distance relationship.", "lg": "Ali mu mukwano n'omuntu ali e bunaayira." } }
{ "translation": { "en": "Many Ugandans buy commodities from China.", "lg": "Bannayuganda bangi bagula ebintu okuva e China." } }
{ "translation": { "en": "The problems faced by the farmers contributed to low volumes of export commodity production.", "lg": "Ebizibu abalimi bye basanga byaviirako omuwendo gw'ebirime ebitundibwa ebweru okukendeera." } }
{ "translation": { "en": "She did not acknowledge his presence at all.", "lg": "Teyamwogerako yadde nti waali." } }
{ "translation": { "en": "I want to learn how to play table tennis.", "lg": "Njagala kuyiga kuzannya ttenisi wa ku mmeeza." } }
{ "translation": { "en": "Parents are advised to take the girl child to school.", "lg": "Abazadde baweebwa amagezi okusomesa omwana omuwala." } }
{ "translation": { "en": "The country is one of only ten countries where it is possible to visit endangered gorillas.", "lg": "Eggwanga lye limu ku mawanga ekkumi we kisobokera okukyalira amazike agali mu bulabe bw'okuggwawo." } }
{ "translation": { "en": "Many people deliberately refuse to pay taxes.", "lg": "Waliwo abantu bangi abagaana obugaanyi okusasula omusolo." } }
{ "translation": { "en": "There is a misunderstanding between the refugees and locals over the forest resources.", "lg": "Waliwo obutakwatagana wakati w'abanoonyi b'obubudamo n'abatuze ku bikwata ku bintu ebiva mu kibira." } }
{ "translation": { "en": "\"Every morning, that girl bypasses the market while on her way to school.\"", "lg": "Buli ku makya omuwala oyo ayita ku katale ng'agenda ku ssomero." } }
{ "translation": { "en": "She began the birthday party preparations at eight o'clock in the morning.", "lg": "Yatandika okutegeka akabaga k'amazaalibwa ku ssaawa munaana ez'ekiro." } }
{ "translation": { "en": "Her parents used to read Bible stories to her.", "lg": "Bazadde be baamusomeranga emboozi z'omu bbayibuli." } }
{ "translation": { "en": "The needy need food.", "lg": "Abali mu bwetaavu beetaaga emmere." } }
{ "translation": { "en": "There is a lot to learn about in Economics.", "lg": "Waliwo bingi eby'okuyiga ku Kannanfuna." } }
{ "translation": { "en": "I enjoy listening to music in my free time.", "lg": "Nnyumirwa nnyo okuwuliriza ennyimba mu budde bwange obw'eddembe." } }
{ "translation": { "en": "All project activities need to be supervised.", "lg": "Emirimu gya pulojekiti gyonna gyeetaaga okulondoolebwa." } }
{ "translation": { "en": "What first aid is given to someone who has drowned in water?", "lg": "Omuntu abbidde mu mazzi aweebwa bujjanjabi ki obusooka?" } }
{ "translation": { "en": "The two teams have a match tonight.", "lg": "Ttiimu ebbiri zirina oluzannya ekiro kya leero." } }
{ "translation": { "en": "They then sell advertisers the ability to reach those groups.", "lg": "Kati awo ne batunza abalanzi obusobozi obwokutuuka eri ebibiina ebyo." } }
{ "translation": { "en": "What kind of business does he deal in?", "lg": "Akola bizinensi ki?" } }
{ "translation": { "en": "Who is a landlord?", "lg": "Ani nannyini mayumba?" } }
{ "translation": { "en": "The leaders should always try to respond to people's problems.", "lg": "Abakulembeze balina okufangayo okuddamu eri ebizibu by'abantu." } }
{ "translation": { "en": "\"In 2018, she launched her dance studio.\"", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The beneficiaries of the project are mainly students.", "lg": "Abaganyulwa mu pulojekiti okusinga bayizi." } }
{ "translation": { "en": "We shall benefit from the new project.", "lg": "Tujja kuganyulwa mu puloojekiti empya." } }
{ "translation": { "en": "Banks limited the amount of money given to the people because they lacked security.", "lg": "Banka zaakendeeza ku muwendo gw'ensimbi eziweebwa abantu olw'obutaba na musingo." } }
{ "translation": { "en": "This area lies just over the Rwenzori mountain from the Uganda border.", "lg": "Ekitundu kino kiri kumpi ddala n'olusozi Rwenzori okuva ku nsalo ya Uganda." } }
{ "translation": { "en": "\"During the pandemic, people had to stay indoors for a specific period of time.\"", "lg": "\"Mu biseera by'ekirwadde, abantu baalina okusigala mu mayumba gaabwe ekiseera ekigere.\"" } }
{ "translation": { "en": "Most visitors arrive in the country on a short-term basis.", "lg": "Abagenyi abasinga bajja mu ggwanga okumalamu akaseera katono." } }
{ "translation": { "en": "The referee uses a whistle to give instructions.", "lg": "Omusazi w'omupiira akozesa ffirimbi okuwa obulagirizi." } }
{ "translation": { "en": "The government is working to restore the city to its former glory.", "lg": "Gavumenti ekola kulaba nti ekibuga ekizza ku mutindo gwakyo gwe kyaliko." } }
{ "translation": { "en": "We want to see you working.", "lg": "Twagala kukulaba ng'okola." } }
{ "translation": { "en": "The police arrested lawbreakers.", "lg": "Poliisi yakutte abamenyi b'amateeka." } }
{ "translation": { "en": "Women were educated about business management.", "lg": "Abakyala baasomeseddwa ku nzirukanya ya bizinensi." } }
{ "translation": { "en": "The British colonist found interesting playable musical instruments at the Uganda Museum.", "lg": "Omufuzi w'amatwale Omungereza yasanga ebivuga by'ennyimba ebisobola okuzannyibwa ku Kkaddiyirizo lya Uganda." } }
{ "translation": { "en": "He plans on having campaign meetings throughout the whole country.", "lg": "Ateekateeka kufuna nkiiko za kkampeyini okwetooloola eggwanga lyonna." } }
{ "translation": { "en": "The village has several hills.", "lg": "Ekyalo kiriko obusozi obuwera." } }
{ "translation": { "en": "The loading shedding will take a period of two weeks.", "lg": "Amasannyalaze gajja kubula okumala wiiki bbiri." } }
{ "translation": { "en": "You can get that medicine at any pharmacy in the area.", "lg": "Osobola okufuna eddala eryo ku ttundiro ly'eddagala lyonna mu kitundu kyo." } }
{ "translation": { "en": "He was disappointed by the way she responded to him.", "lg": "Engeri gye yamwanukulamu yamwennyamiza." } }
{ "translation": { "en": "We should demand justice.", "lg": "Tulina okusaba obwenkanya." } }
{ "translation": { "en": "There was deep anger between the two country leaders.", "lg": "Waaliwo obusungu obw'amaanyi wakati w'abakulembeze b'ensi ababiri." } }
{ "translation": { "en": "Leaders need to be paid their salaries for a smooth work flow.", "lg": "Abakulembeze beetaaga okusasulwa amagu emisaala gyabwe okusobola okutambuza obulungi emirimu." } }
{ "translation": { "en": "Sick people are advised to get medication from the hospital.", "lg": "Abalwadde bakubirizibwa okufuna obujjanjabi okuva mu ddwaliro." } }
{ "translation": { "en": "The Africa Cup of Nations final on television in a street in Dakar.", "lg": "Empaka za Afirika ez'akamalirizo ku terefayina ku nguudo mu Dakar." } }
{ "translation": { "en": "Cancer affects all people and does not discriminate.", "lg": "Kkookolo akosa bantu bonna era tasosola." } }
{ "translation": { "en": "The drinks were enough for the invited guests.", "lg": "Eby'okunywa byali bimala abagenyi abayite." } }
{ "translation": { "en": "My cousin will compete in the singing competition.", "lg": "Ow'enganda zange ajja kuvuganya mu mpaka z'okuyimba." } }
{ "translation": { "en": "We have never seen each other since last Christmas.", "lg": "Tetuddangayo kulabagana okuva ku Ssekkukkulu eyayita." } }
{ "translation": { "en": "Cats have good night vision.", "lg": "Kkapa ziraba bulungi ekiro." } }
{ "translation": { "en": "This television program is interesting.", "lg": "Puloogulaamu y'oku ttivvi eno enyuma." } }
{ "translation": { "en": "\"Because of feed poisoning, animals may go down and die suddenly.\"", "lg": "\"Olw'okuteeka obutwa mu by'okulya, ebisolo biyinza okukogga n'oluvannyuma ne bifa.\"" } }
{ "translation": { "en": "He feels guilty for beating his wife.", "lg": "Awulira nga gumusinga olw'okukuba mukyalawe." } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "It was a good decision by the government to stop the graduated tax.", "lg": "Kwali kusalawo kwa gavumenti kulungi okukomya omusolo gw'ebintu." } }
{ "translation": { "en": "Operating late markets is very risky.", "lg": "Okukola ekiro mu butale kya bulabe nnyo." } }
{ "translation": { "en": "The government used the loan to construct the school in our town council.", "lg": "Gavumenti yakozesa ssente ze yeewola okuzimba essomero mu kitundu kyaffe." } }
{ "translation": { "en": "My sister organized a birthday party for her son.", "lg": "Muganda wange/mwannyinaze yategekera mutabani we akabaga k'amazaalibwa." } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }